Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYONGEREZEDDWAKO C

Engeri y’Okuyigirizaamu Abantu Bayibuli nga Tukozesa Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!

Engeri y’Okuyigirizaamu Abantu Bayibuli nga Tukozesa Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!

Ab’oluganda baasaba nnyo Yakuwa abayambe era baanoonyereza n’obwegendereza nga bateekateeka ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Okusobola okukozesa obulungi ekitabo kino, kola ebintu ebiragiddwa wammanga ng’oyigiriza abayizi bo.

Nga tonnatandika kuyiga na muntu

  1. 1. Tegeka bulungi. Ng’otegeka, lowooza ku byetaago by’omuyizi, embeera ye, n’ebyo by’akkiririzaamu. Lowooza ku nsonga eziyinza okumuzibuwalira okutegeera oba okukolerako. Lowooza ku ngeri ebyo ebiri mu kitundu “Laba Ebisingawo” gye biyinza okuyamba omuyizi wo, era obikozese we kiba kyetaagisa nga muyiga.

Ng’oyigiriza omuyizi

  1. 2. Omuyizi bw’aba takirinaamu buzibu, tandika era oggalewo n’okusaba.

  2. 3. Weewale okwogera ennyo. Essira lisse ku bibuuzo ebyo byennyini ebiri mu kitabo, era leka omuyizi ayogere ekimuli ku mutima.

  3. 4. Bwe muba mugenda okutandika ekitundu ekipya, soma omulamwa gw’ekitundu ekyo era onokoleyo agamu ku masomo agali mu kitundu ekyo.

  4. 5. Bwe muba mumazeeko ekitundu, mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo eby’okwejjukanya ebikwata ku kitundu ekyo osobole okuyamba omuyizi okujjukira ebyo by’aba ayize mu kitundu ekyo.

  5. 6. Nga mukubaganya ebirowoozo n’omuyizi wo ku ssomo:

    1. Musome obutundu.

    2. Musome ebyawandiikibwa byonna ebiriko ekigambo “Soma.”

    3. We kiba kyetaagisa, musome ebyawandiikibwa ebirala ebiba biragiddwa.

    4. Mulabe vidiyo zonna eziriko ekigambo “Laba Vidiyo” (bwe muba nga muzirina).

    5. Buuza omuyizi buli kibuuzo.

    6. Gamba omuyizi okwetegereza ebifaananyi ebiri wansi w’ekitundu “Yiga Ebisingawo,” era omusabe okubaako ky’abyogerako.

    7. Kozesa akasanduuko “Eky’Okukolako” okuyamba omuyizi wo okumanya w’atuuse mu kukulaakulana mu by’omwoyo. Osobola okumukubiriza okukozesa eky’okukola ekimuweereddwa okulowooza ku bintu ebirala by’ayinza okukolako.

    8. Buuza omuyizi wo obanga alina ekintu ekyamunyumidde ennyo oba vidiyo eyamunyumidde ennyo mu kitundu “Laba Ebisingawo” bwe yabadde ng’ategeka essomo.

    9. Buli ssomo mugezeeko okulimalako mu lusoma lumu.

Oluvannyuma lw’okuyiga

  1. 7. Weeyongere okulowooza ku muyizi wo. Saba Yakuwa ayambe omuyizi wo okukulaakulana, era akuwe amagezi osobole okumanya engeri gy’oyinza okumuyambamu.