Buuka ogende ku bubaka obulimu

Yazuula Obulamu obw’Amakulu

Yazuula Obulamu obw’Amakulu

Lipoota y’Ababuulizi b’Obwakabaka

Yazuula Obulamu obw’Amakulu

YESU yagamba nti amanyi endiga ze. (Yokaana 10:14) Omuntu bw’aba ow’omutima omulungi era ng’ayagala emirembe n’obutuukirivu, Yakuwa amusembeza ne yeegatta ku bagoberezi ba Yesu. Omuntu ng’oyo afuna essanyu erya nnamaddala mu bulamu, nga bwe kyali eri omukazi omu ow’omu Bubirigi. Omukazi oyo agamba nti:

“Abajulirwa ba Yakuwa we baakonkonera ku luggi lwange, nnali mwennyamivu nnyo era nga ndowooza ku kwetta. Abajulirwa ba Yakuwa baŋŋamba nti ekiseera kijja kutuuka ebizibu biggweewo mu nsi. Ekyo kyansanyusa nnyo. Naye eky’okuŋŋamba nti Katonda y’ajja okubimalawo, tekyansanyusa. Nnali mmaze emyaka munaana nga sigenda mu kkanisa olw’okuba nnali nneetamiddwa obunnanfuusi obwaliyo. Kyokka nnakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa bye baali boogera byandiba ebituufu. Ate era nnali nkiraba nti twetaaga Katonda mu bulamu bwaffe.

“Eky’ennaku, oluvannyuma lw’okunkyalira emirundi mitonotono, saddamu kubalaba. Ekyo kyampisa bubi nnyo. Nnanywanga pakiti za sigala bbiri olunaku era nnatandika n’okukozesa ebiragalalagala. Olw’okuba nnali njagala okwogera ne jjajja wange eyafa, nnatandika okwenyigira mu by’obusamize. Ekyo kyanviirako okulumbibwanga badayimooni bwe nnabanga nzekka ekiro era nnatyanga nnyo. Ekyo kyabaawo okumala emyezi egiwera. Buli kawungeezi nnatyanga nnyo bwe nnalowoozanga ku ky’okubeera nzekka.

“Lumu nnagenda okutambulako, era nnayita mu kkubo lye nnali sitera kuyitamu. Bwe nnali ntambula, nnasanga ekizimbe ekinene kye baali bazimba. Nneewuunya okulaba nti waaliwo abantu bangi. Bwe nnasembera, nnakiraba nti baali Bajulirwa ba Yakuwa era nti baali bazimba Kizimbe ky’Obwakabaka. Nnajjukira Abajulirwa ba Yakuwa abajjanga ewange era muli nnagamba nti ensi yandibadde bulungi nnyo singa abantu bonna balinga abantu bano.

“Nnali njagala nnyo Abajulirwa ba Yakuwa baddemu okunkyalira, era bwe ntyo nnayogerako n’abamu ku abo abaali bazimba. Nnasaba Katonda era oluvannyuma lw’ennaku kkumi, omusajja eyali yasooka okujja ewange yajja. Yaŋŋamba nti tweyongere okuyiga Bayibuli, era ekyo nnakikkiriza n’essanyu. Yampita okugenda mu nkuŋŋaana era ne nzikiriza. Kye nnalabayo nnali sikirabangako walala. Nnali mmaze ebbanga nga nnoonya abantu abaagalana era abasanyufu. Kati nnali mbazudde!

“Oluvannyuma nnatandika okugendanga mu nkuŋŋaana zonna. Oluvannyuma lwa wiiki nga ssatu, nnalekera awo okunywa sigala. Nnasuula ebitabo byange n’ennyimba ebyali bikwata ku by’obusamize. Era mpolampola, emyoyo emibi gyalekera awo okunnumba. Nnatandika okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egiragibwa mu Bayibuli, era oluvannyuma lw’emyezi esatu nnafuuka omubuulizi w’amawulire amalungi. Nga wayise emyezi mukaaga, nnabatizibwa era oluvannyuma lw’ennaku bbiri nga mmaze okubatizibwa, nnatandika okuweereza nga payoniya omuwagizi.

“Nneebaza nnyo Yakuwa olw’ebintu byonna ebirungi by’ankoledde. Kati obulamu bwange bulina ekigendererwa. Mazima ddala erinnya lya Yakuwa kigo kya maanyi, mwe nnaddukira ne nfuna obukuumi. (Engero 18:10) Nange mpulira ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba mu Zabbuli 84:10 nti: ‘Olunaku olumu mu mpya zo lusinga ennaku olukumi mu kifo ekirala kyonna! Nnondawo okuyimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Katonda wange okusinga okubeera mu weema z’ababi.’”

Omukazi oyo ow’omutima omulungi yafuna ekigendererwa mu bulamu. N’omuntu yenna anoonya Yakuwa ng’alina omutima omulungi, asobola okufuna ekigendererwa mu bulamu.