Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obwakabaka bwa Katonda—Obufuzi bw’Ensi Obuppya

Obwakabaka bwa Katonda—Obufuzi bw’Ensi Obuppya

Obwakabaka bwa Katonda​—Obufuzi bw’Ensi Obuppya

“Obwakabaka . . . bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”​—DANYERI 2:44.

1. Tuyinza kubeera na bwesige ki mu Baibuli?

 BAIBULI bwe bubaka bwa Katonda eri abantu. Omutume Pawulo yawandiika bw’ati: “Bwe mwawulira ekigambo kya Katonda, kye twabategeeza, mwakikkiriza si ng’ekigambo kya bantu, naye nga bwe kiri ddala, ekigambo kya Katonda.” (1 Abasessaloniika 2:13, NW) Baibuli erimu bye twetaaga okumanya ku Katonda: ebikwata ku ngeri ze, ebigendererwa bye, ne by’atwetaagisa. Erimu okubuulirira okusingayo obulungi okukwata ku bulamu bw’amaka n’enneeyisa yaffe eya buli lunaku. Ewa kalonda yenna akwata ku bunnabbi obwatuukirizibwa mu biseera ebyayita, obutuukirizibwa kati, era obujja okutuukirizibwa mu biseera eby’omu maaso. Yee, “buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu: omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.”​—2 Timoseewo 3:16, 17.

2. Yesu yaggumiza atya omutwe gw’omu Baibuli?

2 Ekintu ekikulu ennyo mu Baibuli gwe mutwe gwayo: okulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda (obwannanyini bw’alina okufuga) okuyitira mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu. Yesu ekyo kye yateekako essira mu buweereza bwe. “Yesu [n’atandika] okubuulira n’okugamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (Matayo 4:17) Yalaga ekifo kye bwandibadde nakyo mu bulamu bwaffe, ng’akubiriza: “Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe.” (Matayo 6:33) Era yalaga obukulu bwabwo bwe yayigiriza abagoberezi be okusaba Katonda nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”​—Matayo 6:10.

Obufuzi bw’Ensi Obuppya

3. Lwaki Obwakabaka bwa Katonda bukulu nnyo gye tuli?

3 Lwaki Obwakabaka bwa Katonda bukulu nnyo eri abantu? Kubanga mangu ddala bujja kukola ekikolwa ekijja okukyusa obufuzi bw’ensi eno emirembe gyonna. Obunnabbi obuli mu Danyeri 2:44 bugamba: “Mu mirembe gya bakabaka abo [kati abafuga ensi], Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka [gavumenti mu ggulu], obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna [gavumenti ez’oku nsi], era bunaabeereranga emirembe gyonna.” Obufuzi bwa Katonda obw’omu ggulu bwe bunaatandika okufugira ddala mu bujjuvu, abantu tebaliddamu nate okufuga ensi. Obufuzi bw’abantu obwawulayawula era obutamatiza bujja kuba tebukyaliwo.

4, 5. (a) Lwaki Yesu y’oyo asinga okuba n’ebisaanyizo by’okubeera Kabaka w’Obwakabaka? (b) Mulimu ki Yesu gw’anaaba nagwo mu maaso awo?

4 Omufuzi Omukulu mu Bwakabaka obw’omu ggulu, wansi w’obulagirizi bwa Yakuwa, y’oyo asinga okuba n’ebisaanyizo ebyetaagisa​—Kristo Yesu. Nga tannajja ku nsi, yaliyo mu ggulu nga “omukozi omukulu” owa Katonda, nga ye mubereberye mu bitonde bya Katonda byonna. (Engero 8:22-31) “Oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow’ebitonde byonna; kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi.” (Abakkolosaayi 1:15, 16) Era Katonda bwe yatuma Yesu ku nsi, yakola Katonda by’ayagala ekiseera kyonna. Yagumiikiriza ebigezo ebisingirayo ddala obuzibu era n’afa nga mwesigwa eri Kitaawe.​—Yokaana 4:34; 15:10.

5 Olw’obwesigwa bwe eri Katonda okutuusa okufa, Yesu yasasulwa. Katonda yamuzuukiza okugenda mu ggulu era n’amuwa obwannannyini okubeera Kabaka w’Obwakabaka obw’omu ggulu. (Ebikolwa 2:32-36) Nga Kabaka w’Obwakabaka, Kristo Yesu, ajja kuweebwa Katonda omulimu omukulu ennyo ogw’okukulembera obukumi n’obukumi bw’ebitonde eby’amaanyi eby’omwoyo mu kuggya obufuzi bw’abantu ku nsi era n’okuggigyako obubi bwonna. (Engero 2:21, 22; 2 Abasessaloniika 1:6-9; Okubikkulirwa 19:11-21; 20:1-3) Kati olwo Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu wansi wa Kristo bwe bujja okubeera obufuzi obuppya, gavumenti yokka eneefuga ensi yonna.​—Okubikkulirwa 11:15.

6. Bufuzi bwa ngeri ki bwe tuyinza okusuubira okuva eri Kabaka w’Obwakabaka?

6 Ekigambo kya Katonda kyogera kiti ku Mufuzi w’ensi omuppya: “N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga.” (Danyeri 7:14) Olw’okuba Yesu ajja kukoppa okwagala kwa Katonda, emirembe n’essanyu bijja kubeera bingi wansi w’obufuzi bwe. (Matayo 5:5; Yokaana 3:16; 1 Yokaana 4:7-10) “Gavumenti ye n’emirembe tebirikoma, . . . eriwanirirwa obwenkanya n’obutuukirivu.” (Isaaya 9:7, Revised Standard Version) Nga guliba mukisa gwa maanyi nnyo okubeera n’Omufuzi afuga n’okwagala, obwenkanya, n’obutuukirivu! Bwe kityo, 2 Peetero 3:13 lulagula: “Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya [Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu] n’ensi empya [abantu abappya ku nsi], obutuukirivu mwe butuula.”

7. Matayo 24:14 lutuukirizibwa lutya leero?

7 Mazima ddala Obwakabaka bwa Katonda ge mawulire agasingirayo ddala obulungi eri abo bonna abaagala ekituufu. Eyo y’ensonga lwaki, ng’akamu ku kabonero akalaga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma” ez’embeera eno embi, Yesu yalagula: “N’amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (2 Timoseewo 3:1-5; Matayo 24:14, NW) Obunnabbi obwo butuukirizibwa kati, nga Abajulirwa ba Yakuwa kumpi obukadde mukaaga mu nsi 234 bawaayo essaawa ezisukka mu kawumbi nga babuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Nga kituukirawo bulungi, buli kifo ebibiina nga 90,000 okwetooloola ensi yonna gye basinziza, kiyitibwa Kingdom Hall. Eyo abantu bajja okuyiga ku gavumenti empya ejja.

Abanaafugira Awamu Naye

8, 9. (a) Abanaafugira awamu ne Kristo bava wa? (b) Twandibadde na bwesige ki mu bufuzi bwa Kabaka ne bafuzi banne?

8 Wajja kubaawo abanaafugira awamu ne Kristo Yesu mu Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. Okubikkulirwa 14:1-4 lwalagula nti abantu 144,000 baali ba ‘kugulibwa mu bantu’ era bazuukizibwe mu bulamu obw’omu ggulu. Bano balimu abasajja n’abakazi, mu bwetoowaze abaaweereza Katonda ne bantu bannaabwe, mu kifo ky’okuweerezebwa. “Banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.” (Okubikkulirwa 20:6) Omuwendo gwabwe mutono nnyo bw’ogugeraageranya na “ekibiina [e]kinene, omuntu ky’atayinza kubala, [okuva] mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi” abanaawonawo ng’embeera zino ez’ebintu zizikirizibwa. Bano nabo ‘baweereza Katonda emisana n’ekiro,’ naye tebalina ssuubi lya mu ggulu. (Okubikkulirwa 7:9, 15) Be bakola omusingi gw’ensi empya ng’abo abafugibwa Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu.​—Zabbuli 37:29; Yokaana 10:16.

9 Mu kulonda abo abandifuze ne Kristo mu ggulu, Yakuwa yalonda abantu abeesigwa abaayita mu bizibu byonna eby’obulamu. Kumpi tewali kintu kyonna abantu kye bayiseemu bakabaka bano era bakabona nabo kye batayiseemu. N’olwekyo obulamu bwe baayitamu ku nsi bujja kwongera ku busobozi bwabwe obw’okufuga abantu. Ne Yesu kennyini “yayiga obuwulize mu ebyo bye yabonaabonamu.” (Abaebbulaniya 5:8, NW) Omutume Pawulo yamwogerako bw’ati: “Kubanga tetulina kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, songa nga ye talina kibi.” (Abaebbulaniya 4:15) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu, abantu bajja kufugibwa bakabaka era bakabona ab’okwagala era abatulumirwa!

Obwakabaka Bwali mu Kigendererwa kya Katonda?

10. Lwaki Obwakabaka obw’omu ggulu tebwali mu kigendererwa kya Katonda ekyasooka?

10 Obwakabaka obw’omu ggulu bwali kitundu ky’ekigendererwa kya Katonda ekyasooka bwe yatonda Adamu ne Kaawa? Mu kutondebwa okwogerwako mu Olubereberye, teboogera n’akamu ku Bwakabaka obwandifuze abantu. Yakuwa kennyini ye yali Omufuzi waabwe, era bwe bandimugondedde, tewandibaddewo bwetaavu bw’obufuzi obulala. Olubereberye essuula 1 eraga nti Yakuwa yakolagana ne Adamu ne Kaawa okuyitira mu Mwana we omubereberye ow’omu ggulu. Essuula eyo ekozesa ebigambo nga “Katonda n’abagamba” ne “Katonda n’ayogera” gye bali.​— Olubereberye 1:28, 29; Yokaana 1:1.

11. Ntandikwa ki etuukiridde abantu gye baafuna?

11 Baibuli egamba: “Katonda n’alaba buli ky’akoze; era, laba, [nga] kirungi nnyo.” (Olubereberye 1:31) Buli kintu mu lusuku Adeni kyali kituukiridde. Adamu ne Kaawa baali mu lusuku lwa Katonda. Baalina emibiri n’endowooza ebituukiridde. Baali basobola okuwuliziganya ne Eyabakola. Era bwe bandisigadde nga beesigwa, bandizadde abaana abatuukiridde. Kyandibadde tekyetaagisa gavumenti empya ey’omu ggulu.

12, 13. Abantu abatuukiridde bwe bandyeyongedde, lwaki Katonda yandisobodde okuwuliziganya nabo?

12 Abantu bwe bandyeyongedde obungi, Katonda yandisobodde atya okuwuliziganya nabo bonna? Lowooza ku mmunyeenye ez’omu ggulu. Zitegekeddwa mu bibinja. Ebibinja ebimu birimu emmunyeenye akawumbi kamu. Ebirala birimu emmunyeenye obuwumbi lukumi. Era bannasayansi bateebereza nti waliwo ebibinja by’emmunyeenye ng’obuwumbi 100 mu bwengula obulabika! Kyokka, Omutonzi agamba: “Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw’ali, afulumya eggye lyabyo ng’omuwendo gwabyo bwe guli: byonna abituuma amanya; olw’obukulu bw’obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako.”​—Isaaya 40:26.

13 Okuva Katonda bw’amanyi ebitonde bino byonna eby’omu bwengula, mazima ddala tekyandimuzibuwalidde n’akamu okumanya omuwendo gw’abantu omutono ennyo. Ne mu kiseera kino, obukadde n’obukadde bw’abaweereza be bamusaba buli lunaku. Essaala ezo zituukirawo ewa Katonda. N’olwekyo, okuwuliziganya n’abantu bonna abatuukiridde tekyandimuzibuwalidde n’akamu. Yandibadde teyeetaaga Obwakabaka obw’omu ggulu okusobola okubamanya. Nga nteekateeka ya kitalo​—Yakuwa okubeera Omufuzi waffe, okusobola okumutuukirira obutereevu, era n’okuba n’essuubi ery’obutafa nate, okubeera abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi!

“Tekiri mu Muntu”

14. Lwaki abantu bajja kwetaaga obufuzi bwa Yakuwa emirembe gyonna?

14 Kyokka, abantu​—wadde abatuukiridde​—bandibadde beetaaga obufuzi bwa Yakuwa emirembe gyonna. Lwaki? Kubanga Yakuwa teyabatonda nga balina obusobozi bw’okutuuka ku buwanguzi awatali bufuzi bwe. Ekyo bwe kiri eri abantu bonna, nga nnabbi Yeremiya bwe yagamba: “Ai Mukama, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye. Ai Mukama, ombuulire, naye mpola; si lwa busungu bwo oleme okunzikiriza.” (Yeremiya 10:23, 24) Kyandibadde kya busiru abantu okulowooza nti bandisobodde okutereeza embeera mu bantu awatali bufuzi bwa Yakuwa. Kyandikontanye n’engeri gye baatondebwamu. Obwetwaze okuva ku bufuzi bwa Yakuwa, awatali kubuusabuusa, bwandivuddemu okwerowoozaako, obukyayi, obukambwe, ettemu, entalo n’okufa. ‘Omuntu yandibadde n’obuyinza ku mulala okumukola obubi.’​—Omubuulizi 8:9.

15. Biki ebyava mu kusalawo okubi bazadde baffe abaasooka kwe bakola?

15 Eky’ennaku, bazadde baffe abaasooka baasalawo nti tebeetaaga Katonda kubeera Mufuzi waabwe, era ne balondawo okumwewaggulako. N’ekyavaamu, Katonda teyeeyongera kubakuumira mu mbeera ey’obutuukirivu. Kati baalinga ekyuma ekikolera ku masannyalaze ekiggiddwako ensibuko yaakyo ekiwa amaanyi. N’olwekyo, ekiseera bwe kyandiyiseewo, bandifudde. Baafuna ebbala, era embeera eyo gye baali bayinza okutuusa ku zzadde lyabwe. (Abaruumi 5:12) “Lwazi, [Yakuwa] omulimu gwe gwatuukirira; kubanga amakubo ge gonna musango: . . . Baakolanga ebitali bya butuukirivu eri ye, si baana be, lye bbala lyabwe.” (Ekyamateeka 32:4, 5) Kyo kituufu nti Adamu ne Kaawa baatwalirizibwa ekitonde eky’omwoyo ekijeemu ekyafuuka Setaani, naye baalina endowooza etuukiridde era bandisobodde okwesamba ebirowoozo bye ebikyamu.​—Olubereberye 3:1-19; Yakobo 4:7.

16. Ebyafaayo biraga ki ku biva mu kwewaggula ku Katonda?

16 Ebyafaayo bikakasa ebyava mu kwewaggula ku Katonda. Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, abantu bagezezzaako buli kika kya gavumenti y’abantu, buli nkola ey’eby’enfuna n’enkola ekwata ku nsonga z’abantu. Kyokka, obubi bweyongera ‘okuyitirira mu bubi.’ (2 Timoseewo 3:13) Ekyasa ekya 20 kyakakasa ekyo. Kyalimu obukyayi, ettemu, entalo, enjala, obwavu, n’okubonaabona ebitabangawo mu kiseera kyonna mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu. Era ka wabe nga wabaddewo kukulaakulana kwa ngeri ki mu by’ekisawo, ekiseera kituuka buli omu n’afa. (Omubuulizi 9:5, 10) Nga bagezaako okuluŋŋamya ebigere byabwe, abantu bakkiriza okutwalirizibwa Setaani ne balubaale be, ne kiba nti Baibuli eyita Setaani “katonda ow’emirembe gino.”​—2 Abakkolinso 4:4.

Ekirabo eky’Eddembe ly’Okwesalirawo

17. Ekirabo kya Katonda eky’eddembe ery’okwesalirawo kyali kya kukozesebwa kitya?

17 Lwaki Yakuwa yandirese abantu okwewaggula? Kubanga yabatonda nga balina ekirabo eky’ekitalo eky’eddembe ery’okwesalirawo. “Awaba omwoyo gwa Yakuwa, wabaawo eddembe,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yagamba. (2 Abakkolinso 3:17, NW) Tewali n’omu ayagala kubeera nga robot, ng’omuntu omulala y’akusalirawo buli kiseera ky’onooyogera era ky’onookola. Naye Yakuwa yeetaagisa abantu okukozesa ekirabo eky’eddembe ery’okwesalirawo n’obuvunaanyizibwa, okulaba amagezi agali mu kukola Katonda by’ayagala n’okusigala nga bawulize gy’ali. (Abaggalatiya 5:13) N’olwekyo, eddembe teryandibadde mu bujjuvu, kuba ekyo kyandivuddemu akavuyo. Lyandibadde likozesebwa awatali kusukka mateeka ga Katonda amalungi.

18. Katonda alaze ki bw’alese abantu okukozesa eddembe lyabwe ery’okwesalirawo?

18 Ng’aleka abantu okukola nga bwe basazeewo, Katonda akiragidde ddala nti twetaaga obufuzi bwe. Obufuzi bwe bwe bwokka obutuufu. Buvaamu essanyu, okumatira n’emikisa ebisingirayo ddala obulungi. Kino kiri kityo kubanga endowooza yaffe n’emibiri gyaffe Yakuwa yali abikoze okukola obulungi nga bigoberera amateeka ge. “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu.” (Isaaya 48:17) Okukozesa eddembe ly’okwesalirawo awatali kusukka mateeka ga Katonda tegwandibadde mugugu naye kyandiviiriddeko okuba n’emmere, amaka, ebifaananyi ebisiigiddwa, n’ennyimba eby’enjawulo. Nga likozeseddwa bulungi, eddembe ery’okwesalirawo lyandivuddemu obulamu obulungi ennyo mu lusuku lwa Katonda ku nsi.

19. Kiki Katonda ky’akozesa okusobola okutabagana n’abantu?

19 Naye olw’okusalawo obubi, abantu beeyawula ku Yakuwa, ne bafuuka abatatuukiridde, abakaddiwa, era ne bafa. N’olwekyo, baali beetaaga okununulibwa okuva mu mbeera eyo ey’ennaku era ne baddamu okubeera n’enkolagana esaanira ne Katonda nga batabani be era bawala be. Katonda kye yalonda okutuukiriza kino bwe Bwakabaka, era Omununuzi ye Yesu Kristo. (Yokaana 3:16) Okuyitira mu nteekateeka eno, abo abeenenyeza ddala​—okufaananako omwana omujaajaamya ow’omu lugero lwa Yesu​—bajja kutabaganyizibwa ne Katonda era abakkirize ng’abaana be.​—Lukka 15:11-24; Abaruumi 8:21; 2 Abakkolinso 6:18.

20. Obwakabaka bunaatuukiriza butya ekigendererwa kya Katonda?

20 Mazima ddala, Yakuwa by’ayagala bigenda kutuukirizibwa ku nsi. (Isaaya 14:24, 27; 55:11) Okuyitira mu Bwakabaka bwe wansi wa Kristo, Katonda ajja kulagira ddala obwannannyini bwalina okubeera Omufuzi waffe. Obwakabaka bujja kukomya obufuzi bw’abantu ne balubaale ku nsi, era bwe bwokka obujja okufuga okuva mu ggulu okumala emyaka lukumi. (Abaruumi 16:20; Okubikkulirwa 20:1-6) Naye mu kiseera ekyo, kiriragibwa kitya nti engeri Yakuwa gy’afugamu y’esinga obulungi? Era oluvannyuma lw’emyaka olukumi, Obwakabaka bunaabeera na kifo ki? Ekitundu ekiddako kijja kwekenneenya ebibuuzo bino.

Ensonga ez’Okwejjukanya

• Omutwe gwa Baibuli gwe guluwa?

• Baani abakola obufuzi obuppya obw’oku nsi?

• Lwaki obufuzi bw’abantu abeewaggudde ku Katonda tebuyinza kutuuka ku buwanguzi?

• Eddembe ly’okwesalirawo liteekwa kukozesebwa litya?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Okuyigiriza kwa Yesu kwaggumiza obufuzi bwa Katonda okuyitira

mu Bwakabaka

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]

Mu buli nsi Abajulirwa ba Yakuwa batwala Obwakabaka okuba enjigiriza yaabwe enkulu

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]

Ebyafaayo biraga ebibi ebyava mu kwewaggula ku Katonda

[Ensibuko y’ebifaananyi]

WWI soldiers: U.S. National Archives photo; concentration camp: Oświęcim Museum; child: UN PHOTO 186156/​J. Isaac