Abajulirwa ba Yakuwa—Ffe Baani?
Ekibiina kyaffe kirimu abantu ab’amawanga ag’enjawulo era aboogera ennimi ez’enjawulo, kyokka tulina bingi ebitugatta. Ekisinga okutugatta kwe kuba nti ffenna twagala okugulumiza Yakuwa, Katonda ow’amazima era Omutonzi w’ebintu byonna. Tufuba nnyo okukoppa Yesu Kristo era twenyumiriza nnyo okubeera Abakristaayo. Buli omu ku ffe awaayo ebiseera okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Bayibuli ne ku Bwakabaka bwa Katonda. Olw’okuba twogera ku Yakuwa Katonda n’Obwakabaka bwe, tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Wekkaanye ebiri mu mukutu gwaffe. Soma Bayibuli eri ku mukutu gwaffe. Manya ebitukwatako n’enzikiriza zaffe.