Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwetonda Kuleetawo Emirembe

Okwetonda Kuleetawo Emirembe

Okwetonda Kuleetawo Emirembe

“OKWETONDA kukulu nnyo. Kusobozesa obutategeeragana okugonjoolebwa mu mirembe, kusobozesa okuzzaawo enkolagana wakati w’amawanga, kusobozesa gavumenti okutegeera ebizibu by’abantu era n’okubeera n’enkolagana ennungi n’abalala.” Bw’atyo, profesa Deborah Tannen omuwandiisi omulungi ennyo era omukugu mu by’ennimi mu Yunivasite ya Georgetown mu Washington, D.C., bwe yagamba.

Baibuli ekakasa nti okwetonda mu bwesimbu ngeri nnungi nnyo esobozesa enkolagana eba eyonoonese okuzzibwawo. Ng’ekyokulabirako, mu lugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya, omwana oyo bwe yakomawo awaka era ne yeetonda okuviira ddala mu mutima gwe, taata we yamukkiriza okudda mu maka. (Lukka 15:17-24) Yee, omuntu tasaanidde kubeera wa malala, asaanidde okwetonda era n’okusaba ekisonyiwo. Kya lwatu nti, abantu abawombeefu, tekibabeerera kizibu okwetonda.

Obukulu bw’Okwetonda

Abbigayiri, eyali omukazi ow’amagezi mu Isiraeri ey’edda, yatuteerawo ekyokulabirako ekiraga obukulu bw’okwetonda, wadde nga yeetonda olw’ensobi omwami we gye yali akoze. Dawudi, oluvannyuma eyafuuka kabaka wa Isiraeri, awamu ne basajja be, baakuuma endiga za Nabali bba wa Abbigayiri mu kiseera we baabeerera mu ddungu. Kyokka, abasajja ba Dawudi bwe baamusaba emigaati n’amazzi, Nabali yabagoba bugobi nga tabawadde kantu konna era n’abakudaalira. Mu busungu obuyitirivu, Dawudi yakulembera abasajja be nga 400 okugenda okulwanyisa ab’omu nnyumba ya Nabali. Abbigayiri bwe yategeera ekyali kigenda mu maaso, yagenda okusisinkana Dawudi. Bwe yamulaba, n’avuunama ku ttaka mu maaso ge. Awo n’amugamba: “Obutali butuukirivu obwo bubeere ku nze, mukama wange, ku nze: era [leka o]muzaana wo ayogere mu matu go, nkwegayiridde, era wulira ebigambo by’omuzaana wo.” Awo Abbigayiri n’annyonnyola Dawudi embeera nga bwe yali era n’amuwa emmere n’eby’okunywa. Awo, Dawudi n’amugamba: “Yambuka mu mirembe; laba, mpulidde eddoboozi lyo ne nkukkiriza ggwe.”​—1 Samwiri 25:2-35.

Obwetoowaze bwa Abbigayiri awamu n’okwetonda kwe olw’empisa embi eza mwami we, byawonya ab’omu maka ge. Dawudi yamwebaza n’okumwebaza olw’okumuziyiza okuyiwa omusaayi. Wadde nga Abbigayiri si ye yali ayisizza Dawudi ne basajja be obubi, yakkiriza ensobi eyo ku lw’ab’omu maka ge, era n’akola emirembe ne Dawudi.

Omuntu omulala eyali amanyi ddi lw’alina okwetonda, ye mutume Pawulo. Lumu, yali alina okwelwanako ng’ali mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. Ananiya, kabona asinga obukulu bwe yakwatibwa obusungu olw’ebigambo Pawulo bye yayogera, yalagira abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo bamukube emimwa. Awo, Pawulo n’alyoka amugamba: “Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng’amateeka bwe gali, n’olagira okunkuba ng’amateeka bwe gatalagira?” Abantu abaaliwo bwe baavunaana Pawulo olw’okuvuma kabona asinga obukulu, amangu ago omutume yakkiriza ensobi ye n’agamba: “Mbadde simumanyi, ab’oluganda, nga ye kabona asinga obukulu: kubanga kyawandiikibwa nti Toyogeranga bubi ku mukulu w’abantu bo.”​—Ebikolwa 23:1-5.

Pawulo yali mutuufu okugamba nti oyo alondeddwa okusala emisango yali tasaanidde kweyisa mu ngeri ya bukambwe. Wadde kyali kityo, yeetonda olw’okuba mu butamanya, yayogera ne kabona oyo asinga obukulu mu ngeri eyali eyinza okutwalibwa ng’ey’obunyoomi. * Olw’okwetonda, kyaviirako ab’omu Lukiiko Olukulu okumuwuliriza. Olw’okuba Pawulo yali amanyi obutakaanya obwaliwo mu abo abaali mu kkooti, yabagamba nti baali bamuwozesa olw’okuba yali akkiririza mu kuzuukira. N’ekyavaamu, wajjawo okukaayana kungi era Abafalisaayo ne beekubira ku ludda lwa Pawulo.​—Ebikolwa 23:6-10.

Kiki kye tuyinza okuyigira ku byokulabirako bino bibiri ebiri mu Baibuli? Mu mbeera ezo zombi ezaaliwo, okwetonda mu bwesimbu kwasobozesa empuliziganya okubaawo. N’olwekyo, okwetonda kusobola okuzzaawo emirembe. Yee, okukkiriza ensobi zaffe era ne twetonda olw’ensobi eba ekoleddwa, kiyinza okutusobozesa okukubaganya ebirowoozo n’abalala mu ngeri ezimba.

‘Naye Sirina Kikyamu Kye Nkoze’

Singa tumanya nti omuntu ayisiddwa bubi olw’ekyo kye tuba twogedde oba kye tukoze, tuyinza okulowooza nti omuntu oyo anyiiga mangu. Kyokka, Yesu Kristo yawa abayigirizwa be amagezi gano: “Kale, bw’obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw’oyima eyo n’omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo, leka awo ssaddaaka yo mu maaso g’ekyoto, oddeyo, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.”​—Matayo 5:23, 24.

Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayinza okulowooza nti olina ekibi ky’omukoze. Mu mbeera ng’eyo, Yesu yagamba nti olina okugenda gy’ali “mutabagane,” k’obe ng’olina ensobi gy’omukoze oba nedda. Okusinziira ku kiwandiiko ky’Oluyonaani, ekigambo Yesu kye yakozesa wano kitegeeza “okutabagana oluvannyuma lw’obutategeeragana okubaawo.” (Vine’s Expository Dictionary of Old and New Testament Words) Mazima ddala, singa abantu ababiri tebategeeragana, kiyinzika okuba nti buli omu ku bo alina ky’anenyezebwa, okuva bombi bwe batatuukiridde era nga basobola okusobya. Ekyo kiba kibeetaagisa okutabagana.

Ekikulu, si kwe kumanya ani mutuufu oba ani mukyamu, wabula, ani anaasooka okubaako ne ky’akolawo okusobola okuzzaawo emirembe. Omutume Pawulo bwe yamanya nti Abakristaayo ab’omu Kkolinso baali batwala baweereza bannaabwe mu kkooti z’ensi, ku nsonga gamba ng’obutategeeragana mu by’ensimbi, yabawabula: “Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?” (1 Abakkolinso 6:7) Wadde nga Pawulo yayogera ebigambo ebyo nga tayagala Bakristaayo batwale bannaabwe mu kkooti z’ensi, omusingi oguli mu bigambo ebyo gweyoleka bulungi: Emirembe okubeera mu b’oluganda kikulu nnyo okusinga okumanya ani mutuufu oba ani mukyamu. Bwe tujjukira omusingi ogwo, kitusobozesa okwetondera oyo aba alowooza nti tulina ekibi kye tumukoze.

Obwesimbu Bwetaagisa

Kyokka, abantu abamu bakozesa ebigambo ebyoleka okwetonda, mu ngeri esukkiridde. Ng’ekyokulabirako, mu Japan, ekigambo sumimasen, ekikozesebwa nga weetonda, kiwulikika emirundi mingi nnyo. Kiyinza n’okukozesebwa mu kusiima, kyokka ng’olaga nti kikuyisizza bubi olw’obutabaako ky’okolawo olw’ekyo ekikukoleddwa. Olw’okuba kikozesebwa okutegeeza ekintu ekirala, ate buli kiseera, abamu bayinza n’okulowooza nti abo abakikozesa tebaba beesimbu. Engeri ezitali zimu ez’okwetonda nazo ziyinza okuba nga zikozesebwa nnyo mu nnimi endala.

Mu buli lulimi, kikulu nnyo okubeera omwesimbu nga weetonda. Ebigambo by’okozesa era n’eddoboozi, bisaanidde okulagira ddala nti onnakuwadde olw’ensobi gy’okoze. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu Kristo yayigiriza abayigirizwa be: ‘Leka ekigambo kyo nti Yee kibeerenga Yee, nti Nedda, kibeerenga Nedda.’ (Matayo 5:37) Bwe weetonda, ka kiviire ddala mu mutima gwo! Okuwaayo ekyokulabirako: Omusajja eyali mu lunyiriri ku kisaawe ky’ennyonyi, yeetonda ng’ensawo ye ekoonye omukyala eyali amuliraanye. Nga wayiseewo akabanga katono, ensawo yaddamu n’ekoona omukyala oyo. Ate era, omusajja oyo yeetonda. Ekintu kye kimu bwe kyaddamu okubaawo omulundi omulala, munne w’omukyala oyo yagamba omusajja nnyini nsawo nti, bw’aba nga ddala yali ategeeza ekyo kye yali ayogera, yandifubye okulaba nti ensawo ye teddamu kukoona mukyala oyo. Yee, omuntu bwe yeetonda mu bwesimbu, afuba okulaba nti taddamu nsobi ye.

Bwe tuba nga tuli beesimbu, okwetonda kwaffe kujja kuzingiramu okukkiriza ensobi ze tuba tukoze, okusaba ekisonyiwo, era n’okufuba ennyo nga bwe tusobola okutereeza ensonga. Ku luuyi olulala, oyo gwe baba basobezza, asaanidde okubeera omwetegefu okusonyiwa omwonoonyi eyeenenyezza. (Matayo 18:21, 22; Makko 11:25; Abaefeso 4:32; Abakkolosaayi 3:13) Olw’okuba bombi tebatuukiridde, kiyinza obutaba kyangu okuzzaawo emirembe. Wadde kiri kityo, ebigambo ebyoleka okwetonda biba bikulu nnyo mu kuzzaawo emirembe.

Lwe Kiteetaagisa Kwetonda

Wadde ng’ebigambo ebyoleka okwejjusa n’ennaku biyinza okukkakkanya omuntu era nga bisobozesa n’emirembe okubaawo, omuntu ow’amagezi yeewala okukozesa ebigambo ng’ebyo bwe kiba nga ddala tekyetaagisa. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti ensonga ezingiramu okubeera abagolokofu mu maaso ga Katonda. Yesu Kristo bwe yali ku nsi, “yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw’oku [muti].” (Abafiripi 2:8) Kyokka, teyeetonda olw’enzikiriza ze okusobola okukendeeza ku kubonaabona kwe. Era Yesu teyeetonda kabona asinga obukulu bwe yamugamba: “Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.” Mu kifo ky’okwetonda, Yesu yamuddamu n’obuvumu nti: “Oyogedde: naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w’omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogw’amaanyi, ng’ajjira ku bire eby’eggulu.” (Matayo 26:63, 64) Ekirowoozo eky’okwagala okutabagana ne kabona omukulu ate nga kyandiviiriddeko Yesu obutabeera mugolokofu mu maaso ga Kitaawe, Yakuwa Katonda, tekyamujjira n’akamu.

Abakristaayo bawa ekitiibwa ab’obuyinza. Wadde kiri kityo, tekibeetaagisa kwetonda olw’okubeera abawulize eri Katonda n’olw’okwagala baganda baabwe.​—Matayo 28:19, 20; Abaruumi 13:5-7.

Tewali Kiriremesa Mirembe Kubaawo

Leero, tusobya kubanga twasikira ekibi okuva ku jjajja waffe Adamu. (Abaruumi 5:12; 1 Yokaana 1:10) Adamu yafuna ekibi olw’okujeemera Omutonzi we. Kyokka, ku lubereberye, Adamu ne Kaawa baali batuukiridde era nga tebalina kibi, era Katonda asuubizza okuddamu okufuula abantu abatuukiridde. Ajja kuggyawo ekibi ne byonna bye kireeta.​—1 Abakkolinso 15:56, 57.

Lowooza ku ekyo kye kinaategeeza! Bwe yali abuulirira ku ngeri y’okukozesaamu olulimi, Yakobo muganda wa Yesu yagamba: “Omuntu yenna bw’atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n’omubiri gwe gwonna.” (Yakobo 3:2) Omuntu atuukiridde asobola okufuga olulimi lwe ne kiba nti tekimwetaagisa kwetonda olw’okulukozesa obubi. ‘Asobola n’okufuga omubiri gwe gwonna.’ Nga kiriba kirungi nnyo bwe tulifuuka abatuukiridde! Olwo nno, tewajja kubeerawo kintu kyonna kitabangula mirembe gy’abantu. Kyokka, ng’ekiseera ekyo tekinnaba kutuuka, okwetonda mu bwesimbu olw’ensobi eba ekoleddwa kujja kuyamba nnyo mu kuleetawo emirembe.

[Obugambo obuli wansi]

^ Kiyinzika okuba nti olw’okuba Pawulo yali talaba bulungi, teyategeera kabona omukulu oyo.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Kiki kye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako kya Pawulo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Abantu bonna bwe banaabeera nga batuukiridde, tewajja kubaawo kiremesa mirembe kubaawo