Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Anaabeera Mukwano Gwo”

“Anaabeera Mukwano Gwo”

“Anaabeera Mukwano Gwo”

“[Katonda] tali wala wa buli omu ku ffe.”​—EBIKOLWA 17:27.

1, 2. (a) Bwe tutunuulira emmunyeenye eziri ku ggulu, kibuuzo ki kye twebuuza ku Mutonzi? (b) Baibuli etukakasa etya nti abantu ba muwendo mu maaso ga Yakuwa?

WALI owuniikiridde ng’otunuulidde emmunyeenye eziri ku ggulu ekiro? Omuwendo omungi ogw’emmunyeenye n’obwaguuga bw’ebbanga bituwuniikiriza. Mu bwengula obunene bwe buti, ensi yaffe eringa akatonnyeze. Kino kitegeeza nti Omutonzi, oyo ‘Ali Waggulu Ennyo,’ wa kitiibwa nnyo n’aba nga tafaayo ku bantu oba nti tebasobola na kumutegeera?​—Zabbuli 83:18.

2 Baibuli etukakasa nti abantu ba muwendo mu maaso ga Yakuwa. Mu butuufu, Baibuli etukubiriza okumunoonya ng’egamba nti: “Tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27; 1 Ebyomumirembe 28:9) Mazima ddala, bwe tubaako ne kye tukolawo okufuna enkolagana ennungi ne Katonda, naye ajja kubaako kyakolawo. Mu ngeri ki? Ebigambo eby’ekyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka biddamu bwe biti: “Naye anaabeera mukwano gwo.” (Yakobo 4:8, NW) Ka twekenneenye egimu ku mikisa Yakuwa gy’awa abo abalina enkolagana ennungi naye.

Ekirabo Okuva eri Yakuwa

3. Kirabo ki Yakuwa ky’awa abo abafuna enkolagana ennungi naye?

3 Omukisa ogusooka, abaweereza ba Yakuwa balina ekirabo eky’omuwendo ky’abawadde. Obuyinza, obugagga, n’obuyigirize ebifunibwa mu nteekateeka y’ebintu eno tebisobola kutuwa kirabo kino. Kino kirabo okuva eri Yakuwa, ky’awa abo bokka abalina enkolagana ennungi naye. Kirabo ki ekyo? Ekigambo kya Katonda kiddamu bwe kiti: “Bw’onookaabiranga . . . okutegeera. Bw’onoo[ku]noonyanga nga ffeeza, n’o[kwe]kenneenyanga ng’eby’obugagga ebyakwekebwa; kale lw’olitegeera okutya Mukama, n’ovumbula okumanya [okukwata ku] Katonda. Kubanga Mukama awa amagezi.” (Engero 2:3-6) Kiteeberezeemu abantu abatatuukiridde okuvumbula ‘okumanya okukwata ku Katonda’! Ekirabo ekyo oba okumanya okuli mu Kigambo kya Katonda, kigeraageranyizibwa ku “by’obugagga ebyakwekebwa.” Lwaki?

4, 5. Lwaki ‘okumanya okukwata ku Katonda’ kuyinza okugeraageranyizibwa ku “by’obugagga ebyakwekebwa”? Waayo ekyokulabirako.

4 Ensonga emu eri nti, okumanya okukwata ku Katonda kwa muwendo nnyo. Ogumu ku miganyulo egiva mu kufuna okumanya lye ssuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 17:3) Kyokka, ne mu kiseera kino okumanya okwo kutuganyula. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba tusomye Ekigambo kya Katonda n’obwegendereza, tusobodde okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu nga bino: Erinnya lya Katonda y’ani? (Zabbuli 83:18) Abafu bali mu mbeera ki? (Omubuulizi 9:5, 10) Ekigendererwa kya Katonda eri ensi n’abantu kye kiruwa? (Isaaya 45:18) Era tusobodde okutegeera nti engeri esingayo obulungi ey’okutambuzaamu obulamu bwaffe kwe kussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli. (Isaaya 30:20, 21; 48:17, 18) N’olwekyo, tulina obulagirizi obwesigika obutuyamba okwaŋŋanga ebizibu by’obulamu era n’okugoberera enkola eneetusobozesa okufuna essanyu erya nnamaddala n’okumatira. N’ekisinga byonna, okuyiga Baibuli kutusobozesezza okutegeera engeri za Yakuwa ennungi era ne tufuna enkolagana ennungi naye. Mazima ddala, kiki ekiyinza okuba eky’omuwendo okusinga enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, eyeesigamiziddwa ku ‘kumanya okumukwatako’?

5 Waliwo n’ensonga endala lwaki okumanya okukwata ku Katonda kuyinza okugeraageranyizibwa ku “by’obugagga ebyakwekebwa.” Okufaananako n’eby’obugagga ebitali bimu, okumanya okukwata ku Katonda kwa kkekwa mu nsi eno. Ku bantu obuwumbi omukaaga abali mu nsi, abantu ng’obukadde mukaaga be basinza Yakuwa, oba omuntu omu ku buli bantu lukumi be bafunye ‘okumanya okukwata ku Katonda.’ Okusobola okutegeera nga bwe kiri eky’omuwendo okumanya amazima agali mu Kigambo kya Katonda, lowooza ku kibuuzo kimu kyokka ekyesigamiziddwa ku Baibuli: Kiki ekituuka ku bantu bwe bafa? Tumanyi okusinziira ku Byawandiikibwa nti emmeeme efa era nti abafu tebalina kye bamanyi. (Ezeekyeri 18:4) Kyokka, enjigiriza ey’obulimba egamba nti waliwo ekintu ekiri mu muntu ekiwonawo oluvannyuma lw’okufa era ne kyeyongera okubeerawo, ekkirizibwa mu madiini mangi nnyo ag’ensi. Enjigiriza eyo nkulu nnyo mu madiini ga Kristendomu. Era esangibwa ne mu ddiini y’Abahindu, Abashinto, Abasiraamu, Abasiiki, Abayudaaya, aba-Budda, aba-Jain, n’aba Tao. Kirowoozeeko: Abantu buwumbi na buwumbi bakkiririza mu njigiriza eno ey’obulimba!

6, 7. (a) Baani bokka abasobola okuzuula ‘okumanya okukwata ku Katonda’? (b) Kyakulabirako ki ekiraga nti Yakuwa atusobozesezza okutegeera amazima “ab’amagezi n’abakabakaba” bangi ge batategeera?

6 Lwaki abantu bangi tebannafuna ‘kumanya okukwata ku Katonda’? Lwa kuba abantu tebasobola kutegeera makulu gennyini agali mu Kigambo kya Katonda awatali buyambi bwe. Kijjukire nti okumanya kuno kirabo. Yakuwa akuwa abo bokka abeetegefu okunoonyereza mu Kigambo kye mu bwesimbu. Abalinga abo bayinza obutaba bagezi mu ‘magezi ag’ensi.’ (1 Abakkolinso 1:26) Abamu ku bo bayinza n’okuba nga batwalibwa okuba “abataayigirizibwa nnyo” okusinziira ku mitindo gy’ensi. (Ebikolwa 4:13) Kyokka, ekyo si kikulu. Yakuwa atuwa ‘okumanya okumukwatako’ ng’asinziira ku ngeri ennungi z’alaba mu mitima gyaffe.

7 Twala ekyokulabirako kino: Abanoonyereza bangi mu Kristendomu bawandiise bingi ku Baibuli. Ebitabo ng’ebyo biyinza okunnyonnyola ebyafaayo bya Baibuli, amakulu g’ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani, era n’ebirala. Wadde nga abanoonyereza abo bayize bingi ku Baibuli, basobodde okuzuula ‘okumanya okukwata ku Katonda’? Bategeera bulungi omutwe gwa Baibuli, kwe kugamba, okulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda ng’ayitira mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu? Bakimanyi nti Yakuwa Katonda si Tiriniti? Kyokka, ffe tutegeera ensonga ezo. Lwaki? Kubanga Yakuwa atusobozesezza okutegeera amazima “ab’amagezi n’abakabakaba” bangi ge batategeera. (Matayo 11:25) Nga Yakuwa awa emikisa mingi abo abalina enkolagana ennungi naye!

“Mukama Akuuma Abo Bonna Abamwagala”

8, 9. (a) Dawudi yayogera ku mukisa ki omulala abo abalina enkolagana ennungi ne Yakuwa gwe bafuna? (b) Lwaki Abakristaayo ab’amazima beetaaga obukuumi bwa Katonda?

8 Abo abalina enkolagana ennungi ne Katonda balina omukisa omulala​—balina obukuumi bwe. Omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, eyayita mu bizibu bingi yawandiika: “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, bonna abamukaabira n’amazima. Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; era anaawuliranga okukaaba kwabwe, anaabalokolanga. Mukama akuuma abo bonna abamwagala.” (Zabbuli 145:18-20) Yee, Yakuwa ali kumpi n’abo abamwagala era ayanguwa okubayamba.

9 Lwaki twetaaga obukuumi bwa Katonda? Ng’oggyeko okwolekagana n’ebizibu ebiri mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma,’ naddala Abakristaayo ab’amazima balumbibwa nnyo omulabe wa Katonda lukulwe, Setaani Omulyolyomi. (2 Timoseewo 3:1) Omulabe ono mwetegefu ‘okutulya.’ (1 Peetero 5:8) Setaani atuyigganya, atuppikiriza era n’atukema. Era anoonyereza obunafu bwe tulina bw’ayinza okusimbako olukongoolo. Alina ekigendererwa eky’okunafuya okukkiriza kwaffe atutte mu by’omwoyo. (Okubikkulirwa 12:12, 17) Okuva bwe kiri nti tulina omulabe bw’atyo ow’amaanyi ow’okwaŋŋanga, tekizzaamu amaanyi okumanya nti “Mukama akuuma abo bonna abamwagala”?

10. (a) Yakuwa akuuma atya abantu be? (b) Bukuumi ki obusinga obukulu, era lwaki?

10 Kati olwo Yakuwa akuuma atya abantu be? Okuba nti asuubiza okutukuuma, ekyo tekitegeeza nti tetujja kufuna bizibu mu nteekateeka eno; era tekitegeeza nti alina okutukolera eby’amagero. Kyokka, Yakuwa akuuma abantu be ng’ekibiina. Ka kibeere ki, Yakuwa tayinza kukkiriza Setaani okusaanyawo abasinza be ab’amazima okuva ku nsi! (2 Peetero 2:9) N’okusinga byonna, Yakuwa atukuuma mu by’omwoyo. Atuwa byonna bye twetaaga okusobola okugumiikiriza ebigezo era n’okukuuma enkolagana yaffe ennungi naye. Mu nkomerero, obukuumi mu by’omwoyo bwe businga obulala bwonna. Lwaki? Kasita tubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, tewali kintu kyonna ekiyinza okutuleetako akabi ak’olubeerera, ka kubeere kufa.​—Matayo 10:28.

11. Yakuwa akoze nteekateeka ki okukuuma abantu be mu by’omwoyo?

11 Yakuwa akoze enteekateeka nyingi okukuuma mu by’omwoyo abo abalina enkolagana ennungi naye. Okuyitira mu Kigambo kye Baibuli, atuwa amagezi agatusobozesa okwaŋŋanga ebigezo ebitali bimu. (Yakobo 1:2-5) Okussa mu nkola amagezi ago agali mu Byawandiikibwa nakyo kya bukuumi. Okugatta ku ekyo, Yakuwa awa ‘omwoyo omutukuvu’ abo abamusaba. (Lukka 11:13) Omwoyo ogwo ge maanyi agasingayo mu butonde bwonna. N’olwekyo, guyinza okutusobozesa okwaŋŋanga ekigezo kyonna oba okukemebwa kwonna kwe tuyinza okwolekagana nakwo. Okuyitira mu Kristo, Yakuwa atuwa ‘ebirabo mu bantu.’ (Abaefeso 4:8) Abasajja bano abalina ebisaanyizo mu by’omwoyo bafuba nnyo okukoppa Yakuwa nga bayamba basinza bannaabwe, oba nga babalaga ekisa.​—Yakobo 5:14, 15.

12, 13. (a) Nteekateeka ki Yakuwa z’ayitiramu okutuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu? (b) Owulira otya okuba nti Yakuwa atuteereddewo enteekateeka ez’eby’omwoyo okutuyamba?

12 Yakuwa atuwadde n’ekirala okutukuuma: emmere ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera ekituufu. (Matayo 24:45) Okuyitira mu bitabo ebikubibwa, nga mw’otwalidde ne magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, awamu n’enkuŋŋaana ennene n’entono, Yakuwa atuwa emmere gye twetaaga era mu kiseera we tugyetaagira ddala. Olina ky’ojjukira kye wawulira mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo ennene oba entono ekyakukwatako era ne kikuzzaamu amaanyi oba ekyakubudaabuda? Olina ekitundu kye wali osomye mu magazini ezoogeddwako waggulu n’owulira nti kikukwatako?

13 Ekimu ku bintu Setaani by’asinga okukozesa kwe kumalamu amaanyi, era naffe tusobola okuggwamu amaanyi. Akimanyi bulungi nti bwe tumala ekiseera nga tuweddemu amaanyi kitunnafuya, era ne kiba nga kyangu nnyo okugwa mu mitawaana. (Engero 24:10) Okuva bwe kiri nti Setaani agezaako okukozesa embeera ezitumalamu amaanyi okutunafuya, twetaaga obuyambi. Emirundi mingi magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! zibeeramu ebitundu ebituyamba okwaŋŋanga embeera ezimalamu amaanyi. Mwannyinaffe omu yayogera bw’ati ku kitundu ekimu: “Nsoma ekitundu ekyo kumpi buli lunaku, era n’okutuusa kati amaziga gajja. Magazini ngiteeka okumpi n’ekitanda kyange nsobole okugisoma amangu ddala buli lwe mpulira nga mpeddemu amaanyi. Okuyitira mu bitundu nga bino, ndabira ddala obukuumi bwa Yakuwa.” * Tetuli basanyufu nti Yakuwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera ekituufu? Jjukira nti enteekateeka z’atukolera mu by’omwoyo kabonero akalaga nti atuli kumpi era nti atufaako.

Okutuukirira Oyo “Awulira Okusaba”

14, 15. (a) Mukisa ki Yakuwa gw’awa abo abalina enkolagana ennungi naye? (b) Lwaki okutuukirira Yakuwa mu kusaba nkizo y’amaanyi nnyo?

14 Waali okyetegerezza nti abantu bwe beeyongera okufuna obuyinza, kitera okuzibuwalira abo abali wansi waabwe okubatuukirira? Kyokka, kiri kitya eri Yakuwa? Wa kitiibwa nnyo n’aba nti tatuukirikika? Si bwe kiri! Okusaba gwe mukisa omulala Yakuwa gw’awa abo abalina enkolagana ennungi naye. Okuba nti tusobola okutuukirira oyo “Awulira okusaba,” mazima ddala nkizo y’amaanyi nnyo. (Zabbuli 65:2) Lwaki?

15 Okuwaayo ekyokulabirako: Maneja owa kampuni aba n’emirimu mingi nnyo egy’okukolako. Alondawo emirimu ye kennyini gy’ajja okwekolerako era n’egyo gy’anaawa abalala okumuyambako. Mu ngeri y’emu, Omufuzi w’Obutonde Bwonna asobola okusalawo nsonga ki ye kennyini z’ajja okwekolerako n’ezo z’anaawa abalala okumuyambako. Lowooza ku ebyo Yakuwa by’awadde Omwana we omwagalwa, Yesu okukolako. Omwana aweereddwa “obuyinza okusala omusango.” (Yokaana 5:27) Bamalayika “baateekebwa wansi we.” (1 Peetero 3:22) Yakuwa awadde Yesu omwoyo omutukuvu asobole okugukozesa okukulembera abayigirizwa be abali ku nsi. (Yokaana 15:26; 16:7) N’olwekyo, Yesu yali asobola okugamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” (Matayo 28:18) Kyokka, bwe kituuka ku kusaba, Yakuwa asazeewo ye kennyini okwekwatiramu. Eyo ye nsonga lwaki Baibuli etukubiriza okusaba Yakuwa yekka, nga tuyitira mu linnya lya Yesu.​—Zabbuli 69:13; Yokaana 14:6, 13.

16. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa awuliriza okusaba kwaffe?

16 Ddala Yakuwa awuliriza okusaba kwaffe? Singa yali takuwuliriza, teyanditukubirizza ‘okunyiikiriranga okusaba’ oba okumutikka ebizibu byaffe n’ebitweraliikiriza. (Abaruumi 12:12; Zabbuli 55:22; 1 Peetero 5:7) Abaweereza ba Yakuwa ab’edda baalina obukakafu nti awuliriza okusaba. (1 Yokaana 5:14) N’olw’ensonga eyo, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “[Yakuwa] anaawuliranga eddoboozi lyange.” (Zabbuli 55:17) Mu ngeri y’emu, naffe tusobola okubeera abakakafu nti Yakuwa ali kumpi naffe era nga mwetegefu okuwuliriza buli ekitweraliikiriza.

Yakuwa Asasula Abaweereza Be Abeesigwa

17, 18. (a) Yakuwa atwala atya obuweereza bw’ebitonde bye ebirina amagezi? (b) Nnyonnyola engeri Engero 19:17 bwe walaga nti Yakuwa alaba ebikolwa byaffe eby’ekisa.

17 Ebyo abantu bye bakola oba bye bagaana okukola, tebirina kye bikola ku kifo kya Yakuwa ng’Omufuzi w’Obutonde bwonna. Wadde kiri kityo, Yakuwa, Katonda asiima abalala bye bakola. Atwala obuweereza bw’ebitonde bye ebirina amagezi nga bwa muwendo nnyo. (Zabbuli 147:11) Guno gwe mukisa omulala abo abalina enkolagana ennungi ne Yakuwa gwe bafuna: Asasula abaweereza be.​—Abaebbulaniya 11:6.

18 Baibuli ekiraga lwatu nti Yakuwa atwala abasinza be bye bakola nga bya muwendo. Ng’ekyokulabirako, tusoma tuti: “Asaasira omwavu [“ali mu bwetaavu,” NW] awola Mukama, era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.” (Engero 19:17) Engeri Yakuwa gy’afaayo ku abo abali mu bwetaavu yeeyolekera mu Mateeka ga Musa. (Eby’Abaleevi 14:21; 19:15) Yakuwa awulira atya singa tumukoppa mu kulaga ekisa nga tukolagana n’abo abali mu bwetaavu? Bwe tuwa oyo ali mu bwetaavu, ne tuba nga tetulina kye tumusuubira kutuddizza, Yakuwa akitwala nga abawoze ye. Yakuwa asuubiza okusasula ebbanja eryo ng’atuwa emikisa. (Engero 10:22; Matayo 6:3, 4; Lukka 14:12-14) Yee, bwe tufaayo ku musinza munnaffe ali mu bwetaavu, kisanyusa omutima gwa Yakuwa. Nga kizzaamu amaanyi okumanya nti Kitaffe ow’omu ggulu alaba ebikolwa byaffe eby’ekisa.​—Matayo 5:7.

19. (a) Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa asiima ekyo kye tukola mu kubuulira era n’okufuula abayigirizwa? (b) Yakuwa asasula atya abo abawagira Obwakabaka bwe?

19 N’okusingira ddala, Yakuwa asiima ebyo bye tukola ku lw’Obwakabaka bwe. Bwe tufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, kiba kya mu butonde okwagala okukozesa ebiseera byaffe, amaanyi n’ebyo bye tulina okusobola okwenyigira mu kubuulira Obwakabaka era n’okufuula abayigirizwa. (Matayo 28:19, 20) Emirundi egimu tuyinza okulowooza nti tukola kitono nnyo. Omutima gwaffe ogutatuukiridde guyinza n’okutuleetera okubuusabuusa obanga Yakuwa asiima okufuba kwaffe. (1 Yokaana 3:19, 20) Naye, Yakuwa asiima buli kye tumuwa ekiva mu mutima ogukubirizibwa okwagala, ka kibeere kitono kitya. (Makko 12:41-44) Baibuli etukakasa: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.” (Abaebbulaniya 6:10) Mazima ddala, Yakuwa ajjukira era n’asasula abaweereza be olw’okuwagira Obwakabaka bwe kaba babe nga bakoze kitono kitya. Ng’oggyeko emikisa mu by’omwoyo gye tulina kati, tusobola okwesunga essanyu mu bulamu mu nsi empya ejja, Yakuwa mw’ajja okwanjululiza engalo ze akole ku byetaago by’abo abalina enkolagana ennungi naye.​—Zabbuli 145:16; 2 Peetero 3:13.

20. Mu mwaka gwonna ogwa 2003, tusobola tutya okulowooza ku bigambo ebiri mu kyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka, era biki ebinaavaamu?

20 Mu mwaka gwonna ogwa 2003, ka twebuuze obanga tufuba okweyongera okubeera n’enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu. Bwe tunaafuba okukola bwe tutyo, tuyinza okuba abakakafu nti ajja kukola nga bwe yasuubiza, kubanga ‘Katonda tayinza kulimba.’ (Tito 1:2) Bwe tunaafuna enkolagana ennungi naye, ajja kubeera mukwano gwaffe. (Yakobo 4:8, NW) Biki ebinaavaamu? Tujja kufuna emikisa mingi nnyo kati era tube n’essuubi ery’okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa emirembe n’emirembe!

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 13 Ayogera ku kitundu “Yakuwa Asinga Amaanyi Emitima Gyaffe,” ekiri mu Watchtower aka Maayi 1, 2000, empapula 28-31.

Ojjukira?

• Kirabo ki Yakuwa ky’awa abo abalina enkolagana ennungi naye?

• Nteekateeka ki Yakuwa z’akoze okusobola okukuuma abantu be mu by’omwoyo?

• Lwaki okutuukirira Yakuwa mu kusaba nkizo y’amaanyi nnyo?

• Baibuli eraga etya nti Yakuwa asiima obuweereza bw’ebitonde bye ebirina amagezi?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Yakuwa atusobozesezza okumanya amazima

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16, 17]

Yakuwa atukuuma mu by’omwoyo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Yakuwa atuli kumpi era mwetegefu okuwulira okusaba kwaffe