Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ojja Kuganyulwa Nnyo bw’Onoomanya Yakuwa

Ojja Kuganyulwa Nnyo bw’Onoomanya Yakuwa

Ojja Kuganyulwa Nnyo bw’Onoomanya Yakuwa

KYANDIBA nti waliwo ekintu ekikulu ky’osubwa mu bulamu? Bwe kiba nti Katonda omumanyiiko kitono nnyo, awatali kubuusabuusa olina ekintu ekikulu ennyo ky’osubwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Lwa kuba nti abantu bangi bakizudde nti okumanya Katonda kiviirako omuntu okufuna emiganyulo mingi nnyo mu bulamu. Emiganyulo egyo omuntu atandikirawo okugifuna, era yeeyongera okugifuna ne mu biseera eby’omu maaso.

Yakuwa Katonda, eyawandiisa Bayibuli, ayagala tumumanye. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.” Katonda akiraga bulungi nti bwe tumumanya ffe tuganyulwa. Agamba nti: “Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa.” Bwe tumanya Yakuwa Katonda asingayo okuba waggulu, tuganyulwa tutya?​—Zabbuli 83:18; Isaaya 48:17.

Omuganyulo ogumu guli nti tufuna obuyambi ku ngeri gye tuyinza okwaŋŋangamu ebizibu bye tufuna, tuba n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso, era tuba n’emirembe mu mutima. Ate era bwe tumanya Katonda, tufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebisinga obukulu mu bulamu. Abantu bangi beebuuza ebibuuzo ebyo. Bibuuzo ki?

Obulamu Bwo Bulina Ekigendererwa?

Wadde ng’ensi ekulaakulanye nnyo mu bya tekinologiya, abantu bangi bakyebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Lwaki weetuli? Wa gye tulaga? Obulamu bulina kigendererwa ki?’ Bw’otafuna byakuddamu byesigika mu bibuuzo ng’ebyo, obulamu bwo tebuba na makulu. Abantu bangi bawulira bwe batyo? Mu 1997, abantu bangi baabuuzibwa mu Bugirimaani obanga baali bawulira nti obulamu bulina amakulu. Kimu kya kubiri ku bo baagamba nti obulamu tebulina makulu. Oboolyawo bwe kityo bwe kiri ne mu kitundu gy’obeera.

Bwe tuba nga tuwulira nti obulamu tebulina makulu, obulamu bwaffe tebuba na kigendererwa era kiba kizibu okweteerawo ebiruubirirwa. Abamu balowooza nti okuba n’omulimu omulungi oba okuba n’eby’obugagga ebingi, kye kiyinza okubasobozesa okuba n’obulamu obw’amakulu. Kyokka ne bwe bafuna ebintu ebyo, basigala si basanyufu. Okubulwa essanyu mu bulamu kiviirako abamu okuwulira nti tebakyayagala kuba balamu. Magazini emu yayogera ku mukyala omu eyali ow’emyaka 31. Wadde ng’omukyala oyo yakulira mu maka magagga, yalina ekiwuubaalo era yali awulira nti obulamu tebulina makulu. N’ekyavaamu, yetta.

Abamu balowooza nti ssaayansi asobola okutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo byonna bye twebuuza mu bulamu. Magazini emu ey’omu Bugirimaani egamba nti: “Wadde nga ssaayansi asobola okutuyamba mu bintu bingi, tasobola kutuwa bulagirizi obukwata ku by’omwoyo oba obukwata ku mpisa. Enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa wabula nti byajjawo mu butanwa, n’ebintu ebirala ebinnyonnyolwa mu ssaayansi tebituyamba kuba basanyufu, wadde okutuwa obukuumi.” Ssaayansi atuyambye okumanya ebintu bingi ebikwata ku bulamu, naye tasobola kutubuulira nsonga lwaki weetuli na wa gye tulaga. Ssaayansi yekka tayinza kutuyamba kumanya kigendererwa kya bulamu. Olupapula olumu mu Bugirimaani lugamba nti ekivuddemu kiri nti “abantu beeyongedde okuwulira nti beetaaga obulagirizi.”

Omutonzi waffe yekka y’asobola okutuwa obulagirizi bwe twetaaga. Olw’okuba ye yatutonda, amanyi ensonga lwaki weetuli. Bayibuli egamba nti Yakuwa yatonda abantu babeere ku nsi era bagirabirire. Katonda ayagala abantu bakoppe engeri ze, gamba ng’obwenkanya, amagezi, n’okwagala. Bwe tutegeera ensonga lwaki Katonda yatutonda, kituyamba okumanya lwaki weetuli.​—Olubereberye 1:26-28.

Kiki ky’Osaanidde Okukola?

Watya singa tofunanga bya kuddamu bimatiza mu bibuuzo nga bino: ‘Lwaki weetuli? Wa gye tulaga? Obulamu bulina kigendererwa ki?’ Bayibuli ekukubiriza okumanya obulungi Yakuwa Katonda. Mu butuufu, Yesu yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” Ate era okubirizibwa okwoleka okwagala era n’okukyoleka mu bulamu bwo nti oyagala okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Ekyo kijja kukuyamba okuba n’ekigendererwa mu bulamu, era n’okuba n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Ebibuuzo ebikulu bye walina ebikwata ku bulamu bijja kuba biddiddwamu.​—Yokaana 17:3; Omubuulizi 12:13.

Ekyo kiyinza kukuyamba kitya? Ka tulabe engeri gye kyayambamu omusajja ayitibwa Hans. * Hans yali akkiriza nti Katonda gy’ali naye ng’ekyo takitwala ng’ekikulu. Yali akozesa ebiragalalagala, nga yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, yali mumenyi w’amateeka, era ng’anyumirwa nnyo okuvuga ddigi. Naye agamba nti teyalina ssanyu lya nnamaddala. Agamba nti bwe yali nga wa myaka 25, yasalawo okusoma Bayibuli n’obwegendereza asobole okumanya Katonda. Hans bwe yeeyongera okumanya Katonda era n’amanya ekigendererwa ky’obulamu, yakyusa enneeyisa ye era n’abatizibwa n’afuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Kati amaze emyaka egisukka mu kkumi ng’akola omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu Bayibuli ekiseera kyonna. Hans agamba nti: “Okuweereza Yakuwa kye kisobozesa omuntu okuba n’essanyu erya nnamaddala. Tewali kiyinza kugeraageranyizibwa nakyo. Okumanya Yakuwa kye kinsobozesezza okuba n’obulamu obw’amakulu.”

Kya lwatu nti ekibuuzo ekikwata ku kigendererwa ky’obulamu si kye kyokka abantu kye beebuuza. Olw’okuba embeera mu nsi yeeyongedde okwonooneka, abantu bangi baagala okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekirala ekikulu.

Lwaki Ebintu Ebibi bibaawo?

Abantu bwe babonaabona, emirundi mingi beebuuza nti: Lwaki tubonaabona? Bw’omanya ensonga lwaki ebintu ebibi bibaawo, kikubeerera kyangu okuguma ng’okufunye ekizibu eky’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mukyala ayitibwa Bruni.

Bruni agamba nti: “Emyaka mitono emabega nnafiirwa omwana wange. Olw’okuba nzikiririza mu Katonda, nnagenda eri omukulu w’eddiini omu okumbudaabuda. Omukulu w’eddiini oyo yaŋŋamba nti Katonda yali atutte Susanne mu ggulu, era nti yali afuuse malayika. Ekyo kyampisa bubi nnyo era nnawulira nga Katonda mmukyaye. Okumala emyaka egiwera, omukyala oyo yasigala awulira obulumi. Agamba nti: “Oluvannyuma omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yandaga mu Bayibuli nti saalina nsonga kwe nsinziira kukyawa Katonda. Yakuwa yali tatutte Susanne mu ggulu era Susanne yali tafuuse malayika. Obulwadde obwamutta bwava ku butali butuukirivu. Susanne alinga eyeebase era alindirira Katonda okumuzuukiza. Ate era nnakitegeera nti Katonda yatonda abantu okubeera ku nsi emirembe gyonna nga basanyufu, era nti mu kiseera ekitali kya wala, ekyo kijja kutuukirira. Bwe nnatandika okumanya Yakuwa nneeyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye, era obulumi bwe nnalina bwatandika okukendeera.”​—Zabbuli 37:29; Ebikolwa 24:15; Abaruumi 5:12.

Abantu bukadde na bukadde babonaabona olw’entalo, enjala, obutyabaga, n’ebizibu ebirala. Bruni yafuna obuweerero bwe yasoma mu Bayibuli nti Yakuwa si y’atuleetera ebizibu, tayagala bantu baboneebone, era nti mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuggyawo ebintu byonna ebibi. Ebizibu byeyongedde nnyo mu nsi era ekyo kiraga nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero.” Ffenna twagala nnyo okulaba ng’ensi eweddemu ebizibu, era ekyo kinaatera okubaawo.​—2 Timoseewo 3:1-5; Matayo 24:7, 8.

Engeri gy’Oyinza Okumanya Katonda

Hans ne Bruni baali balina kye bamanyi ku Katonda. Baali bamukkiririzaamu naye nga tebamumanyidde ddala bulungi. Bwe baamanya obulungi Yakuwa, baafuna eby’okuddamu ebyesigika mu bibuuzo bye baali beebuuza. Ekyo kyabasobozesa okufuna emirembe mu mutima, n’okuba n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Okufaananako Bruni ne Hans, Abajulirwa ba Yakuwa bangi baafuna essanyu erya nnamaddala oluvannyuma lw’okumanya Katonda.

Okusobola okumanya Katonda, okusookera ddala, olina okusoma Bayibuli. Bayibuli etubuulira ebimukwatako era n’ebyo by’ayagala tukole. Ekyo abantu abaaliwo emyaka nga nkumi bbiri emabega kye baakola. Munnabyafaayo era omusawo ayitibwa Lukka yagamba nti abantu b’omu kibiina ky’e Beroya, ekyali kisangibwa mu Buyonaani, “bakkiriza mangu ekigambo [okuva eri Pawulo ne Siira], era buli lunaku beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ebyo bye baawulira byali bituufu.”​—Ebikolwa 17:10, 11.

Ate era Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakuŋŋaananga wamu. (Ebikolwa 2:41, 42, 46; 1 Abakkolinso 1:1, 2; Abaggalatiya 1:1, 2; 2 Abassessalonika 1:1) Bwe kityo bwe kiri ne leero. Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ziyamba abantu okufuuka mikwano gya Yakuwa, era n’okumuweereza nga basanyufu. Ate era waliwo omuganyulo omulala oguli mu kubaawo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okukoppa Yakuwa. Bw’obaawo mu nkuŋŋaana zaabwe, naawe kikuyamba okukoppa Yakuwa n’okweyongera okumumanya.​—Abebbulaniya 10:24, 25.

Kyo kituufu nti kyetaagisa okufuba okusobola okumanya Yakuwa. Naye bwe kityo bwe kiri ne ku bintu ebirala bingi bye tuba twagala okufuna mu bulamu. Lowooza ku ekyo bannabyamizannyo abamu kye bakola okusobola okuwangula mu mpaka ezeetabwamu amawanga agatali gamu. Munnabyamizannyo omu eyawangulako omudaali gwa zzaabu mu mpaka za olimpikisi yagamba nti: “Empaka ezo oba olina okutandika okuzeetegekera ng’ebulayo emyaka kkumi zibeewo. Omala emyaka mingi ng’otendekebwa, era buli lunaku oba olina okuba ng’ozirowoozaako.” Bamala emyaka mingi nga beetegekera omuzannyo oluusi oguba gugenda okumala eddakiika nga kkumi zokka. Kyokka, okumanya Yakuwa kirimu emiganyulo mingi nnyo!

Enkolagana Yo ne Yakuwa Ejja Kugenda Yeeyongera Okunywera

Ffenna twagala okuba n’obulamu obw’amakulu. N’olwekyo bw’oba ng’owulira nti obulamu bwo si bwa makulu oba ng’oyagala okumanya lwaki ebintu ebibi bibaawo, fuba okumanya Katonda. Bw’onoofuba okumumanya, ojja kufuna essanyu erya nnamaddala era ly’ojja okuba nalyo emirembe gyonna.

Tetulirekera awo kuyiga bikwata ku Yakuwa. N’abo abamaze emyaka mingi nga bamuweereza bakyayiga ebintu ebipya ebimukwatako. Ebintu bye tuyiga ebikwata ku Yakuwa bituleetera essanyu era bituyamba okweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Mazima ddala tukkiriziganya n’omutume Pawulo eyagamba nti: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nzibu okutegeerera ddala mu bujjuvu, n’amakubo ge gonna tetusobola kugategeera ne tugamalayo. “Ani asobodde okutegeera Yakuwa by’alowooza, oba ani amuwa amagezi?’”​—Abaruumi 11:33, 34.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 12 Amannya gakyusiddwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu]

Abantu bangi bakyebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Lwaki weetuli? Wa gye tulaga? Obulamu bulina kigendererwa ki?’

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu]

“Bwe nnatandika okumanya Yakuwa, nneeyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye”

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu]

“Okuweereza Yakuwa kye kisobozesa omuntu okuba n’essanyu erya nnamaddala. Tewali kiyinza kugeraageranyizibwa nakyo. Okumanya Yakuwa kye kinsobozesezza okuba n’obulamu obw’amakulu”