Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buli Kiseera Weetaaga Etteeka Okuva mu Bayibuli Okusobola Okumanya eky’Okukola?

Buli Kiseera Weetaaga Etteeka Okuva mu Bayibuli Okusobola Okumanya eky’Okukola?

Buli Kiseera Weetaaga Etteeka Okuva mu Bayibuli Okusobola Okumanya eky’Okukola?

BWE wali okyali muto, bazadde bo bateekwa okuba nga baakuteerawo amateeka mangi. Bwe wakula, wakiraba nti baakuteerawo amateeka ago olw’okuba baali bakwagala, era nga baagala okukukuuma. Wadde nga kati okuze era nga tokyali wansi wa buyinza bwa bazadde bo, oboolyawo okyakolera ku bintu ebimu bazadde bo bye baakuyigiriza.

Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu, atuwadde amateeka agawerako mu Kigambo kye Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, atugaana okusinza ebifaananyi, okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, okwenda, n’okubba. (Okuva 20:1-17; Ebikolwa 15:28, 29) Bwe tweyongera okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, tukiraba nti yatuwa amateeka ago olw’okuba atwagala, era nti amateeka ago gatukuuma.​—Abeefeso 4:15; Isaaya 48:17, 18; 54:13.

Naye Yakuwa tatuwa tteeka ku buli kintu. Abamu balowooza nti bwe watabaawo tteeka mu Bayibuli likwata ku kintu ekimu, baba ba ddembe okukola kyonna kye baagala. Bagamba nti singa ddala kyali kyetaagisa, Katonda yandibadde atuwa etteeka ku nsonga eno, oba ku kintu kino.

Abo abalina endowooza ng’eyo batera okusalawo mu ngeri etali ya magezi, n’oluvannyuma ne bejjusa. Tebakimanyi nti Bayibuli esobola okutuyamba okumanya endowooza Katonda gy’aba nayo ku kintu ne bwe waba nga tewali tteeka likyogerako. Bwe tusoma Bayibuli, tumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ebitali bimu, ekyo kitendeka omuntu waffe ow’omunda, n’atuyamba okusalawo mu ngeri ennungi. Bwe tusalawo obulungi tusanyusa Yakuwa, era tufuna emiganyulo mingi.​—Abeefeso 5:1.

Ebyokulabirako Okuva mu Bayibuli

Bayibuli etubuulira ku baweereza ba Yakuwa bangi abaasalawo obulungi era ne bamusanyusa, wadde nga tebaalina mateeka gabalagira kya kukola. Lowooza ku Yusufu. Mu kiseera muka Potifaali we yamugambira okwegatta naye, tewaaliwo tteeka kuva eri Yakuwa eryali liraga nti ekyo omukazi oyo kye yali amugamba kyali kikyamu. Wadde nga tewaaliwo tteeka lyogera ku kintu ekyo butereevu, Yusufu yali akimanyi nti kyali kikyamu okwegatta n’omukazi oyo era nti kyandibadde kinyiiza Yakuwa. (Olubereberye 39:9) Kirabika Yusufu yali akimanyi nti Yakuwa yagamba Adamu ne Kaawa nti abafumbo buli omu alina okuba omwesigwa eri munne.​—Olubereberye 2:24.

Ate lowooza ku kyokulabirako ekirala. Ebikolwa 16:3, walaga nti Pawulo bwe yali tannatwala Timoseewo ku lugendo lwe olw’obuminsani, yasooka kumukomola. Kyokka mu lunyiriri 4 tusoma nti oluvannyuma Pawulo ne Timoseewo baagenda mu bitundu ebitali bimu nga bategeeza ab’oluganda ebyo “ebyali bisaliddwawo abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi.” Mu ebyo ebyali bisaliddwawo, mwe mwali n’ekyo ekyali kiraga nti Abakristaayo kyali tekibeetaagisa kukomolebwa! (Ebikolwa 15:5, 6, 28, 29) Lwaki Pawulo yakiraba nti kyali kyetaagisa okukomola Timoseewo? “Kubanga Abayudaaya b’omu bitundu ebyo bonna baali bamanyi nti kitaawe [wa Timoseewo] yali Muyonaani.” Pawulo yali tayagala kwesittaza balala. Yali tayagala bantu baleme kuwuliriza mawulire malungi olw’ebyo Abakristaayo bye baali bakola​—2 Abakkolinso 4:2; 1 Abakkolinso 9:19-23.

Waliwo n’ebintu ebirala ebifaananako bwe bityo Pawulo ne Timoseewo bye baasalawo. Bwe tusoma ebyawandiikibwa gamba nga Abaruumi 14:15, 20, 21 ne 1 Abakkolinso 8:9-13; 10:23-33, tukiraba nti Pawulo yali mwetegefu obutakola bintu ebimu, wadde ng’ebintu ebyo tebyali bikyamu, aleme okwesittaza balala oba kukifuula kizibu eri abalala okuweereza Yakuwa. Ate Pawulo yayogera bw’ati ku Timoseewo: “Sirina mulala alina ndowooza ng’eyiye ajja okubafaako mu bwesimbu. Abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe so si bya Yesu Kristo. Naye mumanyi engeri gye yalagamu nti agwanidde; okufaananako omwana ne kitaawe, yakolera wamu nange okubunyisa amawulire amalungi.” (Abafiripi 2:20-22) Nga Pawulo ne Timoseewo baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi! Bwe wataaliwo tteeka lyogera ku kintu ekimu, tebaakola ekyo kye baali baagala, wabula baasalawo mu ngeri eyali eraga nti bafaayo ku nneewulira y’abalala.

Ate lowooza ku Yesu eyatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi. Yagamba nti tetulina kugondera bugondezi mateeka ga Yakuwa. Tulina okulowooza ku nsonga lwaki Yakuwa yagatuwa. Ekyo kituyamba okusalawo ku bintu ebitaliiko tteeka libyogerako butereevu. (Matayo 5:21, 22, 27, 28) Yesu, Pawulo, Timoseewo, ne Yusufu, tebaakitwala nti baali ba ddembe okukola kyonna kye baali baagala, kasita kyabanga nti tewaliiwo tteeka lyogera ku kintu ekimu. Baali bakimanyi nti amateeka agasinga obukulu kwe kwagala Katonda n’abantu, era baasalangawo mu ngeri eyali eraga nti bagondera amateeka ago.​—Matayo 22:36-40.

Tuyinza Tutya Okusalawo Obulungi Leero?

Ebiwandiiko ebitali bimu gamba ng’ebyo ebikwata ku mateeka oba endagaano bibaamu kalonda alaga omuntu ky’alina okukola ne ky’atalina kukola. Naye Bayibuli bw’etyo si bw’eri. Yakuwa asanyuka nnyo bwe tufuba okukola ebyo by’ayagala, ne bwe waba nga tewaliiwo tteeka likwata ku ekyo kye tuba twagala okukola. Mu butuufu, ne bwe tutaba na tteeka kuva eri Yakuwa tusobola ‘okutegeera ekyo Yakuwa ky’ayagala.’ (Abeefeso 5:17; Abaruumi 12:2) Lwaki ekyo kisanyusa Yakuwa? Kimusanyusa olw’okuba kiraga nti twagala nnyo okukola ebimusanyusa. Kiraga nti tusiima okwagala kw’atulaga, era nti naffe twagala okulaga bantu bannaffe okwagala ng’okwo. (Engero 23:15; 27:11) Ate era bwe tukozesa Bayibuli okumanya ekyo Yakuwa ky’ayagala tukole, kituyamba okweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye, era emirundi mingi kituyamba okuba abalamu obulungi.

Kati ka tulabeyo ebyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okusalawo obulungi.

Eby’Okwesanyusaamu Bye Tulondawo

Lowooza ku muvubuka omu ayagala okugula ennyimba z’omuyimbi omu. Anyumirwa ekidongo ky’ennyimba ezo, naye akizuula nti ebigambo ebiri mu nnyimba ezo bitumbula ebikolwa eby’obugwenyufu, era ebimu bya buwemu. Ate era akimanyi nti ennyimba z’omuyimbi oyo nnyingi zitumbula ebikolwa eby’obukambwe. Olw’okuba omuvubuka oyo ayagala Yakuwa, alowooza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu ennyimba ng’ezo. Ayinza atya okumanya ekyo Yakuwa ky’ayagala?

Mu bbaluwa gye yawandiikira Abaggalatiya, omutume Pawulo yayogera ku bikolwa eby’omubiri, n’ezimu ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo. Engeri ezo oyinza okuba ng’ozimanyi, era ze zino: Okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, n’okwefuga. Ate byo ebikolwa eby’omubiri? Pawulo yagamba nti: “Ebikolwa eby’omubiri bya lwatu era bye bino: ebikolwa eby’obugwenyufu, obutali bulongoofu, obugwagwa, okusinza ebifaananyi, eby’obusamize, empalana, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawulamu, okwekutulamu obubiina, ensaalwa, obutamiivu, ebinyumu, n’ebiringa ebyo. Mbalabula ku bintu bino nga bwe nnasooka okubalabula, nti abakola ebintu ng’ebyo tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.”​—Abaggalatiya 5:19-23.

Weetegereze nti Pawulo bwe yamenya ebikolwa eby’omubiri, yamaliriza agamba nti, ‘n’ebiri ng’ebyo.’ Ekyo kitegeeza nti ebikolwa eby’omubiri teyabimalaayo byonna. Omuntu yali tayinza kugamba nti, ‘Okusinziira ku Byawandiikibwa nsobola okwenyigira mu kikolwa kyonna eky’omubiri Pawulo ky’ataayogerako.’ Mu kifo ky’ekyo, omusomi yali asobola okukozesa obusobozi bwe obw’okutegeera, okumanya ebintu ebitali mu lukalala olwo, naye nga nabyo ‘biri ng’ebyo.’ Abantu abeenyigira mu bintu ebitoogerwako mu kyawandiikibwa ekyo, naye nga nabyo ‘biri ng’ebyo,’ tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.

N’olwekyo tusaanidde okulowooza ku bintu ebitasanyusa Yakuwa. Ekyo kizibu? Lowooza ku kyokulabirako kino! Watya singa omusawo akugamba okulya ebibala bingi n’enva endiirwa, era n’okwewala okulya ebintu nga ayisikuliimu, swiiti, bisikwiti, ebindaazi, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Kikubeerera kizibu okumanya obanga osaanidde okulya keeki oba nedda? Kati ddamu olowooze ku ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo, era n’ebikolwa eby’omubiri. Ennyimba ezoogeddwako waggulu zigwa mu kiti ki? Awatali kubuusabuusa tezooleka kwagala, obulungi, okwefuga, oba engeri endala ezoogerwako mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Ow’oluganda teyeetaaga tteeka liraga nti Yakuwa tayagala nnyimba ng’ezo. Omusingi ogwo gwe gumu gukwata ne ku bintu bye tusoma, vidiyo ne progulaamu za ttivi ze tulaba, emizannyo gya kompyuta gye tuzannya, n’ebintu ebirala.

Tuyinza Tutya Okusalawo Obulungi ku Bikwata ku Nnyambala

Bayibuli era erimu emisingi egikwata ku nnyambala n’okwekolako. Emisingi egyo giyamba Omukristaayo okwambala mu ngeri esaana. Bwe tuba nga tusalawo kye tunaayambala oba engeri gye tuneekolako, kituwa akakisa okulaga nti twagala Kitaffe ow’omu ggulu. Wadde nga Yakuwa tatuwadde mateeka gakwata ku nnyambala n’okwekolako, afaayo ku ngeri gye twambalamu n’engeri gye twekolako. Abantu bambala engoye ez’enjawulo mu bitundu eby’enjawulo, era emisono gy’engoye gikyuka buli luvannyuma lwa kiseera. Kyokka Katonda yatuwa emisingi egituwa obulagirizi ekiseera kyonna, era mu bitundu byonna.

Ng’ekyokulabirako, 1 Timoseewo 2:9, 10 wagamba nti: “Mu ngeri y’emu, obulungi bw’abakazi bulemenga kubeera mu misono gya nviiri oba okwambala zzaabu oba luulu oba engoye ez’ebbeeyi, wabula bubeerenga mu kwambala ebyambalo ebisaana, ebiweesa ekitiibwa, era ebiraga nti beegendereza. Beekolengako mu ngeri esaanira abakazi abagamba nti bawa Katonda ekitiibwa. Bakolenga ebikolwa ebirungi.” N’olwekyo, Abakristaayo basaanidde okulowooza ku ekyo abantu mu kitundu gye babeera kye batwala nti kye kisaana. Ekyo kikulu nnyo kubanga engeri gye twambalamu eyinza okuleetera abantu okukyusa endowooza gye balina ku Bayibuli. (2 Abakkolinso 6:3) Olw’okuba twagala okussaawo ekyokulabirako ekirungi, tetujja kwambala ngoye ze tuwulira nti ze twagala, kyokka nga ziyinza okwesittaza abalala.​—Matayo 18:6; Abafiripi 1:10.

Bwe tukimanya nti engoye ze twagala okwambala ziriko be zijja okwesittaza, okufaananako Pawulo, tujja kukyusaamu kisobozese abalala okwanguyirwa okuweereza Yakuwa. Pawulo yagamba nti: “Munkoppe, nga nange bwe nkoppa Kristo.” (1 Abakkolinso 11:1) Ate era yayogera bw’ati ku Yesu: “Kubanga ne Kristo teyeesanyusanga yekka.” Pawulo yagamba Abakristaayo bonna nti: “Ffe ab’amaanyi tusaanidde okwetikka obunafu bw’abo abatali ba maanyi, n’obuteesanyusa ffekka. Buli omu ku ffe asanyusenga munne ku lw’obulungi bwe, asobole okumuzimba.”​—Abaruumi 15:1-3.

Tuyinza Tutya Okuyiga Okusalawo Obulungi?

Tuyinza tutya okuyiga okusalawo obulungi ne tumanya engeri gye tuyinza okusanyusaamu Yakuwa, ne bwe waba nga tewaliiwo tteeka lyogera ku kintu ekimu? Bwe tusoma Bayibuli buli lunaku ne tufuba okugitegeera era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tuba tusomye, kituyamba okumanya ebyo ebisanyusa Yakuwa, era kitusobozesa okusalawo obulungi. Ekyo kitwala ekiseera. Ng’omwana bw’akula empola mpola, n’okukula mu by’omwoyo kubaawo mpolampola, era tekulabibwa mangu. N’olwekyo, tusaanidde okuba abagumiikiriza era tetusaanidde kuggwaamu maanyi singa tetulaba mangu nkyukakyuka. Kyokka tekitegeeza nti ekiseera okuyitawo obuyisi kye kijja okutuyamba okukola enkyukakyuka. Tulina okwesomesa Bayibuli era ne tufuba nga bwe tusobola okusanyusa Yakuwa.​—Abebbulaniya 5:14.

Bwe tukolera ku mateeka Yakuwa g’atuwa, kiba kiraga nti twagala okumugondera. Era bwe watabaawo tteeka lyonna lyogera ku kintu ekimu naye ne tufuba okukola ekimusanyusa, tuba tulaga nti tumwagala era nti twagala okumusanyusa. Gye tukoma okukula mu by’omwoyo, gye tukoma okwagala okukoppa Yakuwa n’Omwana we. Tuba twagala okukozesa Bayibuli okutuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. Bwe tufuba okusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu mu byonna bye tukola, naffe tweyongera okuba abasanyufu.

[Ebifaananyi]

Mu buli kitundu abantu bambala mu ngeri ya njawulo, naye emisingi gya Bayibuli gisobola okutuyamba okwambala mu ngeri esaana