Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebikulu Ebiri mu Kitabo ky’Okuva

Ebikulu Ebiri mu Kitabo ky’Okuva

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Ebikulu Ebiri mu Kitabo ky’Okuva

EKITABO ky’Okuva kirimu ebyafaayo eby’amazima ebikwata ku kununulibwa kw’abantu abaali bafuuliddwa ‘abaddu.’ (Okuva 1:13) Ate era kitutegeeza mu ngeri ebuguumiriza entandikwa y’eggwanga erimu. Mulimu n’eby’amagero ebiwuniikiriza, amateeka amalungi ennyo, n’okuzimbibwa kw’eweema. Okutwalira awamu, ebyo bye biri mu kitabo kya Baibuli eky’Okuva.

Kyawandiikibwa Musa, nnabbi Omwebbulaniya, era kyogera ku byafaayo by’Abaisiraeri okumala ekiseera kya myaka 145​—okuva ku kufa kwa Yusufu mu 1657 B.C.E. okutuuka ku kiseera eweema ey’okusisinkaniramu lwe yaggwa okuzimbibwa mu 1512 B.C.E. Kyokka, ebirimu si byafaayo kyokka. Kitundu kya Kigambo kya Katonda oba obubaka bwe eri olulyo lw’omuntu. Bwe kityo, ‘biramu era bya maanyi.’ (Abaebbulaniya 4:12) N’olwekyo ekitabo ky’Okuva kya makulu nnyo gye tuli.

‘KATONDA YAWULIRA OKUSINDA KWABWE’

(Okuva 1:1–4:31)

Bazukkulu ba Yakobo abali mu Misiri beeyongedde obungi mu bbanga ttono, ne kibaviirako okubonyaabonyezebwa ng’abaddu olw’ekiragiro ekivudde ewa kabaka. Falaawo alagira n’okutta abaana Abaisiraeri ab’obulenzi abawere. Musa, omwana omulenzi ow’emyezi esatu asumattuka okuttibwa okwo, era n’akuzibwa muwala wa Falaawo. Wadde ng’akuziddwa mu lulyo olulangira, bw’aweza emyaka 40 Musa awagira abantu be era n’atta Omumisiri. (Ebikolwa 7:23, 24) Ng’awaliriziddwa okudduka, Musa agenda mu nsi ya Midiyani. Ng’ali eyo awasa era n’akola omulimu gw’okulunda endiga. Ku kisaka ekyaka omuliro mu ngeri ey’eky’amagero, Yakuwa alagira Musa addeyo mu Misiri akulembere Abaisiraeri okubaggya mu buddu. Muganda we Alooni alondebwa okuba omwogezi we.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

3:1​—Yesero yali kabona wa ngeri ki? Mu biseera eby’edda, omutwe gw’amaka ye yalinga aweereza nga kabona w’amaka ge. Kirabika, Yesero ye yali omukulu w’ekika ky’Abamidiyani. Okuva Abamidiyani bwe baali abazzukulu ba Ibulayimu mu mukazi we Ketula, oboolyawo waaliwo kye baali bamanyi ku kusinza Yakuwa.​—Olubereberye 25:1, 2

4:11​—Mu ngeri ki gye kiri nti Yakuwa ‘y’akola kasiru, kiggala, oba omuzibe w’amaaso’? Wadde nga waaliwo ekiseera Yakuwa lwe yaziba abantu abamu amaaso oba akamwa, si y’aleeta obulema bwe butyo ku buli abulina. (Olubereberye 19:11; Lukka 1:20-22, 62-64) Obulema buno buva ku kibi kye twasikira. (Yobu 14:4; Abaruumi 5:12) Kyokka, olw’okuba Katonda akkirizza embeera eno okubaawo, yali asobola okweyogerako nti ‘y’akola’ kasiru, kiggala, oba omuzibe w’amaaso.

4:16​—Mu ngeri ki Musa gye yali ‘ow’okubeera nga Katonda’ eri Alooni? Musa yali mubaka wa Katonda. N’olwekyo, Musa yali nga Katonda eri Alooni olw’okuba Alooni ye yali amwogerera.

Bye Tuyigamu:

1:7, 14. Yakuwa yayamba abantu be bwe baali nga banyigirizibwa e Misiri. Mu ngeri y’emu ayamba Abajulirwa be leero, ne bwe baba nga boolekaganye n’okunyigirizibwa okw’amaanyi.

1:17-21. Yakuwa ajjukira ‘okutukolera ebirungi.’​—Nekkemiya 13:31.

3:7-10. Yakuwa abaako ky’akolawo ng’abantu be bakaaba.

3:14. Yakuwa talemererwa kutuukiriza bigendererwa bye. Tusobola okuba abakakafu nti ajja kutuukiriza ebyo by’atusuubiza mu Baibuli.

4:10, 13. Musa yalaga nga yali teyeekakasa n’akamu nti asobola okwogera obulungi, era n’asaba Katonda asindike omuntu omulala okwogera ne Falaawo newakubadde nga Katonda yali amukakasizza nti ajja kumuyamba. Kyokka era, Yakuwa yakozesa Musa n’amuwa amagezi n’amaanyi bye yali yeetaaga okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Mu kifo ky’okutunuulira obunafu bwaffe, ka twesige Yakuwa era tutuukirize n’obwesigwa omulimu gwaffe ogw’okubuulira n’okuyigiriza.​—Matayo 24:14; 28:19, 20.

EBYAMAGERO EBIWUNIIKIRIZA BIBAVIIRAKO OKUNUNULIBWA

(Okuva 5:1–15:21)

Musa ne Alooni bagenda eri Falaawo ne bamusaba akkirize Abaisiraeri bagende mu ddungu bakwate embaga ey’okutendereza Yakuwa. Mu ngeri ey’obunyoomi, omufuzi oyo Omumisiri agaana. Yakuwa akozesa Musa okuleetawo ebibonyoobonyo eby’amaanyi eby’omuddiriŋŋanwa. Oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo eky’ekkumi, Falaawo akkiriza Abaisiraeri okugenda. Kyokka, mu kaseera katono Falaawo n’amagye ge babawondera. Naye Yakuwa akolera abantu be ekkubo mu Nnyanja Emmyufu era abanunula. Abamisiri ababadde babawondera bafiira mu nnyanja, amazzi bwe gakomawo ne gababuutikira.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

6:3​—Mu ngeri ki erinnya lya Katonda gye litaamanyibwa Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo? Abasajja bano ab’edda baakozesanga erinnya lya Katonda era ne bafuna n’ebisuubizo okuva eri Yakuwa. Kyokka tebaamanya Yakuwa ng’oyo eyaleetera ebisuubizo bino okutuukirizibwa.​—Olubereberye 12:1, 2; 15:7, 13-16; 26:24; 28:10-15.

7:1​—Musa yafuulibwa atya ‘Katonda eri Falaawo’? Katonda yawa Musa amaanyi n’obuyinza ku Falaawo. N’olwekyo, Musa yali teyeetaaga kutya kabaka oyo.

7:22​—Bakabona Abamisiri baggya wa amazzi agaali gatafuuse musaayi? Bayinza okuba nga baakozesa amazzi agaali gaggiddwa mu Mugga Nile ng’ekibonyoobonyo kino tekinnabaawo. Ate era kiyinzika okuba nti amazzi agaali gataafuuse musaayi baagafuna nga basima enzizi okumpi n’Omugga Nile.​—Okuva 7:24.

8:26, 27​—Lwaki Musa yagamba nti ssaddaaka za Isiraeri zandibadde ‘kya muzizo eri Abamisiri’? Ensolo ez’enjawulo zaali zisinzibwa mu Misiri. N’olwekyo, Musa okwogera ku kuwaayo ssaddaaka kyayongera amaanyi mu bigambo bye nti, Abaisiraeri bakkirizibwe bagende baweeyo ssaddaaka eri Yakuwa.

12:29​—Baani abaali batwalibwa ng’ababereberye? Ababereberye baali baana ab’obulenzi bokka. (Okubala 3:40-51) Falaawo kennyini eyali omubereberye teyattibwa. Yalina amaka agage ku bubwe. Omutwe gw’amaka si ye yafa mu kibonyoobonyo eky’ekkumi wabula omwana omulenzi omubereberye.

12:40​—Abaisiraeri baamala bbanga ki mu nsi y’Emisiri? Emyaka 430 egyogerwako wano gizingiramu ekiseera abaana ba Isiraeri kye baamala ‘mu nsi y’e Misiri ne mu nsi y’e Kanani.’ Ibulayimu eyali aweza emyaka nsanvu mu etaano yasomoka Omugga Fulaati mu 1943 B.C.E. ng’agenda mu Kanani. (Olubereberye 12:4) Okuva mu kiseera ekyo okutuuka Yakobo eyali aweza emyaka 130 bwe yagenda e Misiri giri emyaka 215. (Olubereberye 21:5; 25:26; 47:9) Kino kitegeeza nti oluvannyuma Abaisiraeri baamala ekiseera ekyenkana n’ekyo eky’emyaka 215 mu Misiri.

15:8​—Amazzi g’Ennyanja Emmyufu ‘ageekwata’ gaali gafuuse bbalaafu? Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘okwekwata’ kitegeeza okwetugga oba okweyongerako obunene. Mu Yobu 10:10, ekigambo ekyo kikozesebwa ku mata agafudde. N’olwekyo amazzi ageekutte gayinza obutategeeza bbalaafu. Bwe kiba nti omuyaga ogw’amaanyi ogw’ebuvanjuba ogwogerwako mu Okuva 14:21 gwali gunnyogoga nnyo okusobola okukwasa amazzi bbalaafu, awatali kubuusabuusa ebyawandiikibwa byandibadde byogera ku bunnyogovu obwo obw’amaanyi. Okuva bwe wataaliwo kintu kirabika ekyali kiwaniridde amazzi, gaali galabika nga ageekutte.

Bye Tuyigamu:

7:14–12:30. Ebibonyoobonyo Ekkumi tebyagwawo bugwi. Byali byalangirirwa era ne bituukirira ddala nga bwe kyali kiragiddwa. Nga byakyoleka bulungi nti Omutonzi alina obuyinza ku mazzi, ku musana, ku biwuka, ku nsolo, ne ku bantu! Ate era ebibonyoobonyo biraga nti Katonda asobola okuleeta akabi ku balabe be ate n’akuuma abo abamusinsza.

11:2; 12:36. Yakuwa awa abantu be omukisa. Kya lwatu, yakakasa nti Abaisiraieri baweebwa empeera olw’emirimu gye baali bakoze mu Misiri. Baali bazze mu nsi eyo ng’abantu ab’eddembe, so si ng’abawambe oba abaddu.

14:30. Tusobola okuba n’obukakafu nti Yakuwa ajja kununula abasinza be mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekijja.​—Matayo 24:20-22; Okubikkulirwa 7:9, 14.

YAKUWA ATEEKATEEKA EGGWANGA NG’ERA YE KENNYINI Y’ALYEFUGIRA

(Okuva 15:22–40:38)

Mu mwezi ogw’okusatu nga bavudde e Misiri, Abaisiraeri basiisira wansi w’Olusozi Sinaayi. Nga bali eyo, baweebwa Amateeka Ekkumi n’amateeka amalala mangi, bakola endagaano ne Yakuwa era ne bafuuka eggwanga erifugibwa Katonda. Musa amala ennaku 40 ku lusozi ng’aweebwa obulagirizi obukwata ku kusinza okw’amazima era n’okuzimba eweema, kwe kugamba, yeekaalu esobola okuggibwa mu kifo ekimu n’etwalibwa mu kirala. Mu kiseera kye kimu, Abaisiraeri bakola akayana aka zaabu era ne bakasinza. Ng’akka okuva ku lusozi, Musa alaba ekigenda mu maaso era kimunyiiza nnyo, bw’atyo n’ayasa ebipande ebibiri Katonda by’amuwadde. Oluvannyuma lw’aboonoonyi okuweebwa ekibonerezo ekibasaanira, Musa addamu nate okwambuka ku lusozi era aweebwa ebipande ebirala. Musa bw’akomawo, eweema etandika okuzimbibwa. Nga wayiseewo omwaka gumu bukya Abaisiraeri bava mu buddu, eweema eno ey’ekitalo awamu ne byonna ebirina okubeeramu bimalirizibwa era n’eyimirizibwa. Oluvannyuma Yakuwa agijjuza ekitiibwa kye.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

20:5​—Mu ngeri ki Yakuwa ‘gy’abonereza abaana n’abazzukulu olw’ebibi bya bajjajjaabwe’? Omuntu bw’akula, alamulwa ku lulwe okusinziira ku nneeyisa ye n’endowooza ye. Kyokka, eggwanga lya Isiraeri bwe lyatandika okusinza ebifaananyi, emirembe gyonna egyaddirira gyayolekagana n’ebyo ebyava mu kikolwa ekyo. N’Abaisiraeri abeesigwa nabo baakwatibwako olw’ebyo ebyava mu kikolwa ekyo kubanga tekyababeereranga kyangu okukuuma obugolokofu olw’okuba eggwanga lyonna lyali lyenyigidde mu kusinza okukyamu.

23:19; 34:26​—Makulu ki agaali mu kiragiro ky’obutafumbira mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina waagwo? Kigambibwa nti okufumbira omwana gw’embuzi (oba ogw’ensolo yonna) mu mata ga nnyina waagwo kaali kalombolombo ak’omu kusinza okw’ekikaafiiri akaalowoozebwanga nti kandiviiriddeko enkuba okutonnya. Okuva amata bwe gaali ag’okuliisa omwana gw’ensolo, okufumbira omwana ogwo mu mata ga nnyina waagwo kyandibadde kikolwa kya bukambwe. Etteeka eryo lyayamba okulaga abantu ba Katonda nti baali basaanidde okubeera abasaasizi.

23:20-23​—Malayika ayogerwako wano yali ani, era mu ngeri ki erinnya lya Yakuwa gye lyali “mu nda ye”? Kirabika malayika ono yali Yesu nga tannafuuka muntu. Yakozesebwa okukulembera Abaisiraeri nga bagenda mu Nsi Ensuubize. (1 Abakkolinso 10:1-4) Erinnya lya Yakuwa liri “mu nda ye” mu ngeri nti ye musaale mu kuwagira n’okutukuza erinnya lya Kitaawe.

32:1-8, 25-35​—Lwaki Alooni teyabonerezebwa olw’okukola akayana aka zaabu? Alooni yali takkiriziganya na kya kusinza bifaananyi. Kirabika oluvannyuma yeegatta ku Baleevi banne abaalaga nti baali ku ludda lwa Katonda era n’atawagira abo abaali bawakanya Musa. Ng’abaasinza akayana bamaze okuttibwa, Musa yajjukiza abantu nti baali boonoonye nnyo, ekiraga nti waliwo n’abalala Katonda be yasaasira ng’oggyeko Alooni.

33:11, 20​—Mu ngeri ki Katonda gye yayogera ne Musa ‘maaso ku maaso’? Ebigambo bino biraga nti waaliwo okwogeraganya wakati w’abantu babiri. Musa yayogeranga n’omubaka wa Katonda era n’ategeezebwa obubaka obuva gy’ali. Kyokka Musa teyalaba Yakuwa okuva bwe ‘watali muntu asobola kulaba Yakuwa n’asigala nga mulamu.’ Mu butuufu, Yakuwa kennyini si ye yayogera ne Musa. Abaggalatiya 3:19 lugamba: ‘Amateeka gaaleetebwa bamalayika nga gayita mu mutabaganya.’

Bye Tuyigamu:

15:25; 16:12. Yakuwa alabirira abantu be.

18:21. Abasajja abalondebwa mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu kibiina Ekikristaayo nabo bateekwa okuba nga balina obusobozi, nga batya Katonda, beesigwa, era nga tebeefaako bokka.

20:1–23:33. Yakuwa ye Muwi w’Amateeka asingiridde. Abaisiraeri bwe baagondera amateeka ge, gaabasobozesa okumusinza mu ngeri ennungi era esanyusa. Leero Yakuwa alina ekibiina ekikolera ku bulagirizi obuva gy’ali. Okugondera amateeka ga Yakuwa kituleetera essanyu n’obukuumi.

Amakulu Gye Tuli

Ekitabo ky’Okuva kyoleka ki ekikwata ku Yakuwa? Kimwoleka nga Omugabi omwagazi, Omununuzi atageraageranyizika, era Atuukiriza ebigendererwa bye. Ye Katonda ow’enteekateeka.

Bw’onooba osoma Baibuli mu kusoma kwo okwa Baibuli okwa buli wiiki nga weeteekerateekera Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, awatali kubuusabuusa ojja kukwatibwako nnyo ebyo by’onooyiga mu kitabo ky’Okuva. Bw’oneekenneenya ebyo ebiri mu kitundu, “Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu,” ojja kweyongera okutegeera ebyawandiikibwa ebimu. Ebyo ebiri wansi w’omutwe “Bye Tuyigamu,” bijja kukulaga engeri gy’oyinza okuganyulwa mu kusoma Baibuli okwa buli wiiki.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Yakuwa yalagira omusajja omuwombeefu Musa okukulembera Abaisiraeri okubaggya mu buddu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Ebibonyoobonyo ekkumi byalaga nti Omutonzi y’alina obuyinza ku mazzi, ku musana, ku biwuka, ku nsolo ne ku bantu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Okuyitira mu Musa, Yakuwa yateekateeka eggwanga lya Isiraeri okuba eggwanga ye kennyini lye yeefugira