Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebyamagero Yesu Bye Yakola Bituyigiriza Ki?

Ebyamagero Yesu Bye Yakola Bituyigiriza Ki?

Ebyamagero Yesu Bye Yakola Bituyigiriza Ki?

MU KISEERA kya Yesu, abayigirizwa be n’abantu abalala beewuunyanga nnyo bwe baalabanga ebyamagero bye yakolanga. (Makko 2:12; 4:41; 6:51; Lukka 9:43.) Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Ddala ebyamagero ebyo byaliyo?’

Ebyamagero Ebyo Byava eri Katonda oba Bwali Buzannyo Buzannyo?

Okusinziira ku Bayibuli, ebyamagero Yesu bye yakola tebwali buzannyo buzannyo. Yakolanga ebyamagero ebyo ng’akozesa “amaanyi ga Katonda amangi ennyo.” Ng’ekyokulabirako, yagoba dayimooni ku mulenzi omu. (Lukka 9:37-43) Ekintu ng’ekyo si kizibu eri Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, alina ‘amaanyi amangi ennyo.’​—Isaaya 40:26.

Ebitabo by’Enjiri byogera ku byamagero 35 Yesu bye yakola. Naye ebyo si bye byamagero byokka Yesu bye yakola. Ng’ekyokulabirako, Matayo 14:14 wagamba nti: Yesu yalaba “ekibiina ky’abantu ekinene n’abasaasira, n’awonya abalwadde baabwe.” Bayibuli tetubuulira bantu bameka be yawonya ku olwo.

Ebyamagero byakyoleka nti Yesu ye yali Omwana wa Katonda, Masiya eyasuubizibwa. Ebyawandiikibwa biraga nti amaanyi Yesu ge yakozesanga okukola ebyamagero gaava eri Katonda. Omutume Peetero yagamba nti, Yesu yali “musajja Katonda gwe yatuma, era nga kino yakiraga okuyitira mu bikolwa eby’amaanyi, n’ebyamagero, n’obubonero bye yamukozesa mu mmwe, nga nammwe bwe mumanyi.” (Ebikolwa 2:22) Ku mulundi omulala, Peetero yagamba nti: “Katonda . . . yamufukako omwoyo omutukuvu era n’amuwa amaanyi, n’agenda mu bitundu byonna ng’akola ebintu ebirungi era ng’awonya abo bonna abaali batawaanyizibwa Omulyolyomi, kubanga Katonda yali naye.”​—Ebikolwa 10:37, 38.

Emirimu Yesu gye yakola gyazingiramu okukola ebyamagero n’okuyigiriza. Makko 1:21-27 lulaga engeri abantu gye baakwatibwako nga bawulidde ebyo Yesu bye yali ayigiriza era n’engeri gye baakwatibwako nga balabye ekimu ku byamagero bye yakola. Makko 1:22 lugamba nti, abantu ‘baawuniikirira olw’engeri gye yali ayigirizaamu.’ Ate olunyiriri 27 lugamba nti abantu beewuunya bwe yagoba dayimooni. Ebyamagero Yesu bye yakola n’ebintu bye yayigiriza byakakasa nti ye Masiya eyasuubizibwa.

Yesu teyagamba bugambi nti ye yali Masiya, wabula ebyamagero bye yakola byakakasa nti ddala ye yali Masiya. Abayudaaya bwe baabuuza Yesu wa gye yali ajja obuyinza, yabagamba nti: “Obujulirwa bwange businga obwa Yokaana, kubanga emirimu Kitange gye yampa okukola, gino gye nkola, gye gimpaako obujulirwa nti Kitange ye yantuma.”​—Yokaana 5:36.

Obukakafu Obulaga nti Ddala Yesu Yakola Ebyamagero

Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti ebyamagero Yesu bye yakola byali bya ddala? Ka tulabe ensonga lwaki tuyinza okuba abakakafu.

Yesu bwe yakolanga ebyamagero, teyagezangako kuleetera balala kumutendereza. Yakakasanga nti ekitiibwa n’ettendo bidda eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, bwe yali agenda okuwonya omusajja eyali omuzibe w’amaaso, Yesu yagamba nti ekyo kyali kigenda kubaawo “Katonda by’akola bisobole okweyolekera mu ye.”​—Yokaana 9:1-3; 11:1-4.

Yesu yali wa njawulo ku balala abaali bagamba nti bakola ebyamagero. Teyali mufuusa era teyakola bukodyo obutali bumu oba obulombolombo obutali bumu okusobola okuwonya abantu. Weetegereza engeri ennyangu Yesu gye yawonyamu abasajja ababiri abaali abazibe b’amaaso. Bayibuli egamba nti: “N’abakwatirwa ekisa n’akwata ku maaso gaabwe, amangu ago ne gazibuka era ne bamugoberera.” (Matayo 20:29-34) Mu kuwonya abasajja abo, teyakola kalombolombo konna oba ekintu ekirala kyonna ekyali kijja okusasamaza abantu. Yesu ebyamagero yabikoleranga mu lujjudde, era emirundi mingi waabangawo abantu bangi. Teyeeyambisa mataala, bituuti, oba ebintu ebirala okusobola okukola ebyamagero. Yali wa njawulo nnyo ku abo leero abagamba nti bakola ebyamagero, kyokka nga tewali bukakafu bulaga nti babikola.​—Makko 5:24-29; Lukka 7:11-15.

Emirundi mingi Yesu yawonyanga abantu abaamukkiririzangamu. Naye era yawonyanga n’abo abaali batamukkiririzaamu. Bwe yali mu Kaperunawumu, baamuleetera “abantu bangi abaaliko dayimooni; n’aziragira okubavaako era n’awonya bonna abaali balumizibwa.”​—Matayo 8:16.

Yesu yakola ebyamagero okuyamba abantu so si okubawuniikiriza. (Makko 10:46-52; Lukka 23:8) Ate era Yesu teyakola byamagero kubaako bye yeefunira.​—Matayo 4:2-4; 10:8.

Tuyinza Okwesiga Ebyo Ebyogerwa mu Bitabo by’Enjiri?

Ebitabo by’Enjiri ebina bye bitutegeeza ebyamagero Yesu bye yakola. Naye ddala tusobola okwesiga ebitabo ebyo bye byogera ku byamagero Yesu bye yakola? Yee.

Nga bwe kyogeddwako waggulu, Yesu ebyamagero yabikoleranga mu lujjudde nga waliwo abantu bangi. Mu kiseera ebimu ku bitabo by’Enjiri we byawandiikirwa, abamu ku bantu abaalaba ebyamagero Yesu bye yakola baali bakyali balamu. Ekitabo ekiyitibwa The Miracles and the Resurrection kigamba nti: “Tekiba kya bwenkanya kugamba nti abo abaawandiika ebitabo by’Enjiri, bye baawandiika ebikwata ku byamagero tebyali bituufu, olw’okuba baabiwandiika olw’okwagala okutumbula enzikiriza yaabwe. Abawandiisi b’ebitabo ebyo baali beesimbu.”

Abo abaali bayigganya Abakristaayo tebaayogerako nti ebyamagero bye tusoma mu bitabo by’Enjiri tebyaliyo. Mu kifo ky’ekyo, baagamba nti dayimooni ze zaasobozesanga Yesu okukola ebyamagero ebyo. (Makko 3:22-26) N’abalala abaayigganya Abakristaayo oluvannyuma, nabo tebaakyogerako nti ebyamagero Yesu bye yakola tebyaliyo. Mu kifo ky’ekyo, mu kyasa ekyasooka n’eky’okubiri, waaliwo ebitabo ebitali bimu ebyayogera ku byamagero Yesu bye yakola. Mazima tetulina kubuusabuusa kwonna nti ebyo ebitabo by’Enjiri bye byogera ku byamagero Yesu bye yakola bituufu.

Yesu Yali Muntu wa Ngeri Ki?

Okusobola Okutegeera ebyamagero bye tusomako mu bitabo by’Enjiri, tusaanidde okusooka okumanya omusajja eyakola ebyamagero ebyo. Ebitabo by’Enjiri biraga nti, Yesu yalina okwagala kungi era yali asaasira nnyo abantu. Ate era biraga nti yali afaayo nnyo ku bantu.

Lowooza ku ekyo ekyaliwo omusajja omu omugenge bwe yagamba Yesu nti: “Bw’oba oyagala, osobola okunfuula omulongoofu.” Yesu ‘Yasaasira’ omugenge oyo, n’agolola omukono n’amukwatako era n’amugamba nti: “Njagala! Fuuka mulongoofu.” Amangu ago omusajja oyo yawona. (Makko 1:40-42) Ekyo kiraga nti Yesu yakola ebyamagero olw’okuba yali ayagala abantu era ng’abafaako.

Kiki ekyaliwo Yesu bwe yasanga abantu abaali bava mu kibuga kye Nayini nga bagenda okuziika? Omuvubuka eyali afudde gwe baali bagenda okuziika, ye yali omwana yekka ow’omukazi eyali nnamwandu. Yesu ‘yasaasira’ omukyala oyo, n’asembera we yali era n’amugamba nti: “Lekera awo okukaaba.” Oluvannyuma yazuukiza mutabani we.​—Lukka 7:11-15.

Bwe tusoma ebikwata ku byamagero Yesu bye yakola, kituleetera essanyu kubanga tukiraba nti yabikola olw’okuba yali ayagala okuyamba abantu. Ebyamagero ebyo naffe bituyamba okuba n’essuubi. Abebbulaniya 13:8 wagamba nti: “Yesu Kristo y’omu leero, ne jjo, n’emirembe n’emirembe.” Kati Yesu afuga mu ggulu nga Kabaka, era mwetegefu okukola ebyamagero ebirala bingi okusinga ku ebyo bye yakola ng’ali wano ku nsi. Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kukozesa obuyinza bwe okuwonya abantu abawulize. Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba okumanya ebisingawo ku bintu ebyo ebirungi ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso.

[Ebifaananyi]

Ebyamagero Yesu bye yakola byali byoleka “amaanyi ga Katonda amangi ennyo”

[Ekifaananyi]

Yesu yali afaayo nnyo ku bantu