Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weeteerewo Ebiruubirirwa eby’Omwoyo Okugulumiza Omutonzi Wo

Weeteerewo Ebiruubirirwa eby’Omwoyo Okugulumiza Omutonzi Wo

Weeteerewo Ebiruubirirwa eby’Omwoyo Okugulumiza Omutonzi Wo

“OMUNTU bw’aba tamanyi mwalo gy’agenda, taba na nsonga kumanya ludda ki empewo gy’edda.” Kigambibwa nti ebigambo ebyo byayogerwa omufirosoofo Omuruumi eyaliwo mu kyasa ekyasooka era biraga nti okusobola okuba n’obulamu obw’amakulu omuntu alina okuba n’ebiruubirirwa bye yeeteerawo.

Bayibuli eyogera ku bantu abatali bamu abeeteerawo ebiruubirirwa. Ng’ekyokulabirako, Nuuwa yamala emyaka nga 50 ng’azimba “eryato ery’okuwonyezaamu ab’omu maka ge.” Nnabbi Musa “yeekaliriza empeera eyali ey’okumuweebwa.” (Abebbulaniya 11:7, 26) Yoswa eyaddira Musa mu bigere, Katonda yennyini ye yamuteerawo ekiruubirirwa eky’okuwangula Kanani.​—Ekyamateeka 3:21, 22, 28; Yoswa 12:7-24.

Mu kyasa ekyasooka E.E., Omutume Pawulo naye yalina ebiruubirirwa eby’omwoyo bye yeeteerawo. Ekyamuleetera okweteerawo ebiruubirirwa ebyo, bye bigambo bya Yesu bino: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna.” (Matayo 24:14) Obubaka n’okwolesebwa Omutume Pawulo bye yafuna okuva eri Mukama waffe Yesu, nga mwe muli n’omulimu ogwamuweebwa ‘ogw’okutwala erinnya [lya Yesu] eri ab’amawanga,’ bye byaleetera Pawulo okutandikawo ebibiina bingi mu Asiya ne mu Bulaaya.​—Ebikolwa 9:15; Abakkolosaayi 1:23.

Kyeyoleka lwatu nti okuva edda n’edda Abaweereza ba Yakuwa bazze beeteerawo ebiruubirirwa ne babituukako, ne kiviirako Katonda okugulumizibwa. Naffe leero tuyinza tutya okweteerawo ebiruubirirwa? Biruubirirwa ki bye tuyinza okweteerawo, era biki bye tuyinza okukola okubituukako?

Kikulu Okuba n’Ekigendererwa Ekirungi nga Tweteerawo Ebiruubirirwa

Tusobola okweteerawo ebiruubirirwa mu mbeera zonna ez’obulamu. Ne mu nsi abantu beeteerawo ebiruubirirwa. Kyokka ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo bya njawulo ku ebyo abantu bye beeteerawo mu nsi. Ekisingira ddaala okuleetera abantu okweteerawo ebiruubirirwa, kwe kwagala okugaggawala n’okuba n’obuyinza oba ebitiibwa. Tekiba kituufu okweteerawo ebiruubirirwa olw’okwagala okufuna obuyinza oba ebitiibwa! Ebiruubirirwa ebireetera Yakuwa Katonda okutenderezebwa bikwatagana n’okusinza kwaffe awamu n’ebyo bye tukola okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. (Matayo 6:33) Ekituleetera okweteerawo ebiruubirirwa ng’ebyo kwe kwagala Katonda n’abantu era n’okwagala okwemalira ku Katonda.​—Matayo 22:37-39; 1 Timoseewo 4:7.

Kikulu nnyo okuba n’ekigendererwa ekirungi nga tweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, era ne tufuba okubituukako ka bibe ebyo ebikwata ku kugaziya ku buweereza bwaffe, oba okwongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Naye ne bwe tuba n’ebigendererwa ebirungi nga tweteerawo ebiruubirirwa, oluusi tuyinza okulemererwa okubituukako. Tuyinza tutya okweteerawo ebiruubirirwa era ne tubituukako?

Tulina Okuba nga Twagala Nnyo Okutuuka ku Biruubirirwa Byaffe

Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yatondamu ensi. Buli lunaku lwe yamalirizanga okutonda ebintu ebitali bimu, Bayibuli egamba nti “ne buwungeera era ne bukya,” ekiraga nti yalambikanga ebintu ebyabanga bimaze okukolebwa. (Olubereberye 1:5, 8, 13, 19, 23, 31) Ku buli ntandikwa y’olunaku olw’okutonda, yalinga amanyi bulungi bye yalina okutonda ku lunaku olwo. Era bw’atyo yatuukiriza ekigendererwa kye yalina eky’okutonda ebintu. (Okubikkulirwa 4:11) Omusajja omwesigwa Yobu yagamba nti: “[Yakuwa] bw’aba alina ky’ayagala okukola, akikola.” (Yobu 23:13) Nga Yakuwa ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yalaba “byonna bye yali akoze” era n’agamba nti “birungi nnyo”!​—Olubereberye 1:31.

Naffe okusobola okutuuka ku biruubirirwa bye tuba tweteereddewo, tulina okuba nga twagala nnyo okubituukako. Kiki ekinaatuyamba okwagala ennyo okubituukako? Lowooza ku kino. Ensi ne bwe yali nga yeetabuddetabudde era nga njereere, Yakuwa yali akimanyi nti bwe yandimaze okutonda ebintu, yandibadde erabika bulungi nnyo era yandimuweesezza ekitiibwa n’ettendo. Naffe bwe tulowooza ku birungi ebiyinza okuva mu biruubirirwa bye tuba tweteereddewo, kituyamba okwagala ennyo okutuukiriza ebiruubirirwa ebyo. Ekyo omuvubuka ayitibwa Tony eyali ow’emyaka 19 yakiraba nti kituufu. Yakwatibwako nnyo lwe yasooka okukyalako ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi emu ey’omu Bulaaya. Okuva olwo, buli kiseera muli yagambanga nti, ‘Kiteekwa okuba nga kireeta essanyu lingi okubeera mu kifo ng’ekyo n’okukiweererezaamu.’ Tony yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okugenda okuweerereza ku ofiisi y’ettabi eyo era n’afuba okulaba ng’akola kyonna ky’asobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Oluvannyuma lw’emyaka, yasanyuka nnyo bwe yayitibwa okugenda okuweerera ku ofiisi y’ettabi!

Bwe tubeerako n’abantu abalina ekiruubirirwa kye baatuukako, naffe kiyinza okutuyamba okwagala okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Jayson, ow’emyaka 30, teyanyumirwanga mulimu gwa kubuulira bwe yali mu myaka gye egy’obutiini. Naye bwe yamaliriza okusoma siniya, yatandika okuweereza nga payoniya, bw’atyo n’aba ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka ekiseera kyonna. Kiki ekyayamba Jayson okwagala okuweereza nga payoniya? Agamba nti: “Okwogerako n’abo abaali baweereza nga bapayoniya era n’okubuulirako nabo, kyandeetera okwagala okuweereza nga payoniya.”

Okussa Ebiruubirirwa Byaffe mu Buwandiike Kisobola Okutuyamba

Ekintu ekitategeerekeka bulungi kiyinza okutegeerekeka obulungi bwe tukyogera mu bigambo ebitegeerekeka. Kabaka Sulemaani yagamba nti ebigambo ebituufu biyinza okuba ng’emiwunda mu kuwa obulagirizi. (Omubuulizi 12:11) Ebigambo ebyo bwe biwandiikibwa bikwata nnyo ku mutima gw’omuntu. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yalagira buli Kabaka wa Isirayiri okukoppolola Amateeka. (Ekyamateeka 17:18) N’olwekyo, naffe kiba kirungi okuwandiika ebiruubirirwa byaffe era n’enteekateeka gye tuba nayo ey’okubituukako, awamu n’ebintu ebiyinza okukifuula ekizibu okubituukako era n’engeri gye tuyinza okuvvuunukamu ebintu ebyo. Ate era kirungi okutegeera ebintu bye tusaanidde okumanya obulungi, obukugu bwe twetaaga okufuna, era n’abantu abayinza okutuyambako.

Lowooza ku ngeri okweteerawo ebiruubirirwa gye kwayamba ow’oluganda ayitibwa Geoffrey, amaze ekiseera ekiwanvu ng’aweereza nga payoniya ow’enjawulo mu nsi emu ey’omu Asiya. Oluvannyuma lwa Geoffrey okufiirwa mukyala we, yasalawo okwemalira ku mulimu gw’okuweereza nga payoniya, nga yeeteerawo ebiruubirirwa. Yawandiika enteekateeka ye ku lupapula, era n’asaba Yakuwa amuyambe abe ng’afunye abayizi ba Bayibuli abapya basatu omwezi we gwandiggwereddeko. Buli lunaku, yeekenneenyanga ebyo bye yabanga akoze, era buli luvannyuma lwa nnaku kkumi yeekeberanga okulaba wa we yali atuuse mu kutuuka ku kiruubirirwa kye. Yasobola okukituukako era ku nkomerero y’omwezi yalina abayizi ba Bayibuli abapya bana. Awatali kubuusabuusa yafuna essanyu lingi nnyo!

Ssaawo Ebiruubirirwa by’Osobola Okutuukako Amangu

Mu kusooka ebiruubirirwa ebimu biyinza okulabika ng’ebizibu ennyo okutuukako. Tony, ayogeddwako waggulu, yali alaba nti okuweereza ku ofiisi y’Ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa kyalinga ekirooto obulooto. Ekyo kyali bwe kityo kubanga enneeyisa ye teyali nnungi, era yali teyeewangayo eri Katonda. Naye Tony yafuba okulaba ng’atereeza obulamu bwe n’atandika okutambulira ku mitindo gya Yakuwa, era ne yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okubatizibwa. Oluvannyuma lw’okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okuweereza nga payoniya omuwagizi n’oluvannyuma nga payoniya owa bulijjo, era yalamba ku kalenda ye ennaku z’omwezi kwe yandibadde atandikira. Oluvannyuma lw’okuweereza nga payoniya okumala ekiseera, yakiraba nti kati yali asobola okutuuka ku kiruubirirwa eky’okuweereza ku ofiisi y’ettabi.

Naffe bwe tuba n’ebiruubirirwa ebitwala ekiseera ekiwanvu okutuukako, tusaanidde okubigabanyaamu ebiruubirirwa ebitwala ekiseera ekitono okutuukako. Ebiruubirirwa ebyo ebitwala ekiseera ekitono bituyamba okutuuka ku biruubirirwa ebitwala ekiseera ekiwanvu. Bwe twekebera buli luvannyuma lwa kiseera okulaba wa we tutuuse mu kutuuka ku biruubirirwa ebitwala ekiseera ekitono, kituyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku biruubirirwa ebitwala ekiseera ekiwanvu okutuukako. Ate era okusaba Yakuwa enfunda n’enfunda atuyambe, nakyo kituyamba okutuuka ku biruubirirwa byaffe. Omutume Pawulo yagamba nti: “Musabenga obutayosa.”​—1 Abassessalonika 5:17.

Kyetaagisa Okuba Abamalirivu n’Okuba Abanyiikivu

Ne bwe tuba nga tulina enteekateeka ennungi era nga twagala nnyo okutuuka ku biruubirirwa byaffe, oluusi tuyinza okulemererwa okutuuka ku biruubirirwa ebimu. Lowooza ku muyigirizwa Yokaana Makko. Ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo omutume Pawulo bwe yagaana okugenda naye ku lugendo lwe olw’okubiri olw’obuminsani. (Ebikolwa 15:37-40) Makko teyaggwaamu maanyi. Yakola enkyukakyuka mu kiruubirirwa kye ne yeeyongera okuweereza. Oluvannyuma Pawulo yayogera bulungi ku Makko era Makko yakolerako wamu n’omutume Peetero mu Babulooni. (2 Timoseewo 4:11; 1 Peetero 5:13) Ate era yafuna enkizo ey’ekitalo ey’okuwandiika ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe obw’oku nsi.

Naffe bwe tubaako ekiruubirirwa kye tweteereddewo, oluusi tuyinza okwolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Ekyo bwe kibaawo, tusaanidde okwekebera okulaba wa we tuba tutuuse era ne tulaba obanga kisoboka okutuuka ku kiruubirirwa ekyo oba kyetaagisa okukyusaamu. Bwe wajjawo okusoomooza, kiba kitwetaagisa okufuba ennyo okulaba nga tutuuka ku kiruubirirwa kyaffe. Bayibuli egamba nti: “Buli ky’okola kikwase Yakuwa, olwo nno by’oteekateeka bijja kugenda bulungi.”​—Engero 16:3.

Kyokka oluusi embeera ziyinza okutulemesa okweteerawo ebiruubirirwa ebimu oba okubituukako. Ng’ekyokulabirako, tuyinza obutasobola kweteerawo biruubirirwa ebimu olw’obulwadde oba olw’obuvunaanyizibwa bwe tulina mu maka. Naye tusaanidde okukijjukira nti tuluubirira okufuna empeera ey’obulamu obutaggwaawo, mu ggulu oba ku nsi eneeba efuuliddwa Olusuku lwa Katonda. (Lukka 23:43; Abafiripi 3:13, 14) Kiki ekinaatuyamba okufuna empeera eyo? Bayibuli egamba nti: “Oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.” (1 Yokaana 2:17) Wadde ng’embeera yaffe eyinza obutatusobozesa kutuuka ku kiruubirirwa ekimu, tusobola okweyongera ‘okutya Katonda ow’amazima era n’okukwata ebiragiro bye.’ (Omubuulizi 12:13) Ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo bituyamba okuba abamalirivu okukola Katonda by’ayagala. N’olwekyo, ka tweteerewo ebiruubirirwa ebyo okusobola okugulumiza Omutonzi waffe.

[Akasanduuko]

Ebiruubirirwa eby’Omwoyo bye Tuyinza Okweteerawo

○ Okusoma Bayibuli buli lunaku

○ Okusoma buli magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’eya Zuukuka! efuluma

○ Okulongoosa mu ssaala zaffe

○ Okwoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu

○ Okugaziya ku buweereza bwaffe

○ Okwongera okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu ne gye tuyigirizaamu

○ Okuyiga okubuulira nga tukozesa essimu, okubuulira embagirawo, n’okubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi