Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ab’Oluganda Abagattiddwa ku Kakiiko Akafuzi

Ab’Oluganda Abagattiddwa ku Kakiiko Akafuzi

Ab’Oluganda Abagattiddwa ku Kakiiko Akafuzi

KU LW’OKUSATU ku makya, nga Agusito 24, 2005, amaka ga Beseri ag’omu Amerika n’ag’omu Canada, gafuna ekirango ekibuguumiriza. Kyali kigamba nti, okuva nga Ssebutemba 1, 2005, ab’oluganda babiri​—Geoffrey W. Jackson ne Anthony Morris III balondeddwa okuweereza ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa.

Ow’oluganda Jackson yatandika okuweereza nga payoniya mu Febwali 1971 ku kizinga Tasmania, eky’omu Australia. Mu Jjuuni 1974, yawasa Jeanette (Jenny). Oluvannyumako, baalondebwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Okuva mu 1979 okutuuka 2003, baaweereza ng’abaminsani mu Tuvalu, Samoa, ne mu Fiji​—amawanga agali mu bizinga by’e Bukiika Ddyo bw’ennyanja Pacific. Bwe baali mu bizinga ebyo, Ow’oluganda ne Mwannyinaffe Jackson bayamba nnyo mu kuvvuunula ebitabo ebinnyonnyola Baibuli. Ow’Oluganda Jackson yatandika okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi ery’omu Samoa mu 1992, ate okuva mu 1996, n’aweereza ku Kakiiko k’Ettabi ery’omu Fiji. Mu Apuli 2003, ye ne Jenny baayitibwa okuweereza mu maka ga Beseri ag’omu Amerika era babadde baweereza mu Kitongole Ekikola ku Kuvvuunula Ebitabo. Oluvannyuma, Ow’oluganda Jackson yalondebwa okuweereza ng’omuyambi ku Kakiiko Akakola ku by’Enjigiriza ak’Akakiiko Akafuzi.

Ate ye ow’Oluganda Morris yatandika okuweereza nga payoniya mu 1971 mu Amerika. Mu Ddesemba w’omwaka ogwo yawasa Susan, era beeyongera okuweereza nga bapayoniya okumala emyaka ng’ena okutuusa lwe bazaala omwana waabwe asooka, Jesse. Nga wayiseewo emyaka ng’ebiri baazaalayo omwana omulala, Paul. Ow’oluganda Morris yaddamu okuweereza nga payoniya mu 1979. Batabani baabwe bwe batandika okugenda ku ssomero, mukyala we yamwegattako mu kuweereza nga payoniya. Baaweereza mu Rhode Island ne mu North Carolina eby’omu Amerika, awaali obwetaavu obusingako. Bwe baali mu North Carolina, ow’Oluganda Morris yaweereza ng’omuyambi w’omulabirizi w’ekitundu, era abaana baabwe nabo batandika okuweereza nga bapayoniya. Jesse ne Paul, buli omu bwe yaweza emyaka 19, yayitibwa okuweereza mu maka ga Beseri mu Amerika. Mu kiseera kye kimu Ow’oluganda Morris yatandika okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Nga Agusito 1 2002 ye ne mukyala we Susan baayitibwa okuweereza mu maka ga Beseri. Ow’oluganda Morris yaweereza mu Kitongole Ekikola ku Buweereza mu Patterson ate oluvannyuma yalondebwa okuweereza ng’omuyambi ku Kakiiko k’Obuweereza ak’Akakiiko Akafuzi.

Ng’oggyeko ab’oluganda banno ababiri abaagattibwako, Akakiiko Akafuzi kati kaliko: C. W. Barber; J. E. Barr; S. F. Herd; M. S. Lett; G. Lösch; T. Jaracz; G. H. Pierce; A. D. Schroeder; D. H. Splane; ne D. Sydlik. Ab’oluganda bonna abaweereza ku Kakiiko Akafuzi Bakristaayo abaafukibwako amafuta.