Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Tusaba mu Linnya lya Yesu?

Lwaki Tusaba mu Linnya lya Yesu?

Lwaki Tusaba mu Linnya lya Yesu?

YESU yateranga okuyigiriza ebikwata ku kusaba. Mu kiseera ekyo, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baasabiranga “ku mabbali g’enguudo.” Kiki ekyabakozesanga kityo? Baayagalanga “abantu babalabe.” Baali baagala abantu babatende nti bettanira nnyo eby’eddiini. Bangi ku bo baasabanga essaala empanvu nga baddiŋŋana ebigambo, nga gy’obeera essaala okuwulirwa kiba kyetaagisa ‘ebigambo bingi.’ (Matayo 6:5-8) Yesu yalaga nti ebikolwa ng’ebyo byali bya butaliimu, mu ngeri eyo n’ayamba abantu abeesimbu okutegeera bye balina okwewala nga basaba. Kyokka, teyakoma ku kubalaga bye balina kwewala nga basaba.

Yesu yayigiriza nti essaala zaffe zisaanidde okulaga nti twagala erinnya lya Katonda litukuzibwe, Obwakabaka Bwe bujje, ne by’Ayagala bikolebwe. Yesu era yayigiriza nti kirungi okusaba Katonda okutuwa okutuwa bye twetaaga. (Matayo 6:9-13; Lukka 11:2-4) Ng’akozesa ekyokulabirako, Yesu yalaga nti obunyiikivu, okukkiriza, n’obuwombeefu, essaala zaffe okusobola okuwulirwa. (Lukka 11:5-13; 18:1-14) Okugatta ku ebyo bye yayigiriza, yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kusaba.​—Matayo 14:23; Makko 1:35.

Awatali kubuusabuusa, obulagirizi obwo bwayamba nnyo abayigirizwa ba Yesu okulongoosa mu kusaba kwabwe. Kyokka, ekintu ekisinga obukulu ekikwata ku kusaba Yesu teyakibayigiriza okutuusa ekiro kye ekyasembayo ku nsi.

“Entegeka Empya Ekwata ku Kusaba”

Ekiro kye ekyasembayo ku nsi Yesu okusinga yakimala ng’azzaamu abatume be abeesigwa amaanyi. Kino kye kyali ekiseera ekituufu okubabikkulira ekintu ekippya. Yesu yagamba nti: “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze.” Oluvannyuma yabasuubiza nti: “Buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumizibwenga mu Mwana.” Ng’anaatera okukomekkereza okwogera kwe, yagamba nti: “Okutuusa mu kiseera kino tewali kintu kye mwali musabye mu linnya lyange. Musabe mujja kuweebwa era mubeere n’essanyu mu bujjuvu.”​—Yokaana 14:6, 13; 16:24, NW.

Ebigambo bino byali bikulu nnyo. Ekitabo ekimu kigamba nti eno yali ‘ntegeka mpya ekwata ku kusaba.’ Yesu yali tategeeza nti kati abantu baalina kusaba ye mu kifo ky’okusaba Katonda. Nedda. Yali ateekawo ntegeka mpya ey’okutuukiriramu Yakuwa Katonda.

Kituufu nti Katonda abaddenga awulira okusaba kw’abaweereza be abeesigwa. (1 Samwiri 1:9-19; Zabbuli 65:2) Naye, okuva mu kiseera Katonda lwe yakola endagaano n’Abaisiraeri, abo abaali baagala essaala zaabwe okuwulirwa baalina okukikkiriza nti Isiraeri lye lyali eggwanga lya Katonda eddonde. Era oluvannyuma, okuva mu kiseera kya Sulemaani, baalina okukikkiriza nti yeekaalu kye kifo ekyali kiweerwamu ssaddaaka eri Katonda. (Ekyamateeka 9:29; 2 Ebyomumirembe 6:32, 33) Kyokka, enteekateeka eno ey’okusinza yali ejja kutuuka ekiseera ekome. Ng’omutume Pawulo bwe yawandiika, Amateeka agaaweebwa Isiraeri ne ssaddaaka ezaaweebwangayo mu yeekaalu byali ‘kisiikirize ky’ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky’ebigambo.’ (Abaebbulaniya 10:1, 2) Ekisiikirize kyali kirina okuvaawo waddewo ekifaananyi kyennyini ekituufu. (Abakkolosaayi 2:17) Okuva mu mwaka 33 C.E., omuntu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa tekikyasinziira ku kukwata Mateeka ga Musa, wabula ku kugondera oyo Amateeka gwe gaali gasongako​—Kristo Yesu.​—Yokaana 15:14-16; Abaggalatiya 3:24, 25.

Erinnya “Erisinga Gonna”

Yesu yassaawo entegeka y’okutuukirira Yakuwa eri ku ddaala erisingako, bw’atyo n’alaga nti ye mukwano gwaffe omulungi ennyo era oyo asobozesa essaala zaffe okuwulirwa n’okuddibwamu Katonda. Kino Yesu akikola atya?

Olw’okuba ffenna tuzaalirwa mu kibi, tewali kye tuyinza kukola wadde okubaako ssaddaaka gye tuwaayo ne tuggibwako ekibi kino oba okufuna enkolagana ennungi ne Katonda waffe omutukuvu, Yakuwa. (Abaruumi 3:20, 24; Abaebbulaniya 1:3, 4) Kyokka, Yesu yawaayo obulamu bwe obutuukiridde n’asasulira ebibi by’abantu basobole okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. (Abaruumi 5:12, 18, 19) Abo bonna abaagala okusonyiyibwa ebibi byabwe basobola okufuna ennyimirira ennungi mu maaso ga Yakuwa era bafuna “obuvumu” okwogera ne Katonda​—nga kino kisoboka ng’omuntu amaze kukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu era ng’asaba mu linnya lye.​—Abaefeso 3:11, 12.

Bwe tusaba mu linnya lya Yesu, tuba tulaga nti tukkiririza mu bintu bisatu ebikwatagana n’ekifo ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda: (1) Ye ‘Mwana gw’endiga ogwa Katonda,’ era nga ssaddaaka ye y’esonyiyisa ebibi. (2) Yazuukizibwa Yakuwa era kati akola nga “kabona asinga obukulu” atuyamba okuganyulwa mu kinunulo. (3) Ye yekka lye “kkubo” mwe tuyita okutuukirira Yakuwa mu kusaba.​—Yokaana 1:29; 14:6; Abaebbulaniya 4:14, 15.

Okusaba mu linnya lya Yesu kimuweesa ekitiibwa. Ekitiibwa ng’ekyo kimusaanira kubanga Yakuwa ayagala “buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu . . . , era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.” (Abafiripi 2:10, 11) N’ekisinga obukulu, okusaba mu linnya lya Yesu kiweesa Yakuwa ekitiibwa, oyo eyawaayo Omwana we ku lwaffe.​—Yokaana 3:16.

Baibuli ekozesa ebitiibwa eby’enjawulo n’amannya ng’eyogera ku Yesu okusobola okutuyamba okutegeera ekifo ekikulu ky’alina. Bino bituyamba okutegeera emiganyulo emingi gye tufuna olw’ebyo Yesu by’akoze, by’akola, ne by’ajja okukola ku lwaffe. (Laba akasanduuko “Ekifo kya Yesu Ekikulu,” ku lupapula 12) Mu butuufu Yesu yaweebwa “erinnya liri erisinga amannya gonna.” * Yaweebwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.​—Abafiripi 2:9; Matayo 28:18.

Si Kutuusa Butuusa Mukolo

Mu butuufu, tuteekwa okusaba mu linnya lya Yesu bwe tuba twagala Yakuwa awulire okusaba kwaffe. (Yokaana 14:13, 14) Naye ebigambo “mu linnya lya Yesu” tetusaanidde kubikozesa mu ngeri y’okutuusa obutuusa omukolo. Lwaki?

Lowooza ku kyokulabirako kino. Munnabizineesi bw’aba awandiika ebbaluwa, atera okukomekkereza n’ebigambo, “nze owuwo ddala.” Olowooza ebigambo ebyo biba biviiridde ddala ku mutima gwa munnabizineesi oyo, oba aba abikozesezza lwa kuba ebbaluwa bwe zityo bwe zikomekkerezebwa? Bwe tusaba mu linnya lya Yesu, tulina okukikola mu ngeri ey’amakulu, so si nga munnabizineesi bw’akozesa ebigambo ebyo okufundikira ebbaluwa. Wadde tulina ‘okusaba obutayosa,’ tulina okukikola ‘n’omutima gwaffe gwonna,’ so si kutuusa butuusa mukolo.​—1 Abasessaloniika 5:17; Zabbuli 119:145.

Oyinza otya okwewala okukozesa ebigambo “mu linnya lya Yesu” nga totuusa butuusa mukolo? Lwaki tofumiitirizza ku ngeri za Yesu ennungi ennyo? Lowooza ku ebyo by’akukoledde ne ku ebyo by’agenda okukukolera. Bw’oba osaba, weebaze Yakuwa era mutendereze olw’engeri ennungi gy’akozesezzaamu Omwana we. Bw’okola bw’otyo, ojja kweyongera okuba omukakafu ku ekyo Yesu kye yasuubiza nti: “Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.”​—Yokaana 16:23.

[Obugambo obuli wansi]

^ Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Vine’s Expository Dictionary of New Testament Words, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa “erinnya” oluusi kitegeeza “ebyo byonna ebizingirwa mu linnya, gamba ng’obuyinza, ekitiibwa, ekifo, obulungi n’amaanyi.”

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 11]

Tusaanidde okusaba ‘n’omutima gwaffe gwonna,’ so si kutuusa butuusa mukolo

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

EKIFO KYA YESU EKIKULU

Okutegeera obulungi ekifo kya Yesu, weetegereze ebimu ku bitiibwa bye, n’amannya g’ayitibwa n’ebimwogerwako.

Adamu ow’Oluvannyuma.​—1 Abakkolinso 15:45.

Amiina.​—2 Abakkolinso 1:19, 20; Okubikkulirwa 3:14.

Ateesa Ebigambo.​—Isaaya 9:6.

Emmanweri.​—Matayo 1:23.

Kabaka.​—Okubikkulirwa 11:15.

Kabona Asinga Obukulu.​—Abaebbulaniya 4:14, 15.

Katonda ow’Amaanyi.​—Isaaya 9:6.

Kigambo.​—Yokaana 1:1.

Kitaffe Ataggwaawo.​—Isaaya 9:6.

Kristo/Masiya.​—Matayo 16:16; Yokaana 1:41.

Mikaeri Malayika Omukulu.​—1 Abasessaloniika 4:16; Yuda 9.

Mukama Waffe.​—Yokaana 13:13.

Omujulirwa Omwesigwa.​—Okubikkulirwa 1:5.

Omukulu ow’Emirembe.​—Isaaya 9:6.

Omukulu w’Obulamu.​—Ebikolwa 3:15.

Omulagirizi.​—Matayo 23:10.

Omulokozi.​—Lukka 2:11.

Omusazi ow’Emisango.​—Ebikolwa 10:42.

Omusumba Omulungi.​—Yokaana 10:11.

Omutabaganya.​—1 Timoseewo 2:5.

Omutume.​—Abaebbulaniya 3:1.

Omutwe gw’Ekkanisa.​—Abaefeso 5:23.

Omuyigiriza.​—Yokaana 13:13.

Omwana gw’Endiga gwa Katonda.​—Yokaana 1:29.

Omwana w’Omuntu.​—Matayo 8:20.

Omwana wa Katonda.​—Yokaana 1:34.