Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Makko Teyaggwamu Maanyi

Makko Teyaggwamu Maanyi

Yigiriza Abaana Bo

Makko Teyaggwamu Maanyi

MAKKO yawandiika ekimu ku bitabo ebina ebyogera ku bulamu bwa Yesu. Ekikye kye kisingayo obumpi n’okuba ekyangu okusoma. Makko ye yali ani? Olowooza yali amanyi Yesu?​— * Ka tulabe ebizibu Makko bye yayolekagana nabyo, n’ensonga lwaki teyava mu Bukristaayo.

Makko ayogerwako omulundi ogusooka mu Baibuli oluvannyuma lwa Kabaka Kerode Agulipa okusiba Peetero mu kkomera. Lumu ekiro malayika yasumulula Peetero, era Peetero yagenda e Yerusaalemi mu maka ewa Malyamu, nnyina wa Makko. Okusumululwa kwa Peetero kwaliwo nga wayise emyaka nga kkumi bukya Yesu attibwa ku lunaku lw’Okuyitako mu 33 C.E.​—Ebikolwa 12:1-5, 11-17.

Omanyi ekyatwala Peetero ewa Malyamu?​— Oboolyawo lwa kuba yali amanyi ab’omu maka ge era ng’amanyi nti abayigirizwa ba Yesu baali bakuŋŋaanirayo. Balunabba, kizibwe wa Makko, yali amaze ebbanga nga muyigirizwa, era yaliwo ne ku Mbaga ya Pentekoote 33 C.E. Baibuli egamba nti yawaayo ekirabo kinene okuyamba abayigirizwa abappya. N’olwekyo, Yesu ayinza okuba nga yali amanyi Balunabba, ssenga we Malyamu wamu ne Makko.​—Ebikolwa 4:36, 37; Abakkolosaayi 4:10.

Mu njiri ye, Makko yawandiika nti ekiro Yesu lwe yakwatibwa, waaliwo omulenzi nga ku “mubiri” asuddeko olugoye lwa kitaani lwokka. Makko yawandiika nti abalabe bwe baakwata Yesu, omulenzi oyo n’adduka. Olowooza oyo yali ani?​— Yee, yandiba nga yali Makko! Yesu n’abatume bwe baali bavaayo ekiro ekyo, Makko ne yesuulako olugoye olw’ekitaani n’abagoberera.​—Makko 14:51, 52.

Kirabika Makko yabeeranga nnyo n’abaweereza ba Katonda era yaliwo ng’ebintu bingi ebikwata ku kigendererwa Kye bikolebwa. Yandiba nga yaliwo ku Pentekoote 33 C.E. ng’omwoyo omutukuvu gufukibwa era yalina enkolagana ey’okulusegere n’abaweereza ba Katonda, gamba nga Peetero. Ate era yawerekera ku kizibwe we Balunabba, eyayanjula Sawulo eri Peetero nga wayise emyaka ng’esatu bukya Yesu alabikira Sawulo. Bwe waayita emyaka, Balunabba yasindikibwa e Taluso okusisinkana Sawulo.​—Ebikolwa 9:1-15, 27; 11:22-26; 12:25; Abaggalatiya 1:18, 19.

Mu 47 C.E., Balunabba ne Sawulo baalondebwa okuweereza ng’abaminsani. Baagenda ne Makko, naye olw’ensonga etemanyiddwa, yabaleka n’addayo ewaabwe e Yerusaalemi. Kino kyanyiiza nnyo Sawulo, oluvannyuma eyayitibwa Pawulo, erinnya lye ery’Ekiruumi. Era teyabuusa maaso Makko kye yali akoze.​—Ebikolwa 13:1-3, 9, 13.

Pawulo ne Balunabba bwe baakomawo okuva ku lugendo olwo, ne battottola ebirungi ebyali biruvuddemu. (Ebikolwa 14:24-28) Nga wayise emyezi, baateekateeka okuddayo bakyalire abayigirizwa abappya mu bitundu gye baali babuulidde. Balunabba yali ayagala Makko agende nabo, naye omanyi ye Pawulo kye yali alowooza?​— ‘Teyakisiima’ kubanga Makko yali yabaleka n’addayo ewaabwe. Ebyaddirira birina okuba nga byanakuwaza nnyo Makko!

Wajjawo okusoowagana wakati wa Pawulo ne Balunabba, era oluvannyuma ‘lw’okuwakana’ ennyo, baayawukana. Balunabba yatwala Makko ne bagenda okubuulira e Kupulo, ate ye Pawulo n’alonda Siira ne bagenda okukyalira abayigirizwa abappya, ng’entegeka bwe yali. Nga Makko alina okuba nga kyamuluma nnyo okwawukanya Pawulo ne Balunabba.​—Ebikolwa 15:36-41.

Tetumanyi lwaki Makko yali azzeeyo ewaabwe. Oboolyawo yalina ensonga ye gye yalowooza nti nkulu. Ka kibe kiki ekyamuleetera okuddayo, Balunabba yali mukakafu nti teyandikizzeemu. Era yali mutuufu. Makko teyaggwamu maanyi! Oluvannyuma yaweereza ng’omuminsani wamu ne Peetero mu Babulooni, ewali ewala ddala. Ng’ali eyo, Peetero yaweereza okulamusa kwe, n’agattako nti ‘Makko omwana wange naye bw’atyo.’​—1 Peetero 5:13.

Nga Peetero ne Makko baalina enkolagana ya ku mwanjo olw’okuweerereza awamu Katonda! Kino era kyeyoleka bulungi bw’osoma Enjiri ya Makko. Bingi Makko bye yawandiika biraga nti Peetero, eyayitanga ne Yesu, ye yabimubuulira. Ng’ekyokulabirako, geraageranya ebyogerwa ku muyaga ogwali ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. Makko ye atubuulira wa Yesu gye yali yeebase ne kiki kye yali yeebaseeko, nga bino omuntu omuvubi nga Peetero ye yali ayinza okubyetegereza. Kino lwaki tetukyerabirako n’agaffe nga tusoma era nga tugeraageranya ebyo ebiri mu Matayo 8:24; Makko 4:37, 38; ne Lukka 8:23?

Nga wayise ekiseera, Pawulo yasinziira mu kkomera e Ruumi n’asiima nnyo Makko olw’okumuyambanga. (Abakkolosaayi 4:10, 11) Era Pawulo bwe yasibirwayo omulundi ogw’okubiri, yawandiikira Timoseewo n’amusaba ajje ne Makko, ng’agamba nti: “Angasa olw’okuweereza.” (2 Timoseewo 4:11) Yee, Makko yasobola okuweereza Katonda mu ngeri ez’enjawulo olw’okuba teyaggwamu maanyi!

[Obugambo obuli wansi]

^ Bw’oba ng’osoma n’omwana wo, akakoloboze kakulaga w’oyinza okuyimiriramu n’omubuuza ky’alowooza.

Ebibuuzo:

○ Makko yali abeera wa, era lwaki tugamba nti ayinza okuba nga yali amanyi Yesu?

○ Ani yayamba ennyo Makko?

○ Kiki ekyali kiyinza okuleetera Makko okuggwamu amaanyi?

○ Tumanya tutya nti Makko yamala n’asiimibwa omutume Pawulo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Omulenzi ono alabika yali ani? Kiki ekimutuuseeko era lwaki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Makko yafuna mikisa ki olw’okuba olw’obutaggwamu maanyi?