Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Fuba Okukula mu by’Omwoyo—“Olunaku lwa Yakuwa Olukulu Luli Kumpi”

Fuba Okukula mu by’Omwoyo—“Olunaku lwa Yakuwa Olukulu Luli Kumpi”

Fuba Okukula mu by’Omwoyo​—“Olunaku lwa Yakuwa Olukulu Luli Kumpi”

“Ka tufube okutuuka ku kiruubirirwa eky’okuba abakulu.”​—BEB. 6:1.

1, 2. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaali mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya baafuna batya akakisa ‘ak’okuddukira mu nsozi’?

 YESU bwe yali ku nsi, abayigirizwa be baamutuukirira ne bamubuuza nti: “Kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu?” Ebigambo by’obunnabbi bye yabaddamu byasooka kutuukirizibwa mu kyasa ekyasooka. Yesu yagamba nti wandibaddewo ekintu ekitali kya bulijjo ekyandiraze nti enkomerero eri kumpi nnyo. Kino olwandikirabye, ‘abo abali mu Buyudaaya bandiddukidde mu nsozi.’ (Mat. 24:1-3, 15-22) Abayigirizwa ba Yesu bandisobodde okulaba akabonero ako era ne bakola kye yali abalagidde?

2 Mu 61 E.E, nga wayise emyaka nga 30, omutume Pawulo yawandiika ebbaluwa okuyamba Abakristaayo Abebbulaniya abaali mu Yerusaalemi n’ebitundu ebiriraanyewo okutereeza endowooza yaabwe. Pawulo ne bakkiriza banne tebaamanya nti mu myaka ng’etaano, akabonero ako kandyeyolese, ne kalaga nti ekitundu ekisooka ‘eky’ekibonyoobonyo ekinene’ kitandise. (Mat. 24:21) Mu 66 E.E., eggye ly’Abarooma eryali liduumirwa Cestius Gallus lyalumba ekibuga Yerusaalemi. Kyokka olw’ensonga etaategeerekeka, Gallus n’eggye lye baakyusa ne baddayo, era kino kyawa Abakristaayo akakisa okudduka akabi.

3. Pawulo yakubiriza atya Abakristaayo Abebbulaniya, era lwaki?

3 Abakristaayo abo baalina okuba nga bategeera bulungi eby’omwoyo okusobola okukiraba nti ako ke kabonero Yesu ke yali ayogeddeko era ne badduka. Kyokka, abamu baali batandise ‘okutegeera empola,’ nga balinga abaana abato mu by’omwoyo abeetaaga “amata.” (Soma Abebbulaniya 5:11-13.) N’abamu abaali batambulidde mu mazima okumala emyaka emingi baali batandise “okuva ku Katonda omulamu.” (Beb. 3:12) Abamu baali bagifudde ‘nkola’ yaabwe obutajja mu nkuŋŋaana za Kikristaayo mu kiseera ekyo ‘ng’olunaku olw’obuyinike lugenda lusembera.’ (Beb. 10:24, 25) Pawulo yabakubiriza n’abagamba nti: “Kaakano nga bwe tulese enjigiriza ezisookerwako ezikwata ku Kristo, ka tufube okutuuka ku kiruubirirwa eky’okuba abakulu.”​—Beb. 6:1.

4. Lwaki kikulu nnyo obutawuguka mu by’omwoyo, era kiki ekinaatuyamba?

4 Ekiseera kino kye tulimu kati obunnabbi bwa Yesu butuukirizibwa omulundi ogusembayo. “Olunaku lwa Yakuwa olukulu”​—olunaku olw’okuzikiririzaamu enteekateeka ya Setaani yonna​—“luli kumpi.” (Zef. 1:14, NW) Tulina okwetegereza engeri obunnabbi bwa Baibuli gye butuukirizibwamu n’okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. (1 Pe. 5:8) Kino tufuba okukikola? Okuba abakulu mu by’omwoyo kijja kutuyamba obutawugulwa ng’esigadde ekiseera kitono.

Kye Kitegeeza Okuba Omukulu mu by’Omwoyo

5, 6. (a) Okuba omukulu mu by’omwoyo kizingiramu ki? (b) Okusobola okukula mu by’omwoyo, tulina kufuba kukola ki?

5 Pawulo teyakoma ku kukubiriza Bakristaayo Abebbulaniya ab’omu kyasa ekyasooka kukula mu by’omwoyo kyokka, naye era yababuulira ekizingirwamu. (Soma Abebbulaniya 5:14.) ‘Abantu abakulu’ mu by’omwoyo tebanywa ‘mata’ gokka wabula balya ‘n’emmere enkalubo.’ N’olwekyo, bamanyi “ebintu ebisookerwako” era ‘n’ebintu eby’ebuziba’ ebikwata ku mazima. (1 Ko. 2:10) Ng’oggyeko ekyo, baba n’obumanyirivu mu kwawula ekituufu ku kikyamu olw’okuba bateeka bye bayiga mu nkola. Bwe babaako ensonga gye balina okusalawo, obumanyirivu obwo bubayamba okulaba emisingi gya Baibuli egizingirwamu n’engeri gye bayinza okugikolerako.

6 Pawulo yawandiika nti: “Eyo ye nsonga lwaki kitwetaagisa okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, tuleme kuwaba ne tuva mu kukkiriza.” (Beb. 2:1) Yee, tusobola okuwaba ne tuva mu kukkiriza nga tetumanyi. Naye kino tusobola okukyewala singa ‘tussaayo nnyo omwoyo’ nga tuyiga Baibuli awaka oba mu nkuŋŋaana. N’olwekyo, ffenna tusaanidde okwebuuza nti: ‘Na kati ebintu ebisookerwako bye nkyayiga? Nandiba nga bye nsoma mbiyitamu buyisi kutuusa mukolo naye ng’omutima teguliiyo? Nnyinza ntya okukulaakulana mu by’omwoyo?’ Okusobola okukula mu by’omwoyo, tulina okufuba okukola ebintu bibiri. Tulina okumanya obulungi Ekigambo kya Katonda, n’okuyiga okuba abawulize.

Manya Bulungi Ekigambo

7. Tuyinza tutya okuganyulwa mu kumanya obulungi Ekigambo kya Katonda?

7 Pawulo yawandiika nti: “Buli anywa amata aba tamanyi kigambo kya butuukirivu, olw’okuba aba muto.” (Beb. 5:13) Okusobola okukula mu by’omwoyo, tuteekwa okumanya obulungi Ekigambo kya Katonda, ne tutegeera obubaka bw’ayagala okututuusaako. Olw’okuba obubaka buno buli mu Kigambo kye Baibuli, tulina okusoma ennyo Ebyawandiikibwa awamu n’ebitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45-47) Kino kijja kutuyamba okumanya endowooza ya Katonda, tweyongere okubanguka mu kutegeera. Lowooza ku kyokulabirako kya mwannyinaffe omu ayitibwa Orchid. * Agamba nti: “Ekintu ekisinzeeyo okukwata ku bulamu bwange kwe kusoma Baibuli obutayosa. Kyantwalira emyaka ebiri okusoma Baibuli yonna, naye nnawulira ng’eyali atandika obutandisi okumanya Omutonzi wange. Nnayiga ku ngeri ze, by’ayagala ne by’atayagala, amaanyi ge amangi ennyo, ssaako n’amagezi ge agatakoma. Okusoma Baibuli buli lunaku kinnyambye okuyita mu biseera ebizibu ennyo mu bulamu bwange.”

8. Ekigambo kya Katonda kiyinza kutukolako ki?

8 Okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku kireetera ‘amaanyi’ g’obubaka obukirimu okukolera mu ffe. (Soma Abebbulaniya 4:12.) Okusoma okwo kusobola okuyamba mu kutereeza omuntu waffe ow’omunda n’aba ng’asiimibwa Yakuwa. Kikwetaagisa okuteekawo ebiseera eby’okusoma Baibuli n’okufumiitiriza ku by’ogisomamu?

9, 10. Okumanya obulungi Ekigambo kya Katonda kizingiramu ki? Waayo ekyokulabirako.

9 Okumanya obulungi Baibuli tekikoma ku kumanya bumanya ky’egamba. Kirabika abo abaali abato mu by’omwoyo mu kiseera kya Pawulo baali bamanyi ebiri mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. Naye baali tebabitambulizaako bulamu bwabwe era nga tebamanyi nti bya mugaso. Baalemwa okutegeera obulungi obubaka bwakyo olw’okuba baali tebabukolerako nga balina bye basalawo mu bulamu bwabwe.

10 Okumanya obulungi Ekigambo kya Katonda kizingiramu okutegeera obulungi ebikirimu n’okubiteeka mu nkola. Kino kyeyoleka bulungi mwannyinaffe omu ayitibwa Kyle bwe yafuna obutakkaanya ne munne bwe baali bakola. Yakola atya okumalawo obuzibu obwo? Agamba nti: “Nnajjukira ekyawandiikibwa ekiri mu Abaruumi 12:18 ekigamba nti: ‘Mukolenga kyonna kye musobola okutabagana n’abantu bonna.’ Bwe kityo nnasaba mukozi munnange oyo tusisinkane nga tumaze okukola.” Ebyavaamu byali birungi era munne wa Kyle oyo yeewunya engeri gye yakwatamu ensonga. Kyle agamba nti: “Nnakiyiga nti okukolera ku misingi gya Baibuli temuli kabi konna.”

Yiga Okuba Omuwulize

11. Kiki ekiraga nti si kyangu okuba omuwulize nga waliwo embeera enzibu?

11 Si kyangu kukolera ku ebyo bye tuyiga mu Byawandiikibwa, naddala nga tuli mu mbeera enzibu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yali yaakamala okubanunula okuva mu buddu e Misiri, abaana ba Isiraeri ‘baayombesa Musa’ era ne ‘bagezesa Yakuwa.’ Lwaki? Kubanga baali tebalina mazzi ga kunywa. (Kuv. 17:1-4) Ng’emyezi teginnawera ebiri bukya bakola ndagaano ne Katonda ne bakkiriza okukola ‘ebigambo byonna Yakuwa bye yali ayogedde,’ baamenya etteeka lye ne basinza ekifaananyi. (Kuv. 24:3, 12-18; 32:1, 2, 7-9) Kyandiba nti baatya nga balaba Musa aludde ku Lusozi Kolebu gye yali agenze okuweebwa ebiragiro? Oba bandiba nga baalowooza nti Abamaleki bandizzeemu okulumba nga Musa taliiwo, ng’ate ye yali abatuusizza ku buwanguzi emabegako bwe yawanika emikono gye? (Kuv. 17:8-16) Oboolyawo bwe kyali. Naye ka babe nga baalina nsonga ki, Abaisiraeri “baagana okumugondera.” (Bik. 7:39-41) Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okufuba ennyo waleme kubaawo n’omu agwa n’agoberera ekyokulabirako ekyo eky’obujeemu’ Abaisiraeri kye baalaga bwe baatya okuyingira mu nsi ensuubize.​—Beb. 4:3, 11.

12. Yesu yayiga atya obuwulize, era birungi ki ebyavaamu?

12 Okusobola okukula mu by’omwoyo tulina okufuba ennyo okugondera Yakuwa. Nga Yesu bwe yakiraga mu bulamu bwe, oluusi tuyiga obuwulize okuyitira mu bizibu ebitutuukako. (Soma Abebbulaniya 5:8, 9.) Bwe yali tannajja ku nsi, Yesu yali muwulize eri Kitaawe. Kyokka okukola Kitaawe by’ayagala ku nsi kyali kizingiramu okulaba ennaku n’okutuusibwako obulabe. Okulaga obuwulize wakati mu kubonaabona okw’amaanyi kyayamba Yesu “okufuulibwa atuukiridde,” n’aba ng’agwanira ekifo ekipya Katonda kye yali amutegekedde, afuuke Kabaka era Kabona Omukulu.

13. Kiki ekiraga nti tuyize okuba abawulize?

13 Ate kiri kitya bwe kituuka ku ffe? Tuli bamalirivu okugondera Yakuwa ne bwe tuba nga twolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi? (Soma 1 Peetero 1:6, 7.) Tukimanyi nti Katonda atusuubira okuba n’empisa ennungi, okuba abeesigwa, okukozesa obulungi olulimi, okusoma Ebyawandiikibwa, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okukola omulimu gw’okubuulira. (Yos. 1:8; Mat. 28:19, 20; Bef. 4:25, 28, 29; 5:3-5; Beb. 10:24, 25) Ekyebuuzibwa kiri nti, tugondera Yakuwa mu bintu bino byonna, ka tube nga tulina ebizibu eby’amaanyi? Bwe tumugondera kiba kiraga nti tukuze mu by’omwoyo.

Okuba Omukulu mu by’Omwoyo​—Lwaki Kyamuganyulo?

14. Laga engeri okuba omukulu mu by’omwoyo gye kiyinza okuba eky’obukuumi.

14 Kiba kya bukuumi okuba nti Abakristaayo basobola bulungi okwawula ekituufu n’ekikyamu mu nsi eno ‘etekyalina nsonyi.’ (Bef. 4:19) Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu ayitibwa James anyumirwa ennyo okusoma ebitabo byaffe ebinnyonnyola Baibuli alina omulimu gwe yakkiriza okukola, naye ng’abalala bonna b’akola nabo bakazi. James agamba nti: “Wadde ng’abasinga baali balabikirawo nti ba mpisa mbi, omu ku bo yalabika ng’omuntu omulungi era ayagala okuyiga Baibuli. Kyokka lumu bwe twali ffekka mu ofiisi nga tukola yansemberera era n’andaga nti yali anneegwanyiza. Mu kusooka nnalowooza nti asaaga, naye era kyanzibuwalira okumukomako. Mu kaseera ako nnajjukira ekitundu kye nnasoma mu Watchtower ekyali kyogera ku w’oluganda eyayolekagana n’okukemebwa ku mulimu. Ekitundu ekyo kyanokolayo ekyokulabirako kya Yusufu ne muka Potifali. * Amangu ago omuwala nnamusindika eri era yadduka n’afuluma.” (Lub. 39:7-12) James yali musanyufu nti ebintu byakoma awo era yakuuma omuntu we ow’omunda nga muyonjo.​—1 Ti. 1:5.

15. Okuba omukulu mu by’omwoyo kinyweza kitya omutima gwaffe ogw’akabonero?

15 Okuba omukulu mu by’omwoyo era kituyamba okunyweza omutima gwaffe ogw’akabonero ‘n’obutatwalirizibwa njigiriza ezitali zimu era ezitali za bulijjo.’ (Soma Abebbulaniya 13:9.) Bwe tufuba okukula mu by’omwoyo, tuteeka ebirowoozo byaffe ku ‘bintu ebisinga obukulu.’ (Baf. 1:9, 10) Ekyo kituleetera okwagala ennyo Katonda n’okumusiima olw’ebirungi byonna by’atukoledde. (Bar. 3:24) Omukristaayo ‘akuze mu kutegeera’ aba n’omutima ogusiima era aba n’enkolagana ennungi ne Katonda.​—1 Ko. 14:20.

16. Kiki ekyayamba mwannyinaffe omu okufuna ‘omutima omunywevu’?

16 Mwannyinaffe ayitibwa Louise agamba nti okumala ebbanga eriwerako ng’amaze okubatizibwa ekigendererwa kye ekikulu mu buweereza kwali kusanyusa balala. Agamba nti: “Wadde nga nnali sirina kikyamu kye nkola, nnali sissaayo nnyo mwoyo ku kya kuweereza Katonda. Oluvannyuma nnakiraba nti nnalina okukyusa nkole buli kye nsobola okusanyusa Katonda. Enkyukakyuka ey’amaanyi gye nnalina okukola kwe kumusinza n’omutima gwange gwonna.” Okufuba mu ngeri eyo kyayamba Louise okufuna ‘omutima omunywevu,’ ekintu ekyamuganyula ennyo oluvannyuma ng’ayolekaganye n’obulwadde. (Yak. 5:8) Louise yagamba, “Nnali mu mbeera nzibu nnyo, naye nnasemberera Yakuwa.”

‘Beera Muwulize Okuva mu Mutima’

17. Lwaki obuwulize bwali bwetaagisa nnyo mu kyasa ekyasooka?

17 Amagezi ‘ag’okuluubirira okuba abakulu’ mu by’omwoyo Pawulo ge yawa Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka abaali mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya gabayamba okuwonawo. Abo abaagoberera amagezi ago baasobola okulaba n’okutegeera akabonero Yesu ke yabawa, ne ‘baddukira mu nsozi.’ Olwalaba “eky’omuzizo ekizikiriza . . . nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu,” nga lino lyali ggye ly’Abarooma nga lyetoolodde Yerusaalemi, baamanyirawo nti kye kiseera okudduka. (Mat. 24:15, 16) Nga bakolera ku kulabula kwa Yesu, Abakristaayo badduka mu Yerusaalemi nga tekinnazikirizibwa, era okusinziira ku munnabyafaayo Eusebius, baddukira mu kibuga Pella ekiri mu nsozi z’e Giriyadi. Bwe batyo baawona ekizibu ekyasingirayo ddala okukosa ekibuga Yerusaalemi.

18, 19. (a) Lwaki kikulu nnyo okuba abawulize leero? (b) Kiki ekigenda okwogerwako mu kitundu ekiddako?

18 Mu ngeri y’emu, obuwulize obuva mu kuba abakulu mu by’omwoyo bujja kutuyamba okuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekitabangawo Yesu kye yalagulako. (Mat. 24:21) Tunaagondera obulagirizi bwonna obunaatuweebwa “omuwanika omwesigwa” mu biseera by’omu maaso? (Luk. 12:42) Nga kikulu nnyo okuyiga ‘okuba abawulize okuva mu mutima’!​—Bar. 6:17.

19 Okusobola okukula mu by’omwoyo tulina okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera. Kino tukikola nga tufuba okuyiga Ekigambo kya Katonda n’okuba abawulize. Okukula mu by’omwoyo naddala kizibuwalira nnyo abavubuka. Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku ngeri gye bayinza okuvvuunukamu obuzibu obwo.

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya agamu gakyusiddwa.

^ Laba ekitundu ekirina omutwe “Osobola Okugaana Okukola Ekikyamu,” mu Watchtower eya Okitobba 1, 1999.

Kiki ky’Oyize?

• Okuba omukulu mu by’omwoyo kitegeeza ki, era tukituukako tutya?

• Okumanya obulungi Ekigambo kya Katonda kituyamba kitya okukula mu by’omwoyo?

• Tuyinza tutya okuyiga okuba abawulize?

• Okuba abakulu mu by’omwoyo kituganyula kitya?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Okukolera ku bye tuyiga mu Baibuli kituyamba okugonjoola ebizibu mu ngeri entuufu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12, 13]

Okugoberera obulagirizi bwa Yesu kyayamba Abakristaayo abaasooka okuwonawo