Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Tusaanidde Okugoberera “Kristo”?

Lwaki Tusaanidde Okugoberera “Kristo”?

Lwaki Tusaanidde Okugoberera “Kristo”?

“Omuntu yenna bw’ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka . . . angobererenga.”​—LUK. 9:23.

1, 2. Lwaki kikulu okwetegereza ensonga lwaki tusaanidde okugoberera “Kristo”?

 NGA Yakuwa asanyuka nnyo okulaba mmwe abapya n’abaana abato nga mukuŋŋaanidde awamu n’abasinza be ku nsi! Nga bwe mugenda mu maaso n’okuyiga Baibuli, okujja mu nkuŋŋaana obutayosa, n’okukulaakulana mu kumanya amazima agali mu Kigambo kya Katonda, mwetaaga okulowooza ennyo ku bigambo bya Yesu bino: “Omuntu yenna bw’ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka asitule omuti gwe ogw’okubonaabona buli lunaku, angobererenga.” (Luk. 9:23) Yesu agamba nti mulina okulekera awo okwetwala mwekka mufuuke abagoberezi be. N’olwekyo, kikulu nnyo okwekkaanya ensonga lwaki tusaanidde okugoberera “Kristo.”​—Mat. 16:13-16.

2 Ate kiri kitya ku abo abaatandika edda okutambulira mu bigere bya Yesu Kristo? Baibuli etukubiriza nti: “Mweyongere okutambula bwe mutyo n’okusingawo.” (1 Se. 4:1, 2) Ka tube nga twakayingira mu kusinza okw’amazima oba nga tumazeemu emyaka mingi, okufumiitiriza ku nsonga lwaki tulina okugoberera Kristo kijja kutuyamba okukolera ku kubuulira kwa Pawulo okwo, tweyongere okugoberera Kristo n’okusingawo. Ka tulabe ensonga ttaano lwaki tusaanidde okugoberera Kristo.

Tuba Tusemberera Yakuwa

3. Bintu ki ebibiri ebituyamba okumanya Yakuwa?

3 Bwe yali ‘ayimiridde wakati mu Aleyopaago,’ omutume Pawulo yagamba Abaasene nti: “[Katonda] yabateerawo ebiseera ebigere n’ensalo ez’ebitundu omw’okubeera, basobole okunoonya Katonda, bamuwammante, era bamuzuule, wadde nga tali wala wa buli omu ku ffe.” (Bik. 17:22, 26, 27) Yee, tusobola okunoonya Katonda era ne tumutegeera bulungi. Ng’ekyokulabirako, ebitonde bituyamba okulaba engeri za Katonda n’obusobozi bwe, era tuyiga ebintu bingi nnyo ku Mutonzi waffe bwe tufumiitiriza ku bintu ebyo. (Bar. 1:20) Yakuwa era atubuulira ebirala ebimukwatako mu Kigambo kye Baibuli. (2 Ti. 3:16, 17) Gye tukoma ‘okufumiitiriza ku mirimu gya Yakuwa gyonna n’okufaayo ku bintu by’azze akola,’ gye tukoma okweyongera okumumanya.​—Zab. 77:12, NW.

4. Okugoberera Kristo kiyinza kitya okutuyamba okusemberera Yakuwa?

4 Ekintu ekirala ekituyamba okumanya Yakuwa n’okusingako awo kwe kugoberera Kristo. Teebereza ekitiibwa Yesu kye yalina ng’ali ne Kitaawe “ng’ensi tennabaawo”! (Yok. 17:5) Ye ‘mubereberye w’ebitonde bya Katonda.’ (Kub. 3:14) ‘Ng’omubereberye w’ebitonde byonna,’ yamala emyaka butabalika mu ggulu ng’ali ne Kitaawe, Yakuwa. Yesu teyabeeranga bubeezi na Kitaawe kyokka, wabula yali munne ow’oku lusegere era ng’akolera wamu naye, bw’atyo n’afuna enkolagana esingayo okuba ennywevu ne Katonda. Yesu yekkaanya engeri Kitaawe gy’akolamu ebintu, endowooza ye, engeri ze, era yakoppa buli kimu kye yamuyigako. Eno ye ngeri Omwana oyo omuwulize gye yaggyamu okuba nga Kitaawe, n’atuuka n’okwogerwako mu Baibuli ‘ng’ekifaananyi kya Katonda atalabika.’ (Bak. 1:15) N’olwekyo, okugoberera Kristo kituyamba okweyongera okusemberera Yakuwa.

Tuba Tukoppa Yakuwa

5. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okukoppa Yakuwa, era lwaki?

5 Olw’okuba ‘twakolebwa mu kifaananyi kya Katonda era mu ngeri ye,’ tusobola okwoleka engeri ze. (Lub. 1:26) Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okukoppa Katonda ng’abaana abaagalwa.’ (Bef. 5:1) Okugoberera Kristo kituyamba okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu. Kino kiri kityo kubanga Yesu yayolekera ddala endowooza, enneewulira n’engeri ng’ebya Katonda, era yannyonnyola ebimukwatako okusinga omuntu omulala yenna. Bwe yali ku nsi, Yesu teyakoma ku kumanyisa linnya lya Yakuwa kyokka, wabula yayamba n’abantu okutegeera nnannyini linnya eryo. (Soma Matayo 11:27.) Kino Yesu yakikola mu bigambo, mu bikolwa, mu kuyigiriza kwe, ne mu kyokulabirako kye yassaawo.

6. Yesu bye yayigiriza bitutegeeza ki ku Yakuwa?

6 Yesu yatuyigiriza Katonda by’ayagala tukole era yalaga engeri gy’atunuuliramu abaweereza be. (Mat. 22:36-40; Luk. 12:6, 7; 15:4-7) Ng’ekyokulabirako, bwe yamala okujuliza erimu ku Mateeka Ekkumi​—“toyendanga”​—Yesu yannyonnyola engeri Katonda gy’atwalamu ekiba mu mutima gw’omuntu nga tannagwa mu bwenzi. Yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Kuv. 20:14; Mat. 5:27, 28) Bwe yamala okwogera ku ngeri Abafalisaayo gye baali bategeeramu etteeka erimu​—“olina okwagala munno naye okyawe omulabe wo”​—Yesu yalaga endowooza ya Yakuwa bwe yagamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya.” (Mat. 5:43, 44; Kuv. 23:4; Leev. 19:18) Okutegeera obulungi endowooza ya Katonda, enneewulira ye, awamu ne by’ayagala tukole kituyamba okumukoppa.

7, 8. Ekyokulabirako kya Yesu kituyigiriza ki ku Yakuwa?

7 Obulamu bwa Yesu nabwo butuyigiriza ebikwata ku Kitaawe. Bye tusoma mu Njiri ku ngeri Yesu gye yalagamu obusaasizi eri abaali mu bwetaavu, gye yaddaabirizaamu abaali balumwa, n’engeri gye yanenyaamu abayigirizwa be olw’okugobaganya abaana abato, bitulaga bulungi engeri Kitaawe gy’awuliramu. (Mak. 1:40-42; 10:13, 14; Yok. 11:32-35) Lowooza ku ngeri ebintu Yesu bye yakola gye byolekamu engeri za Katonda enkulu. Ebyamagero Kristo bye yakola byalaga amaanyi amangi ge yalina. Kyokka amaanyi ago teyagakozesa kwefunira by’ayagala oba kulumya balala. (Luk. 4:1-4) Eky’okugoba abasuubuzi mu yeekaalu kyalaga bulungi engeri gy’ayagalamu obwenkanya. (Mak. 11:15-17; Yok. 2:13-16) Ebintu bye yayigiriza n’ebigambo ebirungi bye yakozesa okutuuka abantu ku mitima byalaga nti yali “asinga Sulemaani” amagezi. (Mat. 12:42) Okwagala Yesu kwe yalaga bwe yawaayo obulamu bwe ku lw’abalala Baibuli ekwogerako mu bigambo ebirungi ng’egamba nti “tewali n’omu alina kwagala nga kuno”?​—Yok. 15:13.

8 Olw’okuba Omwana wa Katonda ebintu yabyogera era n’abikolera ddala nga Yakuwa, yali asobola okugamba nti: “Alabye nze aba alabye ne Kitange.” (Soma Yokaana 14:9-11.) Bwe kityo, bwe tugoberera Kristo tuba tukoppa Yakuwa.

Yesu y’Oyo Yakuwa gwe Yafukako Amafuta

9. Yesu yafuuka ddi Oyo Katonda gwe yafukako amafuta era yafuuka atya?

9 Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu 29 E.E., Yesu bwe yajja eri Yokaana Omubatiza nga wa myaka 30. “Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi, era laba! eggulu ne libikkuka, n’alaba omwoyo gwa Katonda nga gumukkako nga gulinga ejjiba.” Awo we yafuukira Kristo, oba Masiya. Era Yakuwa kennyini yalaga nti Yesu y’Oyo gwe yali afuseeko amafuta bwe yagamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira.” (Mat. 3:13-17) Eno si nsonga nnungi eyandituleetedde okugoberera Kristo?

10, 11. (a) Ekitiibwa “Kristo” kikozesebwa kitya ku Yesu? (b) Lwaki ffenna tusaanidde okugoberera Yesu Kristo?

10 Mu Baibuli, ekitiibwa “Kristo” kikozesebwa ku Yesu mu ngeri ezitali zimu, gamba nga Yesu Kristo, Kristo Yesu, ne Kristo. Yesu kennyini ye yasooka okukozesa ebigambo “Yesu Kristo”​—ng’erinnya likulembedde ekitiibwa. Lumu bwe yali asaba Kitaawe yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yok. 17:3) Wano essira liba liteekeddwa ku Oyo Katonda gwe yatuma era gwe yafukako amafuta. Ate ekitiibwa bwe kikulembera erinnya, kwe kugamba “Kristo Yesu,” awo essira liba liteekeddwa ku kifo ky’alina, so si ku ye. (2 Ko. 4:5) Ekitiibwa “Kristo” bwe kikozesebwa nga tekuli linnya, essira era liba liteekeddwa ku kifo kya Yesu nga Masiya.​—Bik. 5:42.

11 Ekitiibwa “Kristo” ka kibe nga kikozeseddwa mu ngeri ki ku Yesu, kitulaga ekintu kimu ekikulu: Wadde ng’Omwana wa Katonda yajja ku nsi ng’omuntu n’amanyisa Kitaawe by’ayagala, teyali muntu wa bulijjo oba nnabbi owa bulijjo; yajja afuuke Oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta. Era Oyo ffenna gwe tusaanidde okugoberera.

Yesu Lye Kkubo Lyokka Erituusa ku Bulokozi

12. Bigambo ki Yesu bye yagamba omutume Tomasi eby’amakulu ennyo gye tuli?

12 Ensonga endala enkulu lwaki tulina okweyongera okugoberera Yesu Kristo esangibwa mu bigambo bye yagamba abatume be ng’esigadde essaawa mbale attibwe. Bwe yali addamu ekibuuzo Tomasi kye yali abuuzizza ku kugenda kwe okubategekera ekifo, Yesu yagamba nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yok. 14:1-6) Awo Yesu yali ayogera n’abatume be 11 abeesigwa. Yabasuubiza ekifo mu ggulu, naye ng’ebigambo ebyo era bya makulu eri abo abalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi. (Kub. 7:9, 10; 21:1-4) Mu ngeri ki?

13. Mu ngeri ki Yesu gy’ali ‘ekkubo’?

13 Yesu Kristo lye “kkubo.” Kino kitegeeza nti ye yekka gwe tulina okuyitamu okutuukirira Katonda. Bwe kityo bwe kiri bwe kituuka ku kusaba, kubanga Kitaffe bw’aba ow’okutuwa bye tuba tumusabye nga bituukagana n’ebyo by’ayagala, tulina kuyitira mu Yesu. (Yok. 15:16) Kyokka Yesu era “kkubo” mu ngeri endala. Ekibi kyaviirako olulyo lw’omuntu okweyawula ku Katonda. (Is. 59:2) Naye Yesu yawaayo “obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Mat. 20:28) Eno ye nsonga lwaki Baibuli egamba nti: “Omusaayi gwa Yesu . . . gutunaazaako ekibi.” (1 Yo. 1:7) Mu ngeri eyo, Omwana yatuggulirawo ekkubo eritusobozesa okutabagana ne Katonda. (Bar. 5:8-10) Okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda tulina okukkiririza mu Yesu n’okumugondera.​—Yok. 3:36.

14. Mu ngeri ki Yesu gy’ali “amazima”?

14 Yesu ge ‘mazima’ si lwa kuba nti yayogera era n’akola eby’amazima kyokka, naye era n’olw’okuba nti obunnabbi bwonna obwawandiikibwa ku Masiya bwatuukirira mu ye. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Ebisuubizo bya Katonda ka bibe bingi kwenkana wa, bifuuse Yee okuyitira mu oyo.” (2 Ko. 1:20) ‘N’ekisiikirize ky’ebintu ebirungi’ ebyali mu Mateeka ga Musa kyatuukirizibwa mu Kristo Yesu. (Beb. 10:1; Bak. 2:17) Obunnabbi bwonna busonga ku Yesu, era butuyamba okutegeera obulungi ekifo ekikulu ennyo ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa. (Kub. 19:10) Okusobola okuganyulwa mu birungi byonna Katonda by’agenda okukola, tulina okugoberera Masiya.

15. Mu ngeri ki Yesu gy’ali “obulamu”?

15 Yesu bwe ‘bulamu’ kubanga olulyo lw’omuntu yalugula n’omusaayi gwe, era obulamu obutaggwawo kye kirabo Katonda ky’agaba okuyitira “mu Kristo Yesu Mukama waffe.” (Bar. 6:23) Yesu era ‘bulamu’ eri abo abaafa. (Yok. 5:28, 29) Ng’oggyeko ekyo, lowooza ku birungi by’anaakola nga Kabona Omukulu mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi. Ajja kununula abantu be ku nsi okuva mu kibi n’okufa!​—Beb. 9:11, 12, 28.

16. Lwaki tusaanidde okugoberera Yesu?

16 Bwe kityo, ebigambo Yesu bye yaddamu Tomasi bya makulu nnyo gye tuli. Yesu lye kkubo n’amazima n’obulamu. Y’oyo Katonda gwe yatuma mu nsi, ensi esobole okulokolebwa okuyitira mu ye. (Yok. 3:17) Era tewali ayinza kujja eri Kitaffe nga tayise mu ye. Baibuli egamba nti: “Tewali bulokozi mu muntu mulala yenna, kubanga tewali linnya ddala wansi w’eggulu eriweereddwayo mu bantu mwe tuyinza okufunira obulokozi.” (Bik. 4:12) N’olwekyo, ka tube nga twali ba nzikiriza ki mu kusooka, kikulu nnyo okukkiririza mu Yesu n’okumugoberera, tusobole okufuna obulamu.​—Yok. 20:31.

Tulagirwa Okuwuliriza Kristo

17. Lwaki tusaanidde okuwuliriza Omwana wa Katonda?

17 Peetero, Yokaana, ne Yakobo baaliwo nga Yesu akyusibwa. Ku olwo baawulira eddoboozi eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Ono ye Mwana wange alondeddwa. Mumuwulirize.” (Luk. 9:28, 29, 35) Okutuukiriza ekiragiro ky’okugondera Masiya tulina okukitwala ng’ekikulu.​—Soma Ebikolwa 3:22, 23.

18. Tuyinza tutya okuwuliriza Yesu Kristo?

18 Okuwuliriza Yesu kizingiramu ‘okumwekaliriza n’okulowooza ennyo ku kyokulabirako kye.’ (Beb. 12:2, 3) N’olwekyo, tulina “okussaayo ennyo omwoyo ku bintu” bye tumusomako mu Baibuli ne mu bitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” awamu ne bye tumuyigako mu nkuŋŋaana. (Beb. 2:1; Mat. 24:45) Ng’endiga ze, ka tube bamalirivu okumuwuliriza n’okumugoberera.​—Yok. 10:27.

19. Kiki ekinaatuyamba okugoberera Kristo awatali kuddirira?

19 Kiyinzika okugoberera Kristo awatali kuddirira ka tube nga twolekaganye n’ebizibu? Yee, tusobola okukikola singa ‘tunywerera ku kyokulabirako ky’ebigambo eby’obulamu,’ nga tukolera ku bye tuyiga mu ‘kukkiriza n’okwagala ebiri mu Kristo Yesu.’​—2 Ti. 1:13.

Kiki ky’Oyize?

• Okugoberera “Kristo” kituyamba kitya okusemberera Yakuwa?

• Lwaki okukoppa Yesu kuba kukoppa Yakuwa?

• Mu ngeri ki Yesu gy’ali ‘ekkubo n’amazima n’obulamu’?

• Lwaki tusaanidde okuwuliriza Oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Ebintu Yesu bye yayigiriza byayoleka endowooza ya Yakuwa eya waggulu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Tuteekwa okugoberera Oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Yakuwa yagamba nti: “Ono ye Mwana wange . . . mumuwulirize”