Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Ekiseera eky’Okusirikiramu”

“Ekiseera eky’Okusirikiramu”

“Ekiseera eky’Okusirikiramu”

OLUGERO olumu olw’omu Asiya lugamba nti: “Okwogera kulinga ffeeza, okusirika kulinga zzaabu.” Mu nkuluze eyitibwa Brewer’s Dictionary of Phrase and Fable mulimu olugero olw’Olwebbulaniya olulina amakulu ge gamu olugamba nti: “Ekigambo ekimu bwe kiba kiweramu sekeri emu, okusirika kuweramu bbiri.” Kabaka Sulemaani owa Isiraeri ey’edda naye yawandiika nti: “Buli kintu kiriko entuuko yaakyo, na buli kigambo ekiri wansi w’eggulu kiriko ekiseera kyakyo . . . ekiseera eky’okusirikiramu, n’ekiseera eky’okwogereramu.”​—Mub. 3:1, 7.

Kati olwo ddi okusirika lwe kuba okulungi okusinga okwogera? Ekigambo “okusirika” oba ebirala ebirina amakulu ge gamu bisangibwa emirundi mingi nnyo mu Baibuli. Engeri gye bikozesebwamu eraga nti okusirika kutuganyula mu ngeri nga ssatu: kiraga okuwa ekitiibwa, kiraga amagezi n’okutegeera, era kiyamba mu kufumiitiriza.

Kiraga Okuwa Ekitiibwa

Okusirika kiraga nti omuntu awa abalala ekitiibwa. Nnabbi Kaabakuuku yagamba nti: “Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: ensi zonna zibunire mu maaso ge.” (Kaab. 2:20) Abasinza ab’amazima balina “okulindiriranga obulokozi bwa Mukama [nga basirise].” (Kung. 3:26) Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Sirika eri Mukama, omulindirirenga n’okugumiikiriza: teweeraliikiriranga lw’oyo alaba ebirungi mu kkubo lye.”​—Zab. 37:7.

Tusobola okutendereza Yakuwa nga tetulina kye twogedde? Lowooza ku kino. Oluusi bwe tutunuulira ebintu Katonda bye yatonda tuwuniikirira ne tubulwa n’eky’okwogera! Bwe tufumiitiriza ku bitonde ebyo eby’ekitalo tuba tutendereza Omutonzi mu mitima gyaffe. Dawudi yagamba bw’ati mu emu ku zabbuli ze: “Oweebwa ettendo​—akasiriikiriro​—, Ai Katonda, mu Sayuuni; era gy’oli obweyamo bujja kutuukirizibwa.”​—Zab. 65:1, NW.

Nga Yakuwa bw’agwanidde okuweebwa ekitiibwa, n’ebigambo bye bwe bityo. Ng’ekyokulabirako, mu kwogera kwa nnabbi wa Katonda Musa okwasembayo eri eggwanga lya Isiraeri, ye ne bakabona baakubiriza abaaliwo nti: ‘Musirike, era mugondere eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.’ N’abaana abato mu Isiraeri baalinanga okussaayo omwoyo ng’eggwanga likuŋŋaanye okuyigirizibwa Amateeka ga Katonda. Musa yagamba nti: “Okuŋŋaanyanga abantu, abasajja n’abakazi n’abaana abato . . . bayige.”​—Ma. 27:9, 10; 31:11, 12.

Abasinza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino nabo basaanidde okuwuliriza n’obwegendereza obulagirizi obubaweebwa mu nkuŋŋaana ennene n’entono. Kiba kiraga obutassa kitiibwa mu Kigambo kya Katonda ne mu kibiina kye singa tudda mu kunyumya nga tuli mu nkuŋŋaana. Ekyo kiba kiseera kya kusirika na kuwuliriza.

Ne bwe tuba nga tulina omuntu gwe tunyumya naye, okumuwuliriza kiraga nti tumuwa ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, Yobu yagamba abo abaali bamulumiriza nti: “Munjigirize nange n[n]aasirika.” Yobu yasirika n’awuliriza nga boogera. Ekiseera bwe kyatuuka naye okubaako ky’ayogera yabagamba nti: “Musirike mundeke njogere.”​—Yobu 6:24; 13:13.

Kiraga Amagezi n’Okutegeera

Baibuli egamba nti: “Oyo aziyiza emimwa gye akola eby’amagezi.” “Omuntu alina okutegeera asirika.” (Nge. 10:19; 11:12) Weetegereze engeri Yesu gye yayolekamu amagezi n’okutegeera bwe yasirika. Bwe yalaba nti okwanukula abalabe be abaali baswakidde kyali tekijja kuvaamu kalungi konna, ‘Yesu yasirika.’ (Mat. 26:63) Oluvannyuma, bwe yasimbibwa mu maaso ga Piraato, ‘teyaddamu n’akatono.’ Yakiraba nti ebintu bye yali akoze byali byeyogerera.​—Mat. 27:11-14.

Kiba kya magezi naffe okufuga emimwa gyaffe, naddala nga waliwo omuntu atunyiizizza. Olugero olumu lugamba nti: “Alwawo okusunguwala alina okutegeera kungi: naye alina omwoyo ogwanguyiriza agulumiza [o]busirusiru.” (Nge. 14:29) Okwanguwa okuddamu nga tunyiize kiyinza okutuviirako okwogera ebintu ate ne tumala ne tubyejjusa. Mu mbeera ng’eyo, bye twogedde biyinza okulabika ng’eby’obusiru, ne kituleetera okuwulira obubi.

Kiba kya magezi okufuga emimwa gyaffe nga tuli mu bantu ababi. Bwe tusisinkana abantu abatwogerera obubi nga tuli mu nnimiro, kiyinza okuba eky’amagezi okusirika. Era oluusi kiba kya magezi okusirika bwe wabaawo muyizi munnaffe oba mukozi munnaffe asaaga mu ngeri etesaana oba ayogera eby’obuwemu. (Bef. 5:3) Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “N[n]aasibanga akamwa kange n’olukoba, omubi ng’ali mu maaso gange.”​—Zab. 39:1.

Omuntu alina “okutegeera” tayogera byama bya banne. (Nge. 11:12) Omukristaayo ow’amazima yeegendereza ng’ayogera n’atabikkula byama bya banne. Abakadde naddala balina okwegendereza mu nsonga eno, ab’oluganda mu kibiina baleme kubaggyamu bwesige.

Omuntu asobola okusirika naye n’otegeera bulungi ky’agamba. Ng’ayogera ku muntu eyaliwo mu kiseera kye, omuwandiisi w’ebitabo Sydney Smith eyaliwo mu kyasa 19 yagamba nti: “Atera okusiriikiriramu, era ekyo kiwoomesa emboozi ye.” Mu butuufu, abantu ababiri bwe baba banyumya buli omu abaako ky’ayogera. Era omuntu anyumya obulungi alina okuba ng’awuliriza bulungi.

Sulemaani yalabula nti: “Mu lufulube lw’ebigambo temubula kusobya: naye oyo aziyiza emimwa gye akola eby’amagezi.” (Nge. 10:19) Bwe kityo okwogera ekitono kituyamba okwewala okwogera ebitasaana. Mu butuufu, “n’omusirusiru bw’asirika bamuyita wa magezi; bw’abuniza emimwa gye bamulowooza nga mutegeevu.” (Nge. 17:28) N’olwekyo, tusaanidde okusabanga Yakuwa ‘akuume omulyango gw’emimwa gyaffe.’​—Zab. 141:3.

Kiyamba mu Kufumiitiriza

Ebyawandiikibwa bigamba nti omuntu agoberera ekkubo ery’obutuukirivu, “mu mateeka [ga Katonda] mw’alowooleza emisana n’ekiro.” (Zab. 1:2) Enkyusa eyitibwa The Amplified Bible yo egamba nti: ‘Alina n’empisa ey’okufumiitiriza ku mateeka Ge emisana n’ekiro.’ Mbeera ki esingayo okuba ennungi ng’omuntu ayagala okufumiitiriza?

Isaaka, mutabani wa Ibulayimu ‘yafuluma n’agenda mu nnimiro akawungeezi asobole okufumiitiriza.’ (Lub. 24:63) Yalonda ekiseera n’ekifo w’asobolera okufumiitiriza nga tewali kimutawaanya. Kabaka Dawudi yafumiitirizanga kiro ng’asisimuse. (Zab. 63:6) Ne Yesu eyali atuukiridde yalinanga okugenda mu bifo ewatali bantu gamba nga mu nsozi, mu ddungu, oba awalala wonna, asobole okufumiitiriza.​—Mat. 14:23; Luk. 4:42; 5:16.

Kikulu nnyo omuntu okufunayo akaseera ak’okusirikiramu. Ekyo kisobola okutuyamba okwekebera okulaba bwe tuyimiridde​—ekintu ekyetaagisa nga tuliko bye twagala okutereeza mu bulamu bwaffe. Okusirika kuyinza okutuyamba okufuna emirembe mu mutima. Okufumiitiriza nga tuli awantu awasirifu kiyinza okutuyamba okukulaakulanya obwetoowaze, n’okulaba ebintu bye tusaanidde okukulembeza mu bulamu.

Wadde ng’okusirika kiyinza okuba ekirungi nga bwe tulabye, waliwo “ekiseera eky’okwogereramu.” (Mub. 3:7) Abaweereza ba Katonda babuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda “mu nsi yonna.” (Mat. 24:14) Amaloboozi gaabwe ag’essanyu geeyongedde okuwulikika olw’omuwendo gwabwe ogweyongera obunene buli lukya. (Mi. 2:12) Ka tufube okuba mu abo ababuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka era abalangirira emirimu gya Katonda egy’ekitalo. Nga bwe tweyongera mu maaso n’omulimu ogwo omukulu, ka tukirage nti tumanyi nti okusirika oluusi kuba nga zzaabu.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Bwe tuba mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, tusaanidde okuwuliriza n’okuyiga

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Kiyinza okuba eky’amagezi okusirika nga tusanze abantu abatukambuwalira nga tubuulira

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Okusirika kuyamba mu kufumiitiriza