Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kirage Nti Oli Mugoberezi wa Kristo Owa Nnamaddala

Kirage Nti Oli Mugoberezi wa Kristo Owa Nnamaddala

Kirage Nti Oli Mugoberezi wa Kristo Owa Nnamaddala

“Buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi naye omuti omubi gubala ebibala ebibi.”​—MAT. 7:17.

1, 2. Mu ngeri ki abagoberezi ba Kristo aba nnamaddala gye baawukana ku b’obulimba naddala mu kiseera kino eky’enkomerero?

 YESU yagamba nti ekyandyawuddewo abagoberezi be aba nnamaddala ku abo abeetwala okuba abaweereza be byandibadde bibala​—enjigiriza zaabwe n’enneeyisa yaabwe. (Mat. 7:15-17, 20) Mu butuufu, ebyo ebiyingira mu mutima ne mu birowoozo by’omuntu birina kinene kye bikola ku nneeyisa ye. (Mat. 15:18, 19) Abo abayigirizibwa ebintu ebikyamu babala “ebibala ebibi,” so ng’ate abo abayigirizibwa amazima ga Baibuli babala “ebibala ebirungi.”

2 Ebibala bino eby’emirundi ebiri byeyolese bulungi mu kiseera kino eky’enkomerero. (Soma Danyeri 12:3, 10.) Abakristaayo ab’obulimba balina endowooza enkyamu ku Katonda era bannanfuusi, kyokka ng’abo abalina okumanya okutuufu basinza Katonda “mu mwoyo n’amazima.” (Yok. 4:24; 2 Tim. 3:1-5) Bafuba okwoleka engeri ng’eza Kristo. Naye kiri kitya eri buli omu ku ffe? Nga weetegereza ebintu ebitaano ebyawulawo Abakristaayo ab’amazima, weebuuze: ‘Enneeyisa yange n’ebyo bye njigiriza bituukana n’Ekigambo kya Katonda? Enneeyisa yange ne bye njigiriza bisikiriza abo abanoonya amazima?’

Bye Bakola Bituukana n’Ekigambo kya Katonda

3. Kiki ekisanyusa Yakuwa, era kino kikwata kitya ku Bakristaayo ab’amazima?

3 Yesu yagamba nti: “Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ y’aliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala.” (Mat. 7:21) Yee, omuntu okugamba obugambi nti Mukristaayo si kye kisanyusa Yakuwa wabula ekimusanyusa kwe kukola by’ayagala. Eri abagoberezi ba Kristo aba nnamaddala, ekyo kizingiramu buli kimu kye bakola mu bulamu bwabwe, nga mwe muli endowooza gye balina ku ssente, omulimu gwe bakola, eby’okwesanyusaamu, obulombolombo bw’ensi, ennaku enkulu, obufumbo n’engeri gye bakolaganamu n’abalala. Kyokka bo Abakristaayo ab’obulimba, bagoberera endowooza n’ebikolwa by’ensi, ebyeyongedde okuba ebibi naddala mu nnaku zino ez’enkomerero.​—Zab. 92:7.

4, 5. Tuyinza tutya okukolera ku bigambo bya Yakuwa ebiri mu Malaki 3:18?

4 Nnabbi Malaki yawandiika nti: “Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.” (Mal. 3:18) Nga bw’olowooza ku bigambo ebyo, weebuuze: ‘Nneeyisa ng’abantu b’ensi, oba ndi mwawufu? Nneeyisa nga bayizi bannange oba bakozi bannange, oba nfuba okunywerera ku misingi gya Baibuli era ne mbabuulira ennyimirira yange buli lwe kiba kyetaagisa?’ (Soma 1 Peetero 3:16.) Kyo kituufu nti tetwagala kwetwala kuba batuukirivu naye tusaanidde okuba ab’enjawulo ku abo abatayagala Yakuwa era abatamuweereza.

5 Singa okiraba nti olina we weetaaga okulongoosaamu, lwaki tokissa mu kusaba era n’obaako ky’okola okusobola okufuna amaanyi agava eri Katonda okuyitira mu kwesomesa Baibuli, okusaba, n’okubeerawo mu nkuŋŋaana? Gy’onookoma okukolera ku Kigambo kya Katonda, gy’ojja okukoma okubala “ebibala ebirungi,” nga mwe muli “ekibala eky’emimwa egyatula mu lujjudde erinnya [lya Katonda].”​—Beb. 13:15.

Babuulira Obwakabaka bwa Katonda

6, 7. Ku bikwata ku kubuulira Obwakabaka, njawulo ki eriwo wakati w’Abakristaayo ab’amazima n’ab’obulimba?

6 Yesu yagamba nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga nnatumibwa lwa nsonga eyo.” (Luk. 4:43) Lwaki Obwakabaka bwa Katonda gwe gwali omutwe omukulu ogw’obuweereza bwa Yesu? Kubanga yali amanyi nti ye kennyini nga Kabaka w’Obwakabaka obwo, ng’ali wamu ne baganda be abaafukibwako amafuta abaliba bazuukiziddwa, ajja kuggirawo ddala ekibi n’Omulyolyomi ebiviirako abantu ebizibu. (Bar. 5:12; Kub. 20:10) Bwe kityo, yalagira abagoberezi be okubuulira Obwakabaka obwo okutuusiza ddala ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno. (Mat. 24:14) Abantu abeetwala obwetwazi okuba abagoberezi ba Kristo tebeenyigira mu mulimu guno​—mu butuufu tebasobola. Lwaki? Waliwo ensonga nga ssatu: Esooka, tebasobola kuyigiriza bye batategeera. Ey’okubiri, abasinga ku bo tebasobola kugumira kusekererwa na kuyigganyizibwa ebiyinza okubatuukako olw’okubuulira obubaka bw’Obwakabaka. (Mat. 24:9; 1 Peet. 2:23) N’ensonga ey’okusatu, Abakristaayo ab’obulimba tebalina mwoyo gwa Katonda.​—Yok. 14:16, 17.

7 Kyokka bo Abakristaayo ab’amazima bamanyi Obwakabaka bwa Katonda kye butegeeza ne kye bujja okukola. Era bakulembeza Obwakabaka obwo mu bulamu bwabwe nga babulangirira mu nsi yonna nga bayambibwako omwoyo gwa Yakuwa. (Zek. 4:6) Weenyigira mu mulimu guno obutayosa? Ofuba okugwenyigiramu, oboolyawo ng’oyongera ku biseera by’omala mu kubuulira, oba ng’olongoosa mu ngeri gy’obuuliramu? Abamu bafubye okulongoosa mu ngeri gye bakozesaamu Baibuli. Omutume Pawulo eyalina empisa ey’okukubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa yawandiika nti: “Ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi.”​—Beb. 4:12; Bik. 17:2, 3.

8, 9. (a) Biki ebyaliwo ebiraga obukulu bw’okukozesa Baibuli mu buweereza bw’ennimiro? (b) Tuyinza tutya okulongoosa mu ngeri gye tukozesaamu Ekigambo kya Katonda?

8 Bwe yali abuulira nnyumba ku nnyumba, ow’oluganda omu yasomera omusajja Omukatuliki Danyeri 2:44 era n’annyonnyola engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bujja okuleeta emirembe egya nnamaddala n’obutebenkevu. Omusajja yaddamu nti: “Nsanyuse nnyo okumbikkulira Baibuli n’ondaga ekyawandiikibwa kye kigamba mu kifo ky’okukimbuulira obubuulizi.” Ow’oluganda bwe yasomera omukazi Omusoddookisi ekyawandiikibwa, omukazi oyo yamubuuza ebibuuzo ebiwerako ebyalaga nti yalina bingi bye yali ayagala okumanya. Ow’oluganda ono ne mukyala we nabo baamuddamu nga bakozesa Baibuli. Oluvannyuma omukazi yagamba nti: “Omanyi ensonga lwaki nnabakkiriza okwogera nange? Mwajja ewange nga mulina Baibuli era ne muginsomera.”

9 Kya lwatu, ebitabo byaffe bya mugaso nnyo era tusaanidde okubigaba mu nnimiro. Kyokka, Baibuli gye tusinga okukozesa. N’olwekyo, bw’oba obadde totera kugikozesa ng’oli mu buweereza, lwaki toteekawo kiruubirirwa okwongera okugikozesa? Oboolyawo oyinza okulondayo ebyawandiikibwa ebitonotono ebyogera ku Bwakabaka n’engeri gye bujja okugonjoolamu ebizibu ebiruma abantu b’omu kitundu kyo. Oluvannyuma teekateeka okubisoma ng’obuulira nnyumba ku nnyumba.

Beenyumiririza mu Kuyitibwa Erinnya lya Katonda

10, 11. Ku bikwata ku kukozesa erinnya lya Katonda, Yesu ayawukana atya ku abo abeetwala okuba abagoberezi be?

10 ‘Muli bajulirwa bange, bw’ayogera Yakuwa, nange ndi Katonda.’ (Is. 43:12) Omujulirwa wa Yakuwa omukulu, Yesu Kristo, yakitwala nga nkizo okuyitibwa erinnya lya Katonda n’okulimanyisa abalala. (Soma Okuva 6:2, 3; Yokaana 17:6; Abebbulaniya 2:12.) Olw’okuba Yesu yalangirira erinnya lya Kitaawe, yayitibwa “Omujulirwa Omwesigwa.”​—Kub. 1:5; Mat. 6:9.

11 Naye bangi abeetwala okuba nti bakiikirira Katonda n’Omwana we bakoze ebintu ebiraga nti tebassa kitiibwa mu linnya lya Katonda era baliggye ne mu nkyusa zaabwe eza Baibuli. Ekiwandiiko ekyaweerezebwa babisopu Abakatuliki kyagamba nti “erinnya lya Katonda eriwandiikibwa mu nnukuta ennya, YHWH, teririna kukozesebwa oba kwatulwa” mu kusinza. * Ng’eyo ndowooza nkyamu nnyo!

12. Abaweereza ba Yakuwa beeyongera batya okukiraga nti bantu ba Yakuwa mu mwaka 1931?

12 Nga bakoppa Kristo ‘n’ekibinja ekinene’ eky’abajulirwa abaaliwo edda, Abakristaayo ab’amazima baagala nnyo okukozesa erinnya lya Katonda. (Beb. 12:1) Mu butuufu, mu mwaka 1931, abaweereza ba Katonda beeyongera okukiraga nti ddala bantu ba Yakuwa bwe baatandika okukozesa erinnya Abajulirwa ba Yakuwa. (Soma Isaaya 43:10-12.) Bwe kityo, abagoberezi ba Kristo aba nnamaddala baafuuka ‘abantu abayitibwa erinnya lya Katonda.’​—Bik. 15:14, 17.

13. Tuyinza tutya okukiraga nti ddala tuli Bajulirwa ba Yakuwa?

13 Buli omu ku ffe ayinza atya okukiraga nti ddala Mujulirwa wa Yakuwa? Ffenna tuteekwa okunyiikirira okuwa obujulirwa obukwata ku Katonda. Pawulo yawandiika nti: “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa. Naye banaakoowoola batya gwe batannakkiririzaamu? Era banakkiriza batya gwe batannawulirako? Era banaawulira batya nga tewali abuulira? Era banaabuulira batya nga tebatumiddwa?” (Bar. 10:13-15) N’ekirala, tusaanidde okwanika enjigiriza z’amadiini ezoonoona erinnya ly’Omutonzi waffe ow’okwagala, gamba ng’enjigiriza ey’omuliro ogutazikira ewa ekifaananyi nti Katonda mukambwe ng’Omulyolyomi.​—Yer. 7:31; 1 Yok. 4:8; geraageranya Makko 9:17-27.

14. Abamu baakwatibwako batya bwe baategeera erinnya lya Katonda?

14 Weenyumiririza mu kuyitibwa erinnya lya Kitaawo ow’omu ggulu? Oyamba abalala okutegeera erinnya eryo? Omukazi omu mu kibuga Paris, eky’omu Bufalansa, bwe yategeezebwa nti Abajulirwa ba Yakuwa bamanyi erinnya lya Katonda, yasaba Omujulirwa gwe yaddako okusanga alimulage mu Baibuli. Bwe yasoma Zabbuli 83:18, yakwatibwako nnyo. Yatandika okuyiga Baibuli era kati aweereza n’obunyiikivu mu nsi endala. Omukazi Omukatuliki abeera mu Australia bwe yalaba erinnya lya Katonda mu Baibuli omulundi ogwasooka, yakaaba amaziga. Okumala emyaka mingi kati abadde aweereza nga payoniya owa bulijjo. Ate gye buvuddeko awo, Abajulirwa ba Yakuwa mu Jamaica bwe baalaga omukazi erinnya lya Katonda mu Baibuli, naye yakaaba amaziga olw’essanyu. N’olwekyo, weenyumiririze mu kuyitibwa erinnya lya Katonda era koppa Kristo ng’omanyisa bonna erinnya eryo ery’omuwendo.

“Temwagalanga Nsi”

15, 16. Abakristaayo batunuulira batya ensi, era bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

15 “Temwagalanga nsi newakubadde ebintu ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye.” (1 Yok. 2:15) Ensi n’omwoyo gwayo ogw’okwerowoozaako tebirina kakwate na Yakuwa awamu n’omwoyo gwe omutukuvu. N’olwekyo, abagoberezi ba Kristo aba nnamaddala tebakoma ku kwewala bwewazi kuba ba nsi, naye era bagikyayira ddala. Bamanyi omuyigirizwa Yakobo kye yawandiika nti, “okubeera mukwano gw’ensi bwe bulabe eri Katonda.”​—Yak. 4:4.

16 Kiyinza obutaba kyangu kukolera ku bigambo bya Yakobo ebyo mu nsi eno ejjudde ebikemo. (2 Tim. 4:10) Bwe kityo, Yesu yasabira abagoberezi be ng’agamba nti: “Sikusaba kubaggya mu nsi, naye obakuume olw’omubi. Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” (Yok. 17:15, 16) Weebuuze: ‘Nfuba obutaba wa nsi? Abalala bamanyi ennyimirira yange ku bulombolombo, ku kukuza ennaku enkulu, ne ku bintu ebirala ebiyinza okuba nga tebisibuka mu bakaafiiri naye nga byoleka omwoyo gw’ensi?’​—2 Kol. 6:17; 1 Peet. 4:3, 4.

17. Kiki ekiyinza okuleetera abantu ab’emitima emirungi okudda ku ludda lwa Yakuwa?

17 Kyo kituufu nti bwe tunywerera ku misingi gya Baibuli ensi ejja kutukyawa, naye kino kiyinza okuleetera abantu ab’emitima emirungi okwagala okumanya ensonga lwaki tukyayibwa. Abantu ng’abo bwe balaba nti okukkiriza kwaffe ne byonna bye tukola mu bulamu byesigamye ku Byawandiikibwa, nabo bayinza okugamba abaafukibwako amafuta nti: “Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.”​—Zek. 8:23.

Balaga Okwagala Okwa Nnamaddala

18. Okwagala Yakuwa ne bantu bannaffe kizingiramu ki?

18 Yesu yagamba nti: “Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna” era “oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” (Mat. 22:37, 39) Okwagala okwo (a·gaʹpe mu Luyonaani) kukubiriza omuntu okukola ekituufu, okufaayo ku balala, okunywerera ku mitindo gy’empisa emirungi, era kumuleetera okwoleka omukwano ogwa nnamaddala. (1 Peet. 1:22) Omuntu alina okwagala okw’engeri eyo akyoleka mu bigambo ne mu bikolwa nti teyeerowoozaako yekka.​—Soma 1 Abakkolinso 13:4-7.

19, 20. Waayo ebyokulabirako ebiraga amaanyi agali mu kwagala okw’Ekikristaayo.

19 Olw’okuba okwagala kye kimu ku biri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, kusobozesa Abakristaayo ab’amazima okukola ebintu abantu abalala bye batasobola kukola, gamba ng’okwewala obusosoze mu langi ne mu mawanga. (Soma Yokaana 13:34, 35; Bag. 5:22) Abo abalinga endiga bakwatibwako nnyo bwe balaba nga twoleka okwagala ng’okwo. Ng’ekyokulabirako, omusajja Omuyudaaya mu Isiraeri lwe yasooka okugenda mu nkuŋŋaana yeewuunya nnyo okulaba Abayudaaya n’Abawalabu nga basinziza wamu Yakuwa. N’ekyavaamu, yatandika okubeerangawo mu nkuŋŋaana, era n’akkiriza okutandika okuyiga Baibuli. Olaga ab’oluganda okwagala ng’okwo? Ofuba okwaniriza abapya ababa baze mu nkuŋŋaana awatali kusosola mu mawanga, mu langi, oba mu ngeri endala yonna?

20 Ng’Abakristaayo ab’amazima, tufuba okulaga okwagala eri abantu bonna. Mwannyinaffe omuvubuka ow’omu El Salvador yalina omukyala ow’emyaka 87 eyali Omukatuliki omukuukuutivu gwe yali asomesa Baibuli. Lumu, omukyala oyo yalwala nnyo n’aweebwa n’ekitanda mu ddwaliro. Bwe baamusiibula, Abajulirwa ba Yakuwa baagendanga okumulaba era baamutwaliranga n’emmere. Kino baakikola okumala omwezi nga gumu. Tewali n’omu wa ddiini ye yajja kumulaba. Biki ebyavaamu? Yeggyako ebifaananyi bye yali asinza, yava mu ddiini ye, era yeeyongera okuyiga Baibuli. Yee, okwagala okw’Ekikristaayo kulina amaanyi! Okwagala kwe tulaga abantu kubakwatako nnyo n’okusinga ebigambo bye tubabuulira.

21. Tuyinza kukola ki okusobola okuba abakakafu ku biseera byaffe eby’omu maaso?

21 Mangu ddala, Yesu ajja kugamba abo abeetwala okuba abagoberezi be nti: “Sibamanyangako mmwe! Muve we ndi mmwe abakola eby’obujeemu.” (Mat. 7:23) N’olwekyo, ka tufube okubala ebibala ebiweesa Katonda n’Omwana we ekitiibwa. Yesu yagamba nti: “Buli muntu awulira ebigambo byange era n’abikolerako, alifaanana ng’omusajja ow’amagezi eyazimba ennyumba ye ku lwazi.” (Mat. 7:24) Yee, singa tukiraga nti tuli bagoberezi ba Kristo aba nnamaddala, tujja kusiimibwa Katonda, era essuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso lijja kuba linywevu, nga liringa ennyumba eyazimbibwa ku lwazi!

[Obugambo obuli wansi]

^ Ebimu ku bitabo by’Abakatuliki, nga mwe muli ne The Jerusalem Bible, bikozesa ekigambo “Yahweh” okuvvuunula ennukuta ennya YHWH.

Ojjukira?

• Oyinza otya okwawulawo abagoberezi ba Kristo aba nnamaddala ku b’obulimba?

• Ebimu ku “bibala” ebyawulawo Abakristaayo ab’amazima bye biruwa?

• Okusobola okubala ebibala eby’Ekikristaayo, biruubirirwa ki by’oyinza okweteerawo?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Otera okukozesa Baibuli ng’oli mu buweereza bw’ennimiro?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Abalala bamanyi ennyimirira yo ku kukuza ennaku enkulu ezikontana n’Ebyawandiikibwa?