Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

KIKI ekyaleetera omulasita okusalako enviiri ze era n’alekera awo okusosola abazungu? Era kiki ekyaleetera omuvubuka omutemu abatunzi b’enjaga gwe baakozesanga okubabanjira ssente zaabwe, okukyusa obulamu bwe? Soma olabe bo bennyini kye bagamba.

“Nnalekera awo okusosola.”​—HAFENI NGHAMA

EMYAKA: 34

ENSI: ZAMBIA

EBYAFAAYO: NNALI MULASITA

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnazaalibwa mu nkambi y’ababundabunda e Zambia. Maama wange yali adduse mu Namibia mu kiseera eky’olutalo era nga yeegasse ku kibiina ekiyitibwa South West Africa People’s Organization (SWAPO). Ekibiina kino kyali kirwanyisa gavumenti ya South Africa eyali efuga Namibia mu kiseera ekyo.

Emyaka 15 egyasooka egy’obulamu bwange nnagimala mu nkambi z’ababundabunda ezitali zimu. Abavubuka abaabeeranga mu nkambi za SWAPO baayigirizibwanga eby’obufuzi, okulwanirira obwetwaze, n’okukyawa abazungu.

Bwe nnaweza emyaka 11, nnayagala okukakasibwa ng’omu ku Bakristaayo mu kkanisa eyalimu eddiini ez’enjawulo, ey’Abakatoliki, Abapolotesitante, n’abalala eyali mu nkambi. Paasita gwe nnategeezaako ensonga eno yandeetera okukyusa endowooza yange. Okuva olwo, nnalekera awo okukkiririza mu Katonda. Naye bwe nnaweza emyaka 15, okwagala ennyo ennyimba za regge n’okwagala okumalawo obumu ku butali bwenkanya obwaviirako abaddugavu okubonaabona, kyandeetera okuyingira eddiini y’Abalasita. Nnatandika okukola enviiri z’Abalasita, okunywa enjaga, obutalya nnyama, era n’okulwanirira eddembe ly’abaddugavu. Kyokka, saalekayo mpisa zange ez’obugwenyufu n’okulaba firimu ezirimu ebikolwa eby’ettemu. Era nneeyongera okukozesa olulimi olubi.

ENGERI BAIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Mu 1995, bwe nnali mpeza emyaka nga 20 egy’obukulu, nnatandika okulowooza ennyo ku ngeri y’okukozesaamu obulamu bwange. Nnasomanga buli kitabo ky’Abalasita kye nnafunanga. Ebimu ku byo byajulizanga Baibuli naye nga tebiginnyonnyola bulungi. N’olwekyo nnasalawo okwesomera Baibuli.

Oluvannyuma lw’ekiseera, mukwano gwange Omulasita yampa akatabo akannyonnyola Baibuli akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Akatabo kano nnakasomeranga wamu ne Baibuli. Nga wayiseewo ekiseera nnasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa era ne ntandika okusoma nabo Baibuli.

Nnafuba nnyo okusobola okulekera awo okunywa enjaga n’okwekamirira omwenge. (2 Abakkolinso 7:1) Nnalongoosa endabika yange, nnasalako enviiri z’Abalasita, nnalekera awo okulaba firimu ez’obugwenyufu, n’okukozesa olulimi olubi. (Abeefeso 5:3, 4) Era nnalekera awo okusosola abazungu. (Ebikolwa 10:34, 35) Okusobola okukola enkyukakyuka zino kyali kinneetaagisa okwewala ennyimba ezikubiriza obusosoze n’okwekutula ku mikwano gye nnalina egyandindeetedde okuddamu okwenyigira mu mize emibi.

Nga mazze okukola enkyukakyuka ezo, nnanoonya awali Ekizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa era ne mbasaba okwegatta ku ddiini yaabwe. Baatandika okunjigiriza Baibuli. Bwe nnasalawo okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, ab’eŋŋanda zange tebakisanyukira. Maama wange yaŋŋamba okuyingira eddiini endala “ey’Ekikristaayo” etali y’Abajulirwa ba Yakuwa. Omu ku bakojja bange, eyali omukulu mu gavumenti, yanvumiriranga buli kiseera olw’okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

Wadde kyali kityo, okuyiga engeri Yesu gye yakwatangamu abantu era n’okukolera ku kubuulirira kwe yawa, kyannyamba okugumira okuziyizibwa n’okusekererwa. Bwe nnageraageranya ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza n’ekyo Baibuli ky’egamba, nnakitegeera nti nnali nzudde eddiini ey’amazima. Ng’ekyokulabirako, bagoberera ekiragiro ekiri mu Baibuli eky’okubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Matayo 28:19, 20; Ebikolwa 15:14) Era tebeenyigira mu bya bufuzi.​—Zabbuli 146:3, 4; Yokaana 15:17, 18.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Okuyiga okutambuliza obulamu bwange ku mitindo gya Baibuli kinnyambye mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, okulekera awo okunywa enjaga kinnyambye obutayonoona ssente. Sikyali mutamiivu, era obulamu bwange bulongoose.

Kati obulamu bwange bulina ekigendererwa era ng’ekyo kye nnali njagala okuviira ddala mu buto. N’ekisinga byonna, kati muli mpulira nga nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.​—Yakobo 4:8.

“Njize okufuga obusungu bwange.”​—MARTINO PEDRETTI

MYAKA: 43

ENSI: AUSTRALIA

EBYAFAAYO: NNALI MUTUNZI WA NJAGA

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Bwe nnali nkyali muto, bazadde bange baasengukasengukanga. Nnabeerako mu bubuga obutono, mu kibuga ekinene, era ne mu bitundu ebirala eby’omu Australia. Waliwo ebintu ebirungi bye nzijukira bye twakoleranga awamu ne bakizibwe bange ne bakojja​—okuvuba, okuyigga, n’ebintu ebirala.

Taata wange yali mukubi wa bikonde era yatandika okunjigiriza okukuba ebikonde nga nkyali muto nnyo. Buli kiseera nnalwananga n’abantu. Mu myaka gyange egy’obutiini, nnamalanga ebiseera bingi mu bbaala nga nnywa omwenge. Nze ne mikwano gyange twawakulanga entalo. Twakozesanga ebiso n’emiggo okulumba ekibinja ky’abantu nga 20 oba n’okusingawo.

Nnafunanga ssente mu kutunda enjaga n’ebintu ebyabbibwanga abantu abakola ku mwalo emmeeri we zigobera. Nnayambanga abatunzi b’enjaga okufuna ssente zaabwe nga nkozesa obubundu obutono okutiisatiisa abo be baalinga babanja. Ekigendererwa kyange kyali okukola ogw’obutemu nga mpangisibwa bupangisibwa. Eŋŋombo yange yali nti, Kutta oba kuttibwa.

ENGERI BAIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Bwe nnali nga nkyali muto nnawulirako ku Bajulirwa ba Yakuwa. Bwe nnali mu myaka 20 egy’obukulu, nzijukira nnabuuza maama wange obanga yali amanyi omu ku bo gy’abeera. Nga wayiseewo ennaku bbiri, Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Dixon yakonkona ku luggi lwange. Nga tumaze okukubaganya naye ebirowoozo, yampita okugendako mu nkuŋŋaana zaabwe. Nnagenda mu nkuŋŋaana ezo era kati mmaze emyaka egisukka mu 20 nga nzigendamu. Buli kibuuzo kye nnalina, Abajulirwa ba Yakuwa baakiddamu nga bakozesa Baibuli.

Kyansanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa ayagala abantu bonna ka babe abo abatamutya. (2 Peetero 3:9) Nnakizuula nti ye Kitaffe ow’okwagala asobola okundabirira ne bwe kiba nga tewali muntu andabirira. Era kyanzizaamu amaanyi okukimanya nti asobola okunsonyiwa ebibi byange singa nkyusa enneyisa yange. Ekyawandiikibwa ekiri mu Abeefeso 4:22-24 kirina kinene nnyo kye kyankolako. Kyankubiriza “okweyambulako omuntu omukadde” era ‘n’okwambala omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala.’

Kyantwalira ebbanga okukyusa obulamu bwange. Nnalinga nsobola okumalako wiiki nga sinnywedde njaga naye bwe nnabeeranga n’emikwano gyange emibi ku wiikendi, gyampikirizanga ne nginywa. Nnakizuula nti kyali kinneetaagisa okwekutula ku mikwano emibi okusobola okulongoosa obulamu bwange, n’olwekyo nnasalawo okusengukira mu kitundu ekirala. Abamu ku mikwano gyange bansaba okumperekerako era ne nzikiriza. Bwe twali ku lugendo, baatandika okunywa enjaga era nange ne bampa. Nnabagamba nti nnali sikyayagala kwenyigira mu mize egyo era twayawukanira ku nsalo, ne bandeka ne nneyongerayo nzekka. Nga wayiseewo ekiseera, nnakimanya nti mikwano gyange egyo baagenda ne babba banka nga bakozesa emmundu.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Bwe nnamala okwekutula ku mikwano egyo, kyannyanguyira okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwange. Mu 1989, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Oluvannyuma lw’okubatizibwa, mwannyinaze, maama, ne taata bonna banneegattako mu kuweereza Yakuwa.

Kati mmaze emyaka 17 mu bufumbo era nnina abaana basatu. Njize okufuga obusungu, ne bwe baba banyiizizza. Era njize okwagala abantu ab’omu ‘mawanga gonna, ebika, n’ennimi.’ (Okubikkulirwa 7:9) Mu butuufu, ebigambo bya Yesu bino binkwatirako ddala. Yagamba nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala, era mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.”​—Yokaana 8:31, 32.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 15]

Okusobola okukola enkyukakyuka kyali kinneetaagisa okwewala ennyimba ezikubiriza obusosoze

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 16]

Nze ne mikwano gyange twawakulanga entalo. Twakozesanga ebiso n’emiggo okulumba ekibinja ky’abantu nga 20 oba n’okusingawo