Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Wandibadde Mwesigwa Ekiseera Kyonna?

Wandibadde Mwesigwa Ekiseera Kyonna?

Wandibadde Mwesigwa Ekiseera Kyonna?

BULI OMU ayinza okuba omwesigwa ebiseera ebimu; abangi kino bayinza okukikola oboolyawo ebiseera ebisinga obungi. Naye bantu bameka b’omanyi abafuba okubeera abeesigwa ekiseera kyonna?

Leero, obutali bwesigwa bulabikira mu bintu bingi nnyo ebikolebwa mu bulamu. Wadde kiri kityo, tumanyi bulungi nnyo engeri katonda gy’atunuuliramu obutali bwesigwa. Ng’ekyokulabirako, abantu abasinga obungi bamanyi bulungi etteeka lino: “Tobbanga.” (Okuva 20:15) Kyokka, bangi bagamba nti wabaawo embeera lw’eba ekwetaagisa okubba oba obutaba mwesigwa mu ngeri emu oba endala. Ka twekenneenye ebintu bisatu abantu bye batera okwekwasa nti bye bibaviirako okubba.

Obwavu Kyekwaso Okubba?

Munnabyabufuzi Omuruumi yagamba nti: “Obwavu y’ensibuko y’obumenyi bw’amateeka.” Omuntu omwavu ayinza okubba nga yeekwasa obwavu. Abamulaba bayinza okumuttira ku liiso. Yesu ye yalina ndowooza ki ku nsonga eno? Yali wa kisa nnyo ng’akolagana n’abantu abaalina obwetaavu. ‘Yabasaasiranga.’ (Matayo 9:36) Wadde kyali kityo, teyawagira muntu kubba ne bwe yabanga mu mbeera ki. Kati olwo, kiki omuntu omwavu kyalina okukola?

Katonda asaasira abo abafuba okumugondera, era ajja kubawa omukisa basobole okufuna bye beetaaga. (Zabbuli 37:25) Baibuli essuubiza nti: “Mukama taalekenga mmeeme ya mutuukirivu okufa enjala: Naye okwegomba kw’ababi akusindika eri.” (Engero 10:3) Omwavu ayinza okuteeka obwesige mu bigambo bino? Victorine ye abirinako obukakafu.

Victorine nnamwandu alina abaana abataano abakyasoma, era nga tekimwanguyira kubalabirira. Abeera mu nsi ekyakula era ng’obuyambi bw’eby’enfuna butono okuva mu gavumenti. Tasiiba waka era ng’eyo gy’asiiba waliyo ebintu bingi bye yandisobodde okubba. Kyokka, Victorine tabba. Mu kifo kyekyo, yeeyimirizaawo ng’akola omulimu gwe n’obwesigwa ogw’okutunda ebintu ku luguudo. Lwaki afuba okusigala nga mwesigwa?

Agamba nti: “Ekisooka, nkimanyi nti Katonda mwesigwa era nti ajja kubeera mwesigwa gyendi singa mukoppa. Ekyokubiri, bwe mba omwesigwa abaana bange nabo bajja kuyiga okubeera abeesigwa.”

Aganyuddwa atya? “Tulina emmere, eby’okwambala, era n’aw’okusula. Wadde kiri kityo, emirundi egimu kiba kinneetaagisa okusaba mikwano gyange obuyambi, gamba ng’okusasula ebisale by’eddwaliro. Bulijjo nfuna bye nneetaaga. Lwaki? Kubanga mikwano gyange bakimanyi nti ndi mwesigwa era bwe mbannyonnyola embeera gyembaamu bakitegeera nti mba saagala kufuna bufunyi kisinga ku ebyo bye mba nneetaaga.

“Abaana bange nabo bayize okuba abeesigwa. Gye buvuddeko awo muliranwa wange yalaba ebinusu ku mmeeza yaffe era n’ambuuza obanga nnali sitya nti abaana bayinza okubitwala. Bwe nnamugamba nti ekyo abaana bange tebasobola kukikola teyakikkiriza. Yasalawo okubagezesa, nze nga simanyi. Nga tewali n’omu amulaba, yaleka ebinusu bye mu nnyumba yaffe abaana we basobola okubirabira amangu. Bwe yakomawo enkeera, yeewuunya nnyo okusanga ng’ebinusu bye bikyaliwo we yali abirese. Okubeera n’abaana abeesigwa kya muganyulo nnyo okusinga okubeera n’ebintu ebingi.”

“Buli Omu Akikola”

Abantu bangi babba ku mirimu. N’ekivuddemu, bangi bagamba nti, “Ndaba buli omu akikola, lwaki nze sikikola?” Okwawukana ku ekyo, Baibuli egamba nti: “Togobereranga abangi olw’okukola ebibi.” (Okuva 23:2) Victoire agoberedde okubuulirira kuno. Kivuddemu emiganyulo?

Bwe yali nga wa myaka 19, Victoire yafuna omulimu mu kkolero lya butto ava mu binazi. Nga wayiseewo ekiseera kitono, yakitegeera nti abakyala 40 be yakolanga nabo babbanga ensigo z’ebinazi ne bazifulumya mu kkolero nga bazikukusiza mu bisero byabwe. Buli wiikendi, baatundanga ensigo ezo ne bafunamu ssente ezenkanankana n’omusaala gwabwe ogw’ennaku essatu oba ennya. Victoire agamba: “Kyenkana buli omu yali akikola. Baali bansuubira okubeegattako, naye ne ŋŋaana nga mbagamba nti okubeera omwesigwa nkitwala nga kikulu nnyo mu bulamu bwange. Bansekerera era ne bagamba nti nze nja kuviiramu awo.

“Lwali lumu bwe twali nga tufuluma ekkolero, akulira abakozi n’ajja nga tetumusuubira. Yakebera mu bisero byaffe n’asanga ensigo z’ebinazi mu buli kisero okujjako ekyange. Abo bonna abakwatibwa nga babbye baalina okugobebwa ku mulimu oba okukolera wiiki bbiri nga tebasasulwa. Mu wiiki ezo ebbiri, abakyala abo baakitegeera nti okuba omwesigwa kyali tekinfiiriza.”

“Kyerondera Taba Mubbi”

Owulira otya muli ng’olonze ekintu eky’omuwendo? Abangi balowooza nti kiba kifuuse kyabwe, era ekyo kibaleetera obutayagala kukiddiza nnannyini kyo. Balina endowooza ey’ekifirosoofo egamba nti “kyerondera taba mubbi.” Abamu bayinza okulowooza nti baba tebalina kibi kyonna kye bakoze. Bagamba nti, ndaba ne nnannyini kyo tasuubira kuddamu kukifuna. Abalala bagamba nti si buvunaanyizibwa bwabwe okunoonya nnannyini kyo​—omulimu oguyinza okutwala ebiseera ebingi.

Katonda atunuulira atya ensonga eno? Ekyamateeka 22:1-3 walaga nti omulonzi teyalinanga kutwala ekyo kye yabanga alonze wabula yalinanga okukitereka ‘okutuusa nga nnannyini kyo alabise n’akimuddiza.’ (The New English Bible) Omulonzi bw’ataalanganga kintu kye yabanga alonze, yavunaanibwanga ogw’obubbi. (Okuva 22:9) Ne leero bwe kityo bwe kiri? Christine agamba nti ddala bwe kityo bwe kiri.

Christine alina essomero ery’obwannannyini ly’akulira. Lwali lunaku lwa kusatu n’afuna omusaala gwe. Ng’abantu abasinga obungi mu Afirika ow’Ebugwanjuba bwe batera okukola, yazinga ssente ze n’azisonseka mu nsawo ye. Yayimiriza ppikipiki n’emutwala mu lukuŋŋaana. Bwe batuuka, n’afuukuula mu nsawo ye ng’anoonya ebinusu okusasula owa ppikipiki. Olw’okuba obudde bwali bwa nzikiza, ekitereke kya ssente kyagwa wansi nga tewali akirabye.

Nga wayiseewo eddakiika ntonotono, Blaise ow’emyaka 19 eyali omupya mu kitundu, yatuuka mu kifo ekyo. Yali azze okusisinkana mukwano gwe mu lukuŋŋaana lwe lumu ne Christine lwe yali azzeemu. Yalonda ekitereke kya ssente n’akiteeka mu nsawo ye. Olukuŋŋaana bwe lwaggwa, yabuulirako mukwano gwe nti yali alina ky’alonze ebweru era nti omuntu yenna eyali alina ky’asudde yalina okumukubira essimu n’amubuulira kye yali asudde.

Christine bwe yatuuka eka kw’olwo akawungeezi, kyamwewuunyisa bwe yakizuula nti ssente ze zaali teziriimu mu nsawo. Nga wayiseewo wiiki emu, yabuulirako mukwano gwe Josephine, eyamugamba nti waliwo omugenyi eyali aze mu lukuŋŋaana alina ekintu kye yalonda. Christine yakubira Blaise essimu n’amubuulira omuwendo gwa ssente ze yali asudde. Yasanyuka nnyo Blaise bwe yamuddiza ssente ze. Ate ye Blaise yawulira atya? Yali aterese ssente ezo okumala wiiki emu, naye yagamba nti, “Essanyu lye nnafuna nga nzizizzaayo ssente ezo lisingira wala eryo lye nnalina nga nziterese.”

Lwaki Bafuba Okuba Abeesigwa Ekiseera Kyonna?

Victorine, Victoire, ne Blaise babeera mu bitundu bya njawulo era tebamanyiganye. Kyokka balina ekintu kimu kye bafaanaganya. Bonna Bajulirwa ba Yakuwa abakolera ku kubuulirira kwa Baibuli okukwata ku bwesigwa. Balindirira okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Katonda eky’ensi empya. “Naye nga bwe yasuubiza, tulindirira eggulu eriggya n’ensi empya, era nga muno obutuukirivu mwe mulibeera.” Abo bonna abalibeerayo bajja kuba batuukirivu​—era beesigwa.​—2 Peetero 3:13.

Victorine tasuubira nti embeera ye ey’eby’enfuna ejja kusingako awo okutuusa nga Katonda alongoosezza embeera. Wadde kiri kityo, mugagga mu maaso ga Katonda, eky’obugagga ekitagulwa ssente. Abaana be beesigwa era ba mpisa nnungi. Buli lwa ssande, ‘bafuna essanyu lya nsusso’ bwe babuulira abalala ku bulungi bwa Katonda era ne babannyonnyola n’engeri gy’ajja okukkusaamu abo “bonna abamukaabira n’amazima” era n’okukuuma “abo bonna abamwagala.”​—Zabbuli 145:7, 18, 20.

Ekiseera kyatuuka Victoire n’alekera awo okukolera mu kkolero lya butto ava mu binazi. Yatandikawo bizineesi eyiye ku bubwe ng’atunda garri (akawunga ka muwogo) mu katale. Olw’okuba yali mwesigwa yafunanga abaguzi bangi. Nga wayiseewo ekiseera kitono, yakendeeza ku biseera bye yamalanga mu katale era n’akozesa ebiseera bye ebisinga obungi okubuulira abalala ku kisuubizo eky’okubeera mu nsi etajja kubaamu butali bwesigwa. Oluvannyuma yafumbirwa, era kati ye n’omwami we bakola ng’ababuulizi ab’ekiseera kyonna.

Christine yasuula ssente ze mu maaso g’Ekizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa. Blaise yali amanyiiko abantu batono nnyo ku abo abaali mu lukuŋŋaana, naye yali akimanyi nti bonna baali baganda be ne bannyina Abakristaayo abafuba okuba abeesigwa ekiseera kyonna.

Bantu bameka b’omanyi abafuba okuba abeesigwa ekiseera kyonna? Kiteeberezemu okubeera n’abantu 50, 100, oba 200 abeesigwa. Bwe babeera mu Bizimbe byabwe eby’Obwakabaka, Abajulirwa ba Yakuwa babeera basanyufu olw’okubeera n’abantu ng’abo abeesigwa. Lwaki tobakyalirako n’omanya ebibakwatako?

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 11]

“Okubeera n’abaana abeesigwa kya muganyulo nnyo okusinga okubeera n’ebintu ebingi.”​—VICTORINE

[Akasanduuko akali ku lupapula 13]

Engero 6:30 Wawagira Obubbi?

Engero 6:30 wagamba nti: “Abantu tebanyooma mubbi oba ng’abba okukkusa emmeeme ye ng’alumiddwa enjala.” Ebigambo bino biwagira obubbi? Nedda. Olunyiriri oluddako lulaga nti Katonda alagira nti omubbi aba avunaanyizibwa olw’ekibi kye. Lugamba bwe luti: “Naye bw’anaalabikanga, anaagattanga emirundi musanvu; Anaawangayo ebintu byonna eby’omu nnyumba ye.” (Engero 6:31) Wadde ng’omubbi aba abbye olw’enjala ayinza obutaba mubi nnyo ng’oyo abbye olw’omululu oba olw’ekigendererwa eky’okutuusa obulabe ku muntu, aba alina ‘okugatta’ oba okuliwa. Abo abaagala okusiimibwa Katonda tebasaanidde kubba ka babeere mu mbeera ki.