Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abasajja, Mukkiriza Obukulembeze bwa Kristo?

Abasajja, Mukkiriza Obukulembeze bwa Kristo?

Abasajja, Mukkiriza Obukulembeze bwa Kristo?

“Omutwe gw’omusajja ye Kristo.”​—1 KOL. 11:3.

1. Kiki ekiraga nti Yakuwa Katonda wa ntegeka?

 OKUBIKKULIRWA 4:11 wagamba nti: “Osaanidde ggwe Yakuwa, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’obuyinza kubanga, watonda ebintu byonna, era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.” Olw’okuba ye yatonda ebintu byonna, Yakuwa Katonda alina obuyinza ku butonde bwonna era ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna. Eky’okuba nti Yakuwa ‘si Katonda wa luyoogaano naye wa mirembe,’ kyeyolekera mu ngeri gy’ategeseemu bamalayika be.​—1 Kol. 14:33; Is. 6:1-3; Beb. 12:22, 23.

2, 3. (a) Kitonde ki Yakuwa kye yasookera ddala okutonda? (b) Omwana omubereberye alina kifo ki mu maaso ga Kitaawe?

2 Okuva edda n’edda, Katonda yali yekka nga tannaba kutonda kintu kyonna. Ekitonde kye yasookera ddala okutonda kyali kitonde kya mwoyo. Ekitonde ekyo kiyitibwa “Kigambo” olw’okuba kyaweerezanga ng’Omwogezi wa Yakuwa. Okuyitira mu oyo ayitibwa Kigambo, ebintu ebirala byonna byatondebwa. Oluvannyuma, Kigambo yajja ku nsi ng’omuntu atuukiridde era n’ayitibwa Yesu Kristo.​—Soma Yokaana 1:1-3, 14.

3 Ebyawandiikibwa byogera ki ku kifo kya Katonda n’eky’Omwana we omubereberye? Omutume Pawulo yagamba nti: “Njagala mumanye nti omutwe gw’omusajja ye Kristo; ate omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Kol. 11:3) Kristo ali wansi w’obukulembeze bwa Kitaawe. Ebitonde ebitegeera okusobola okuba mu mirembe era nga bitegekeddwa bulungi, byetaaga okuba n’obukulembeze era n’okukkiriza obukulembeze obwo. N’oyo Katonda gwe ‘yayitiramu okutonda ebintu ebirala byonna’ kimwetaagisa okukkiriza obukulembeze bwa Katonda.​—Bak. 1:16.

4, 5. Yesu yatwala atya obukulembeze bwa Yakuwa?

4 Eky’okukkiriza obukulembeze bwa Yakuwa n’okujja ku nsi Yesu yakitwala atya? Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Kristo Yesu . . . wadde yali mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza ku kya kwezza buyinza asobole okwenkanankana ne Katonda. Wabula yeggyako buli kye yalina n’afuuka ng’omuddu, era n’abeera mu kifaananyi eky’abantu. N’ekisinga ku ekyo, bwe yeesanga ng’alinga omuntu, yeetoowaza n’abeera muwulize okutuuka n’okufa, yee, okufiira ku muti ogw’okubonaabona.”​—Baf. 2:5-8.

5 Yesu yali muwombeefu era nga buli kiseera mwetegefu okukola Kitaawe by’ayagala. Yagamba nti: “Tewali kintu na kimu kye nnyinza kukola ku bwange; . . . omusango gwe nsala gwa butuukirivu, kubanga sinoonya bye njagala wabula eby’oli eyantuma.” (Yok. 5:30) Era yagamba nti: ‘Bulijjo nkola ebintu ebisanyusa Kitange.’ (Yok. 8:29) Mu ssaala gye yasaba ng’anaatera okuttibwa, Yesu yagamba Kitaawe nti: “Nkugulumizza ku nsi kubanga mmalirizza omulimu gwe wampa okukola.” (Yok. 17:4) Tewali kubuusabuusa nti eky’okukkiriza obukulembeze bwa Katonda Yesu teyakisangamu buzibu.

Omwana Afuna Emikisa olw’Okugondera Kitaawe

6. Ngeri ki ennungi Yesu ze yayoleka?

6 Ng’ali ku nsi, Yesu yayoleka engeri ennungi nnyingi. Emu ku zo kwe kwagala okw’amaanyi kwe yalina eri Kitaawe. Yagamba nti: “Njagala Kitange.” (Yok. 14:31) Era yayoleka okwagala okw’amaanyi n’eri abantu. (Soma Matayo 22:35-40.) Yesu yali wa kisa era ng’afaayo ku balala; teyali mukambwe era teyali mukakanyavu. Yagamba nti: “Mujje gye ndi mmwe mwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe. Kubanga ekikoligo kyange kyangu n’omugugu gwange si muzito.” (Mat. 11:28-30) Engeri ennungi Yesu ze yayoleka awamu n’obubaka obuzzaamu amaanyi bwe yabuuliranga byaleetera abantu abalinga endiga ab’emyaka egy’enjawulo, naddala abo abaali bannyigirizibwa, okufuna obuweerero.

7, 8. Okusinziira ku Mateeka, omukazi eyalina ekikulukuto ky’omusaayi yalina kutwalibwa atya, naye Yesu yamukwata atya?

7 Lowooza ku ngeri Yesu gye yatwalangamu abakazi. Okuva edda n’edda, abasajja babadde bayisa bubi abakazi. N’abakulembeze b’eddiini mu Isiraeri ey’edda bwe batyo bwe baakolanga. Naye Yesu yawanga abakazi ekitiibwa. Kino kyeyolekera mu ngeri gye yayisaamu omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi okumala emyaka 12. Omukazi oyo ‘yali alumiziddwa nnyo’ olw’obujjanjabi abasawo bwe baamuwanga era yali awaddeyo ebintu bye byonna asobole okuwonyezebwa. Wadde nga yali akoze kyonna ky’asobola, yali “yeeyongera kuba bubi.” Okusinziira ku Mateeka, omukazi oyo teyali mulongoofu era omuntu yenna eyandimukutteko yandifuuse atali mulongoofu.​—Leev. 15:19, 25.

8 Omukazi oyo bwe yawulira nti Yesu awonya abantu, yajja mu kibiina ky’abantu abaali bamwetoolodde, ng’agamba nti: “Ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye eky’okungulu nja kuwona.” Yakwata ku Yesu era amangu ago n’awona. Yesu yali akimanyi nti omukazi oyo yali tagwanidde kukwata ku kyambalo kye. Wadde kyali kityo, teyamukambuwalira. Mu kifo ky’ekyo, yamulaga ekisa. Yategeera bulungi obulumi omukazi oyo bwe yali ayiseemu okumala emyaka egyo gyonna era nga yali yeetaaga okuyambibwa mu bwangu. Mu ngeri ey’ekisa, Yesu yamugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe era wonera ddala.”​—Mak. 5:25-34.

9. Yesu yakola ki abayigirizwa be bwe baagezaako okuziyiza abaana okujja gy’ali?

9 N’abaana abato baayagalanga nnyo okubeera awali Yesu. Lumu abantu bwe baaleeta abaana baabwe gy’ali, abayigirizwa be baaboggolera abantu abo, nga balowooza nti yali tayagala baana kumuteganya. Naye ye Yesu si bwe yali akitwala. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Ekyo Yesu bwe yakiraba n’asunguwala, era [n’agamba abayigirizwa be] nti: ‘Muleke abaana abato bajje gye ndi; temubagaana, kubanga obwakabaka bwa Katonda bw’abo abalinga abaana abato.’” Oluvannyuma, “[y]awambaatira abaana n’abawa omukisa ng’abassaako emikono.” Yesu teyakoma ku kukkiriza baana kujja gy’ali, naye era yabasanyukira.​—Mak. 10:13-16.

10. Kiki ekyayamba Yesu okuba n’engeri ennungi ze yayoleka?

10 Kiki ekyayamba Yesu okuba n’engeri ennungi ze yayoleka ng’ali ku nsi? Bwe yali tannajja ku nsi, yamala ebbanga ddene nnyo ng’ali ne Kitaawe ow’omu ggulu, ekyo ne kimuyamba okukoppa engeri ze. (Soma Engero 8:22, 23, 30.) Ng’ali mu ggulu, yalaba engeri Yakuwa gy’akulemberamu ebitonde bye byonna era n’amukoppa. Ekyo Yesu yandisobodde okukikola singa teyali muwulize? Yesu yasanyukanga nnyo okugondera Kitaawe, era ne Yakuwa kyamusanyusanga nnyo okuba n’Omwana omuwulize bw’atyo. Bwe yali ku nsi, Yesu yayoleka bulungi engeri za Kitaawe ow’omu ggulu ennungi ennyo. Nga kikulu nnyo okugondera Kristo, oyo Katonda gwe yalonda okuba Omufuzi w’Obwakabaka obw’omu ggulu!

Koppa Engeri za Kristo

11. (a) Ani gwe tusaanidde okufuba okukoppa? (b) Lwaki naddala abasajja abali mu kibiina basaanidde okufuba okukoppa Yesu?

11 Bonna abali mu kibiina Ekikristaayo, naddala abasajja, basaanidde okufuba okukoppa engeri za Kristo. Nga bwe tulabye, Baibuli egamba nti: “Omutwe gw’omusajja ye Kristo.” Nga Kristo bwe yakoppa Omutwe gwe, Katonda ow’amazima, n’abasajja Abakristaayo balina okukoppa omutwe gwabwe​—Kristo. Ekyo kyennyini omutume Pawulo kye yakola oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo. Yakubiriza Bakristaayo banne nti: “Munkoppe, nga nange bwe nkoppa Kristo.” (1 Kol. 11:1) Era n’omutume Peetero yagamba nti: “Kino kye mwayitirwa, kubanga ne Kristo yabonaabona ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” (1 Peet. 2:21) Waliwo n’ensonga endala lwaki naddala abasajja basaanidde okukoppa Kristo. Abasajja be balondebwa okuba abakadde n’abaweereza mu kibiina. Nga Yesu bwe yafuba okukoppa Yakuwa, n’abasajja Abakristaayo basaanidde okufuba okukoppa Kristo.

12, 13. Abakadde basaanidde kukolagana batya n’endiga ezaabakwasibwa?

12 Abakadde mu kibiina Ekikristaayo balina okufuba okukoppa Kristo. Peetero yakubiriza abakadde nti: “Mulundenga ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa, si lwa buwaze wabula kyeyagalire; era si lwa kwagala kwefunira magoba, naye lwa kwagala kuweereza; era nga temukajjala ku abo Katonda b’alinako obwannannyini, naye nga muba byakulabirako eri ekisibo.” (1 Peet. 5:1-3) Abakadde Abakristaayo tebalina kuba bakambwe oba bannaakyemalira. Nga bakoppa ekyokulabirako kya Kristo, balina okufuba okuba abawombeefu, okufaayo ku balala, n’okwoleka okwagala n’ekisa nga bakolagana n’endiga ezaabakwasibwa.

13 Abasajja abatwala obukulembeze mu kibiina tebatuukiridde, era ekyo bulijjo basaanidde okukijjukira. (Bar. 3:23) Bwe kityo, balina okufuba okuyiga ebikwata ku Yesu n’okukoppa engeri gye yayolekamu okwagala. Era kibeetaagisa okufumiitiriza ku ngeri Katonda ne Kristo gye bakolaganamu n’abantu, era ne bafuba okubakoppa. Peetero atukubiriza nti: “Mwenna mwesibe obuwombeefu nga mukolagana n’abalala, kubanga Katonda aziyiza ab’amalala naye abawombeefu abalaga ekisa eky’ensusso.”​—1 Peet. 5:5.

14. Abakadde bakiraga batya nti bawa abalala ekitiibwa?

14 Abasajja abatwala obukulembeze mu kibiina basaanidde okwoleka engeri ennungi nga bakolagana n’ekisibo kya Katonda. Abaruumi 12:10 wagamba nti: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka. Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” Abakadde n’abaweereza balina okuwa abalala ekitiibwa. Nga bwe kisuubirwa mu Bakristaayo bonna, abasajja bano ‘tebalina kukola kintu kyonna mu kuyomba oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo, wabula balina okukola ebintu byonna mu buwombeefu nga bakitwala nti abalala babasinga.’ (Baf. 2:3) Abo abatwala obukulembeze mu kibiina basaanidde okwetwala nga gy’obeera nti abalala babasinga. Bwe bakola batyo, baba balaga nti bakolera ku kubuulirira kwa Pawulo kuno: “Ffe ab’amaanyi tusaanidde okwettika obunafu bw’abo abatali ba maanyi era n’obuteesanyusa ffekka. Buli omu ku ffe asanyuse munne mu kintu ekirungi olw’okumuzimba. Ne Kristo teyeesanyusa yekka.”​—Bar. 15:1-3.

‘Muwe Bakazi Bammwe Ekitiibwa’

15. Abaami basaanidde kuyisa batya bakazi baabwe?

15 Kati lowooza ku kubuulirira kwa Peetero eri abasajja abafumbo. Yawandiika nti: “Nammwe abaami, mubeeranga n’abakazi bammwe nga mubategeera bulungi, nga mubassaamu ekitiibwa ng’ekibya ekinafu.” (1 Peet. 3:7) Okuwa omuntu ekitiibwa kitegeeza okutwala omuntu oyo nga wa muwendo. Kino kizingiramu okumanya endowooza ye, bye yeetaaga, ne by’ayagala; era n’okufuba okumukolera by’ayagala bwe kiba nga tewali nsonga ya maanyi ekulemesa kukikola. Bw’atyo omwami bw’asaanidde okuyisa mukazi we.

16. Bwe kituuka ku kuwa bakazi baabwe ekitiibwa, Ekigambo kya Katonda kirabula kitya abaami?

16 Bwe yali akubiriza abaami okussa ekitiibwa mu bakazi baabwe, Peetero yagattako okulabula kuno: “Okusaba kwammwe kuleme okuziyizibwa.” (1 Peet. 3:7) Kino kiraga nti Yakuwa afaayo nnyo ku ngeri omusajja gy’ayisaamu mukazi we. Singa omusajja tawa mukazi we kitiibwa, n’okusaba kwe kuyinza obutawulirwa. Ate era abaami bwe bayisa obulungi bakazi baabwe, n’abakazi kibanguyira okubassaamu ekitiibwa.

17. Abaami basaanidde kwagala bakazi baabwe kyenkana wa?

17 Bwe kituuka ku kwagala bakazi baabwe, Ekigambo kya Katonda kigamba nti: ‘Abaami kibagwanidde okwagalanga bakazi baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe. Kubanga tewali muntu yali akyaye mubiri gwe; naye aguliisa era agulabirira, nga Kristo bw’akola eri ekibiina. Buli omu ku mmwe ayagale mukazi we nga bwe yeeyagala.’ (Bef. 5:28, 29, 33) Abaami basaanidde kwagala bakazi baabwe kyenkana wa? Pawulo yagamba nti: “Abaami mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo.” (Bef. 5:25) Yee, omwami asaanidde okuba omwetegefu okuwaayo obulamu bwe ku lwa mukazi we, nga Kristo bwe yawaayo obulamu bwe ku lw’abalala. Omwami Omukristaayo bw’ayisa mukazi we mu ngeri ey’ekisa, n’alaga nti afaayo ku nneewulira ze, era n’afuba okumuwuliriza obulungi, ne mukazi we kimubeerera kyangu okukkiriza obukulembeze bwe.

18. Kiki ekiyinza okuyamba abaami okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu bufumbo?

18 Baibuli bw’eragira abaami okuwa bakazi baabwe ekitiibwa mu ngeri eyo, eba ebalagira okukola ekintu ekisukka ku busobozi bwabwe? Nedda, Yakuwa tayinza kubalagira kukola kintu kisukka ku busobozi bwabwe. Ate era abaweereza ba Yakuwa basobola okufuna obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, amaanyi agasingayo mu butonde bwonna. Yesu yagamba nti: “Obanga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba!” (Luk. 11:13) Abaami basobola okusaba Yakuwa abawe omwoyo gwe gubayambe okukolagana obulungi n’abalala, nga mw’otwalidde ne bakazi baabwe.​—Soma Ebikolwa 5:32.

19. Kiki kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?

19 Awatali kubuusabuusa, abasajja balina okufuba ennyo okugondera Kristo n’okukoppa engeri gy’akulemberamu. Ate kiri kitya eri abakazi, naddala abo abafumbo? Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri gye basaanidde okutwalamu ekifo kye balina mu nteekateeka ya Yakuwa.

Ojjukira?

• Ngeri ki Yesu ze yayoleka ze tusaanidde okukoppa?

• Abakadde basaanidde kukolagana batya n’endiga ezaabakwasibwa?

• Omwami asaanidde kuyisa atya mukazi we?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]

Koppa Yesu ng’owa abalala ekitiibwa