Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

1 Lwaki Weetaaga Okusaba?

1 Lwaki Weetaaga Okusaba?

Okusaba

1 Lwaki Weetaaga Okusaba?

OKUSABA, kye kimu ku bintu ebyogerwako mu Baibuli ebisinga okusikiriza era ebireetera abantu okwagala okumanya ebisingawo. Lowooza ku bibuuzo musanvu ebikwata ku kusaba abantu bye batera okwebuuza; oluvannyuma ssaayo omwoyo nga twekenneenya eby’okuddamu Baibuli by’ewa. Ebitundu bino bitegekeddwa okukuyamba okusaba​—okutandika okusaba oba okulongoosa engeri gy’osabamu.

OKWETOOLOOLA ensi yonna, abantu ab’obuwangwa n’ab’eddiini ez’enjawulo, basaba. Basaba nga bali bokka, era basaba nga bali mu bibinja. Basaba nga bali mu makanisa, mu masabo, mu makuŋŋaaniro, mu mizikiti, ne ku biggwa. Bayinza okusaba nga bakozesa emikeeka kwe bafukamira nga basaba, ssapuli, ebibumbe, ebitabo by’essaala, oba essaala ezaawandiikibwa ku bubaawo obuwanikibwa mu masinzizo.

Okusaba kwawulawo abantu ku bitonde ebirala byonna ebiri ku nsi. Ekituufu kiri nti, waliwo bingi bye tufaanaganya n’ensolo. Okufaananako ensolo, twetaaga emmere, empewo, n’amazzi. Tuzaalibwa, tulina obulamu, era tufa nga bwe kiri ku nsolo. (Omubuulizi 3:19) Naye abantu bokka be basaba. Lwaki?

Oboolyawo eky’okuddamu ekyangu kiri nti abantu twetaaga okusaba. Abantu okutwalira awamu okusaba bakutwala ng’engeri gye bayinza okwogeramu n’ekintu kye batwala okuba ekitukuvu era ekibeerawo emirembe gyonna. Baibuli eraga nti twatondebwa nga tulina obwetaavu obw’okukola ebintu ng’ebyo. (Omubuulizi 3:11) Lumu, Yesu Kristo yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”​​—Matayo 5:3.

‘Obwetaavu obw’eby’omwoyo’​—si kituufu nti bwe buleetera bannaddiini okuzimba amasinzizo gaggadde, okuteekamu ebintu ebirungi, n’okumala essaawa ennyingi nga basaba? Mu butuufu, abamu obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo babwekolerako bo bennyini oba banoonya obuyambi bw’abalala. Wadde kiri kityo, okyetegerezza nti abantu tebalina busobozi bumala kuyamba balala mu ngeri eyo? Tuli banafu, tuba balamu okumala ekiseera kitono, era tetusobola kumanya binaabaawo nkya. Oyo yekka atusinga amagezi, n’amaanyi, era awangaala okutusinga y’asobola okutuwa kye twetaaga. Obwetaavu obw’eby’omwoyo obutuleetera okusaba bwe buluwa?

Lowooza ku kino: Wali onoonyezzaako ku bulagirizi, amagezi, oba eby’okuddamu mu bibuuzo ebirabika ng’ebitasobola kuddibwamu bantu? Wali obaddeko mu mbeera nga weetaaga okubudaabudibwa olw’okufiirwa ekintu kyo ky’oyagala ennyo, nga weetaaga obulagirizi osobole okusalawo obulungi oba nga weetaaga okusonyiyibwa olw’ekibi kye wakola ekikulumiriza?

Okusinziira ku Baibuli, ezo ze zimu ku nsonga ezandituleetedde okusaba. Baibuli kye kitabo ekisingayo okwesigika ekyogera ku kusaba, era kirimu okusaba kw’abasajja n’abakazi bangi abeesigwa. Baasaba nga baagala okubudaabudibwa, obulagirizi, okusonyiyibwa, n’okuddibwamu ebibuuzo ebyali ebizibu ennyo.​​—Zabbuli 23:3; 71:21; Danyeri 9:4, 5, 19; Kaabakuuku 1:3.

Wadde ng’okusaba okwo kwali kwa njawulo, waliwo ekintu kye kwali kufaanaganya. Buli omu ku abo abaasabanga yali ategeera ekintu ekikulu ennyo ekireetera okusaba kw’omuntu okuddibwamu, ng’ekintu ekyo kitera okutwalibwa ng’ekitali kikulu mu nsi leero. Baali bamanyi oyo gwe tusaanidde okusaba.