Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

2 Ani gw’Osaanidde Okusaba?

2 Ani gw’Osaanidde Okusaba?

Okusaba

2 Ani gw’Osaanidde Okusaba?

OKUSABA kwonna kugenda eri Katonda wadde ng’abantu basaba bakatonda ba njawulo? Mu nsi y’akakyo kano kyangu abantu okulowooza nti ekyo kituufu. Abantu abalina endowooza eyo beebo abakitwala nti okugattika enzikiriza si kikyamu era abaagala amadiini gonna okuba nga gakkirizibwa wadde nga galina enjawukana. Wadde kiri kityo, ddala endowooza eyo ntuufu?

Baibuli eyigiriza nti emirundi egisinga obungi abantu tebasaba oyo gwe basaanidde okusaba. Edda mu kiseera we baawandiikira Baibuli, kyali kya bulijjo abantu okusaba ebifaananyi ebyole. Kyokka, Katonda yabalabula enfunda n’enfunda obutakola kintu ekyo. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 115:4-6 woogera bwe wati ku bifaananyi: “Birina amatu, naye tebiwulira.” Ensonga eyo etegeerekeka bulungi nnyo. Lwaki wandisabye katonda atajja kuwulira by’osaba?

Ekimu ku byokulabirako ebiri mu Baibuli kituyamba okutegeera obulungi ensonga eno. Nnabbi omutuufu Eriya yasoomooza bannabbi ba Baali ng’abagamba okusaba katonda waabwe, oluvannyuma Eriya naye yandisabye owuwe. Eriya yagamba nti Katonda ow’amazima yandizzeemu okusaba naye ow’obulimba teyandikuzzeemu. Bannabbi ba Baali bakkiriza ekyo Eriya kye yabagamba, ne basaba nnyo okumala ekiseera kiwanvu, era ne batuuka n’okuleekaanira waggulu nga bakaabirira katonda waabwe​—naye teyabawulira! Baibuli egamba nti: ‘Ne wataba addamu n’omu, newakubadde assaayo omwoyo.’ (1 Bassekabaka 18:29) Naye, Eriya bwe yasaba kiki ekyabaawo?

Eriya bwe yamala okusaba, Katonda we yaddamu mangu okusaba kwe ng’asindika omuliro okuva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo Eriya kye yali ateeseteese. Njawulo ki eyaliwo wakati w’okusaba kwa Eriya n’okusaba kwa bannabbi ba Baali? Waliwo ekintu kimu ekikulu ekyeyolekera mu kusaba kwa Eriya okuli mu 1 Bassekabaka 18:36, 37. Okusaba kwe kumpi nnyo​—mu lulimi Olwebbulaniya okusaba okwo kulimu ebigambo nga 30 byokka. Kyokka, mu bigambo ebyo ebitono ennyo, Eriya yakozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa, emirundi esatu.

Baali, ekitegeeza “nnannyini” oba “mukama w’omuntu,” yali katonda w’Abakanani, era waaliwo engeri nnyingi abantu ze baamusinzangamu. Kyokka, erinnya Yakuwa, lya njawulo era nga Katonda ow’amazima yekka y’alirina mu butonde bwonna. Katonda ono yagamba abantu be nti: “Nze Mukama [“Yakuwa,” NW]; eryo lye linnya lyange: n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.”​​—Isaaya 42:8.

Okusaba kwa Eriya n’okwa bannabbi ba Baali kwagenda wa katonda y’omu? Okusinza Baali kwali kuweebuula abantu kuba kwalimu ebikolwa eby’okwetaba mu lujjudde n’okusaddaaka abantu. Okwawukana ku ekyo, okusinza Yakuwa kwaweesanga abantu be Abaisiraeri ekitiibwa kubanga kwabakubirizanga okwewala ebikolwa ng’ebyo ebiweebuula. Lowooza ku kino: Singa owandiikira mukwano gwo gw’ossaamu ennyo ekitiibwa ebbaluwa era n’ogissaako erinnya lye, wandisuubidde ebbaluwa eyo okutwalibwa eri omuntu omulala atali nnannyini linnya eryo ayogerwako ng’ow’empisa embi ezikontana n’ebyo mukwano gwo by’akkiririzaamu? Awatali kubuusabuusa nedda!

Bw’osaba Yakuwa, oba osaba Omutonzi, Kitaawe w’abantu bonna. * Nnabbi Isaaya bwe yali asaba yagamba bw’ati, “Ggwe ai Mukama [“Yakuwa,” NW], ggwe Kitaffe.” (Isaaya 63:16) Bwe kityo, y’Oyo Yesu Kristo gwe yali ayogerako bwe yagamba abagoberezi be nti: “Ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange era Katonda wammwe.” (Yokaana 20:17) Yakuwa ye Kitaawe wa Yesu. Ye Katonda Yesu gwe yasabanga era gwe yayigiriza abagoberezi be okusabanga.​—Matayo 6:9.

Baibuli etulagira okusaba Yesu, Maliyamu, abatukuvu, oba bamalayika? Nedda​—etulagira kusaba Yakuwa yekka. Lowooza ku nsonga bbiri lwaki kiri bwe kityo. Esooka, okusaba kuba kusinza, era Baibuli egamba nti Yakuwa yekka gwe tusaanidde okusinza. (Okuva 20:5) Eyokubiri, Baibuli ekiraga kaati nti ye yekka ayogerwako nga “Awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Wadde nga Yakuwa awa abantu abalala obuvunaanyizibwa obw’enjawulo, obuvunaanyizibwa obw’okuwuliriza okusaba tabuwanga muntu yenna. Ye Katonda atusuubiza nti ye kennyini ajja kuwulira okusaba kwaffe.

N’olwekyo, bw’oba oyagala Katonda awulire okusaba kwo, lowooza ku Kyawandiikibwa kino: “Buli muntu alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.” (Ebikolwa 2:21) Naye, tewali Yakuwa kye yeetaagisa bantu kukola okusobola okuwulira okusaba kwabwe? Oba waliwo ekintu ekirala kye twetaaga okumanya bwe tuba twagala Yakuwa awulire okusaba kwaffe?

[Obugambo obuli wansi]

^ Amadiini agamu galina obulombolombo obugamba nti kikyamu okwatula erinnya lya Katonda wadde ng’osaba. Kyokka, erinnya lya Katonda lisangibwa mu Baibuli emirundi nga 7,000 mu nnimi mwe yasooka okuwandiikibwa, ng’emirundi egisinga lisangibwa mu zabbuli ne mu kusaba kw’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Okusoomooza kwa Eriya eri bannabbi ba Baali kwakakasa nti okusaba kwonna tekugenda wa Katonda y’omu