Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Budaabuda Abafiiriddwa, nga Yesu bwe Yakola

Budaabuda Abafiiriddwa, nga Yesu bwe Yakola

Budaabuda Abafiiriddwa, nga Yesu bwe Yakola

LAAZAALO, omutuuze w’e Bessaniya, yali mulwadde nnyo. Bannyina, Maliza ne Maliyamu baatuma ababaka eri Yesu eyali mukwano gwabwe ow’oku lusegere. Naye oluvannyuma Laazaalo yafa. Nga bamaze okumuziika, ab’emikwano ne baliraanwa baakyalira Maliza ne Maliyamu “okubabudaabuda.” (Yokaana 11:19) Oluvannyuma, Yesu yatuuka e Bessaniya era n’agenda okulaba mikwano gye. Bwe tulowooza ku ebyo bye yayogera ne bye yakola, tuyinza okuyiga engeri y’okubudaabudamu abo abafiiriddwa.

Okubeerawo Kwo Kulaga Nti Ofaayo

Okutuuka e Bessaniya, Yesu yalina okutambula okumala ennaku nga bbiri, okusomoka Omugga Yoludaani n’okutindigga olugendo okuva e Yeriko olwalimu okulinnya olusozi oluwanvu. Nga Yesu yaakatuuka ku njegoyego z’ekyalo ky’e Bessaniya, Maliza yayanguwa mangu n’agenda gy’ali okumulamusa. Oluvannyuma, Maliyamu bwe yawulira nti Yesu azze, naye yayanguwa mangu n’agenda okumulaba. (Yokaana 10:40-42; 11:6, 17-20, 28, 29) Awatali kubuusabuusa, okubeerawo kwa Yesu kwabudaabuda ab’oluganda ababiri abaalina ennaku ey’amaanyi.

Mu ngeri y’emu leero, okubeerawo kwaffe kusobola okubudaabuda abafiiriddwa. Scott ne Lydia, abaafiirwa mutabani waabwe ayitibwa Theo, ow’emyaka omukaaga mu kabenje, bagamba nti: “Twali twetaaga ab’eŋŋanda n’ab’emikwano okutugumya. Bajja butereevu mu ddwaliro ekiro mu ttumbi.” Mikwano gyabwe bano bwe bajja baayogera ki? “Mu kiseera ekyo, twali tetwagala batugambe kintu kyonna. Okubeerawo kwabwe kwalaga nti batufaako.”

Baibuli egamba nti Yesu bwe yalaba abo abaali bakaaba olw’okufiirwa Laazaalo, “n’anakuwala nnyo” era “n’akaaba.” (Yokaana 11:33-35, 38) Yesu teyakitwala nti kyali kimufeebya okukaabira mu maaso g’abantu. Yakwatibwako olw’obulumi bwe baalina era n’anakuwalira wamu nabo. Kino kituyigiriza ki? Bwe tuba tukyalidde abo ababa bafiiriddwa, tetusaanidde kutya kukaabira wamu n’abo abakaaba. (Abaruumi 12:15) Ku luuyi olulala, towaliriza oyo aba afiiriddwa kukaaba. Abamu bayinza okuba nga tebaagala kukaabira wali bantu.

Bawulirize Bulungi

Yesu ayinza okuba nga yalina ebigambo ebibudaabuda bye yali ayagala okubuulira Maliza ne Maliyamu, naye yabaleka bo ne basooka okwogera. (Yokaana 11:20, 21, 32) Bwe yali ayogera ne Maliza, yamubuuza ekibuuzo era n’awuliriza.​—Yokaana 11:25-27.

Bw’obeera omuwuliriza omulungi kiraga nti ofaayo. Okusobola okubudaabuda afiiriddwa, twetaaga okuba abawuliriza abalungi. Tuyinza okulaga nti tuli bawuliriza balungi nga tubuuza ebibuuzo ebireetera abafiiriddwa okwogera ekibali ku mutima. Wadde kiri kityo, weegendereze oleme kubawaliriza kwogera bwe baba nga tebaagala. Bayinza okuba nga bakooye era nga baagala kuwummulamu.

Abo abafiiriddwa bayinza okuwunga era oluusi baddamu ebyo bye baba bamaze okwogera. Abamu boogera ekibali ku mutima. Maliyamu ne Maliza bombi baagamba Yesu nti: “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.” (Yokaana 11:21, 32) Yesu yakola ki? Yawuliriza n’obugumiikiriza era n’obusaasizi. Yeewala okubagaana okwoleka enneewulira yaabwe. Awatali kubuusabuusa yakimanya nti abantu abafiiriddwa baba n’obulumi obw’amaanyi.

Bw’oba nga teweekakasa ky’oyinza kwogera ng’ogenze okulaba omuntu afiiriddwa, oyinza okutandika emboozi ng’omubuuza nti, “Bwe twogera ku nsonga eno kinaakuyisa bubi?” Ssaayo omwoyo ng’akuddamu. Wuliriza bulungi. Mutunuulire mu maaso era ogezeeko okutegeera enneewulira ze.

Okutegeera enneewulira z’oyo aba afiiriddwa tekiba kyangu. Lydia, annyonnyola nti, “Ebyetaago byaffe byakyuka. Emirundi egimu twabanga tetusobola kukyebeera okuggyako okukaaba ennyo nga waliwo abazze okutulaba. Kye twali twagala kwe kuba nti abalala bategeera embeera yaffe. Mikwano gyaffe baakola kyonna ekisoboka okutegeera enneewulira zaffe.”

Kino Yesu kye yakolera ddala. Yakimanya nti buli muntu alina “endwadde ye n’obuyinike bwe ye.” (2 Ebyomumirembe 6:29) Maliza ne Maliyamu bwe baalamusa Yesu, yabaddamu mu ngeri za njawulo. Maliza bwe yeeyongera okwogera, Yesu yeeyongera okwogera naye. Olw’okuba Maliyamu yali akaaba, Yesu teyayogera naye kumala kiseera kiwanvu. (Yokaana 11:20-28, 32-35) Kiki kye tuyinza okumuyigirako? Kiyinza okuba ekirungi okuleka oyo aba afiiriddwa okwogera ekimuli ku mutima. Okubawuliriza nga boogera ku nnaku yaabwe kiyinza okubabudaabuda.

Ebigambo Ebiwonya

Maliyamu ne Maliza bwe baagamba Yesu nti: “Singa wali wano,” teyabanenya oba okunyiiga olw’ekyo kye baali boogedde. Ebigambo ebizzaamu amaanyi bye yaddamu Maliza byali nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” (Yokaana 11:23) Ng’akozesa ebigambo ebyo ebitonotono, Yesu yayamba Maliza okulowooza ku biseera eby’omu maaso era n’okumujjukiza nti waliwo essuubi.

Bw’oba oyogera n’oyo afiiriddwa, jjukira nti ebigambo ebyogerwa mu bwesimbu era ebizzaamu amaanyi ne bwe biba bitono bitya biyinza okumubudaabuda. Ebigambo ebibudaabuda biyinza okwogerwa oba okuwandiikibwa. Okuva bwe kiri nti amabaluwa ne kaadi bisobola okusomebwa enfunda n’enfunda, biyinza okubudaabuda oyo afiiriddwa okumala ekiseera kiwanvu. Nga wayiseewo emyezi mwenda nga mwami we Bob, amaze okufa, Kath yaddamu okusoma kaadi zonna ze yali afunye. Agamba nti, “Nnakizuula nti zannyamba nnyo n’okusingawo. Mu kiseera ekyo lwe nnafuna okubudaabudibwa.”

Biki by’oyinza okwogerako ng’owandiikira oyo afiiriddwa? Oyinza okuwandiika ebikwata ku mufu​—ebintu mwembi bye mwanyumirwanga oba bye mwakoleranga awamu oba engeri ennungi ze yalina. Kath agamba nti: “Ebigambo eby’ekisa bye baawandiika ku Bob n’engeri ze byandeeteranga okwagala okuseka n’okukaaba mu kiseera kye kimu. Ebintu ebisanyusa bye baamuwandiikako byandeetera okuseka n’okujjukira obulamu obw’essanyu bwe twabangamu. Kaadi ze nsinga okwagala ku ezo ezampeebwa z’ezo ezirimu n’ebyawandiikibwa okuva mu Baibuli.”

Baako ne ky’Okolawo Okubayamba

Olw’okuba yali ayagala okuyamba ab’omu maka ga Laazaalo, Yesu yakola ekintu ffe kye tutasobola kukola. Yazuukiza Laazaalo. (Yokaana 11:43, 44) Naye naffe waliwo ebintu bye tusobola okukola okusinziira ku busobozi bwaffe gamba ng’okubafumbira, okufunira abagenyi baabwe aw’okusula, okubooleza, okulabirira abaana baabwe abato, okubagulira ebintu ku maduuka, oba okubayambako mu by’entambula. Ebikolwa ebitonotono ebiraga okwagala okwa nnamaddala bijja kusiimibwa nnyo oyo afiiriddwa.

Kituufu nti, abo abafiiriddwa bayinza okwetaagayo akaseera okubeerako bokka. Wadde kiri kityo, oyinza okusigala ng’obalambulako oba okubakubira ku ssimu. Maama omu eyali afiiriddwa agamba nti, ‘Okukungubaga tekulina kiseera kigereke.’ Abamu bagezaako okujjukira abafiiriddwa ku nnaku gamba ng’olwo lwe baafumbiriganwako oba olwo omwagalwa waabwe lwe yafiirako. Bw’obeerawo mu biseera ng’ebyo, oyinza okubeera ng’ow’omukwano omulungi mu biseera ebizibu.​​—Engero 17:17.

Okubudaabuda Yesu kwe yawa kwazingiramu essuubi lye yabuulira abayigirizwa be bwe yabagamba nti: “Laazaalo mukwano gwaffe yeebase, naye ŋŋenda gy’ali mmuzuukuse.” (Yokaana 11:11) Yesu yakakasa abagoberezi be nti wajja kubaawo okuzuukira kw’abafu. Yabuuza Maliza nti: “Kino okikkiriza?” N’amuddamu nti: “Yee Mukama wange.”​​—Yokaana 11:24-27.

Okkiriza nti Yesu ajja kuzuukiza abafu? Bwe kiba bwe kityo, essuubi lino ery’omuwendo libuulireko abo abafiiriddwa. Baako ky’okolawo okubayamba. Ebigambo byo n’ebikolwa byo bijja kubabudaabuda.​​—1 Yokaana 3:18.

[Mmaapu eri ku lupapula 18]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

PEREYA

Omugga Yoludaani

Yeriko

Bessaniya

Ennyanja ey’Omunnyo

Yerusaalemi

SAMALIYA