Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yogera n’Abaana Bo ku Bikwata ku by’Okwetaba

Yogera n’Abaana Bo ku Bikwata ku by’Okwetaba

Engeri Y’okufuna Essanyu Mu Maka

Yogera n’Abaana Bo ku Bikwata ku by’Okwetaba

Omutiini ayitibwa Alicia, * agamba nti: “Emirundi egimu mba nnina kye njagala okumanya ekikwata ku by’okwetaba, naye muli mpulira nti singa mbuuza bazadde bange ebibuuzo, bajja kulowooza nti nnina ekintu ekikyamu kye nkola.”

Maama wa Alicia, ayitibwa Inez, agamba nti: “Nnandyagadde okwogera ne muwala wange ku bikwata ku by’okwetaba, naye aba n’eby’okukola bingi. Kizibu okufuna akadde okwogera naye.”

LEERO, ebikwata ku by’okwetaba bisangibwa buli wamu—ku ttivi, mu firimu, ne mu bulango oba ku bipande. Kyokka, kirabika abazadde bwe baba banyumya n’abaana baabwe bakitwala nti tekisaanira kwogera ku nsonga eno. Omutiini omu abeera mu Canada ayitibwa Michael agamba nti: ‘Abazadde tebamanyi nti tutya nnyo era kitukwasa ensonyi okwogera nabo ku by’okwetaba, kitwanguyira okubyogerako ne mikwano gyaffe.’

Emirundi egisinga obungi, abazadde nabo tekibanguyira kwogera na baana baabwe ku nsonga eno. Mu kitabo kye ekiyitibwa Beyond the Big Talk, omukyala omu asomesa ku by’obulamu ayitibwa Debra W. Haffner agamba nti: “Abazadde bangi baŋŋambye nti baagulira abaana baabwe akatabo akoogera ku by’okwetaba oba ku kabuvubuka, ne bakateeka mu kisenge omwana mw’asula, ne bataddamu kwogera ku nsonga eyo.” Haffner agamba nti abazadde bwe bakola bwe batyo, baba ng’abagamba abaana baabwe nti: “Twagala mumanye ebikwata ku mibiri gyammwe ne ku by’okwetaba naye tetwagala kwogera nammwe ku nsonga eyo.”

Bw’oba ng’oli muzadde, weetaaga okuba n’endowooza eyawukana ku eyo. Mu butuufu, kikulu nnyo gwe kennyini okwogera n’abaana bo ku bikwata ku by’okwetaba. Lowooza ku nsonga zino essatu:

1. Okwetaba, ensi ekunnyonnyola mu ngeri ndala nnyo. James ow’emyaka 20 agamba nti: “Abantu tebakyakitwala nti okwetaba kwe kwegatta kwokka okw’omwami ne mukyala we. Kati, waliwo okukomberera ebitundu by’ekyama eby’omulala, Okulya ebisiyaga, okuweerezeganya obubaka n’ebifaananyi ebikwata ku by’okwetaba ng’okozesa Internet oba essimu.”

2. Abantu abalala bajja kubuzaabuza abaana bo ku bikwata ku by’okwetaba nga bakyali bato nnyo. Maama omu ayitibwa Sheila, agamba nti: “Bajja kuwulira ebikwata ku by’okwetaba nga baakatandika okugenda ku ssomero, era tebajja kufuna ndowooza ntuufu gy’oyagala babe nayo.”

3. Abaana bo balina bye beebuuza ebikwata ku by’okwetaba naye kirabika nti batya okukubuuza. Ana, ow’emyaka 15 okuva mu Brazil agamba nti: “Ekituufu kiri nti, simanyi ngeri gye nnyinza kutandikamu kwogera na bazadde bange ku bikwata ku by’okwetaba.”

Mu butuufu okwogera n’abaana bo ku bikwata ku by’okwetaba bwe bumu ku buvunaanyizibwa Katonda bw’akuwadde ng’omuzadde. (Abeefeso 6:4) Kyo kituufu nti, kiyinza okubakwasa ensonyi ggwe n’abaana bo okwogera ku nsonga eyo. Ku luuyi olulala, ekirungi kiri nti abavubuka bangi bakkiriziganya n’ekyo Danielle ow’emyaka 14 ky’agamba: “Twagala abazadde baffe be baba batuyigiriza ebikwata ku by’okwetaba mu kifo ky’okuyigirizibwa omusomesa yenna oba programu eziba ku ttivi.” Kati olwo, oyinza otya okwogera n’abaana bo ku nsonga eno enkulu ennyo wadde ng’ekwasa ensonyi? *

By’Oyogera Bituukaganye n’Emyaka Gyabwe

Okuggyako nga babeera bokka, abaana batandika okuwulira ebikwata ku by’okwetaba nga bakyali bato nnyo. N’ekisinga okweraliikiriza, kwe kuba nti mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma’ abantu ababi ‘beeyongeredde ddala okuba ababi.’ (2 Timoseewo 3:1, 13) Eky’ennaku kiri nti, abantu abakulu basobya ku baana bangi abato.

N’olwekyo, kikulu nnyo gy’oli okutandika okuyigiriza abaana bo nga bakyali bato. Maama omu ayitibwa Renate abeera mu Bugirimaani agamba nti: “Bw’olinda ekiseera nga banaatera okutuuka mu myaka gyabwe egy’obutiini, bayinza obutayagala kubyogerako olw’okukwatibwa ensonyi nga balabye enkyukakyuka ze bafunye ku mibiri gyabwe.” Ekikulu kwe kuyigiriza abaana bo nga by’oyogera obituukaganya n’emyaka gyabwe.

Bw’oba oyogera n’abatannatandika kusoma: Ssa essira ku kubayigiriza amannya amatuufu ag’ebitundu eby’ekyama, era okiggumize nti teri muntu asaanidde kukwata ku bitundu ebyo. Maama omu ayitibwa Julia abeera mu Mexico, agamba nti: “Nnatandika okuyigiriza mutabani wange nga wa myaka essatu. Okukimanya obumanya nti abasomesa, abalezi b’abaana, n’abaana abakulu bayinza okulumya omwana wange kyanneeraliikirizanga nnyo. Omwana wange yali yeetaaga okumanya engeri gy’ayinza okwekuumamu abantu ng’abo abayinza okumulumya.”

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Tendeka omwana wo amanye ky’asaanidde okukola singa omuntu yenna agezaako okuzannyisa ebitundu bye eby’ekyama. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuyigiriza omwana wo okugamba nti: “Tonkwatako! Ŋŋenda kukuloopa!” Kakasa omwana nti kiba kirungi nnyo okuloopa omuntu ng’oyo​—wadde nga aba amusuubizza okumuwa ebirabo oba ng’amutiisizzatiisizza. *

Bw’oba oyogera n’abaana ba pulayimale: Fuba okukozesa emyaka gino okuyamba abaana okwongera okutegeera mpolampola ebikwata ku nsonga eno. Taata omu ayitibwa Peter, agamba nti: “Nga tonnaba kwogera na baana bo ku nsonga eno, sooka otegeere kye bagimanyiiko era olabe oba nga baagala okumanya ebisingawo. Tobakaka kwogera ku nsonga eyo. Tekijja kubazibuwalira kugyogerako singa ofissaawo ekiseera okunyumyako nabo bulijjo.”

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Yogera nabo enfunda n’enfunda ku nsonga eno naye nga mugyogerako kitono mu kifo ky’okutwala ekiseera ekiwanvu nga mugyogerako. (Ekyamateeka 6:6-9) Bw’okola bw’otyo omwana wo tajja kukaluubirizibwa. Okwongereza ku ekyo, bwe banaagenda bakula bajja kutegeera ebyo bye beetaaga okumanya ebituukagana n’emyaka gyabwe.

Ng’oyogera n’abali mu myaka egya kabuvubuka: Kino kye kiseera okukakasa nti omwana wo amanya bulungi ebikwata ku nkyukakyuka z’omubiri gwe, enneewulira, n’engeri y’okweyisaamu ku bikwata ku by’okwetaba. Ana ow’emyaka 15 eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Mu ssomero lye ndimu abalenzi n’abawala beenyigira mu bikolwa eby’okwetaba, wadde nga tebalina kigendererwa kya kufumbiriganwa. Nze ng’Omukristaayo ndowooza nti nneetaaga okumanya obulungi ebikwata ku nsonga eno. Wadde ng’okwogera ku by’okwetaba kikwasa ensonyi, kye kintu kye nneetaaga okumanya.” *

Weetegereze: Abatiini bayinza okugaana okubuuza ebibuuzo ebikwata ku by’okwetaba nga batya nti bazadde baabwe bajja kulowooza nti bakola ebintu ebikyamu. Taata omu ayitibwa Steven ekyo kye yazuula. Agamba nti: “Mutabani waffe yali atya okwogera ku by’okwetaba. Naye oluvannyuma twakizuula nti yali alowooza nti tumuteeberezaamu okukola ebintu ebikyamu. Twamunnyonnyola nti twali tetwogera ku nsonga ezo olw’okumuteberezaamu okukola ekintu kyonna ekikyamu wabula twali twagala kumuyamba amanye ky’asaanidde okukola singa aba apikirizibwa okukola ekintu ekikyamu.”

GEEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Mu kifo ky’okubuuza omuvubuka ebibuuzo butereevu ebikwata ku by’okwetaba, mubuuze engeri basomi banne gye batwalamu ensonga eyo. Okugeza, oyinza okugamba nti: “Abantu bangi leero bakitwala nti okukomberera ebitundu eby’ekyama eby’omuntu omulala tekuba kwetaba. N’abaana b’osoma nabo bakitwala bwe batyo?” Ebibuuzo ng’ebyo ebitabuuziddwa butereevu biyinza okuleetera omuvubuka okwogera ky’alowooza nga taliimu kutya kwonna.

Okuvvuunuka Ekizibu ky’Okuwulira Ensonyi

Kyo kituufu nti, okwogera n’abaana bo ku bikwata ku by’okwetaba kye kimu ku bintu ebiyinza okukukwasa ensonyi. Naye bw’ofuba kivaamu ebirungi. Maama omu ayitibwa Diane, agamba nti: “Oluvannyuma lw’ekiseera, ensonyi zikendeera, era okwogera n’omwana wo ku bikwata ku by’okwetaba kiyinza okubayamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere.” Steven, eyayogeddwako mu butundu obuvuddeko akkiriziganya naye. Agamba nti: “Kifuuka kyangu okwogera ku nsonga ezikwasa ensonyi gamba ng’eyo ekwata ku by’okwetaba singa ogifuula mpisa yo okwogera kaati ku nsonga yonna eba ezzeewo mu maka. Ensonyi teziyinza kuggwerawo ddala, naye empuliziganya ennungi esobozesa amaka Amakristaayo okubaamu essanyu.”

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya gakyusiddwa.

^ Ekitundu kino kijja kwogera ku bwetaavu bw’okwogera n’abaana bo ebikwata ku by’okwetaba. Gye bujjako awo tujja kufuna ekitundu ekirala ekyogera ku ngeri gy’oyinza okuyigirizaamu abaana bo empisa ennungi ng’oyogera nabo ku nsonga eno.

^ Biggiddwa ku lupapula 171 olw’ekitabo Learn From the Great Teacher, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ Okusobola okwogera n’omwana wo ali mu myaka egya kabuvubuka ku bikwata ku by’okwetaba, kozesa essuula 1-5, 28, 29, ne 33 ez’akatabo akayitibwa Questions Young People Ask​—Answers That Work, Omuzingo 2, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

WEEBUUZE . . .

Soma bino wammanga abavubuka okwetooloola ensi yonna bye boogera ku nsonga eno, era oluvannyuma weebuuze ebibuuzo ebiddirira.

• “Bazadde bange baŋŋamba okusoma ebitabo ebyogera ku by’okwetaba era oluvannyuma mbatuukirire bwe mba nnina kye nneebuuza. Naye nnandyagadde boogere nange ebisingawo ku nsonga eno.”​—Ana, okuva mu nsi eyitibwa Brazil.

Olowooza kikulu okukola ekisingawo ku kuwa obuwi omwana wo ekitabo ekyogera ku by’okwetaba?

• “Mmanyi ebintu bingi ebikwata ku kwetaba okutali kulungi​—ebintu bye ndowooza nti taata wange tabimanyi. Singa mubuuza ebikwata ku bintu ng’ebyo kiyinza okumwesisiwaza.”​—Ken, okuva mu nsi eyitibwa Canada.

Kiki ekiyinza okuleetera omwana wo okutya okwogera naawe ku ebyo ebimweraliikiriza?

• “Bwe nnafuna obuvumu okubuuza bazadde bange ekibuuzo ekikwata ku by’okwetaba, banziramu nga balinga abannenya nti, ‘Lwaki obuuza ebikwata ku nsonga eyo? Waliwo ekikyamu kyonna?’”​—Masami, okuva mu nsi eyitibwa Japan.

Omwana wo bw’akubuuza ekibuuzo ekikwata ku by’okwetaba, engeri gy’omuddamu eyinza etya okukifuula ekyangu okuddamu okwogera naye ku nsonga eyo oba okukifuula ekizibu?

• “Kyandibadde kirungi nnyo singa bazadde bange bankakasa nti bwe baali nga bakyali mu myaka gyange, baabuuzanga ebibuuzo ng’ebyo era nti si kikyamu nange bwe mbibabuuza.”​—Lisette, okuva mu Bufalansa.

Oyinza otya okuyamba omwana wo obutatya kwogera naawe ku bikwata ku by’okwetaba?

• “Maama wange yambuuzanga ebibuuzo ebikwata ku by’okwetaba​—naye kino yakikolanga mu ddoboozi erikkakkamu. Nze ndowooza kino kikulu, kireetera omwana obutawulira nga gwe basalira omusango.”​—Gerald, okuva mu Bufalansa.

Ddoboozi ki ly’okozesa ng’oyogera n’omwana wo ku bikwata ku by’okwetaba? Olina we weetaaga okulongoosaamu ku nsonga eyo?