Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ddala Abantu Abaaliwo mu Biseera Bya Baibuli Baawangaalanga Nnyo?

Ddala Abantu Abaaliwo mu Biseera Bya Baibuli Baawangaalanga Nnyo?

Ddala Abantu Abaaliwo mu Biseera Bya Baibuli Baawangaalanga Nnyo?

OMUKYALA ayitibwa Jeanne Louise Calment yafa nga 4 Agusito, 1997, mu kabuga k’ewaabwe akali ebukiikaddyo bw’obuvanjuba bwa Bufalansa. Yali wa myaka 122!

Enkulaakulana eriwo mu bya sayansi, mu by’obulamu, ne mu bintu ebirala eyamba abantu mu nsi nnyingi okuwangaala. Wadde kiri kityo, si bangi abatuuka mu myaka 100 oba okusingawo. Eyo eyinza okuba nga y’ensonga lwaki abantu abaweza emyaka ng’egyo emirundi egimu boogerwako mu mawulire, nga bwe kyali ku mukyala ayitibwa Calment.

Baibuli egamba nti mu biseera eby’edda, abantu baawangaalanga nnyo n’okusingawo era ng’abamu baali banaatera okuweza emyaka lukumi. Ekyo kituufu era oyinza okukikkiriza? Ddala abantu abaaliwo mu biseera bya Baibuli baawangaalanga nnyo? Ekyo kyanditukuteko leero?

Abantu Abaawangaala Ennyo

Ekitabo kya Baibuli ekya Olubereberye kyogera ku basajja musanvu abaawangaala emyaka egisoba mu 900, era nga bano bonna baazaalibwa ng’Amataba ag’omu biseera bya Nuuwa tegannabaawo. Amannya gaabwe ge gano: Adamu, Seezi, Enosi, Kenani, Yaledi, Mesuseera, ne Nuuwa. (Olubereberye 5:5-27; 9:29) Bangi ku basajja bano bayinza okuba nga tebamanyiddwa bantu abasinga obungi, naye bonna baaliwo mu mirembe ekkumi egyasooka mu byafaayo by’omuntu. Mesuseera amanyiddwa nti ye yasinga bonna okuwangaala nga yafa alina emyaka 969!

Baibuli era eyogera ku bantu abalala 25 abaawangaala emyaka egisinga ku egyo abantu gye bawangaala leero. Abamu ku bo baawangaala emyaka 300, 400, 700, oba n’okusingawo. (Olubereberye 5:28-31; 11:10-25) Kyokka, abantu bangi balowooza nti ebyo Baibuli by’eyogera ku bantu ng’abo abaawangaala ennyo si bituufu. Ddala ebintu ebyo si bituufu?

Bya Bulimba oba Byafaayo Ebyesigika?

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumizibwa ettendekero erimu eriri mu Bugirimaani eriyitibwa Max Planck Institute for Demographic Research, abeekenneenya baakakasa emyaka gya Calment eyayogeddwako ku ntandikwa, nga bakuŋŋaanya ebimu ku “bigambo ebitonotono” bye yayogeranga. Bino byali bikwata ku ye kennyini oba ku b’eŋŋanda ze abaaliwo mu kiseera ebintu ebyo we byabeererawo. Ebyo bye yayogera by’ageraageranyizibwa n’ebyo abantu ne bannamateeka bye boogera, ebiwandiiko by’ekkanisa, ebiri mu mpapula z’amawulire, n’ebiwandiiko ebikwata ku kubala abantu. Ekituufu kiri nti, wadde nga kyali kizibu okukakasa buli kimu, ekyasalibwawo kyali nti obujulizi obwakakasibwa n’obwo obutaakakasibwa obwaleetebwa bwe bwasinziirwako okukakasa emyaka gye yamala ku nsi.

Ate kiri kitya ku ebyo ebiri mu Baibuli? Waliwo obukakafu obulaga nti byesigika? Awatali kubuusabuusa! Wadde nga si byonna ebiri mu Baibuli nti bikakasiddwa ebiwandiiko ebiriwo leero, obukakafu okuva mu bannabyafaayo, bannasayansi, n’ebintu ebizze bibaawo omuddiriŋŋanwa bulaze enfunda n’enfunda nti ebyo ebiri mu Baibuli byesigika. * Ekyo tekisaanidde kutwewuunyisa kubanga Baibuli yennyini egamba nti: “Katonda ayogera mazima, buli muntu ne bw’aba mulimba.” (Abaruumi 3:4, Contemporary English Version) Yee, olw’okuba Baibuli kitabo ‘ekyaluŋŋamizibwa Katonda,’ tekisobola kubaamu bya bulimba.​—2 Timoseewo 3:16.

Musa, eyaluŋŋamizibwa Yakuwa Katonda okuwandiika ebitabo ebitaano ebisooka mu Baibuli, ateekwa okuba ng’atwalibwa ng’omu ku bantu abaali basinga okuba abatutumufu era abaweebwa ekitiibwa mu byafaayo by’omuntu. Abayudaaya bamutwala okuba omusomesa asinga abasomesa baabwe bonna. Abasiraamu bamutwala ng’omu ku bannabbi baabwe abasinga obukulu. Ate bo Abakristaayo, Musa bamutwala ng’eyali asonga ku Yesu Kristo. Kyandibadde kya magezi okugamba nti ebintu ebyawandiikibwa omuntu ng’oyo omututumufu ennyo mu byafaayo tebyesigika?

Embala y’Ebiseera Yali ya Njawulo?

Abamu bagamba nti edda ebiseera byabalibwanga mu ngeri ya njawulo, nti kye baayitanga omwaka gwabanga mwezi. Kyokka, okunoonyereza okukwata ku ebyo ebiri mu kitabo kya Olubereberye kuwa obukakafu obulaga nti abantu abaaliwo edda baabalanga ebiseera mu ngeri y’emu nga naffe bwe tubibala leero. Lowooza ku byokulabirako bino bibiri. Ku bikwata ku Mataba tusoma nti Enkuba yatandika okutonnya nga Nuuwa alina emyaka 600, “mu mwezi ogw’okubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi.” Baibuli yeeyongera n’egamba nti amazzi gajjula ku nsi okumalira ddala ennaku 150 era nti “mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, eryato ne lituula ku nsozi za Alalati.” (Olubereberye 7:11, 24; 8:4) Bwe kityo, ekiseera eky’emyezi etaano​—okuva ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu mu mwezi ogw’okubiri okutuuka ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu mu mwezi ogw’omusanvu mu mwaka ogwo​—kigambibwa nti zaali ennaku 150. Awatali kubuusabuusa, omwaka gwabangamu emyezi 12 nga buli mwezi gwa nnaku 30.

Kati lowooza ku kyokulabirako ekyokubiri. Okusinziira ku Olubereberye 5:15-18, Makalaleri yazaala mutabani we ng’alina emyaka 65, era ne yeeyongera okuwangaala okumala emyaka 830 era n’afa ng’alina emyaka 895. Muzzukulu we Enoka naye yazaala mutabani we ng’alina emyaka 65. (Olubereberye 5:21) Bwe kiba nti omwaka gwabanga mwezi, olwo nno abasajja abo ababiri bandibadde baazaala abaana nga balina emyaka etaano gyokka. Ddala ekyo kisoboka?

Abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda nabo bakkiriziganya n’ebyo ebiri mu Baibuli ebikwata ku bantu abaawangaalanga ennyo. Ku bikwata ku Ibulayimu omusajja omwesigwa, Baibuli egamba nti yava mu kibuga Uli, n’abeera mu kibuga Kalani n’oluvannyuma mu kibuga Kanani, era nti yalwana ne Kedolawomeeri kabaka w’e Eramu, n’amuwangula. (Olubereberye 11:31; 12:5; 14:13-17) Okunoonyereza kukakasizza nti abantu abo n’ebitundu ebyo byaliyo. Abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda nabo batuyambye okutegeera obulungi ebikwata ku bitundu ebyo n’obulombolombo bw’abantu abaaliwo mu kiseera kya Ibulayimu. Okuva bwe kiri nti ebyo Baibuli by’eyogera ku Ibulayimu bituufu, lwaki omuntu yandibadde abuusabuusa nti yalina emyaka 175?​—Olubereberye 25:7.

N’olwekyo, tewali nsonga yandituleetedde kubuusabuusa ebyo Baibuli by’eyogera ku bantu ab’edda abaawangaalanga ennyo. Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Ddala kikulu gyendi okutegeera nti abantu ab’edda baawangaalanga nnyo oba tebaawangaalanga?’

Osobola Okuwangaala Okusinga bw’Olowooza!

Eky’okuba nti abantu abaaliwo ng’Amataba tegannabaawo baawangaalanga nnyo, kiraga nti omubiri gw’omuntu gulina obusobozi obw’enjawulo obw’okubeerawo okumala ekiseera ekiwanvu. Tekinologiya aliwo mu kiseera kino asobozesezza bannasayansi okwekenneenya omubiri gw’omuntu n’engeri ey’ekyewuunyo gye gwakolebwamu, nga mw’otwalidde n’obusobozi bwagwo obwewuunyisa obw’okwezza obuggya n’okwejjanjaba. Bakomekkereza bagamba nti, omubiri gulina obusobozi obw’okubeerawo emirembe gyonna. Kakensa mu by’Eddagala ayitibwa Tom Kirkwood agamba nti, “[Ekiviirako omuntu okukaddiwa], kye kimu ku bintu ebikyalemye bannasayansi okutegeera.”

Wadde kiri kityo, ekiviirako abantu okukaddiwa ye Yakuwa Katonda tekimwewuunyisa era takitwala nti kizibu ekitayinza kugonjoolwa. Yatonda omuntu eyasooka Adamu, ng’atuukiridde era ekigendererwa kye kyali nti abantu babeerewo emirembe gyonna. Eky’ennaku, Adamu yasalawo okujeemera Katonda. N’ekyavaamu, yakola ekibi era n’afuuka atatuukiridde. Baibuli ennyonnyola ekyo ekikyalemye bannasayansi okuzuula, egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Tulwala, tukaddiwa, era tufa olw’ekibi n’obutali butuukirivu bye twasikira.

Kyokka, ekigendererwa ky’Omutonzi waffe ow’okwagala tekikyukanga. Obukakafu obw’enkukunala obulaga kino, kwe kuba nti yawaayo Omwana we, Yesu Kristo, nga ssaddaaka ey’ekinunulo enaatusobozesa okufuuka abatuukiridde n’okufuna obulamu obutaggwaawo. Baibuli egamba nti: “Nga bonna bwe bafiira mu Adamu, era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.” (1 Abakkolinso 15:22) Abantu abaaliwo ng’Amataba tegannabaawo baali kumpi n’obutuukirivu okusinga ffe abaliwo leero, era eyo y’ensonga lwaki baawangaalanga nnyo okusinga bwe kiri leero. Naye kati tusemberedde ekiseera ng’ekisuubizo kya Katonda kinaatera okutuukirizibwa. Mu kiseera ekitali kya wala, ekibi n’obutali butuukirivu bwonna bijja kuggibwawo, era abantu bajja kuba tebakyakaddiwa wadde okufa.​—Isaaya 33:24; Tito 1:2.

Kiki ky’oyinza okukola okusobola okufuna obulamu ng’obwo? Tolowooza nti ekisuubizo kya Katonda kirooto bulooto. Yesu yagamba nti: “Oyo awulira ekigambo kyange n’akkiriza oyo eyantuma alina obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 5:24) N’olwekyo funa okumanya okuli mu Baibuli era kolera ku ebyo by’oyiga. Bw’okola bw’otyo, ojja kuba okoppa abo omutume Pawulo be yayogerako nti “beeterekera eby’obugagga, kwe kugamba, omusingi omulungi gwe balizimbako mu biseera eby’omu maaso, basobole okunyweza obulamu obwa nnamaddala.” (1 Timoseewo 6:19) Osobola okuba omukakafu nti Katonda, Oyo eyasobozesanga abantu aboogerwako mu Baibuli okuwangaala ennyo naawe asobola okukusobozesa okuba omulamu emirembe gyonna!

[Obugambo obuli wansi]

^ Okumanya ebisingawo, laba akatabo The Bible​—God’s Word or Man’s? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Gulaafu eri ku lupapula 12]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

1000

969 MESUSEERA

950 NUUWA

930 ADAMU

900

 

 

 

800

 

 

 

700

 

 

 

600

 

 

 

500

 

 

 

400

 

 

 

300

 

 

 

200

 

 

 

100 OMUNTU ALIWO KATI

 

 

EMYAKA