Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Misango ki Balabba gye yazza?

Ebitabo byonna ebina eby’enjiri byogera ku musajja ayitibwa Balabba, omufuzi Omuruumi Pontiyo Piraato gwe yasumulula mu kifo kya Yesu. Balabba yali ‘amanyiddwa nnyo olw’ebikolwa bye ebibi.’ era nga “mubbi.” (Matayo 27:16; Yokaana 18:40) Yali asibiddwa mu kkomera ly’Abaruumi mu Yerusaalemi ‘ye ne banne bwe baali bajeemedde gavumenti era nga basse n’abantu.’​—Makko 15:7.

Wadde nga tewali bujulizi kuva wabweru wa byawandiikibwa bukakasa misango Balabba gye yazza, eky’okuba nti ayogerwako ng’ali wamu n’abantu abaajeemera gavumenti kireetera abawandiisi abamu okumukwataganya n’obubinja obwali bulwanyisa gavumenti mu Isiraeri mu kyasa ekyasooka. Munnabyafaayo ayitibwa Flavius Josephus yawandiika ng’agamba nti obubinja bw’abamenyi b’amateeka bwali bwenyigira nnyo mu mivuyo egyabangawo mu kiseera ekyo; abamenyi b’amateeka ng’abo baali bagamba nti balwanirira bwenkanya ku lw’Abayudaaya aba wansi abaali banyigirizibwa. Ekyasa ekyasooka E.E. (Embala Eno) we kyatuukira mu makkati, obwewagguzi olw’ebyo ebyali bigambibwa okuba obutali bwenkanya bw’Abaruumi era n’obw’abakungu Abayudaaya bwali bweyongedde nnyo. Obubinja bw’abamenyi b’amateeka oluvannyuma bwakola ekitundu kinene ku ggye ly’Abayudaaya eryagoba Abaruumi mu Buyudaaya mu mwaka 66 E.E.

Enkuluze eyitibwa The Anchor Bible Dictionary egamba nti, ‘Balabba ayinza okuba nga yali mu kamu ku bubinja bw’abanyazi ab’omu byalo. Obubinja buno bwali bumanyiddwa nnyo abantu aba bulijjo kubanga bwanyagululanga eby’obugagga bya Isiraeri ebyabusobozesanga okuteeka gavumenti y’Abaruumi ku bunkenke.’

Mu biseera by’Abaruumi, omuntu yazzanga misango ki n’aba ng’agwanira okuttibwa nga Yesu bwe yattibwa?

Engeri Abaruumi gye baabonerezangamu abantu abaasekeetereranga gavumenti, abamenyi b’amateeka, n’abayeekera abalala kwalinga kubakomerera ku kintu ekyakozesebwanga okutulugunya era nga babaleka okwo okutuusa lwe bafa. Ekibonerezo kino kyali kitwalibwa okuba engeri esingayo obubi omuntu gy’ayinza okuttibwamu.

Ekitabo ekiyitibwa Palestine in the Time of Jesus kigamba nti, “Kyakolebwanga mu lujjudde, mu ngeri eswaza era mu ngeri erumya, ate era kyakolebwanga okutiisa omuntu yenna eyandibadde ageezaako okuteeka gavumenti eriko ku bunkenke.” Omuwandiisi omu Omuruumi ow’omu biseera eby’edda y’agamba bw’ati ku bikwata ku kutta abamenyi b’amateeka: “Baabattiranga ku nguudo omwayitanga abantu abangi, ababalaba basobole okutya.”

Okusinziira ku muwandiisi ayitibwa Josephus, omu ku basibe abaali bawambiddwa amagye ga Titus bwe gaali gazingizza Yerusaalemi mu mwaka gwa 70 E.E. (Embala Eno), yattibwa mu ngeri eyo mu maaso ga bbugwe w’ekibuga ng’amagye gagezaako okutiisatiisa abo abaali bagaziyiza okuwamba ekibuga era nga gaagala balekulire. Ekibuga bwe kyawambibwa, bangi battibwa mu ngeri eyo.

Ebyafaayo biraga nti okuttibwa mu ngeri eyo okw’abantu abaasinga obungi kwaliwo ku nkomerero y’okwekalakaasa okwali kukulembeddwamu Spartacus (73-71 E.E.T., [ng’Embala Eno Tennatandika]), abaddu n’abalwanyi abawerera ddala 6,000 lwe battibwa ku luguudo oluva e Capua okugenda e Rooma.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

“Give us Barabbas” by Charles Muller, 1878