Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?

Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?

Yiga Okuva Mu Kigambo Kya Katonda

Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?

Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku by’okuddamu bino.

1. Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kye kiruwa?

Ensi ge maka g’omuntu. Oluvannyuma lw’okutonda bamalayika babeere mu ggulu, Katonda yatonda omuntu anyumirwe obulamu ku nsi. (Yobu 38:4, 7) Bwe kityo, Yakuwa yateeka omuntu eyasooka mu lusuku olulungi ennyo oluyitibwa Adeni era nga ye n’abaana be yandizadde baali baakunyumirwa obulamu obutaggwaawo ku nsi.​—Olubereberye 2:15-17; soma Zabbuli 115:16.

Katonda yaddira ekitundu ekitonotono wano ku nsi n’akifuula olusuku Adeni. Abafumbo abaasooka Adamu ne Kaawa, baali ba kuzaala abaana. Abantu bwe bandigenze beeyongera obungi, bandibadde bafuula ensi yonna olusuku lwa Katonda. (Olubereberye 1:28) Ensi tejja kuzikirizibwa.​—Soma Zabbuli 104:5.

2. Lwaki kaakano ensi si lusuku lwa Katonda?

Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, n’ekyavaamu baagobebwa mu lusuku Adeni. Olusuku olwo baalufiirwa era tewali muntu yenna asobodde kuluzzaawo. Bayibuli egamba nti: “Ensi eweereddwayo mu mukono gw’omubi.”​—Yobu 9:24; soma Olubereberye 3:23, 24.

Naye Yakuwa teyeerabiranga kigendererwa kye eri abantu, ate era Katonda tayinza kulemererwa kukituukiriza. (Isaaya 45:18) Katonda ajja kusobozesa abantu okubeera mu bulamu obweyagaza nga bwe yali ayagala kibeere mu kusooka.​—Soma Zabbuli 37:11.

3. Katonda anazzaawo atya emirembe ku nsi?

Abantu okusobola okubeera n’emirembe, Katonda alina okusooka okuggyawo abantu ababi. Ku lutalo Kalumagedoni, bamalayika ba Katonda bajja kuzikiriza abalabe be bonna. Sitaani ajja kusibibwa okumala emyaka 1,000, naye bo abantu abaagala Katonda bajja kuwonawo banyumirwe obulamu mu nteekateeka y’ebintu empya wano ku nsi.​—Soma Okubikkulirwa 16:14, 16; 20:1-3; 21:3, 4.

4. Okubonaabona kulikoma ddi?

Mu kiseera eky’emyaka 1,000, Yesu ajja kufuga ensi ng’asinziira mu ggulu era ajja kugifuula olusuku lwa Katonda. Ate era, abo bonna abaagala Katonda ajja kubasonyiwa ebibi byabwe. Bwe kityo, Yesu ajja kuggyawo endwadde, okukaddiwa, era n’okufa.​—Soma Isaaya 11:9; 25:8; 33:24; 35:1.

Katonda aliggyawo ddi obubi ku nsi? Yesu yawa “akabonero” akandiraze nti enkomerero enaatera okutuuka. Embeera eziriwo ku nsi zitadde obulamu bw’abantu mu kabi era ziraga nti kati tuli mu kiseera ‘eky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.’​—Soma Matayo 24:3, 7-14, 21, 22; 2 Timoseewo 3:1-5.

5. Baani abanaabeera mu Lusuku lwa Katonda?

Yesu yalagira abagoberezi be okufuula abantu abayigirizwa n’okubayigiriza amakubo ga Katonda ag’okwagala. (Matayo 28:19, 20) Okwetooloola ensi yonna, Yakuwa ateekateeka obukadde n’obukadde bw’abantu abanaabeera mu nteekateeka y’ebintu empya ku nsi. (Zeffaniya 2:3) Mu Bizimbe by’Obwakabaka eby’Abajulirwa ba Yakuwa, abantu bayiga engeri gye basobola okuba abaami era bataata abalungi, abakyala era bamaama abalungi. Nga bali eyo, abazadde n’abaana bayigira wamu ekyo kye bayinza okusinziirako okukkiriza nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba bitangaavu.​—Soma Mikka 4:1-4.

Bw’ogenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka, ojja kusangayo abantu abaagala Katonda era abaagala okuyiga engeri ey’okumusanyusaamu.​—Soma Abebbulaniya 10:24, 25.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 3 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.