Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakadde Lwe Balidda Obuto

Abakadde Lwe Balidda Obuto

Semberera Katonda

Abakadde Lwe Balidda Obuto

ANI ku ffe eyandyagadde okwolekagana n’ebizibu ebiva mu kukaddiwa​—enkanyanya, amaaso obutalaba bulungi, amatu obutawulira bulungi, n’amagulu okukankana? Oyinza okwebuuza, ‘Lwaki Katonda yatutonda nga tusobola okunyumirwa obulamu obw’ekivubuka ate ng’akimanyi nti oluvannyuma tujja kukaddiwa?’ Amawulire amalungi gali nti Katonda teyatutonda nga tuli ba kukaddiwa. Wabula olw’okuba atwagala, akoze enteekateeka eneetusobozesa obutaddamu kukaddiwa! Weetegereze ebigambo ebyagambibwa Yobu, ebiri mu Yobu 33:24, 25.

Lowooza ku mbeera ya Yobu, omusajja omwesigwa era Yakuwa gwe yali ayagala ennyo. Nga Yobu tamanyi ekyali kigenda mu maaso, Sitaani yabuusabuusa obugolokofu bwe ng’agamba nti Yobu yali aweereza Katonda olw’okuba yalina by’ayagala okwefunira. Olw’okuba Yakuwa yalina obwesige mu Yobu era ng’akimanyi nti asobola okuggyawo ebizibu byonna Sitaani bye yandireetedde Yobu, yakkiriza Sitaani amugezese. Awo Sitaani ‘n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku mutwe gwe.’ (Yobu 2:7) Omubiri gwa Yobu gwonna gwajjula envunyu, olususu lwe lwajjako ebikakampa, lwaddugala, era ne lutandika n’okuyubuka. (Yobu 7:5; 30:17, 30) Oyinza okuteeberezaamu obulumi Yobu bwe yalimu? Kyokka, Yobu yasigala mwesigwa, era yagamba nti: “Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange!”​—Yobu 27:5.

Kyokka, Yobu yakola ensobi ey’amaanyi. Bwe yalowooza nti anaatera okufa, yatandika okwegulumiza nga “yeeyita mutuukirivu so si Katonda.” (Yobu 32:2) Eriku omwogezi wa Katonda yakangavvula Yobu. Naye era Eriku yamubuulira obubaka obuzzaamu amaanyi okuva eri Katonda: “Muwonye [Yobu] aleme okukka mu bunnya [emagombe], ndabye ekinunulo. Omubiri gwe guliba muggya okusinga ogw’omwana omuto; adda mu nnaku z’obuto bwe.” (Yobu 33:24, 25) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byawa Yobu essuubi. Teyali wa kweyongera kubonaabona kutuusa kufa. Yobu bwe yandyenenyezza, Katonda yandikkirizza ekinunulo ku lulwe era n’amuwonya ebizibu byonna bye yalimu. *

Olw’okuba yali muwombeefu, Yobu yakkiriza okutereezebwa era yeenenya. (Yobu 42:6) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yakkiriza ekinunulo ekyaweebwayo ku lwa Yobu kibikke ku nsobi ye, kisobozese ebizibu bye okuggyibwawo, n’okuweebwa emikisa. Yakuwa “yawa omukisa enkomerero ya Yobu okusinga entandikwa ye.” (Yobu 42:12-17) Ng’oggyeko emikisa emirala egyamuweebwa, lowooza ku buweerero Yobu bwe yafuna ng’obulwadde obwali bumuluma ennyo buwonye, era ng’omubiri gwe gufuuse “muggya okusinga ogw’omwana omuto”!

Ekinunulo ekyaweebwayo ku lwa Yobu Katonda kye yakkiriza kyalina omugaso mutono, kubanga omusajja oyo yasigala tatuukiridde era ekiseera kyatuuka n’afa. Ffe tulina ekinunulo ekisingira ddala ekyo. Olw’okuba Yakuwa atwagala, yawaayo Omwana we, Yesu, ng’ekinunulo ku lwaffe. (Matayo 20:28; Yokaana 3:16) Abo bonna abakkiririza mu kinunulo ekyo, bajja kufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Mu nsi ya Katonda eyo empya, Katonda ajja kujjawo okukaddiwa. Lwaki toyiga bisingawo ku ngeri gy’oyinza okuba omu ku abo abanaaba abalamu mu kiseera ekyo ‘ng’emibiri gy’abakadde gidda buggya okusinga ogw’omwana omuto.’?

[Obugambo obuli wansi]

^ Ekigambo “ekinunulo” ekikozeseddwa wano kitegeeza “okubikka.” Ekinunulo ekyandyetaagisizza ku lwa Yobu kiyinza okuba nga kyali ekiweebwayo eky’ensolo Katonda kye yandikkirizza okubikka, oba okutangirira ensobi ya Yobu.​—Yobu 1:5.