Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

KIKI ekyaleetera omuvubuka eyali omujeemu era ataalina mukwano ku muntu yenna, okwagala okuyamba abalala? Kiki ekyaleetera omusajja omu ow’omu Mexico okulekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu? Kiki ekyaleetera omuvuzi w’obugaali bw’empaka eyali omututumufu mu Japan, okulekera awo okuvuga obugaali okusobola okuweereza Katonda? Soma olabe bye bagamba.

“Nnali wa malala era nga ndi mukambwe nnyo.”​—DENNIS O’BEIRNE

NNAZAALIBWA: 1958

ENSI: BUNGEREZA

EBYAFAAYO: NNALI MUKAMBWE ERA NGA SIRINA MUKWANO NA MUNTU YENNA

OBULAMU BWANGE BWE BWALI: Taata wange yali nzaalwa y’e Ireland, era awaka twali Bakatuliki. Nnateranga okugenda nzekka ku Kkereziya naye saayagalanga kugendayo. Wadde kyali kityo, nnali njagala nnyo okumanya ebikwata ku Katonda. Nnateranga okusaba essaala ya Kitaffe ali mu ggulu, era nzijukira nnagalamiranga ku kitanda kyange ne ndowooza ku makulu g’ebigambo ebiri mu saala eyo.

Bwe nnali wa myaka nga 16, nnayingira mu kibiina ky’Abalaasi, era nnawagiranga n’ebibiina by’obufuzi eby’enjawulo. Nnakozesanga ebiragalalagala, naddala enjaga era enjaga nnaginywanga kumpi buli lunaku. Nnanywanga nnyo omwenge, nnassanga obulamu bwange mu kabi, era saafangayo ku balala. Saayagalanga kubeera mu bantu, era saayogeranga na bantu balala, okuggyako nga ndaba nga ddala ensonga ey’okwogerako nkulu nnyo. Ate era saayagalanga kunkuba bifaananyi. Kati bwe ndowooza ku bulamu bwange bwe bwali, ndaba nga nnali muntu wa malala, mukambwe, era atafaayo ku balala. Mikwano gyange egy’oku lusegere be bokka be nnayisanga obulungi.

Bwe nnali wa myaka 20, nnayagala okumanya ebiri mu Bayibuli. Nnalina mukwano gwange eyali atunda ebiragalalagala eyatandika okusoma Bayibuli ng’ali mu kkomera, era twamalanga ekiseera kiwanvu nga tukubaganya ebirowoozo ku by’eddiini, ku makanisa, ne ku Sitaani. Nnagula Bayibuli ne ntadika okugisoma. Nze ne mukwano gwange twafunangayo ebitundu mu Bayibuli bye twasomanga, oluvannyuma ne tusisinkana ne tukubaganya ebirowoozo ku ebyo bye twabanga tuyize. Ekyo twakikola okumala emyezi egiwera.

Bino bye bimu ku bintu bye twazuula mu ebyo bye twasoma mu Bayibuli: twakitegeera nti tuli mu nnaku ez’enkomerero; nti Abakristaayo basaanidde okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda; nti tebasaanidde kuba kitundu kya nsi nga mw’otwalidde okwenyigira mu by’obufuzi; era nti Bayibuli esobola okutuyamba okuba abantu abalungi. Twakiraba nti ebiri mu Bayibuli bituufu, era nti wateekwa okubaawo eddiini ey’amazima. Naye ddiini ki eyo? Twalowooza ku madiini agasinga okumanyibwa, ku makanisa amatiribona ge bazimba, emikolo gye bakuza, ne ku ky’okuba nti beenyigira mu by’obufuzi, era ne tukiraba nti Yesu bw’atyo si bwe yali. Twakiraba nti Katonda tabakozesa. Bwe tutyo ne tunoonyereza mu madiini amalala agatamanyiddwa nnyo, tusobole okumanya bye gayigiriza.

Twasisinkananga abantu abali mu madiini ago ne tubabuuza ebibuuzo ebitali bimu. Twali tumanyi engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo, era nga tusobola okumanya obanga engeri gye babiddamu ekwatagana n’ekyo Bayibuli ky’egamba. Oluvannyuma lw’okwogera nabo, nnasabanga Katonda ne mmugamba nti, ‘Bwe kiba nti abantu bano be bali mu ddiini ey’amazima, nkusaba ondeetere okwagala okuddamu okubasisinkana.’ Naye oluvannyuma lw’emyezi egiwera nga tusisinkana abantu ng’abo, tetwafunayo abaali basobola okuddamu ebibuuzo byaffe nga bakozesa Bayibuli, era saayagalanga kuddamu kubasisinkana.

Oluvannyuma, nze ne mukwano gwange twasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa. Twababuuza ebibuuzo bye bimu, era baabituddamu nga bakozesa Bayibuli. Engeri gye baabiddamu yali ekwatagana n’ebyo bye twali tumaze okuyiga. Tweyongera okubabuuza ebibuuzo bye twali tutannafuna bya kuddamu mu Bayibuli, gamba ng’endowooza Katonda gy’alina ku kunywa ssigala n’okukozesa ebiragalalagala. Ebibuuzo byaffe byonna baabiddamu nga bakozesa Ekigambo kya Katonda. Baatuyita okugenda mu Lukuŋŋaana lwabwe mu Kizimbe ky’Obwakabaka, era ne tukkiriza.

Okugenda mu nkuŋŋaana tekyannyanguyira. Wadde ng’abantu be twasangayo baatulaga okwagala era nga bambadde bulungi, nnali saagala kwogera nabo. Nnali sibeesiga, era nnali saagala kuddamu kugenda mu nkuŋŋaana zaabwe. Naye nga bwe nnateranga okukola, nnasabanga Katonda annyambe okwagala okuddamu okusisinkana abantu abo, bwe kiba nti be bali mu ddiini ey’amazima. Era nnawulira nga njagala nnyo okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Nnalina okulekera awo okukozesa ebiragalalagala, era ekyo tekyanzibuwalira. Naye ekyanzibuwalira ennyo okulekayo, kwe kunywa ssigala. Nnagezaako emirundi egiwera okulekera awo okumunywa, naye nga nnemererwa. Bwe nnawulira ku abo abaali basobodde okulekera awo okunywa ssigala, nnasaba Yakuwa annyambe okukola kye kimu. Oluvannyuma Yakuwa yannyamba ne ndekera awo okunywa ssigala. Nnalaba omuganyulo oguli mu kusaba ennyo Yakuwa, n’okumubuulira byonna ebindi ku mutima.

Enkyukakyuka endala enkulu gye nnalina okukola, kwe kukyusa engeri gye nnali nnyambalamu ne gye nnali nneekolako. Ku lukuŋŋaana lwe nnasooka okugendamu ku Kizimbe ky’Obwakabaka, enviiri zange zaalimu olukuubo olwa bbulu. Oluvannyuma nnaziteekamu ddaayi owa kacungwa. Era nnayambalanga jjiini ne jaketi eziriko ebigambo. Nnali siraba bwetaavu bwa kukyusa ngeri gye nnali nnyambalamu ne gye nneekolako, wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa baayogeranga nange ku nsonga eyo. Naye oluvannyuma nnalowooza ku bigambo ebiri mu 1 Yokaana 2:15-17, awagamba nti: “Temwagalanga nsi newakubadde ebintu ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye.” Nnakiraba nti endabika yange yali eraga nti njagala nnyo ensi, era nti okusobola okulaga nti njagala Katonda, nnalina okukyusaamu. Era ekyo nnasobola okukikola.

Oluvannyuma nnakitegeera nti Abajulirwa ba Yakuwa si be bokka abaali baagala mbengawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Abebbulaniya 10:24, 25 wandaga nti ekyo kye kintu ne Katonda kye yali ayagala nkole. Bwe nnatandika okubeerangawo mu nkuŋŋaana zonna era n’okweyongera okutegeera abantu abaabeerangayo, nnasalawo okubatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Nkwatibwako nnyo buli lwe ndowooza ku ngeri Yakuwa gy’atukkiriza okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Ekisa ky’atulaga n’engeri gy’atufaako bindeetedde okwagala okumukoppa, era n’okugoberera ekyokulabirako ky’Omwana we Yesu Kristo mu bulamu bwange. (1 Peetero 2:21) Njize nti wadde nga nnina okufuba okweyisa ng’Omukristaayo, nsobola okuba n’endowooza yange ku bintu ebitali bimu. Nfubye nnyo okukulaakulanya okwagala n’okufaayo ku balala. Nfuba okukoppa Kristo mu ngeri gye mpisaamu mukyala wange ne mutabani wange, era nfaayo nnyo ku bakkiriza bannange. Okugoberera Kristo kinnyambye okuyiga okwewa ekitiibwa, okulaga abalala okwagala, era n’okubafaako.

“Banzisaamu ekitiibwa.”​—GUADALUPE VILLARREAL

NNAZAALIBWA: 1964

ENSI: MEXICO

EBYAFAAYO: NNALI MUGWENYUFU

OBULAMU BWANGE BWE BWALI: Nnakulira mu kitundu ekiyitibwa Hermosillo, mu Sonora, ekiri e Mexico, era twazaalibwa abaana musanvu. Abantu b’omu kintu kye nnakuliramu baali baavu nnyo. Taata wange yafa nga nkyali muto, era maama yalina okukola ennyo okusobola okutulabirira. Saayambalanga ngatto kubanga tetwalina ssente zizigula. Nnatandika okukola nga nkyali muto nsobole okuyambako ku byetaago by’awaka. Okufaananako amaka amalala mangi, naffe twali tusula mu kayumba katono.

Maama teyasiibanga waka okusobola okutukuuma. Bwe nnali wa myaka 6, waliwo omwana ow’emyaka 15 eyansobyako. Ekyo yeeyongera okukikola okumala ekiseera kiwanvu. N’ekyavaamu, nnatandika okulowooza nti kya bulijjo okwagala okwegatta ne basajja bannange. Bwe nneebuuza ku basawo n’abakulu b’amadiini, baŋŋamba nti sirina kizibu kyonna, era nti engeri gye nnali nneewuliramu teyaliiko buzibu bwonna.

Bwe nnali wa myaka 14, nnatandika okwambala n’okwekolako ng’abalyi b’ebisiyaga. Bwe ntyo bwe nneeyisanga okumala emyaka emirala 11, era nneegattanga n’abasajja ab’enjawulo. Oluvannyuma nnasoma koosi y’okukola enviiri era ne ntandikawo saaluuni. Kyokka saali musanyufu. Nnakiraba nti bye nnali nkola tebyali birungi. Nnatandika okwebuuza nti, ‘Ddala waliyo abantu abalungi era abeesigika?’

Mu kiseera ekyo nnatandika okulowooza ku mwannyinaze eyatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era oluvannyuma n’abatizibwa. Yambuulirangako bye yali ayiga, naye nga sibifaako. Nnali nneegomba engeri gye yali atambuzaamu obulamu bwe, era n’obufumbo bwe. Nnali nkiraba nti ye n’omwami we baagalana nnyo era bawaŋŋana ekitiibwa. Oluvannyuma lw’ekiseera, waliwo Omujulirwa wa Yakuwa eyatandika okunjigiriza Bayibuli. Mu kusooka sassangayo nnyo mwoyo, naye oluvannyuma ebintu byakyuka.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Abajulirwa ba Yakuwa bampita mu lumu ku nkuŋŋaana zaabwe, era ne ŋŋenda. Nnakwatibwako nnyo olw’engeri gye bampisaamu. Abantu abalala bansekereranga, naye Abajulirwa ba Yakuwa si bwe baali. Bandaga ekisa era banzisaamu ekitiibwa. Ekyo kyankwatako nnyo.

Nneeyongera okwagala Abajulirwa ba Yakuwa bwe nnagenda ku lukuŋŋaana lwabwe olunene. Nnakiraba nti ne mu nkuŋŋaana ennene, Abajulirwa ba Yakuwa baali nga mwannyinaze; baagalana era bafaayo ku balala. Nnatandika okwebuuza obanga bano be bantu abalungi era abeesigika be nnali nnoonya. Engeri gye baali balagaŋŋanamu okwagala, obumu bwe baalina, era n’engeri gye baali bakozesaamu Bayibuli okuddamu buli kibuuzo kye nnalina, byankwatako nnyo. Nnakiraba nti Bayibuli ye yali ebayambye okuba abantu abalungi. Ate era nnakiraba nti nnalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okubeera omu ku bo.

Mu butuufu, nnalina okukola enkyukakyuka mu buli kimu kubanga nnali nneeyisiza ddala ng’omukazi. Enjogera yange, enneeyisa yange, ennyambala, engeri gye nnali nkola ku nviiri zange, n’emikwano gye nnalina, byonna nnali nneetaaga okubikyusa. Abaali mikwano gyange baatandika okunsekerera nga bagamba nti, “Lwaki okola ebyo byonna. Tobadde na buzibu bwonna. Teweetaaga kuyiga Bayibuli. Olina buli kimu kye weetaaga.” Ekyasinga okunzibuwalira okulekayo, kwe kwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.

Wadde nga tekyali kyangu kukola nkyukakyuka ezo, nnali nkimanyi nti kisoboka okuzikola. Ebigambo ebiri mu 1 Abakkolinso 6:9-11 byali byantuuka ku mutima. Wagamba nti: “Temumanyi nti abatali batuukirivu tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda? Temubuzaabuzibwanga. Abagwenyufu, abasinza ebifaananyi, abenzi, abasajja abeewaayo okuliibwa ebisiyaga, abalya ebisiyaga, . . . tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda. Abamu ku mmwe mwali ng’abo. Naye kaakano munaaziddwa, mutukuziddwa.” Yakuwa yayamba abantu mu biseera eby’edda okukola enkyukakyuka, era nange yannyamba. Kyantwalira emyaka egiwerako okukola enkyukakyuka era nnalina okufuba ennyo, naye amagezi Abajulirwa ba Yakuwa ge bampa n’okwagala kwe bandaga, byannyamba nnyo.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Obulamu bwe ndimu kati bulungi. Ndi mufumbo, era nze ne mukyala wange tuyigiriza mutabani waffe okutambulira ku mitindo gya Katonda egiri mu Bayibuli. Kati nnakyukira ddala, era nnina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Ate era nnyumirwa nnyo okumuweereza. Mpeereza ng’omukadde mu kibiina, era nsobodde okuyamba abalala okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Enkyukakyuka ze nnakola zaasanyusa nnyo maama wange. Yakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli, era naye yabatizibwa n’afuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Ne mwannyinaze omulala eyali yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

Abantu abaali bamanyi obulamu bwe nnalimu emabega nabo bakiraba nti nnakyuka, era mmanyi ekyannyamba okukola enkyukakyuka ezo. Mu biseera ebyayita nneebuuzanga ku bakugu, naye bonna amagezi ge bampa tegannyamba. Naye Yakuwa yannyamba. Wadde nga nnali mpulira nga sirina mugaso, yandaga okwagala era yaŋŋumiikiriza. Ekyo kye kyandeetera okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange.

“Saali mumativu, era nnali mpulira ekiwuubaalo.”​—KAZUHIRO KUNIMOCHI

NNAZAALIBWA: 1951

ENSI: JAPAN

EBYAFAAYO: NNALI MUVUZI WA BUGAALI BWA MPAKA

OBULAMU BWANGE BWE BWALI: Nnakulira mu kabuga akayitibwa Shizuoka Prefecture, mu Japan. Awaka twali abantu munaana era nga tubeera mu kayumba katono. Taata wange yalina edduuka eritunda obugaali era ng’abukanika. Okuviira ddala nga nkyali muto, yantwalanga okulaba obugaali bw’empaka era ne ntandika okwagala omuzannyo ogwo. Oluvannyuma taata wange yatandika okunkolera enteekateeka nsobole okufuuka omuvuzi w’obugaali bw’empaka. Era bwe nnali nkyali mu bibiina ebya wansi, ye kennyini yatandika okuntendeka. Bwe nnali mu siniya, nnawangula empaka z’obugaali ez’eggwanga lyonna emyaka esatu egy’omuddiriŋŋanwa. Nnafuna sikaala okugenda ku yunivasite, naye nnasalawo okugenda obutereevu mu ssomero eritendeka okuvuga obugaali. Ku myaka 19, nnafuuka omuvuzi w’obugaali bw’empaka abuvugira ensimbi.

Mu kiseera ekyo, nnalina ekiruubirirwa eky’okufuuka omuvuzi w’obugaali bw’epaka asinga mu Japan. Nnali njagala kufuna ssente nnyingi kisobozese ab’eŋŋanda zange okuba mu bulamu obulungi. Era nnafuba nnyo okutendekebwa. Buli lwe nnawuliranga ng’okutendekebwa kunkooyezza, muli nneegambanga nti, Toggwaamu maanyi, wazaalibwa kuvuga bugaali. Oluvannyuma nnatandika okuganyulwa mu maanyi ge nnali ntadde mu kutendekebwa. Mu mwaka gwange ogwasooka, nze nnasinga mu bavuzi abapya. Mu mwaka ogw’okubiri, nnasunsulwa okwetaba mu mpaka ez’eggwanga. Mu mpaka ezo nnakwata ekifo kyakubiri emirundi mukaaga.

Bwe nneeyongera okuwangula empaka, abantu baatandika okumpita nnakinku ow’e Tokai, ekitundu ekimu mu Japan. Abavuzi b’obugaali abalala bantyanga kubanga nnavuganga bubi, era nnakolanga buli kimu ekisoboka okuwangula. Nnafuna ssente nnyingi era nga nsobola okugula buli kimu kye njagala. Nnagula ennyumba erimu jjiimu eyalimu ebyuma ebiri ku mulembe. Ate era nnagula emmotoka ey’ebbeeyi, era nga ssente ze nnagigula kumpi zaali zenkana n’ez’ennyumba gye nnali nguze. Okusobola okwetegekera ebiseera eby’omu maaso, nnatandika okugula ebizimbe n’emigabo mu makampuni.

Naye oluvannyuma lw’okukola ebyo byonna, nnawulira nga siri mumativu, era nga nnina ekiwuubaalo. Mu kiseera ekyo nnali mufumbo era nga nnina n’abaana, naye saayisanga bulungi ba mu maka gange. Nnakambuwaliranga mukyala wange n’abaana bange, ne ku buntu obutono ennyo. Bantyanga nnyo! Beetegerezanga endabika yange ku maaso okulaba obanga nnyiize.

Oluvannyuma lw’ekiseera, mukyala wange yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Ekyo kyatandika okukyusa obulamu bwaffe. Lumu bwe yaŋŋamba nti ayagala kugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, nnamugamba nti tujja kugenda ffenna ng’amaka. Nzijukira bulungi olunaku omukadde mu kibiina lwe yajja ewange n’atandika okuyiga nange Bayibuli. Bye nnayiga ku olwo byankwatako nnyo.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Siryerabira ngeri gye nnakwatibwako lwe nnasooka okusoma Abeefeso 5:5. Wagamba nti: “Tewali muntu akola eby’obugwenyufu oba omuntu atali mulongoofu oba ow’omululu, ekitegeeza oyo asinza ebifaananyi, alisikira Obwakabaka bwa Kristo era obwa Katonda.” Nnakiraba nti omuzannyo gw’okuvuga obugaali gwalimu n’okukuba zzaala, era gwaleeteranga omuntu okuba ow’omululu. Omutima gwange gwannumirizanga. Nnakiraba nti okusobola okusanyusa Katonda, nnalina okulekera awo okuvuga obugaali bw’empaka. Naye ekyo tekyambeerera kyangu.

Nnali nnaakamaliriza empaka ezaali ziŋŋendedde obulungi ennyo, era nnali nkyayagala okwetaba mu mpaka endala. Mu kiseera ekyo nnali nkiraba nti obutafaananako mpaka za bugaali ezaalimu okuvuganya okungi n’okweraliikirira, okuyiga Bayibuli kwali kunnyamba okufuna emirembe mu mutima. Oluvannyuma lw’okutandika okuyiga Bayibuli, nneetaba mu mpaka za mirundi esatu gyokka, naye muli nnali mpulira nti nkyayagala okuvuga obugaali bw’empaka. Ate era nnali nneebuuza engeri gye nnandirabiriddemu ab’omu maka gange. Nnawulira nga nsobeddwa era nga simanyi kya kusalawo. Ab’eŋŋanda zange nabo baali tebaagala ndekere awo okuvuga obugaali bw’empaka, era ne taata wange kyamuyisa bubi nnyo. Ekyo kyandeetera okweyongera okweraliikirira ennyo ne ntuuka n’okufuna alusa.

Ekyannyamba mu kiseera ekyo ekizibu kwe kweyongera okuyiga Bayibuli n’okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Okukkiriza kwange kweyongera okunywera. Nnasaba Yakuwa addemu essaala zange, era annyambe okulaba ebintu nga ye bw’abiraba. Okweraliikirira kwe nnalina kweyongera okukendeera mukyala wange bwe yaŋŋamba nti teyeetaaga kuba mu nnyumba nnene okusobola okuba omusanyufu. Mpolampola, nnakulaakulana mu by’omwoyo.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Nnakiraba nti ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:33 bituufu ddala. Yagamba nti: “Musooke munoonyenga Obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebyo ebirala byonna biribongerwako.” Tetujulangako ‘bintu birala’ Yesu bye yayogerako, kwe kugamba, ebyetaago by’obulamu. Wadde nga kati ssente ze nfuna ntono nnyo bw’ozigeraageranya ku ezo ze nnafunanga nga nkyavuga obugaali bw’empaka, nze n’ab’omu maka gange tubaddenga tufuna bye twetaaga mu myaka 20 egiyise.

N’ekisinga byonna, bwe mba ne bakkiriza bannange nga twenyigira mu bintu eby’omwoyo, mpulira essanyu n’obumativu obwa nnamaddala bye saalina mu kusooka. Ebiseera biyita mangu olw’okuba nnina eby’okukola bingi mu buweereza bwange eri Yakuwa. Embeera y’amaka gange yeeyongedde okulongooka. Batabani bange abasatu ne bakyala baabwe, bonna baweereza Yakuwa.