Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ggeyeena kifo abantu gye babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira?

Ggeyeena kifo abantu gye babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira?

Abasomi Baffe Babuuza . . .

Ggeyeena kifo abantu gye babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira?

▪ Mu bitabo eby’enjiri, Yesu yalabula abayigirizwa be ku musango gwa Ggeyeena. Kya lwatu, Yesu yali ayagala okulabula okwo bakutwale nga kukulu nnyo. Naye ekyo kitegeeza nti yali ayogera ku muliro ogutazikira abantu gye babonyabonyezebwa emirembe n’emirembe?​—Matayo 5:22.

Ka tusooke twetegereze amakulu g’ekigambo Ggeyeena. Ekigambo eky’Oluyonaani Geʹen·na kirina amakulu ge gamu n’ekigambo eky’Olwebbulaniya geh Hin·nomʹ, ekitegeeza ‘ekiwonvu kya Kinomu,’ oba mu bulambulukufu bwakyo geh veneh-Hin·nomʹ, ekitegeeza ‘ekiwonvu ky’abaana ba Kinomu.’ (Yoswa 15:8; 2 Bassekabaka 23:10) Ekifo kino, ekimanyiddwa leero nga Wadi er-Rababi, kiwonvu ekiwanvu ennyo era nga kifunda ekisangibwa mu bukiikaddyo n’ebukiikaddyo w’ebugwanjuba wa Yerusaalemi.

Mu biseera bya bakabaka ba Yuda okuva mu kyasa ekyomunaana E.E.T. (ng’Embala Eno Tennatandika), ekifo kino kyakozesebwanga ku mikolo gy’ekikaafiiri, nga mw’otwalidde n’okwokya abaana nga ssaddaaka. (2 Ebyomumirembe 28:1-3; 33:1-6) Nnabbi Yeremiya yalagula nti Katonda yandikozesezza Abababulooni okuttira Abayudaaya mu kiwonvu kye kimu ekyo ng’abasalira omusango olw’ebikolwa byabwe ebibi. *​—Yeremiya 7:30-33; 19:6, 7.

Okusinziira ku muwandiisi Omuyudaaya ayitibwa David Kimhi (c. 1160-c. 1235 Embala Eno), ekiwonvu ekyo oluvannyuma kyafuulibwa ekifo awasuulibwa kasasiro eyaggibwanga mu kibuga Yerusaalemi. Ekifo ekyo kyabangamu omuliro ogw’amaanyi ogwabanga gwaka ekiseera kyonna okusobola okwokya kasasiro. Ekintu kyonna ekyasuulibwanga mu kifo ekyo omuliro gwakisaanyangawo ne kifuuka evvu.

Abakulembeze b’amadiini bangi bayigiriza nti ebigambo “Ggeyeena ey’omuliro” ebivvuunulwa okuva mu kigambo Geʹen·na bitegeeza ekifo abantu gye babonyabonyezebwa. (Matayo 5:22) Lwaki bayigiriza bwe batyo? Olw’okuba baddira enzikiriza y’ekikafiiri egamba nti oluvannyuma lw’okufa ababi babonerezebwa mu muliro ogutazikira ne bagikwataganya n’omuliro ogwali mu kiwonvu ekiri ebweru wa Yerusaalemi. Kyokka, ye Yesu Ggeyeena teyagikwataganya na bantu kubonyabonyezebwa mu muliro.

Yesu yali akimanyi nti okwokya abantu mu muliro nga balamu kya muzizo eri Kitaawe ow’omu ggulu, Yakuwa. Ng’ayogera ku ngeri Ggeyeena gye kyali kikozesebwamu mu biseera bya nnabbi Yeremiya, Katonda yagamba nti: “Bazimbye ebifo ebigulumivu eby’e Tofesi ekiri mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro; kye ssiragiranga so tekyayingira mu mutima gwange.”(Yeremiya 7:31) Okugatta ku ekyo, endowooza egamba nti abafu babonyabonyezebwa mu muliro ekontana n’engeri ya Katonda ey’okwagala awamu n’enjigiriza ya Bayibuli egamba nti abafu “tebaliiko kye bamanyi.”​—Omubuulizi 9:5, 10.

Yesu yakozesa ekigambo “Ggeyeena” ng’akabonero akakiikirira okuzikirizibwa oluvannyuma lwa Katonda okusala omusango. Bwe kityo, ekigambo “Ggeyeena” kirina amakulu ge gamu ‘n’ennyanja ey’omuliro,’ eyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Ggeyeena n’ennyanja ey’omuliro byombi bikiikirira okuzikirizibwa okw’emirembe n’emirembe nga tewali ssuubi lya kuzuukira.​—Lukka 12:4, 5; Okubikkulirwa 20:14, 15.

[Obugambo obuli wansi]

^ Nga kyogera ku bunnabbi obwo, ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kigamba nti: “Mu kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, abantu abattibwanga baabanga bangi nnyo ne kiba nti emirambo gyabwe gyasuulibwanga mu kiwonvu nga tegiziikiddwa, gisobole okuvunda oba okwokebwa.”