Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obuweereza Bwo eri Yakuwa Butwale nga Bukulu Nnyo

Obuweereza Bwo eri Yakuwa Butwale nga Bukulu Nnyo

Obuweereza Bwo eri Yakuwa Butwale nga Bukulu Nnyo

‘Ebintu byonna ebikulu, mweyongere okubirowoozangako.’​—BAF. 4:8.

1, 2. Kiki ekireetedde abantu bangi okwemalira ku by’amasanyu, era kino kireetawo bibuuzo ki?

 MU KISEERA kino kye tulimu, ensi eyolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi ennyo ebitabangawo mu byafaayo by’omuntu. Abantu abatalina nkolagana ya ku lusegere ne Yakuwa, bakisanze nga kizibu nnyo ddala okwaŋŋanga embeera eziriwo mu ‘biseera bino ebizibu.’ (2 Tim. 3:1-5) Buli lukya boolekagana n’ebizibu ate ng’ebisinga obungi ku byo tebalina busobozi bwa kubigonjoola. Bwe kityo, bangi basazeewo okwemalira ku by’amasanyu nga balowooza nti ekyo kijja kubayamba okwerabira ebizibu bye balina.

2 Singa Abakristaayo baba tebeegenderezza, nabo omwoyo ogwo ogw’okwagala eby’amasanyu gusobola okubatwaliriza. Ekyo tuyinza tutya okukyewala? Kino kitegeeza nti ffe tetulina kufunayo kiseera kwesanyusaamu? Tuyinza kukola ki okulaba nti eby’amasanyu tebitulemesa kutuukiriza buvunaanyizibwa bwaffe? Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa eginaatuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu?

Okuba Abeegendereza mu Nsi Eyagala Ennyo eby’Amasanyu

3, 4. Ebyawandiikibwa biraga bitya obukulu bw’okuba abeegendereza?

3 Kya lwatu nti ensi eno ekubiriza omwoyo ‘ogw’okwagala ennyo eby’amasanyu.’ (2 Tim. 3:4) Singa tutwalirizibwa omwoyo ogwo kiyinza okutulemesa okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. (Nge. 21:17) Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo mu bbaluwa ze yawandiikira Timoseewo ne Tito, tusangamu n’okubuulirira okukwata ku nsonga ey’okuba abeegendereza. Okukolera ku kubuulirira okwo kijja kutuyamba okwewala okutwalirizibwa ensi eno eyagala ennyo eby’amasanyu.​—Soma 1 Timoseewo 2:1, 2; Tito 2:2-8.

4 Ebyasa bingi emabega, Sulemaani yakiraga nti kikulu okufunanga ebiseera okulowooza ku bintu ebikulu mu bulamu mu kifo ky’okwemalira ku by’amasanyu. (Mub. 3:4; 7:2-4) Mu butuufu, okusobola okufuna obulokozi, tulina ‘okufuba ennyo’ kubanga obulamu bwaffe bumpi. (Luk. 13:24) Eyo ye nsonga lwaki tusaanidde okulowooza ennyo buli kiseera ku bintu “ebikulu” mu bulamu. (Baf. 4:8, 9) Kino kitegeeza nti tulina okuba abeegendereza era n’okussaayo omwoyo ku ebyo byonna bye tukola ng’Abakristaayo.

5. Menyayo ekintu kimu kye tusaanidde okutwala nga kikulu nnyo?

5 Ng’ekyokulabirako, nga bakoppa Yakuwa ne Yesu, Abakristaayo bafaayo nnyo okukola emirimu n’obunyiikivu. (Yok. 5:17) Bwe kityo, abasinga obungi basiimibwa nnyo bakama baabwe olw’obunyiikivu bwabwe n’okuba nti beesigika. N’okusingira ddala emitwe gy’amaka basaanidde okukola ennyo okusobola okulabirira ab’omu maka gaabwe. Mu butuufu, singa tebafaayo ku byetaago bya ba mu maka gaabwe baba ng’abeegaanye Yakuwa!​—1 Tim. 5:8.

Okutwala Obuweereza Bwaffe ng’Ekintu Ekikulu era Ekireeta Essanyu

6. Tumanyira ku ki nti okusinza Yakuwa tulina okukutwala nga kukulu nnyo?

6 Okuva edda n’edda, Yakuwa azze akiraga nti kikulu nnyo okumusinza mu ngeri gy’ayagala. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri buli lwe baavanga ku kusinza okw’amazima baafunanga ebizibu eby’amaanyi. (Yos. 23:12, 13) Mu kyasa ekyasooka E.E., abagoberezi ba Kristo baalina okufuba ennyo okulaba nti enjigiriza ez’obulimba awamu n’endowooza enkyamu tebyonoona kusinza okw’amazima. (2 Yok. 7-11; Kub. 2:14-16) Ne leero Abakristaayo ab’amazima, okusinza okw’amazima bakutwala ng’ekintu ekikulu ennyo.​—1 Tim. 6:20.

7. Pawulo yeetegekeranga atya obuweereza bwe?

7 Omulimu gwaffe ogw’okubuulira gutuleetera essanyu. Kyokka, okusobola okusigala nga tuli basanyufu nga tukola omulimu gwaffe ogwo, twetaaga okugwetegekera obulungi. Ng’alaga engeri gye yafangayo ku bantu be yayigirizanga, Pawulo yagamba nti: “Nfuuse byonna eri abantu aba buli ngeri nsobole okulokola abamu. Nkola ebintu byonna olw’amawulire amalungi nsobole okugabuulirako abalala.” (1 Kol. 9:22, 23) Pawulo yafuna essanyu lingi mu kuyamba abantu mu by’omwoyo, era yalowoozanga nnyo ku ngeri gye yali asobola okuyambamu abantu aba buli ngeri. Mu kukola bw’atyo, yasobola okubasikiriza okwagala okusinza Yakuwa.

8. (a) Twandibadde tutwala tutya obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abalala? (b) Okuyigiriza abantu Bayibuli kiyinza kitya okutuleetera essanyu mu buweereza bwaffe?

8 Pawulo yalaga atya nti obuweereza bwe yali abutwala nga bukulu nnyo? Yali mwetegefu okuweereza ‘ng’omuddu’ wa Yakuwa era ne yeefuula ‘muddu’ eri abantu be yabuuliranga amawulire amalungi. (Bar. 12:11; 1 Kol. 9:19) Naffe bwe tuba tuyigiriza Ekigambo kya Katonda​—ka kibeere mu maka g’omuntu, mu lukuŋŋaana olw’Ekikristaayo, oba mu Kusinza kw’Amaka gaffe​—obuvunaanyizibwa obwo tubutwala nga bukulu nnyo? Oboolyawo eky’okuyigiriza omuntu Bayibuli mu maka ge obutayosa tukitwala ng’omugugu omunene ennyo. Kyo kituufu nti okusobola okufuna ebiseera okuyamba abalala tuba tulina okubaako ebintu ebyaffe ku bwaffe bye twerekereza. Naye nga bwe tukola tutyo, tuba tulaga nti tukkiriziganya n’ebigambo bya Yesu bino: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Bwe tuyamba abalala okutegeera ekkubo ery’obulokozi, tufuna essanyu lye tutasobola kufuna mu kintu kirala kyonna.

9, 10. (a) Eky’okuba nti obuweereza bwaffe tubutwala nga bukulu kitegeeza nti tetulina kuwummulako oba kusanyukako na bannaffe? Nnyonnyola. (b) Kiki ekiyinza okuyamba abakadde okuba abantu abazzaamu abalala amaanyi era abatuukirikika?

9 Eky’okuba nti obuweereza bwaffe tubutwala nga bukulu tekitegeeza nti tetulina kuwummulako oba kusanyukako na bannaffe. Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ng’afunawo ekiseera okuwummulako era n’okusanyukirako awamu n’abalala ng’oggyeko okubayigiriza. (Luk. 5:27-29; Yok. 12:1, 2) Ate era okulaga nti obuweereza bwaffe tubutwala nga bukulu nnyo tekitegeeza nti tulina kubeera awo nga tetuliiko na kaseko konna ku matama. Singa ne Yesu bw’atyo bwe yali alabika ku maaso, abantu tebandisikiriziddwa kujja gy’ali. N’abaana abato baali bamweyuna. (Mak. 10:13-16) Tuyinza tutya okukoppa Yesu?

10 Ng’ayogera ku mukadde omu, ow’oluganda omu yagamba bw’ati: “Wadde nga ye kennyini yeesuubiramu bingi, tasuubira bingi mu balala.” Naawe bw’otyo bw’oli? Tekiba kituufu kusuubira balala kukola bintu bye batasobola kutuukiriza. Ng’ekyokulabirako, kiba kirungi abazadde okuteerawo abaana baabwe ebiruubirirwa bye basobola okutuukako era ne babayamba okubituukako. Mu ngeri y’emu, abakadde basobola okukubiriza ab’oluganda mu kibiina okukulaakulana mu by’omwoyo era ne babawa n’amagezi ku ngeri ekyo gye basobola okukikolamu. Ate era, omukadde bw’aba omuwombeefu, aba asobola okuzzaamu abalala amaanyi era aba atuukirikika. (Bar. 12:3) Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Saagala mukadde atwala buli kintu ng’eky’olusaago. Naye ate bw’aba nga buli kiseera tabaako kaseko konna ku matama, kiba kizibu okumutuukirira.” Mwannyinaffe omulala yagamba nti abakadde abamu “si bangu kutuukirira kubanga jjo na luli tebabaako kaseko konna ku matama.” Abakadde tebasaanidde kuleetera bakkiriza bannaabwe kuggwebwako ssanyu nga baweereza Yakuwa, “Katonda omusanyufu.”​—1 Tim. 1:11.

Okwetikka Obuvunaanyizibwa mu Kibiina

11. Kitegeeza ki ‘okuluubirira’ enkizo mu kibiina?

11 Pawulo bwe yakubiriza abasajja mu kibiina okufuba okutuukiriza ebisaanyizo basobole okuweebwa obuvunaanyizibwa obusingawo mu kibiina, yali tabakubiriza kwenoonyeza byabwe. Mu kifo ky’ekyo, yagamba nti: “Singa omuntu yenna aluubirira omulimu gw’obulabirizi, aba yeegomba omulimu omulungi.” (1 Tim. 3:1, 4) Omusajja Omukristaayo okusobola ‘okuluubirira’ enkizo mu kibiina aba alina okufuba ennyo okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo ezinaamusobozesa okuweereza baganda be. Ow’oluganda bw’aba ng’awezezza ekiseera ekitakka wansi wa mwaka gumu nga mubatize era ng’atuukiriza ebisaanyizo ebiri mu 1 Timoseewo 3:8-13, asobola okusembebwa okufuuka omuweereza. Weetegereze nti olunyiriri 8 lugamba nti: “Abaweereza mu kibiina nabo basaanidde okuba abeegendereza.”

12, 13. Ab’oluganda abakyali abato bayinza batya okuluubirira enkizo mu kibiina?

12 Oli muvubuka omubatize anaatera okuva mu myaka gy’obutiini era ng’obuweereza bwo eri Yakuwa obutwala nga bukulu nnyo? Waliwo ebintu bingi by’osobola okukola okulaga nti oluubirira enkizo mu kibiina. Ekimu ku byo kwe kuba omunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Ofuba okubuulirako n’ab’oluganda ab’emyaka egy’enjawulo? Ofuba okunoonya abantu ab’okuyigiriza Bayibuli? Singa oyigiriza abantu Bayibuli ng’okolera ku magezi agatuweebwa mu nkuŋŋaana, kijja kukuyamba okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu. Ate era ojja kuyiga okuba ow’ekisa eri abo b’oyigiriza amakubo ga Yakuwa. Abayizi bo bwe batandika okulaba obwetaavu obw’okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe, naawe weeyongera okuyiga engeri gy’oyinza okubayambamu okukolera ku misingi gya Bayibuli.

13 Mmwe ab’oluganda abakyali abato mukirage nti muli beetegefu okuyamba ku b’oluganda mu kibiina abakuze mu myaka mu ngeri yonna gye baba beetaagamu obuyambi bwammwe. Musobola okuyamba mu kukuuma Ekizimbe ky’Obwakabaka nga kiyonjo. Bwe mwewaayo okuyamba baganda bammwe mu ngeri ezitali zimu, ekyo kiba kiraga nti obuweereza bwammwe mubutwala nga bukulu nnyo. Okufaananako Timoseewo, nammwe musobola okuyiga okufaayo mu bwesimbu ku byetaago by’ab’oluganda mu kibiina.​—Soma Abafiripi 2:19-22.

14. Ab’oluganda abakyali abato basobola batya ‘okugezesebwa okulaba obanga basobola’ okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina?

14 Abakadde, mubeeko emirimu emitonotono gye muwa ab’oluganda abato abafuba ‘okudduka okwegomba okw’omu buvubuka’ era abafuba okukulaakulanya engeri ennungi, gamba nga ‘obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, n’emirembe.’ (2 Tim. 2:22) Bwe mubawa ebintu eby’okukola mu kibiina, muba ‘mubagezesa okulaba obanga basobola’ okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina, ‘okukulaakulana kwabwe kusobole okweyoleka eri abantu bonna.’​—1 Tim. 3:10; 4:15.

Okuba Abeegendereza mu Kibiina ne mu Maka

15. Okusinziira ku 1 Timoseewo 5:1, 2, tuyinza tutya okulaga obwegendereza nga tukolagana n’abalala?

15 Okuba abeegendereza kizingiramu okuwa baganda baffe ne bannyinaffe ekitiibwa. Mu bbaluwa ye eri Timoseewo, Pawulo alaga nti kikulu okuwa abalala ekitiibwa. (Soma 1 Timoseewo 5:1, 2.) Kino kikulu nnyo naddala nga tukolagana n’abo be tutafaanaganya nabo kikula. Yobu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kuwa abakazi ekitiibwa, naddala okusinziira ku ngeri gye yawaamu mukyala we ekitiibwa. Yeewalira ddala okutunuulira omukazi omulala yenna ng’amwegomba. (Yob. 31:1) Bwe tuba tuwa baganda baffe ne bannyinaffe ekitiibwa, tetujja kuzannyirira n’abo bwe tutafaanaganya kikula oba okukola ekintu kyonna ekiyinza okubamalako emirembe nga bali naffe. Okuwaŋŋana ekitiibwa kikulu nnyo naddala mu kiseera ng’ow’oluganda ne mwannyinaffe boogerezeganya okusobola okuyingira obufumbo. Omukristaayo omwegendereza tasobola n’omulundi n’ogumu kuzannyira ku nneewulira y’oyo gw’atafaanaganya naye kikula.​—Nge. 12:22.

16. Endowooza abamu mu nsi gye balina ku kifo ky’omwami oba taata mu maka eyawukana etya ku ya Bayibuli?

16 N’obuvunaanyizibwa obwatuweebwa Katonda mu maka tulina okweyongera okubutwala nga bukulu. Ensi ya Sitaani eno efeebezza nnyo ekifo omwami oba taata ky’alina mu maka. Emitwe gy’amaka batera okulagibwa mu firimu n’emizannyo ng’abantu abalina okuyisibwamu amaaso n’okuvumibwa. Naye Ebyawandiikibwa biraga nti omwami alina ekifo kikulu nnyo mu maka, era nti ye “mutwe gwa mukazi we.”​—Bef. 5:23; 1 Kol. 11:3.

17. Okwenyigira mu kusinza kw’amaka kiraga kitya nti obuvunaanyizibwa bwaffe tubutwala nga bukulu?

17 Omwami asobola okuba ng’alabirira bulungi ab’omu maka ge mu by’omubiri, naye bw’aba tabalabirira mu bya mwoyo, aba tayolesezza magezi. (Ma. 6:6, 7) N’olw’ensonga eyo, 1 Timoseewo 3:4 walaga nti bw’oba omutwe gw’amaka era ng’oluubirira enkizo mu kibiina, oteekwa okuba ‘ng’ofuga bulungi amaka go, ng’olina abaana abawulize era abeegendereza.’ Kati weebuuze, ‘Nfuba okulaba nti tuba n’okusinza kw’amaka obutayosa?’ Abakyala abamu Abakristaayo batuuka n’okwegayirira abaami baabwe okutwala obukulembeze mu bintu eby’omwoyo. Buli mwami asaanidde okulowooza ennyo ku ngeri gy’atwalamu obuvunaanyizibwa bwe buno mu maka. Kya lwatu nti omukyala Omukristaayo asaanidde okuyambako ku mwami we okulaba nti enteekateeka y’Okusinza kw’Amaka etambula bulungi.

18. Abaana bayinza batya okuyiga okussa essira ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu?

18 N’abaana abato basaanidde okussa essira ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu. (Mub. 12:1) Kiba kirungi nnyo abaana okuyigirizibwa okukola emirimu gy’awaka, nga baweebwa emirimu okusinziira ku busobozi bwabwe. (Kung. 3:27) Kabaka Dawudi yayiga okulunda endiga ng’akyali mulenzi muto. Era yayiga okuyimba n’okuyiiya ennyimba​—ebitone ebyamusobozesa okutwalibwa okuweereza kabaka wa Isiraeri. (1 Sam. 16:11, 12, 18-21) Kya lwatu nti ng’akyali mwana muto, Dawudi yanyumirwanga okuzannya, naye era yayiga ebintu bingi ebyamuyamba okutendereza Yakuwa. Obumanyirivu bwe yafuna ng’aweereza ng’omusumba bwamuyamba okuba omugumiikiriza ng’akulembera eggwanga lya Isiraeri. Mmwe abavubuka, bintu ki eby’omugaso bye mufuba okuyiga ebinaabayamba okuweereza Omutonzi wammwe n’okwetikka obuvunaanyizibwa mu biseera eby’omu maaso?

Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu

19, 20. Ndowooza ki ennuŋŋamu gy’omaliridde okuba nayo ku ngeri gye weetwalamu n’engeri gy’otwalamu okusinza kwo?

19 Ffenna tusaanidde okufuba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ngeri gye twetwalamu. Tusaanidde okwewala okwefuula ‘abatuukirivu ekisukkiridde.’ (Mub. 7:16) Bwe tuba abantu abatera okusaagako, ab’omu maka gaffe, bakozi bannaffe, n’ab’oluganda mu kibiina bajja kwanguyirwa okukolagana naffe. Buli omu mu maka asaanidde okwewala okunoonya ensobi mu munne, ekintu ekiyinza okumalawo emirembe mu maka. Ffenna tusaanidde okuyiga okusekako n’okunyumyako n’abalala mu kibiina, nga twogera ebintu ebizimba era ebizzaamu abalala amaanyi.​—2 Kol. 13:10; Bef. 4:29.

20 Tuli mu nsi omuli abantu abatassa kitiibwa mu Yakuwa awamu n’amateeka ge. Ku luuyi olulala, abantu ba Yakuwa bo bakitwala nga kikulu nnyo okugondera Katonda waabwe n’okubeera abeesigwa gy’ali. Nga kitusanyusa nnyo okuba abamu ku bantu abo abatwala obuweereza bwabwe eri Yakuwa nga bukulu nnyo! Ka tube bamalirivu okusigala nga tulowooza ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu n’okutwala okusinza kwaffe nga kukulu nnyo.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki tulina okwewala endowooza ensi gy’erina ku by’amasanyu?

• Tusobola tutya okuba abasanyufu ate nga mu kiseera kye kimu obuweereza bwaffe tubutwala nga bukulu nnyo?

• Endowooza gye tulina ku kwetikka obuvunaanyizibwa eraga etya nti tuli beegendereza?

• Lwaki kikulu nnyo okuwa ekitiibwa ab’oluganda mu kibiina n’abo be tubeera nabo mu maka.

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]

Omwami asaanidde okulabirira amaka ge mu by’omubiri ne mu by’omwoyo