Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Salawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa

Salawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa

Salawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa

“Omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.”​—NGE. 14:15.

1, 2. (a) Bwe tubaako ekintu kyonna kye tusalawo, kintu ki ekikulu kye tusaanidde okulowoozaako? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

 WALIWO ebintu bingi bye tulina okusalawo buli lunaku. Ebisinga obungi ku byo tebiba bikulu nnyo. Naye, ebirala biba bikulu nnyo era nga bikwata nnyo ku bulamu bwaffe. Mu bintu byonna bye tusalawo, ka bibe binene oba bitono, ekintu ekikulu kye tusaanidde okulowoozaako ennyo kwe kuweesa Katonda ekitiibwa.​—Soma 1 Abakkolinso 10:31.

2 Kikwanguyira okusalawo ku nsonga ezitali zimu, oba oluusi kikukaluubirira? Bwe tuba ab’okukulaakulana mu by’omwoyo, tulina okuyiga okwawulawo ekituufu n’ekikyamu kituyambe okuba n’obusobozi obw’okwesalirawo ku lwaffe. (Bar. 12:1, 2; Beb. 5:14) Nsonga ki endala ezanditukubirizza okuyiga okusalawo obulungi? Lwaki oluusi kituzibuwalira okusalawo ku nsonga ezitali zimu? Bintu ki bye tuyinza okukola ebinaatuyamba okusalawo mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa?

Lwaki Tulina Okuyiga Okusalawo Obulungi?

3. Kintu ki kye tutalina kukkiriza kutulemesa kusalawo bulungi?

3 Bwe tulemererwa okunywerera ku misingi gya Bayibuli nga tulina bye tusalawo, bayizi bannaffe oba bakozi bannaffe bajja kukitwala nti tetwekakasa ebyo bye tukkiriza era nti tuli bangu ba kutwaliriza. Bayinza okulimba, okukumpanya, oba okubba ate ne bagezaako okutusendasenda tubeegatteko oba tubabikkirire. (Kuv. 23:2) Naye omuntu ayagala okusalawo mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa takkiriza okutya abantu oba okwagala okubasanyusa kumuleetera kweyisa mu ngeri ekontana n’omuntu we ow’omunda atendekeddwa Bayibuli.​—Bar. 13:5.

4. Lwaki abantu abalala bayinza okwagala okutusalirawo ku bintu ebitali bimu?

4 Tekiri nti buli muntu ayagala okubaako ky’atusalirawo aba n’ekigendererwa ekikyamu. Mikwano gyaffe bayinza okutuwa amagezi era ne baagala tugakolereko. Ne bwe tuba nga tuvudde awaka, ab’eŋŋanda zaffe bayinza okwagala okusigala nga bakyatuyambako okusalawo ku bintu ebikulu mu bulamu olw’okuba baagala tubeere bulungi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nsonga ey’obujjanjabi. Bayibuli ekyoleka kaati nti kikyamu okukozesa omusaayi. (Bik. 15:28, 29) Naye waliwo ensonga ezimu ezikwata ku by’obujjanjabi ezitayogerwako butereevu mu Byawandiikibwa era nga kyetaagisa buli omu okwesalirawo enzijanjaba gy’anaakozesa. * Ab’eŋŋanda zaffe bayinza okutuwa amagezi ku nsonga ng’ezo. Naye bwe kituuka ku kusalawo ku nsonga ng’ezo, buli Mukristaayo eyeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa alina ‘okwetikka omugugu gwe.’ (Bag. 6:4, 5) Ekintu kye tusaanidde okutwala ng’ekikulu kwe kuba n’omuntu ow’omunda omulungi mu maaso ga Katonda, so si mu maaso g’abantu.​—1 Tim. 1:5.

5. Tuyinza tutya okwewala okuva mu kukkiriza?

5 Okutta aga n’aga kisobola okututeeka mu kabi ak’amaanyi. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti omuntu atta aga n’aga aba “tanywerera mu makubo ge gonna.” (Yak. 1:8) Okufaananako omuntu ali mu lyato eritalina nkasi eriri ku nnyanja okuli omuyaga, omuntu ng’oyo aba mwangu okutwalirizibwa endowooza z’abantu ezikyukakyuka era eziteesigika. Nga kiba kyangu nnyo omuntu ng’oyo okuva mu kukkiriza ate n’anenya abalala olw’ekyo ekiba kimutuuseeko! (1 Tim. 1:19) Tuyinza tutya okwewala ekyo okututuukako? Tulina okuba abantu ‘abatasagaasagana mu kukkiriza.’ (Soma Abakkolosaayi 2:6, 7.) Okusobola okubeera nga tetusagaasagana, twetaaga okuyiga okusalawo mu ngeri eraga nti tukkiririza mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. (2 Tim. 3:14-17) Naye kiki ekiyinza okutulemesa okusalawo obulungi?

Ensonga Lwaki Oluusi Tuzibuwalirwa Okusalawo

6. Okutya kuyinza kutulemesa kukola ki?

6 Okutya kuyinza okutulemesa okusalawo. Tuyinza okutya okusalawo obubi, okutya nti tujja kulemererwa, oba okutya okulabika ng’abasirusiru mu maaso g’abalala. Kya bulijjo okuwulira mu ngeri eyo. Tewali n’omu ayagala kusalawo bubi, kubanga ekyo kiyinza okumuviiramu ebizibu oba okuswala. Wadde kiri kityo, okwagala kwe tulina eri Katonda awamu n’Ekigambo kye kujja kutuyamba okuggwaamu okutya. Mu ngeri ki? Okwagala kwe tulina eri Katonda kujja kutukubiriza okusooka okunoonyereza mu Kigambo kye ne mu bitabo ebinnyonnyola Bayibuli nga tetunnaba kusalawo ku bintu ebikulu mu bulamu. Ekyo kijja kutuyamba okwewala okukola ensobi. Lwaki? Kubanga Bayibuli esobola ‘okuwa amagezi abo abatalina bumanyirivu, era esobola okuwa omulenzi okumanya n’okutegeera.’​—Nge. 1:4, NW.

7. Ekyokulabirako kya Kabaka Dawudi kituyigiriza ki?

7 Twandisuubidde nti buli kiseera tunaasalangawo bulungi? Nedda. Ffenna tukola ensobi. (Bar. 3:23) Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi yali musajja wa magezi era nga mwesigwa. Kyokka ebiseera ebimu yasalangawo bubi, ekyo ne kivaamu ebizibu ebyamukosanga era ne bikosa n’abalala. (2 Sam. 12:9-12) Wadde kyali kityo, Dawudi teyakkiriza nsobi ze kumulemesa kweyongera kusalawo mu ngeri esanyusa Katonda. (1 Bassek. 15:4, 5) Okufaananako Dawudi, naffe tusobola okweyongera okusalawo ne bwe tuba nga tukoze ensobi, nga tukijjukira nti Yakuwa tatunuulira nsobi zaffe era nti ajja kutusonyiwa ebibi byaffe. Ajja kweyongera okuyamba abo abamwagala era abafuba okumugondera.​—Zab. 51:1-4, 7-10.

8. Ebyo Pawulo bye yayogera ku bufumbo bituyigiriza ki?

8 Tusobola okulekera awo okutya okusalawo. Tutya? Nga tukijjukira nti abantu basobola okusalawo mu ngeri ez’enjawulo naye nga buli omu ky’asazeewo okukola kituufu. Lowooza ku ekyo omutume Pawulo kye yayogera ku bufumbo. Yagamba nti: “Omuntu yenna alowooza nti yeeyisa mu ngeri etasaanira muntu atali mufumbo, bw’aba ng’amaze okuyita mu kiseera ekya kabuvubuka, era ng’okuyingira obufumbo kye kintu ekituufu okukola, akole ky’ayagala; aba tayonoona. Abantu ng’abo bayingire obufumbo. Naye singa omuntu yenna aba amaliridde mu mutima gwe, nga talina bwetaavu buno, naye ng’asobola okwefuga, era ng’asazeewo mu mutima gwe okusigala nga si mufumbo, ajja kuba akoze bulungi.” (1 Kol. 7:36-38) Pawulo yakiraga nti omuntu okusigala ng’ali bwannamunigina kye kisinga obulungi, naye ekyo tekitegeeza nti okuyingira obufumbo kikyamu.

9. Twandifuddeyo ku ngeri abalala gye batwalamu ebyo bye tuba tusazeewo? Nnyonnyola.

9 Twandifuddeyo ku ngeri abalala gye batwalamu ebyo bye tuba tusazeewo? Oluusi kitwetaagisa okufaayo. Weetegereze ekyo Pawulo kye yayogera ku nsonga y’okulya ebintu ebyatwalibwanga okuba nti byali biweereddwayo eri ebifaananyi. Yakiraga nti abo abaasalawo okubirya bandibadde tebakoze kikyamu, kyokka okukola ekyo kyandireetedde abo abalina omuntu ow’omunda omunafu okwesittala. Kiki Pawulo kye yamalirira okukola? Yawandiika nti: “Eky’okulya bwe kiba kyesittaza muganda wange, sijja kuddamu kulya nnyama nneme okwesittaza muganda wange.” (1 Kol. 8:4-13) Naffe tulina okufaayo ku ngeri ebyo bye tusalawo gye biyinza okukwata ku muntu w’abalala ow’omunda. Kya lwatu nti ekintu kye tulina okulowoozaako ennyo ye ngeri ebyo bye tusalawo gye biyinza okukwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. (Soma Abaruumi 14:1-4.) Misingi ki egy’omu Bayibuli eginaatuyamba okusalawo mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa?

Ebintu Mukaaga Bye Tuyinza Okukola Okusobola Okusalawo Obulungi

10, 11. (a) Tuyinza tutya okwewala okwetulinkiriza mu maka? (b) Kiki abakadde kye balina okujjukira nga basalawo ku nsonga ezikwata ku kibiina?

10 Weewale okwetulinkiriza. Bwe tuba nga tetunnabaako kye tusalawo, tulina okusooka okwebuuza, ‘Nze nsaanidde okusalawo ku nsonga eno?’ Kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Amalala lwe gajja, lwe wajja n’ensonyi: Naye amagezi gaba n’abeetoowaza.”​—Nge. 11:2.

11 Abazadde bayinza okukkiriza abaana baabwe okubaako ebintu ebimu bye basalawo, naye abaana tebasaanidde kulowooza nti balina obuyinza obwo. (Bak. 3:20) Abakyala ne bamaama balina obuyinza okusalawo ku bintu ebimu mu maka naye basaanidde okukijjukira nti abaami be batwala obukulembeze mu maka. (Nge. 1:8; 31:10-18; Bef. 5:23) Mu ngeri y’emu, abaami balina okukijjukira nti obuyinza bwabwe buliko ekkomo era nti balina okugondera Kristo. (1 Kol. 11:3) Abakadde balina ebintu bingi bye basalawo ebikwata ku kibiina. Naye basaanidde okulaba nti ‘tebasukka bintu ebyawandiikibwa’ mu Kigambo kya Katonda. (1 Kol. 4:6) Era basaanidde okufuba okugoberera obulagirizi bwe bafuna okuva eri omuddu omwesigwa. (Mat. 24:45-47) Tusobola okwewala okwereetera ebizibu awamu n’okubireetera abalala singa tusalawo ku bintu ebyo byokka bye tulinako obuyinza okusalawo.

12. (a) Lwaki tulina okunoonyereza? (b) Omuntu ayinza atya okunoonyereza?

12 Noonyereza. Sulemaani yawandiika nti: “Ebirowoozo eby’omunyiikivu bireeta bungi bwereere naye buli muntu ayanguyiriza ayanguya okwetaaga obwetaazi.” (Nge. 21:5) Ng’ekyokulabirako, oyagala kutandika kukola bizineesi? Tokyamuukirira mangu kugitandika. Sooka onoonyereze ku bizineesi eyo, weebuuze ku abo abagirinamu obumanyirivu, era lowooza ku misingi gya Bayibuli egikwata ku nsonga eyo. (Nge. 20:18) Baako w’owandiika ebirungi by’oyinza okufuna mu bizineesi eyo n’ebizibu by’oyinza okusanga ng’ogikola. Nga tonnabaako ky’osalawo, sooka otuule wansi ‘obalirire ebyetaagisa.’ (Luk. 14:28) Ng’oggyeko okulowooza ku magoba g’onoofunamu, lowooza ne ku ngeri bizineesi eyo gy’eneekwata ku mbeera yo ey’eby’omwoyo. Okunoonyereza mu ngeri eyo kyetaagisa ebiseera n’okufuba ennyo. Naye kijja kukuyamba okwewala okwanguyiriza okusalawo, ekintu ekiyinza okukuviiramu ebizibu.

13. (a) Yakobo 1:5 watukakasa ki? (b) Okusaba Katonda atuwe amagezi kituganyula kitya?

13 Saba Katonda akuwe amagezi. Ebyo bye tusalawo bijja kusobola okuweesa Katonda ekitiibwa singa tusooka kumusaba nga tetunnasalawo. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’alangira; era gajja kumuweebwa.” (Yak. 1:5) Tetulina kukwatibwa nsonyi kusaba Katonda atuwe amagezi tusobole okusalawo obulungi. (Nge. 3:5, 6) Kino kiri kityo kubanga okwesigama ku magezi gaffe kisobola okutuleetera okusalawo obubi. Bwe tusaba Katonda atuwe amagezi era ne tunoonyereza ku misingi egiri mu Kigambo kye, tuba tukkirizza omwoyo omutukuvu okutuyamba okutegeera obulungi ebiruubirirwa byaffe mu kwagala okukola ekintu.​—Beb. 4:12; soma Yakobo 1:22-25.

14. Lwaki tulina okwewala okulwawo ennyo okusalawo?

14 Salawo. Toyanguyiriza kusalawo nga tosoose kunoonyereza na kusaba Katonda akuwe amagezi. Omuntu ow’amagezi “akebera nnyo amagenda ge.” (Nge. 14:15) Naye ate tolwawo nnyo kusalawo. Omuntu alwawo okusalawo ayinza okulemererwa okusalawo nga yeekwasa obusongasonga. (Nge. 22:13) Bw’atyo abanga alese abalala okumusalirawo eky’okukola.

15, 16. Biki ebizingirwa mu kukolera ku ekyo kye tuba tusazeewo?

15 Kolera ku ekyo ky’oba osazeewo. Ebiseera byonna bye tuba tumaze nga tufuba okusalawo obulungi biyinza okufiira obwereere singa tetufuba kukolera ku ebyo bye tuba tusazeewo. Sulemaani yawandiika nti: “Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n’amaanyi go.” (Mub. 9:10) Okusobola okutuuka ku buwanguzi, tulina okukola kyonna ekisoboka okutuukiriza ekyo kye tuba tusazeewo. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayinza okusalawo okuweereza nga payoniya. Ddala anaasobola okuweereza nga payoniya? Ajja kusobola singa amaanyi ge gonna n’ebiseera bye byonna tabimalira ku mulimu gwe oba ku bya kwesanyusaamu, ekintu ekiyinza okumulemesa okutuukiriza obuweereza bwe.

16 Ebintu ebisingayo obulungi bye tusalawo okukola ebiseera ebisinga tekiba kyangu kubikolerako. Lwaki? Olw’okuba “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yok. 5:19) Tulina okumeggana “n’abafuzi b’ensi ab’ekizikiza kino, n’emyoyo emibi egiri mu bifo eby’omu ggulu.” (Bef. 6:12) Omutume Pawulo n’omuyigirizwa Yuda baakiraga nti abo bonna abandisazeewo okuweereza Katonda bandibadde balwana olutalo olw’eby’omwoyo.​—1 Tim. 6:12; Yud. 3.

17. Bwe kituuka ku bintu bye tusalawo okukola, kiki Yakuwa ky’atusuubiramu?

17 Weekenneenye ekyo kye wasalawo okukola olabe wa we weetaaga okukyusaamu. Oluusi ebintu bye tusalawo okukola biyinza obutagenda nga bwe tubadde tusuubira. “Ebiseera n’ebigambo” ffenna bitugwira bugwizi. (Mub. 9:11) Wadde kiri kityo, ebintu ebimu bye tuba tusazeewo okukola Yakuwa atusuubira okubinywererako wadde nga oluusi kiyinza obutaba kyangu. Omuntu bw’asalawo okwewaayo eri Yakuwa oba okuyingira obufumbo, aba alina okunywerera ku ekyo ky’aba asazeewo okukola. Katonda atusuubira okunywerera ku ekyo kye tuba tusazeewo ku bintu ebikulu ng’ebyo. (Soma Zabbuli 15:1, 2, 4.) Kyokka ebintu ebisinga obungi bye tulina okusalawo tebiba bikulu nnyo. Omuntu ow’amagezi afunayo ekiseera n’addamu okwekenneenya ebyo bye yasalawo. Takkiriza malala kumulemesa kukyusaamu mu ekyo kye yasalawo bw’alaba nga kyetaagisa. (Nge. 16:18) Ekintu ky’asinga okutwala ng’ekikulu kwe kulaba nti ebyo by’akola biweesa Katonda ekitiibwa.

Yigiriza Abalala Okusalawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa

18. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuyiga okusalawo obulungi?

18 Abazadde balina kinene kye bayinza okukola okuyamba abaana baabwe okuyiga okusalawo mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa. Engeri esingayo obulungi gye bayinza okubayambamu, kwe kubateerawo ekyokulabirako ekirungi. (Luk. 6:40) Bwe kiba kituukirawo, abazadde bayinza okubuulira abaana baabwe ku ngeri gye baasobola okusalawo ku kintu ekimu. Basobola okuleka abaana baabwe okusalawo ku bintu ebimu era ne babasiima bwe baba nga basazeewo bulungi. Ate kiri kitya singa omwana asalawo bubi? Ekintu omuzadde ky’ayinza okusooka okulowoozaako kwe kutaasa omwana we ebizibu ebiyinza okuva mu kusalawo kwe okubi, kyokka okukola ekyo emirundi egimu tekiyamba mwana. Ng’ekyokulabirako, omuzadde asobola okukkiriza omwana we okufuna pamiti emukkiriza okuvuga emmotoka. Kiri kitya singa omwana amenya amateeka g’ebidduka n’aba ng’alina okubaako ssente z’asasula. Omuzadde ayinza okusalawo okumusasulira ssente ezo. Kyokka, singa aleka omwana we okukola ne yeesasulira ssente ezo, ekyo kiyinza okuyigiriza omwana okuba omwegendereza.​—Bar. 13:4.

19. Kintu ki kye tulina okuyigiriza abayizi baffe aba Bayibuli, era ekyo tuyinza kukikola tutya?

19 Yesu yalagira abagoberezi be okuyigiriza abalala. (Mat. 28:20) Ekimu ku bintu ebikulu ennyo bye tusobola okuyigiriza abayizi baffe aba Bayibuli kwe kusalawo obulungi. Kino tusobola okukikola nga twewala okubasalirawo eky’okukola. Kiba kya magezi okubayamba okuyiga engeri gye basobola okukozesaamu emisingi gya Bayibuli okusobola okwesalirawo ku bintu ebitali bimu. Ggwe ate oba “buli omu ku ffe alyennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.” (Bar. 14:12) N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okusalawo mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa.

[Obugambo obuli wansi]

^ Okumanya ebisingawo, laba ekitundu ekirina omutwe “Ntwala Ntya Obutundutundu Obuggiddwa mu Musaayi n’Enzijanjaba Ezizingiramu Okukozesa Omusaayi Gwange?” ekiri mu kapapula ak’omunda aka Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2006, olupapula 3-6.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki twetaaga okuyiga okusalawo ku bintu ebitali bimu?

• Okutya kuyinza kutulemesa kukola ki, era tuyinza tutya okuggwaamu okutya?

• Bintu ki omukaaga ebinaatuyamba okusalawo mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko akali ku lupapula 16]

Ebintu Bye Tuyinza Okukola Okusobola Okusalawo Obulungi

1 Weewale okwetulinkiriza

2 Noonyereza

3 Saba Katonda akuwe amagezi

4 Salawo

5 Kolera ku ekyo ky’osazeewo

6 Weekenneenye ekyo kye wasalawo era okole enkyukakyuka

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Omuntu atasalawo abanga omuntu ali mu lyato eritalina nkasi eriri ku nnyanja okuli omuyaga