Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebizibu Ebituleetera Okuba n’Essuubi

Ebizibu Ebituleetera Okuba n’Essuubi

Ebizibu Ebituleetera Okuba n’Essuubi

“Mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu.”​—2 TIMOSEEWO 3:1.

WALI owuliddeko—oba olabyeko—ekimu ku bintu bino wammanga ebinakuwaza?

● Obulwadde busse abantu bangi nnyo.

● Enjala esse abantu bikumi na bikumi.

● Musisi asse abantu nkumi na nkumi n’aleka n’abalala bangi nga tebalina wa kusula.

Ku mpapula eziddirira, ojja kulaba obumu ku bukakafu obukwata ku bintu nga bino ebizze bibaawo. Ate era, ojja kukiraba nti Bayibuli yalagula nti embeera ng’ezo zandibaddewo mu kiseera ekiyitibwa ‘ennaku ez’oluvannyuma.’ *

Kyokka, ekigendererwa ky’ebitundu bino si kwe kukukakasa nti ensi gye tulimu ejjudde ebizibu. Naawe oyinza okuba ng’ebizibu bino obyerabiddeko n’amaaso go. Okwawukana ku ekyo, bitegekeddwa okukuwa essuubi. Bijja kulaga nti okutuukirizibwa kw’obunnabbi omukaaga bwe tugenda okwogerako kutegeeza nti ‘ennaku ez’oluvannyuma’ zinaatera okukoma. Ate era, ebitundu bino ebiddiriŋŋana bijja kulaga ebintu ebimu ebitera okwogerwa abo abatakkiriziganya na bukakafu buno obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma era biwe n’ensonga ennungi eyinza okusinziirwako okukkiriza nti wanaatera okubaawo embeera ennungi.

[Obugambo obuli wansi]

^ Okumanya ensonga lwaki Katonda akkiriza embeera zino embi okubaawo, laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Lwaki Katonda Aleka Obubi n’Okubonaabona Okubaawo?” ekiri ku lupapula 16 ne 17 mu magazini eno.