Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

5. Okwonoonebwa kw’Ensi

5. Okwonoonebwa kw’Ensi

5. Okwonoonebwa kw’Ensi

‘Katonda ajja kuzikiriza abo aboonoona ensi.’​—OKUBIKKULIRWA 11:18.

● Omwami ayitibwa Pirri musogozi wa mwenge oguva mu binazi ku kyalo Kpor, mu Nigeria. Omulimu gwe gwasaanawo amafuta amangi ennyo bwe gaayiika mu Mugga oguyitibwa Niger. Agamba nti, “Amafuta ago gatta eby’ennyanja byaffe, goonoona ensusu zaffe, era n’emigga. Sikyasobola kweyimirizaawo.”

OBUKAKAFU OBULIWO BULAGA KI? Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa abakugu abamu, kasasiro awerera ddala tani obukadde mukaaga n’ekitundu y’asuulibwa mu gayanja aganene buli mwaka. Kiteeberezebwa nti ebitundu 50 ku buli 100 ebya kasasiro oyo pulasitiika mwereere era ng’amala ebikumi n’ebikumi by’emyaka nga tannavvunda. Ng’oggyeko okwonoona ensi, abantu banaatera okumalawo eby’obugagga ebigiriko. Okunoonyereza okwakolebwa kulaga nti ensi yeetaaga omwaka gumu n’emyezi etaano okusobola okuzzaawo ebintu byayo abantu bye bakozesa mu mwaka gumu. Olupapula lw’amawulire oluyitibwa Sydney Morning Herald olw’omu Australia lugamba nti, “Singa omuwendo gw’abantu n’engeri gye bakozesaamu ebintu byeyongerera ku kigero kwe biri, omwaka 2035 we gunaatuukira kijja kuba kyetaagisa obunene bw’ensi eno kwe tuli okuba nga bukubisiddwamu emirundi ebiri.”

ABATAKKIRIZIGANYA NA BUKAKAFU BUNO BATERA KWOGERA KI? Abantu balina amagezi mangi. Tusobola okugonjoola ebizibu ebiriwo leero ensi n’etasaanawo.

ENDOWOOZA EYO NTUUFU? Abantu kinnoomu n’ebibiina ebitali bimu bakoze kyonna ekisoboka okulaba nti obutonde bw’ensi tebwonoonebwa. Wadde kiri kityo, ensi yeeyongedde okwonoonebwa ku kigero ekya waggulu.

GGWE OLOWOOZA OTYA? Kyetaagisa Katonda abeeko ne ky’akolawo nga bwe yasuubiza, ensi eno ereme kwonoonebwa?

Ng’oggyeko obunnabbi obw’emirundi etaano obwogeddwako, Bayibuli yalagula ne ku bintu ebirungi ebyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma. Weetegereza ekimu ku bintu ebyo mu bunnabbi obw’omukaaga.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 8]

‘Ndaba ng’ekifo kyange ekibadde kirabika obulungi ennyo, kati kifuuse ng’ekifo awasuulibwa kasasiro.’​—ERIN TAMBER, OMUTUUZE W’OMU GULF COAST, AMERIKA, NG’AYOGERA KU BYAVA KU MAFUTA AGAAYIIKA MU GULF OF MEXICO MU 2010.

[Akasanduuko akali ku lupapula 8]

Katonda y’Avunaanyizibwa?

Okuva bwe kiri nti Bayibuli yalagula embeera embi eziriwo leero, ekyo kifuula Katonda okuba nga y’avunaanyizibwa olw’embeera ezo? Y’atuleetera okubonaabona? Osobola okufuna eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo ebyo mu essuula 11 ey’akatabo akayitibwa Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

U.S. Coast Guard photo