Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Wanaatera Okubaawo Ebiseera Ebirungi!

Wanaatera Okubaawo Ebiseera Ebirungi!

Wanaatera Okubaawo Ebiseera Ebirungi!

“Waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.”​—ZABBULI 37:10, 11.

WANDYAGADDE okulaba ng’obunnabbi obwo waggulu butuukirira? Tewali kubuusabuusa nti wandyagadde. Waliwo ensonga ennungi kwe tusinziira okukkiriza nti bujja kutuukirizibwa mu kiseera ekitali kya wala.

Ebitundu ebivuddeko binnyonnyodde obumu ku bunnabbi obuli mu Bayibuli obulaga obulungi nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma.” (2 Timoseewo 3:1-5) Katonda yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okulagula ebintu ebyo tusobole okuba n’essuubi. (Abaruumi 15:4) Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo kutegeeza nti ebizibu bye twolekagana nabyo kati binaatera okukoma.

Kiki ekinaddirira ng’ennaku ez’oluvannyuma zikomye? Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga abantu bonna. (Matayo 6:9) Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku mbeera eziribaawo ku nsi mu kiseera ekyo:

Tewalibaawo njala. “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.”​—Zabbuli 72:16.

Tewalibaawo ndwadde. ‘N’oyo atuulamu talyogera nti, ndi mulwadde.’​—Isaaya 33:24.

Ensi erizzibwa buggya. “Olukoola n’amatongo birijaguza; n’eddungu lirisanyuka, lirisansula ng’ekiyirikiti.”​—Isaaya 35:1.

Buno bwe bumu ku bunnabbi bwa Bayibuli obuzzaamu amaanyi obunaatera okutuukirizibwa. Lwaki tosaba Abajulirwa ba Yakuwa bakulage ensonga ezibaleetera okuba abakakafu nti wanaatera okubaawo ebiseera ebirungi?