Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakristaayo bonna abeesigwa bagenda mu ggulu?

Abakristaayo bonna abeesigwa bagenda mu ggulu?

Abasomi Baffe Babuuza . . .

Abakristaayo bonna abeesigwa bagenda mu ggulu?

▪ Bangi basomye ebigambo bya Yesu bino ebibudaabuda: “Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Yesu yali ategeeza nti abantu bonna abeesigwa abasinza Kitaawe, Yakuwa Katonda, bandigenze mu ggulu okufuna obulamu obutaggwaawo n’essanyu erya nnamaddala?

Lowooza ku bigambo bya Yesu bino: “Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu wabula oyo eyava mu ggulu, Omwana w’omuntu.” (Yokaana 3:13) Kino kitegeeza nti abasinza ba Katonda abeesigwa ab’edda gamba nga Nuuwa, Ibulayimu, Musa, ne Dawudi, tebaagenda mu ggulu. (Ebikolwa 2:34) Kati olwo, baagenda wa? Mu bufunze: Abantu abeesigwa ab’edda bali mu ntaana, beebase mu kufa, tebaliiko kye bamanyi era balindirira kuzuukira.​—Omubuulizi 9:5, 6; Ebikolwa 24:15.

Ebigambo ebisookera ddala okwogera ku bulamu obw’omu ggulu oluvannyuma lw’okufa ebiri mu Bayibuli Yesu ye yabyogera. Yagamba abatume be nti yandibateekeddeteekedde ekifo mu ggulu. (Yokaana 14:2, 3) Kino kyali kintu kipya eri abantu ba Katonda. Omutume Pawulo oluvannyuma yannyonnyola nti Yesu bwe yafa n’azuukizibwa era n’atwalibwa mu ggulu, ‘yatongoza ekkubo eppya era eddamu ku lw’abayigirizwa be’​—ekkubo omuntu yenna lye yali tayitangamu.​—Abebbulaniya 10:19, 20.

Kino kitegeeza nti okuva mu kiseera ekyo abantu abeesigwa bandibadde bagenda mu ggulu? Nedda, kubanga okuzuukirira obulamu obw’omu ggulu kukwataganyizibwa n’omulimu oguweereddwa omuwendo gw’abantu omugereke. Mu kiro kye baasembayo okubeerako awamu, Yesu yagamba abatume be nti ‘banditudde ku ntebe ez’obwakabaka okusala emisango’ mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu. Bwe kityo, okufugira awamu ne Yesu mu ggulu gwe mulimu gwe bandikoze.​—Lukka 22:28-30.

Ng’oggyeko abatume, waliwo abantu abalala abandiweereddwa omulimu guno omulungi ennyo. Mu kwolesebwa kwe yafuna, omutume Yokaana yalaba Yesu ng’ali wamu n’ekibinja ky’abo abaazuukizibwa ne batwalibwa mu ggulu aboogerwako nga ‘obwakabaka era bakabona abajja okufuga ensi.’ (Okubikkulirwa 3:21; 5:10) Bameka abaali mu kibinja ekyo? Nga bwe kibeera mu buli gavumenti, abantu abafuga baba batono. Bwe kityo bwe kiri ne ku Bwakabaka obw’omu ggulu. Yesu, omwana gw’endiga owa Katonda, ajja kufugira wamu n’abantu 144,000 ‘abaagulibwa okuva mu bantu.’​—Okubikkulirwa 14:1, 4, 5.

Kyo kituufu nti, 144,000 muwendo mutono bw’ogugeraageranya n’ogw’abantu bonna abeesigwa, abaaliwo edda n’abaliwo mu kiseera kino. Naye kino kitegeerekeka kubanga abantu 144,000 bazuukizibwa ne batwalibwa mu ggulu okukola omulimu omutukuvu ogw’enjawulo. Singa obadde wa kuzimba nnyumba, wandikozesezza abazimbi bonna abalina obumanyirivu abali mu kitundu kyo? Nedda. Wandikozesezza abo bokka be weetaaga okukola omulimu ogwo. Mu ngeri y’emu, si buli muntu mwesigwa nti Katonda amuwa enkizo ey’enjawulo ey’okufugira awamu ne Kristo mu ggulu.

Gavumenti eno ey’omu ggulu ejja kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda eri abantu. Yesu Kristo awamu ne 144,000 abajja okufuga naye, bajja kulabirira omulimu ogw’okufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda, abantu abangi ennyo abeesigwa mwe balibeera mu ssanyu emirembe n’emirembe. (Isaaya 45:18; Okubikkulirwa 21:3, 4) Mu bano mujja kubaamu abo Katonda bajjukira, abajja okuzuukizibwa.​—Yokaana 5:28, 29.

Abasinza ba Yakuwa bonna abeesigwa​—ab’edda oba abaliwo leero​​—basobola okufuna ekirabo eky’omuwendo eky’obulamu obutaggwaawo. (Abaruumi 6:23) Bantu batono abajja okufuna obulamu mu ggulu olw’omulimu ogw’enjawulo gwe bagenda okukola, naye abantu abasinga obungi bajja kufuna obulamu wano ku nsi mu lusuku lwa Katonda.