Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tuliddamu Okulaba Abaatufaako?

Tuliddamu Okulaba Abaatufaako?

Yiga Okuva Mu Kigambo Kya Katonda

Tuliddamu Okulaba Abaatufaako?

Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku by’okuddamu bino.

1. Ssuubi ki lye tulina eri abaafa?

Yesu bwe yatuuka e Bessaniya okumpi ne Yerusaalemi, mukwano gwe Laazaalo yali yaakamala ennaku nnya ng’afudde. Yesu yagenda awaali entaana ng’ali wamu ne Maliza ne Maliyamu, bannyina b’omufu. Amangu ddala, ekibinja ky’abantu kyakuŋŋaana. Osobola okuteebereza essanyu Maliza ne Maliyamu lye baafuna Yesu bwe yazuukiza Laazaalo?​—Soma Yokaana 11:20-24, 38-44.

Maliza yali akkiriza nti abafu bandizuukidde. Okuva edda, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bakimanyi nti mu biseera eby’omu maaso, Katonda ajja kuzuukiza abafu baddemu okubeera ku nsi.​—Soma Yobu 14:14, 15.

2. Abafu bali mu mbeera ki?

Wadde ng’amaanyi ag’obulamu, oba “omwoyo,” gusobozesa abantu n’ebisolo okuba ebiramu, tetuli myoyo egyambadde emibiri. (Omubuulizi 3:19; Olubereberye 7:21, 22) Tuli bitonde ebyakolebwa mu nfuufu. (Olubereberye 2:7; 3:19) Obwongo bwaffe bwe bufa, ebirowoozo byaffe bibula. Eyo y’ensonga lwaki Laazaalo bwe yazuukizibwa, teyagamba nti waliwo ekintu kyonna ekyamutuukako ng’afudde kubanga abafu tebaliiko kye bamanyi.​—Soma Zabbuli 146:4; Omubuulizi 9:5, 10.

Kyeyoleka kaati nti abafu tebabonaabona. N’olwekyo enjigiriza egamba nti Katonda abonyaabonya abantu oluvannyuma lw’okufa ya bulimba. Abantu bwe bayigiriza bwe batyo baba bawaayiriza Katonda. Okubonyaabonya abantu mu muliro kya muzizo gy’ali.​—Soma Yeremiya 7:31.

3. Tusobola okwogera n’abafu?

Abafu tebasobola kwogera. (Zabbuli 115:17) Naye bamalayika ababi balimba abantu nga beefuula emyoyo gy’abantu abaafa. (2 Peetero 2:4) Yakuwa tayagala bantu kugezaako kwogera n’abafu.​—Soma Ekyamateeka 18:10, 11.

4. Baani abanaazuukizibwa?

Mu nsi ya Katonda empya, obukadde n’obukadde bw’abantu abali mu ntaana bajja kuzuukizibwa. N’abamu ku abo abaakolanga ebintu ebibi olw’okuba baali tebamanyi Yakuwa nabo bajja kuzuukizibwa.​—Soma Lukka 23:43; Ebikolwa 24:15.

Abo abanaazuukizibwa bajja kuba basobola okuyiga amazima agakwata ku Katonda era kibasobozese okukkiririza mu Yesu nga bamugondera. (Okubikkulirwa 20:11-13) Abo abanaaba bazuukiziddwa ne bakola ebintu ebirungi bajja kufuna obulamu obutaggwawo ku nsi. Kyokka, abamu ku abo abanaazuukizibwa bajja kweyongera okukola ebintu ebibi. Abo bo bajja kuba ‘bazuukiridde omusango.’​—Soma Yokaana 5:28, 29.

5. Okuzuukira kutuyigiriza ki ku Yakuwa?

Kisoboka abantu okuzuukizibwa kubanga Katonda yatuma Omwana we okutufiiririra. Ekyo kiraga okwagala kwa Yakuwa n’ekisa kye eky’ensusso.​—Soma Yokaana 3:16; Abaruumi 6:23.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 6 ne 7 ez’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Adamu yatondebwa mu nfuufu