Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwali Luwulikika ng’Oluyimba Olulungi

Lwali Luwulikika ng’Oluyimba Olulungi

Ebbaluwa Okuva e Madagascar

Lwali Luwulikika ng’Oluyimba Olulungi

NZE n’omwami wange twali tugenda gye twali tusindikiddwa okuweereza ng’abaminsani​—ku kizinga kya Madagascar. Twasiibula ab’omu maka gaffe ne mikwano gyaffe era ne tuguma nga twesiga Yakuwa nti yali atusindise mu kifo ekirungi era yandituyambye okutuukiriza obuweereza bwaffe.

Tetulyerabira lukuŋŋaana lwa kibiina lwe twasooka okugendamu mu kifo gye twali tusindikiddwa. Ow’oluganda eyali akubiriza olukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi yalinga omutendesi w’enyimba akwanaganya amaloboozi ag’enjawulo. Olulimi twali tetulutegeera bulungi ne kiba nti ebigambo ebyayogerwanga byali biwulikika ng’oluyimba olulungi. Kyatutwaliranga ekiseera kiwanvu okutegeera ebyo ebyali byogerwa.

Lwe nnasookera ddala okutegeera ekibuuzo ekyali kibuuziddwa naye nga tekiwandiikiddwa mu Omunaala gw’Omukuumi, nneekanga nkizzeemu mu ddoboozi eriwulikika. Abaali batudde okumpi nange baawulira era nnalina okubikka ku mimwa gyange nsobole okusiba enseko. Nnawulira nga nswadde naye ate nga ndimusanyufu olw’okuba nnali ntegedde ekibuuzo!

Mu kifo ky’okuba nti nze yandibadde ateerawo abalala ekyokulabirako mu buweereza, nnali mpulira nti nze gwe baali bayamba. Mu ngeri ey’okwagala, ab’oluganda banjigiriza okwogera n’abantu mu ngeri etegeerekeka obulungi nga ŋŋenze okubuulira, nga bandaga eby’okwogera n’ebyawandiikibwa eby’okukozesa.

Nzijukira olunaku lumu bwe nnali ŋŋenze okubuulira, waliwo omwana eyalekaana ng’agamba nti, “Vazaha! Vazaha!” Kino kye kigambo ekitera okukozesebwa mu lulimi Olumalagase ekitegeeza “omugwira.” Twatandika okutambula nga twanguwa nga tutya nti bandiyise abaana abalala nabo ne boogera ebigambo bye bimu. Oluvannyuma omulenzi omu yaboggolera munne eyali aleekaana. Yamugamba nti, “Si mugwira, asobola okwogera olulimi lwaffe!” Muganda wange gwe nnali naye eyali amanyi olulimi olwo yalina okunzivvuunulira bye baali boogera kubanga baali boogera banguyiriza nga sisobola kutegeera bye boogera. Bwe nnategeera omulenzi oyo kye yali ayogedde, kyanzizzaamu amaanyi. Nnali ntandise okumanyiira embeera y’omu Madagascar.

Emirundi egitali gimu lwe nnabanga awo nga mpuubadde, nnagendanga okuwulira nga wabaawo akaana akankwata mu ngalo, era bwe nnakutamyanga omutwe nga ndaba omwana eyabanga omusanyufu olw’okundaba wadde ng’olulimi nnali sirumanyi bulungi. Abaana abato abali mu kibiina birabo okuva eri Yakuwa. Muganda waffe omu omuto, ayitibwa Hasina yafuuka omuvvuunuzi wange. Omulala bw’aba tategeera bye njogera, ye aba alaga nti abitegedde. Era atera okunnyamba bwe mba njogera ne mikwano gyange mu kibiina, ng’abannyonnyola ekyo kye mba ntegeeza.

Nze n’omwami wange twali mu kibiina ekyali kinaatera okwawulwamu ebibiina bibiri. Kino kyali kitegeeza nti abamu ku bayizi baffe aba Bayibuli twalina okubakwasa ab’oluganda abalala babayigirize kubanga baali babeera mu kitundu omwali mugenda okubeera ekibiina ekipya. Mwannyinaffe omu yankubiriza okuyigiriza omu ku bayizi be aba Bayibuli. Nnawulira nga ntidde era ne mugamba nti ssaali mwetegefu bulungi, naye yeeyongera okunkubiriza. Yankakasa nti Yakuwa yandinnyambye okukikola. Ng’antunuulira mu ngeri ey’ekisa era ng’akozesa ebigambo ebyangu okutegeera, yaŋŋamba nti mu kiseera ekitali kya wala nnandisobodde okuyigiriza abantu obulungi nga bwe nnali njagala. Ebyo bye yaŋŋamba byanzizaamu nnyo amaanyi.

Okuva olwo, omuyizi wa Bayibuli oyo akulaakulana bulungi. Lumu bwe nnali wabweru, nnawulira ng’ampita. Ye n’omwami we baali bagenda kuwandiisa bufumbo bwabwe. Omwami we yatandika okuyiga Bayibuli, era bombi balina ebiruubirirwa bingi eby’eby’omwoyo bye baagala okutuukako, nga mw’otwalidde n’ekiruubirirwa eky’okubatizibwa. Ekyo kyandeetera essanyu, wadde nga nkimanyi nti Yakuwa y’asika abantu okubaleeta gy’ali so si ffe.

Tulina bingi bye tuyize nga tuweereza ng’abaminsani. Wadde nga tetuli na mikwano gyaffe n’ab’omu maka gaffe be twalekayo, tuwulira nga be twajja nabo. Tutera okuboogerako nga tunyumya n’ab’oluganda eno gye tuli, era kati batubuuza n’okutubuuza ebibakwatako. Twesunga nnyo ekiseera ab’oluganda abafuuse ab’omu “maka gaffe” wano mu Madagascar lwe bali sisinkana n’ab’omu maka gaffe be twalekayo ffenna ne tuba nga tuli wamu.

Ne kaakano abantu bwe boogera mpulira ‘ng’abayimba.’ Naye kati ntegeera bye boogera. Nneesunga nnyo ekiseera lwe ndiba nga nsobola okwogera ng’ayimba nga bo bwe bakola. Yesu yagamba nti: “Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’eby’okweraliikirirwa ebyalwo. Buli lunaku ebibi byalwo birumala.” (Matayo 6:34) Bwe kityo tujja kweyongera okuyiga ekigambo kimu ku kimu. Era mu kiseera kino nja kweyongera okuwuliriza obulungi, n’okussaayo ebirowoozo n’omutima nsobole okukolera awamu n’ab’oluganda abagumiikiriza era abatwagala ennyo wano mu Madagascar.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Nga mbuulira ne Hasina