Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nnalina Ekiruubirirwa eky’Okuzannya Omuzannyo Ogw’okwebongera mu Bbanga

Nnalina Ekiruubirirwa eky’Okuzannya Omuzannyo Ogw’okwebongera mu Bbanga

Nnalina Ekiruubirirwa eky’Okuzannya Omuzannyo Ogw’okwebongera mu Bbanga

Byayogerwa Zoya Dimitrova

Ku myaka 15 nnali ntuuse ku kiruubirirwa kyange eky’okuzannya omuzannyo ogw’okwebongera mu bbanga era nga ntambula n’abazannyi b’omuzannyo ogwo. Kyokka, nga Ssebutemba 4, 1970, nnafuna akabenje ak’amaanyi. Lumu nnali nneebongera mu bbanga, okukkakkana nga ngudde ekigwo eky’amaanyi.

NNAZAALIBWA Ddesemba 16, 1952, era nze ne muganda wange twali tubeera ne bazadde baffe mu kibuga Sofia, eky’omu Bulgaria. Mu kiseera ekyo, Bulgaria yali nsi y’Abakomunisiti eyalimu amadiini naye nga gavumenti tekubiriza bantu kugayingiramu. Abantu abasinga obungi baali tebakkiririza mu Katonda, so nga bangi ku abo abaali bamukkiririzaamu baakikolanga mu nkukutu. Wadde ng’ab’omu maka gaffe baali beeyita Basodokisi, tebaankulizaamu ddiini era nange saafaayo kumanya bikwata ku Katonda.

Kyeyolekerawo nga nkyali muto nti nnali njagala nnyo eby’emizannyo naye okusingira ddala omuzannyo ogw’okwebongera mu bbanga. Bwe nnali mpezezza emyaka 13, waliwo omusajja eyajja ku ssomero lyaffe ng’anoonya omuwala ow’okutendekebwa omuzannyo ogw’okwebongera mu bbanga. Omusomesa wange eyali atutendeka omuzannyo ogwo yansemba. Nnasanyuka nnyo okuvugibwa mu mmotoka ya maneja, emmotoka eyakolebwa Abamerika, ng’antwala okubuuzibwa ebibuuzo n’okugezesebwa ekibinja ky’abatendesi. Kyansanyusa nnyo okuba nti nnalondebwa. Eno ye yali entandikwa ey’okutendekebwa okw’amaanyi ennyo okwali kutwaliramu okugoberera obutiribiri amateeka agakwata ku by’endya okwatwala ebbanga erisukka mu myaka ebiri. Okutendekebwa kwagwa mpezezza emyaka 15, era ne ntandika okuzannya omuzannyo ogw’okwebongera mu bbanga gwe twazannyiranga mu bifo ebitali bimu. Okusooka, twatambula mu Bulgaria yonna oluvannyuma mu nsi eyali eyitibwa Soviet Union, mu Algeria, mu Hungary, ne mu nsi eyali eyitibwa Yugoslavia.

Emyaka esatu gye nnamala nga nzannya omuzannyo ogwo, nnali musanyufu nnyo olw’okutuuka ku kiruubirirwa kyange. Naye bwe twali tuzannya nga tuli mu kabuga Titov Veles, ak’omu Macedonia, nnafuna akabenje ke nnayogeddeko ku ntandikwa. Nnali nneebongera mu bbanga. Munnange gwe nnali nzannya naye eyali yeesulise, yampuubanga waggulu ng’eno bw’ambaka. Mba nva waggulu okwekwata ku mikono gye ne nsirituka era omuguwa ogwali gumpaniridde ne gukutuka ne ngwa wansi obuwanvu bwa ffuuti 20. Nnaddusibwa mu ddwaliro, gye kyazuulibwa nti omukono gwange, embirizi ezimu, n’enkizi byali bimenyese. Nnazirika okumala ennaku entonotono era nnali sijjukira kyali kibaddewo. Bwe nnadda engulu, nnakitegeera nti nnali nsannyaladde okuva mu kiwato okudda wansi. Olw’okuba nnali nkyali muto, nnali nsuubira nti bwe nnandifunye obujjanjabi oba ne nnongoosebwa, nnandizzeemu okutambula oboolyawo n’okuzannya omuzannyo ogw’okwebongera mu bbanga.

Emyaka ebiri n’ekitundu egyaddirira, nnafuna obujjanjabi mu malwaliro agawerako, era nnali nkyalina essuubi ery’okuwona. Ku nkomerero ya byonna, nnalina okukikkiriza nti nnali sikyayinza kuddamu kuzannya muzannyo gw’okwebongera mu bbanga. Olw’okuba nnali sirina kya kukola, nnalina okukkiriza obulamu obw’okubeera mu kagaali k’abalema wadde nga bwawukana ku obwo bwe nnali njagala ennyo.

Ntandika Obulamu Obupya

Olw’okuba nnali namanyiira obulamu obw’okwetaaya, nnalowooza nti sandisobodde kugumira nkyukakyuka eyo. Ekyo kyandeetera okuggwaamu essuubi, ne ntandika okwennyamira. Mu 1977, omuvubuka ayitibwa Stoyan yajja ku mulyango gwange. Bwe nnakimanya nti yali mwannyina w’omukyala gwe twali tuzannya naye omuzannyo ogw’okwebongera mu bbanga, nnamwaniriza mu nnyumba. Bwe twali tunyumya, yambuuza obanga nnalina essuubi ery’okuwona. Olw’okuba nnali nneetamiddwa obulamu, nnamuddamu nti sikyalina ssuubi. Bwe yaŋŋamba nti Katonda yekka y’asobola okunnyamba, nnamuddamu n’obusungu nti: “Bwe kiba nti Katonda gyali, lwaki ndi mu mbeera ng’eno?”

Oluvannyuma lw’okumubuuza ekibuuzo ekyo, Stoyan, eyali yaakafuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’ali mu Amerika gye yali azannyira omuzannyo gw’okwebongera mu bbanga, yannyinnyola mu ngeri ey’ekisa ebisuubizo bya Bayibuli eby’ekitalo eby’omu biseera eby’omu maaso. Kyansanyusa nnyo okukimanya nti mu kiseera ekitali kya wala ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. Ekisuubizo ekigamba nti “tewalibaawo kufa nate, newakubadde kukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi” kyankwatako nnyo. (Okubikkulirwa 21:4) Nga nnali nneegomba nnyo okuddamu okuba omulamu obulungi nga bwe nnali! Amangu ago nnakkiriza okunjigiriza Bayibuli obutayosa. Bwe kityo nnatandika obulamu obupya. Kya ddaaki nnafuna essuubi erya nnamaddala!

Buli wiiki neesunganga nnyo okuyigirizibwa Bayibuli. Okusooka, Stoyan ye yanjigirizanga, naye oluvannyuma Totka, Omujulirwa wa Yakuwa ow’ekisa ennyo, n’atandika okunjigiriza. Yannyamba nnyo okwongera okutegeera Bayibuli, era ne nneewaayo eri Yakuwa Katonda. Mu kiseera ekyo, tewaaliwo muntu yenna mu kibuga Sofia eyalina ebisaanyizo eby’okubatiza, n’olwekyo nnalina okulinda okutuusa ow’oluganda okuva mu Macedonia lwe yanditukyalidde. Nga Ssebutemba 11, 1978, nga wayise omwaka nga gumu bukya ntandika kuyiga Bayibuli, nnabatizibwa mu bbaafu ennene ennyo ey’omu nnyumba yange. Okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa kyandeetera essanyu lingi nnyo, era obulamu bwange bwafuuka bwa makulu.

Amazima ga Bayibuli ge nnayiga gaali ng’omuliro ogwaka mu nze. Kino kyandeetera okubuuliranga buli eyajjanga mu maka gange ebikwata ku ssuubi eriri mu Bayibuli. Eky’ennaku, be nnabuuliranga tebeefiirangayo, oboolyawo nga balowooza nti olw’okuba nagwa ku kabenje, nnaliko ekikyamu.

Ensobi ey’Amaanyi

Mu kiseera ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa baali bawereddwa mu Bulgaria, era ng’abaali mu nsi eyo baali batono. Tewaaliwo nkuŋŋaana za kibiina, era kyabanga kizibu okubeerako awamu ne bakkiriza bannange. Ekyo, nga kw’otadde obutamanya kabi akali mu kubeera n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu abatagoberera mitindo gya Bayibuli, byanviirako okukola ensobi ey’amaanyi.

Omuntu wange ow’omunda yannumirizanga, era nnayita mu bulumi obw’amaanyi olw’okuba nnali nnyonoonye enkolagana yange ne Yakuwa Katonda. Nga mmenyese omutima era nga mpulira obuswavu, nneeyabiza Yakuwa okuyitira mu kusaba, nga musaba ansonyiwe. Oluvannyuma, nga nnyambibwako abakadde, nnazzaawo enkolagana yange ey’oku lusegere ne Yakuwa, era nnaddamu okufuna essanyu lingi eriva mu kumuweereza. Nga nkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa nga nnina omuntu ow’omunda omuyonjo n’okubeera mu kibiina kye ekiyonjo!

Ndi Musanyufu Wadde nga Nnina Obulemu

Akabenje ke nnafuna emyaka 40 emabega kaakomya ekiruubirirwa kyange eky’okuzannya omuzannyo ogw’okwebongera mu bbanga n’okugendako mu bifo ebitali bimu ne kandeetera okubeera mu kagaali k’abalema. Wadde kyali kityo, ssiri munakuwavu era ssejjusa, nga gy’obeera nti obulamu bwange tebukyalina mugaso. Amazima ga Bayibuli gannyambye okukitegeera nti essanyu n’obumativu bye nnandifunye mu kuzannya omuzannyo ogw’okwebongera mu bbanga tebyandibadde bya lubeerera. Nkirabye nti abo be nnazannyanga nabo abeeyongera okuzannya omuzannyo ogwo si basanyufu n’akamu. Ku luuyi olulala, nfunye eky’obugagga ekisingayo okuba eky’omuwendo​—enkolagana ey’oku lusegere n’Omutonzi wange, Yakuwa Katonda. Ekyo kindeetedde essanyu lya maanyi nnyo n’okusinga eryo lye nnandifunye mu kuzannya omuzannyo ogw’okwebongera mu bbanga.

Okugatta ku ekyo, okulaba abantu abalala bangi nga bategeera amazima ga Bayibuli era ne beewaayo eri Yakuwa, Katonda waffe ow’okwagala, kindeetedde essanyu. We nnatandikira okuyiga Bayibuli mu 1977, Abajulirwa ba Yakuwa baali batono nnyo mu Bulgaria. Ne mu mwaka gwa 1991, Abajulirwa ba Yakuwa lwe baasooka okuwandiikibwa mu mateeka ng’obufuzi bw’Abakominisiti bukomye, baali nga kikumi mu ggwanga lyonna erya Bulgaria. Nga ndi musanyufu nnyo okulaba okweyongerayongera kw’Ababuulizi b’Obwakabaka okutuuse ku ntikko y’ababuulizi nga 1,800!

Wakyaliwo omulimu munene ogulina okukolebwa mu Bulgaria. Abaagala okutegeera Ekigambo kya Katonda bangi. Kino kyeyolekera ku muwendo gw’abantu 3,914 abaaliwo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo ogwa 2010. Nsanyuka nnyo buli lwe ndowooza ku bintu ng’ebyo ebiraga nti Yakuwa awadde entandikwa entono mu Bulgaria omukisa. Nze kennyini nkyerabiddeko n’amaaso gange nti, “omuto” afuuse “ggwanga lya maanyi,” nga bwe kyalagulwa mu Isaaya 60:22.

Ekintu ekirala ekindeetera essanyu era ekikulu ennyo mu bulamu bwange kwe kufuulumizibwa kw’enkyusa ya Bayibuli eya New World Translation of the Holy Scriptures mu lulimi Olubuligaaliya. Kino kyaliwo mu Agusito 2009 ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwalina omutwe ogugamba nti “Mubeere Bulindaala!” olwali mu Sofia. Okufulumizibwa kwa Bayibuli eyo mu lulimi lwange kyalinga ekirooto ekituukiriziddwa! Tewali kubuusabuusa nti ejja kuba ya muganyulo nnyo mu kuyamba abantu abalala bangi okutegeera amazima ga Bayibuli mu Bulgaria.

Wadde nga obulemu bwe nnina tebunsobozesa kubuulira mawulire malungi ag’Obwakabaka bwa Katonda nga bwe nnandyagadde, nfuna essanyu lingi bwe mbuulirako baliraanwa bange n’abo abankyalira amazima ga Bayibuli. Lumu, mba ndi ku lubalaza lw’ennyumba yange n’empita muliraanwa eyali ayitawo. Yakkiriza okuyingira mu nnyumba, era oluvannyuma lw’okukubaganya naye ebirowoozo ku bintu ebizzaamu amaanyi ebiri mu Bayibuli, yakkiririzaawo bwe nnamutegeeza enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. Nnasanyuka nnyo bwe yabatizibwa n’afuuka muganda wange mu by’omwoyo. Nfunye enkizo ey’okuyamba abantu bana okutuusa lwe beewaddeyo eri Yakuwa.

Nnyinza okugamba nti essanyu n’okuzzibwamu amaanyi nsinga kubifunira mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ze ŋŋendamu obutayosa ezibeeramu ab’oluganda abasukka mu kikumi, era abafuuse ng’ab’omu maka gange. Olw’okuba ndi mu nsi etaliimu ntambula ya njawulo eya bannamukadde n’abalina obulemu, nkisanga nga si kyangu kugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Naye ndi musanyufu nnyo olw’okuba n’ow’oluganda omuvubuka anfaako ennyo. Buli lwe wabaayo olukuŋŋaana, ansitula okuva mu nnyumba yange nnanteeka mu mmotoka ye nnantwala ku Kizimbe ky’Obwakabaka, era oluvannyuma n’ankomyawo. Nga nneebaza nnyo Yakuwa olw’enkizo gye nnina ey’okubeera mu maka ge ag’eby’omwoyo agalina okwagala ng’okwo!

Bwe ndowooza ku ebyo bye mpiseemu, nkiraba nti obulamu bwange kati bwa njawulo nnyo ku obwo bwe nnali njagala ennyo okubeeramu nga nkyali muvubuka. Okuweereza Yakuwa, kunsobozesezza okufuna essanyu eryannamaddala mu kiseera kino n’essuubi ery’ekitalo ery’ebiseera eby’omu maaso. Nnenyumiririza mu kisuubizo kya Katonda ekigamba nti mu lusuku lwa Katonda ku nsi, ‘awenyera alibuuka ng’ennangaazi.’(Isaaya 35:6) Olw’okuba ndi mukakafu nti ekisuubizo ekyo kijja kutuukirizibwa, nneesunga olunaku lwe ndibuuka okuva mu kagaali k’abalema, nga zizzeemu okuba omulamu obulungi era nga nnina amaanyi.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 20]

“Essanyu n’okuzzibwamu amaanyi nsinga kubifunira mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ze ŋŋendamu obutayosa”

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 21]

“Ekintu ekikulu ekyaliwo mu bulamu bwange kwe kufuulumizibwa kw’enkyusa ya Bayibuli eya New World Translation of the Holy Scriptures mu lulimi Olubuligaaliya”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Nnatuuka ku kiruubirirwa kyange eky’okuzannya omuzannyo ogw’okwebongera mu bbanga nga ndi wa myaka 15