Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

LWAKI omukazi eyali mu myaka 60 yalekera awo okusinza ebifaananyi? Kiki ekyaleetera kabona w’Abashinto okuleka omulimu gwe yali akola mu kiggwa n’afuuka omubuulizi Omukristaayo? Omukyala eyakwasibwa abantu abalala bamukuze okuva mu buwere yasobola atya okugumira enneewulira embi gye yalina nti bazadde be tebaamufaako? Soma olabe bo bennyini kye bagamba.

“Sikyali Muddu wa Bifaananyi.”​—ABA DANSOU

NNAZAALIBWA: 1938

ENSI: BENIN

EBYAFAAYO: NNALI NSINZA EBIFAANANYI

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnakulira ku kyalo ekiyitibwa So-Tchahoué ekiri mu lutobazi okumpi n’ennyanja. Abantu ab’oku kyalo ekyo bavubi era balunzi ba nte, embuzi, endiga, embizzi, n’ebinyonyi. Ekitundu ekyo tekiriimu nguudo, n’olwekyo abantu bakozesa maato okugendako mu bitundu ebirala. Abasinga obungi ennyumba zaabwe bazizimbisa mbaawo na ssubi, wadde ng’abamu bakozesa matoffaali. Abantu baayo abasinga obungi baavu nnyo. Wadde kiri kityo, abamenyi b’amateeka si bangi nga bwe kiri mu bibuga.

Bwe nnali nga nkyali muto, taata yatutwala nze ne muganda wange mu kifo awatendekerwa ebikwata ku nzikiriza ey’obuwangwa bw’omu kitundu. Bwe nnakula, nnatandika okusinza katonda ayitibwa Dudua (Oduduwa) ow’obuwangwa bw’Abayoruba. Nnazimbira katonda ono essabo era ssaayosanga kuwaayo ebiweebwayo gamba nga: amayuuni, butto ava mu binazi, amakovu, enkoko, amayiba, n’ebisolo ebirala bingi. Ebiweebwayo bino byalinga bya bbeeyi era byantwalangako kumpi ssente zonna ze nnabanga nazo.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Bwe nnatandika okuyiga Bayibuli, nnakitegeera nti Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima. Ate era nnayiga nti tayagala tukozese bifaananyi nga tumusinza. (Okuva 20:4, 5; 1 Abakkolinso 10:14) Nnategeera kye nnali nnina okukola. Bwe kityo nnasuula ebifaananyi byange byonna bye nnali nkozesa mu kusinza nga kw’otadde ebintu byonna ebyali mu nnyumba yange ebyalina akakwate n’okusinza ebifaananyi. Nnalekera awo okwenyigira mu by’obulaguzi, mu bulombolombo bw’omu kitundu ne mu nnyimbe.

Tekyambeerera kyangu​—omukyala eyali mu myaka 60​—okukola enkyukakyuka ezo. Mikwano gyange, ab’eŋŋanda zange, ne baliraanwa bange baanziyizanga era baansekereranga. Naye nnasaba Yakuwa ampe amaanyi nsobole okukola ekituufu. Ebigambo ebiri mu Engero 18:10 byambudaabudanga, bigamba nti: “Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi: omutuukirivu addukira omwo n’aba mirembe.”

Ekintu ekirala ekyannyamba kwe kugendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe nnabanga mu nkuŋŋaana ezo nnalagibwanga okwagala okw’Ekikristaayo, era nnakwatibwako nnyo olw’okuba abantu bano bafuba okugoberera emitindo gy’empisa egya waggulu egiri mu Bayibuli. Bye nnalaba byankakasa nti Abajulirwa ba Yakuwa be bali mu ddiini ey’amazima.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Okukolera ku misingi gya Bayibuli kinnyambye okulongoosa enkolagana wakati wange n’abaana bange. Ate era mpulira nga gwe baattikkulako omugugu. Nnayonooneranga ssente zange ku bifaananyi ebyole ebitalina bulamu ebitaŋŋanyulanga mu ngeri yonna. Kati nsinza Yakuwa, ajja okuggyawo ebizibu byaffe byonna. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Ndi musanyufu nnyo olw’okuba si kyali muddu wa bifaananyi, wabula omuddu wa Yakuwa! Olw’okuba mpeereza Yakuwa, nfunye emirembe n’obukuumi ebya nnamaddala.

“Nnali nnoonya Katonda okuviira ddala mu buto.”​—SHINJI SATO

NNAZAALIBWA: 1951

ENSI: JAPAN

EBYAFAAYO: NNALI KABONA W’ABASHINTO

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnakulira mu kabuga akali mu ssaza lya Fukuoka. Bazadde bange baali bannaddiini nnyo; okuva mu buto baankuza nga nzisa nnyo ekitiibwa mu bakatonda b’Abashinto. Bwe nnali nkyali muto, nnalowoozanga ku kulokolebwa kwange era nnayagalanga nnyo okuyamba abantu abalina ebizibu. Nzijukira lumu bwe nnali nkyali mu ssomero erisookerwako, omusomesa yatubuuza nga tuli wamu ng’ekibiina kye twandyagadde okukola nga tukuze. Bayizi bannange baalina ebiruubirirwa eby’amaanyi, gamba ng’okufuuka bannasayansi. Nze nnagamba nti ekiruubirirwa kyange kya kuweereza Katonda. Buli omu yansekerera.

Bwe nnamaliriza emisomo gya siniya, nnagenda mu ssomero eritendeka abasomesa b’eddiini. Mu kiseera ekyo nga nkyatendekebwa, nnasisinkana kabona w’Abashinto eyakozesanga ebiseera bye eby’eddembe okusoma ekitabo ekyali eky’eddiba eriddugavu. Lumu yambuuza nti, “Sato, ekitabo kino okimanyi?” Nnali mmaze okulaba eddiba ly’ekitabo ekyo, era nnamuddamu nti, “Eyo Bayibuli.” N’agamba nti, “Buli muntu ayagala okufuuka kabona w’Abashinto asaanidde okusoma ekitabo kino.”

Nnagenderawo okugula Bayibuli. Nnagiteeka mu kifo omuntu wasobola okugirabira obulungi mu tterekero lyange ery’ebitabo era nnagikuumanga bulungi. Naye ssaafunanga budde bugisoma kubanga nnabanga n’eby’okukola bingi ku ssomero. Bwe nnamaliriza okusoma, nnatandika okukola mu kiggwa nga kabona w’Abashinto. Nnali ntuuse ku kiruubirirwa kye nnalina okuva mu buto.

Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nnakizuula nti okubeera kabona w’Abashinto kya njawulo ku kye nnali nsuubira. Bakabona abasinga obungi baali tebafaayo ku balala. Ate abalala bangi baali tebalina kukkiriza. Omu ku bakabona abakulu yatuuka n’okuŋŋamba nti: “Bw’oba oyagala buli kimu kikugendere bulungi mu kifo kino, olina kwogera bikwatagana na bufirosoofo byokka. Okwogera ku kukkiriza tekikkirizibwa wano.”

Ebigambo ng’ebyo byandeetera okuwulira nga nneetamiddwa eddiini y’Abashinto. Wadde nga nneeyongera okukola omulimu gwange mu kiggwa, nnatandika okunoonyereza ku madiini amalala. Kyokka, ssaalabawo njawulo yonna. Gye nnakoma okunoonyereza ku madiini gye nnakoma okuggwamu amaanyi. Muli nnawulira nti tewali ddiini ya mazima.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Mu 1988, nnasisinkana omu ku b’enzikiriza ya Bbuda eyankubiriza okusoma Bayibuli. Kino kyandeetera okulowooza ku kabona w’Abashinto eyali yankubiriza okukola kye kimu emyaka mingi emabega. Nnasalawo okukolera ku magezi ago. Bwe nnatandika okusoma Bayibuli, nnatandikirawo okugyagala. Oluusi nnagisomanga ekiro kyonna okutuusiza ddala ku makya ng’enjuba evuddeyo.

Bye nnasoma byandeetera okwagala okusaba Katonda wa Bayibuli. Nnatandikira ku ssaala ey’okulabirako eri mu Matayo 6:9-13. Nnaddiŋŋananga essaala eno buli luvannyuma lw’essaawa bbiri​—ne mu kiseera we nnakoleranga omulimu gwange mu kiggwa ky’Abashinto.

Ebyo bye nnali nsoma byandeetera okwebuuza ebibuuzo bingi. Mu kiseera kino, nnali mmaze okuwasa, era nnali nkimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu Bayibuli kubanga mu biseera eby’emabega baakyalirako mukyala wange. Nnanoonya omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ne mmubuuza ebibuuzo bingi. Nnakwatibwako nnyo omukyala Omujulirwa wa Yakuwa bwe yakozesa Bayibuli okuddamu buli kibuuzo. Yankolera enteekateeka ey’okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa abasajja.

Nga wayise ekiseera kitono, nnatandika okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Ssaakitegeererawo nti mu Bajulirwa ba Yakuwa abaaliwo mwalimu be nnayisa obubi mu biseera eby’emabega. Kyokka, bannyaniriza n’essanyu era baampisa bulungi.

Mu nkuŋŋaana ezo, nnayiga nti Katonda ayagala abaami baagale ab’omu maka gaabwe era babawe ekitiibwa. Ng’ekyo sinnakiyiga, nnali nneemalidde ku mulimu gwange ne kiba nti nnali sifaayo ku mukyala wange n’abaana baffe ababiri. Nnatandika okukiraba nti nnali mpuliriza nnyo ebyo abantu abajjanga okusinza mu kiggwa bye baŋŋambanga naye nga mukyala wange by’aŋŋamba sibiwuliriza.

Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, nnayiga ebintu bingi nnyo ebikwata ku Yakuwa ebyandeetera okumwagala ennyo. Abaruumi 10:13, awagamba nti: “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa,” lwe lumu ku nnyiriri ezaasinga okunkwatako. Katonda gwe nnali nnoonya okuviira ddala mu buto, kya ddaaki nnali mmuzudde!

Nnatandika okuwulira nti sikyagwanira kubeera mu kiggwa. Mu kusooka, nnatya abalala kye bandirowoozezza nga nvudde mu ddiini y’Abashinto. Naye, nnali nnasalawo dda nti bwe ndizuula Katonda ow’amazima ndiva mu ddiini eno. Bwe kityo mu 1989, nnasalawo okugoberera ekyo omuntu wange ow’omunda kye yali aŋŋamba. Nnalekera awo okuweereza mu kiggwa ne nnessa mu mikono gya Yakuwa.

Tekyali kyangu kulekera awo kuweereza mu kiggwa. Bakabona abakulu baankambuwalira era baagezaako okumpikiriza nsigale. N’ekyasingira ddala okuba ekizibu kwe kutegeeza bazadde bange kye nnali nsazeewo. Bwe nnali ŋŋenda gye baali babeera, nnatya nnyo ne kiba nti ekifuba kyatandika okunnuma n’amagulu ne gatandika okujugumira! Nnagenda nnyimirira mu kkubo nga bwe nsaba Yakuwa ampe amaanyi.

Bwe nnatuuka eri bazadde bange, nnasooka kutya era kyantwalira essaawa eziwerako okubabuulira ensonga eyali entutteyo. Oluvannyuma lw’okusaba ennyo, nnannyonnyola taata kye nnali nsazeewo. Nnamugamba nti nnali nzudde Katonda ow’amazima era nti ŋŋenda kuva mu ddiini y’Abashinto nsobole okuweereza Katonda oyo. Taata yeekanga nnyo era yanakuwala. Ab’eŋŋanda zange abalala bajja ne bagezaako okukyusa endowooza yange. Nnali saagala kulumya ba ŋŋanda zange, naye ate nga nkimanyi nti okuweereza Yakuwa kye kintu ekituufu kye nnalina okukola. Ekiseera kyatuuka, ab’eŋŋanda zange ne batandika okumpa ekitiibwa olw’ekyo kye nnali nsazeewo.

Wadde nga nnali ndekedde awo okugenda mu kiggwa, nnali nkyetaaga okutereeza endowooza yange. Nnali mmanyidde nnyo obulamu bwe nnalimu obw’okuweereza nga kabona. Nnagezaako nnyo okwewala okulowooza ku bulamu obwo, naye buli gye nnatunulanga waabangayo ebintu ebyanzijukizanga obulamu obwo.

Ebintu bibiri ebyannyamba okwekutula ku bulamu obwo. Ekisooka, nnanoonya mu nnyumba yonna buli kintu ekyalina akakwate n’eddiini gye nnalimu, era byonna ne mbyokya​—ebitabo, ebifaananyi, n’ebintu ebirala byonna eby’ebbeeyi ebyali byekuusa ku ddiini eyo. Eky’okubiri, nnafubanga okulaba nti mbeerako wamu n’Abajulirwa ba Yakuwa. Omukwano gwe baandaga gwa nnyamba nnyo. Mpola mpola, nnatandika okwerabira obulamu bwange obw’emabega.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Ssaafangayo ku mukyala wange n’abaana bange, ekyabaleeteranga okuwuubaala. Naye bwe nnatandika okufissaawo akadde okubeerako awamu nabo, nga Bayibuli bw’ekubiriza abaami, enkolagana yaffe yafuuka ya ku lusegere. Ekiseera kyatuuka, mukyala wange n’anneegattako mu kuweereza Yakuwa. Ffenna awamu​—mutabani waffe, muwala waffe n’omwami we​—kati tuli bumu mu kusinza okw’amazima.

Bwe ndowooza ku kiruubirirwa kye nnalina okuviira ddala mu buto eky’okuweereza Katonda n’okuyamba abantu abalala, nkiraba nti nzudde buli kye nnali nnoonya​—n’okusingawo. Ebigambo byokka tebimala kulaga kusiima kwe nnina eri Yakuwa.

“Nnakimanya nti waaliwo ekyali kimbulako.”​​—LYNETTE HOUGHTING

NNAZAALIBWA: 1958

ENSI: SOUTH AFRICA

EBYAFAAYO: ENNEEWULIRA EY’OBUTAFIIBWAKO

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnazaalibwa mu kabuga akayitibwa Germiston, akataalimu nnyo buzzi bwa misango. Olw’okuba muli baali bawulira nti tebasobola kundabirira, bazadde bange baasalawo okufuna abantu abalala be baba bankuza. Nga nnaakaweza ennaku 14 zokka, waliwo omugogo gw’abafumbo abaasalawo okuntwala bankuze era be baafuuka nga maama ne taata. Wadde kyali kityo, bwe nnamanya ebyantuukako nga nkyali muto, kyandeetera muli okuwulira nti ssaafiibwako, era n’okuwulira muli nti sigwanira kubeera na bazadde bange abaankuza nga ndowooza nti baali tebantegeera.

Bwe nnali nnaatera okuweza emyaka 16, nnatandika okugenda mu mabbaala agatali gamu, nze ne mikwano gyange gye twaziniranga amazina n’okuwuliriza ennyimba. Nga mpezezza emyaka 17, nnatandika okunywa sigala. Nnayagala mbeere mutono ng’obuwala bwe nnalabanga mu bulango bwa sigala. Bwe nnaweza emyaka 19, nnatandika okukolera mu kibuga Johannesburg, gye nneeyungira ku kibinja ky’abantu abakyamu. Mu kiseera kitono nnali ntandise okukozesa olulimi olubi, okufuuweeta ennyo sigala n’okunywa omwenge omungi ku wiikendi.

Wadde kyali kityo, nnalina amaanyi kubanga nnazanyanga emizannyo egy’amaanyi gamba ng’okusamba omupiira gw’abakyala, okudduka, n’emizannyo emirala. Ate era, nnakolanga omulimu gwange n’obunyiikivu, ne nneekolera erinnya mu makampuni ga kompyuta. N’ekyavaamu, nnafuna ssente nnyingi, era abantu bangi baali bakimanyi nti ndi bulungi mu by’enfuna. Kyokka, mu butuufu nnali sirina ssanyu​—nnali nsobeddwa era nga nneetamiddwa obulamu. Nnakimanya nti waaliwo ekyali kimbulako.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Bwe nnatandika okuyiga Bayibuli, nnakitegeera nti Yakuwa Katonda wa kwagala. Ate era, nnakimanya nti atulaze okwagala okwo ng’atuwa Ekigambo kye, Bayibuli. Alinga atuwandiikidde ebbaluwa okutuwa obulagirizi ku ngeri y’okutambuzaamu obulamu bwaffe. (Isaaya 48:17, 18) Nnakitegeera nti okusobola okuganyulwa mu bulagirizi obulungi Yakuwa bw’atuwa, nnalina okusooka okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwange.

Emu ku nkyukakyuka ze nnali nneetaaga okukola, yali ekwata ku mikwano gyange. Nnafumiitiriza nnyo ku bigambo ebiri mu Engero 13:20, awagamba nti: “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi: naye munaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.” Nga nkolera ku musingi oguli mu kyawandiikibwa ekyo, nneekutula ku mikwano gyange emikadde n’enfuna emikwano emipya mu Bajulirwa ba Yakuwa.

Ekintu ekyasinga okumbeerera ekizibu kwe kulekera awo okunywa sigala kubanga nnali njagala nnyo okumunywa. Bwe nnalekera awo okunywa sigala, nnafuna ekizibu ekirala. Okulekera awo okunywa sigala kyandeetera okweyongerako obuzito bwa kiro ezisukka mu 13! Ekyo kyammalamu amaanyi, era kyantwalira ebbanga kumpi lya myaka kkumi okukendeeza obuzito obwo. Kyokka, nnali nkimanyi nti okulekera awo okunywa sigala kye kyali ekintu ekituufu kye nnalina okukola. Nnasabanga Yakuwa obutayosa, era yampa amaanyi ne nsobola okwekutula ku muze ogwo.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Kati obulamu bwange bweyagaza. Ate era, ndi mumativu​—sikyanoonya ssanyu ery’akaseera obuseera omuntu ly’ayinza okufuna olw’omulimu omulungi gw’alina, ettutumu, n’obugagga. Mu kifo ky’ekyo, nfuna essanyu mu kubuulirako abalala amazima agali mu Bayibuli. N’ekivuddemu, basatu ku abo be nnali nkola nabo baatwegattako nze n’omwami wange mu kuweereza Yakuwa. Abazadde abaankuza we baafiira, nnali mmaze okubabuulira ku ssuubi eriri mu Bayibuli ery’okuzuukira okunaabaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi.

Okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kinnyambye okugumira enneewulira ey’obutafiibwako. Yakuwa andeetedde okuwulira nti nfiibwako ng’ansembeza mu maka ge ag’ensi yonna nga ky’ekibiina Ekikristaayo. Mu maka ago, nninamu bamaama, bataata, bannyinaze, ne baganda bange bangi nnyo.​—Makko 10:29, 30.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Abajulirwa ba Yakuwa bandaze okwagala okw’Ekikristaayo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Ekiggwa ky’Abashinto mwe nnasinzizanga