Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebintu Bye Tusobola Okukola mu Kusinza kw’Amaka oba nga Twesomesa

Ebintu Bye Tusobola Okukola mu Kusinza kw’Amaka oba nga Twesomesa

Ebintu Bye Tusobola Okukola mu Kusinza kw’Amaka oba nga Twesomesa

KU NTANDIKWA y’omwaka 2009, waliwo enkyukakyuka eyakolebwa mu nkuŋŋaana z’ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi. Enkuŋŋaana ze twafunanga mu nnaku bbiri wakati mu wiiki zaateekebwa ku lunaku lumu, era ffenna twakubirizibwa okukozesa akawungeezi kwe twafuniranga olukuŋŋaana olw’Okusoma Ekitabo okusinza ng’amaka oba okwesomesa. Obadde ogoberera enteekateeka eno? Oganyuddwa mu bujjuvu mu kugigoberera?

Abamu babaddenga beebuuza bintu ki bye bayinza okusomako mu kusinza kwabwe okw’amaka. Si buvunaanyizibwa bw’Akakiiko Akafuzi okusalirawo buli maka ebyo bye gasaanidde okusoma. Okuva bwe kiri nti ffenna tulina ebyetaago bya njawulo, kiba kya magezi buli mutwe gw’amaka oba buli muntu kinnoomu okusalawo engeri gy’asobola okukozesaamu akawungeezi ako mu ngeri esingayo okuba ey’omuganyulo.

Abamu bakozesa akawungeezi ako okuteekateeka enkuŋŋaana z’ekibiina, naye okusinza kw’amaka tekusaanidde kukoma ku ekyo kyokka. Abalala bakakozesa okusoma, okukubaganya ebirowoozo, oba okuzannya obuzannyo obwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, nga kino okusingira ddala bakikola okusobola okuyamba abaana abato. Kiyinza obuteetaagisa buli kiseera kukozesa nkola ey’okubuuza ebibuuzo n’okubiddamu nga bwe kiba mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Ekiseera ky’okusinza kw’amaka kisaanidde okuba ekiseera buli omu mu maka mw’asobolera okwogera ekimuli ku mutima. Ekiseera ekyo kitusobozesa okufumiitiriza n’okwogera ku bintu bye tusoma mu Bayibuli, ekyo ne kifuula okusinza kw’amaka okunyuvu.

Taata omu alina abaana abasatu agamba nti: “Okusingira ddala ffe ng’amaka tubadde tutera kusoma Bayibuli. Buli omu asoma nga bukyali essuula ze tunaakubaganyaako ebirowoozo, abaana bafunayo ebintu ebyetaagisa okunoonyerezaako, era ne batubuulira ebyo bye baba bazudde. Omwana waffe Michael [ow’emyaka omusanvu] ebiseera ebisinga abaako ebifaananyi by’akuba oba abaako ebintu by’awandiika. David ne Kaitlyn [ab’emyaka 13 ne 15] bawandiika ku ebyo bye baba basomyeko mu Bayibuli nga balinga abaaliwo ng’ebintu ebyo bigenda mu maaso. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe twali tusoma ku ngeri Yusufu gye yannyonnyolamu amakulu g’ekirooto eky’omufumbiro wa Falaawo n’eky’omusenero we, Kaitlyn yawandiika emboozi ng’alinga omu ku basibe abaaliwo ng’alaba ebigenda mu maaso.”​—Lub., sul. 40.

Kya lwatu nti embeera zaffe zaawukana. Ebyo ebisobola okuyamba omuntu omu oba amaka agamu biyinza obutayamba mulala oba maka malala. Akasanduuko akali ku lupapula oluddako kalaga ebintu bye tusobola okukola mu kusinza kw’amaka oba nga twesomesa. Waliwo n’ebintu ebirala bingi by’osobola okulowoozaako.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6, 7]

Amaka omuli abatiini:

• Musome era mukubaganye ebirowoozo ku katabo Questions Young People Ask​—Answers That Work.

• Musome Bayibuli nga mweteeka mu mbeera ey’abantu aboogerwako (Laba Omunaala gw’Omukuumi Jjuuni 1, 1996, olupapula 7, akatundu 17-18.)

• Mwogere ku biruubirirwa eby’omwoyo

• Mufunengayo ebiseera mulabe era mukubaganye ebirowoozo ku vidiyo zaffe.

• Musome ekitundu ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ekirina omutwe “Eri Abavubuka Baffe.”

Abafumbo abatalina baana:

• Musome essuula 1, 3, 11-16 ez’akatabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka.

• Mwogere ku ebyo bye muba muzudde mu kusoma kwammwe okwa Bayibuli.

• Mutegeke olukuŋŋaana lw’Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina oba olw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi.

• Mwogere ku ngeri gye muyinza okugaziyaamu obuweereza bwammwe.

Ab’oluganda abali obwannamunigina oba abo abali mu maka agatali bumu mu kukkiriza:

• Musome ebitabo ebipya ebyafulumizibwa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti.

• Musome obutabo Yearbook obupya n’obukadde.

• Munoonyereze ku bibuuzo abantu bye batera okubuuza mu kitundu kyammwe.

• Mutegeke ennyanjula ze munaakozesa mu kubuulira.

Amaka omuli abaana abato:

• Muzannye emizannyo egy’esigamiziddwa ku Bayibuli.

• Muzannye obuzannyo ng’obwo obuli mu Awake! ku lupapula 30 ne 31.

• Mukole ebintu ebireetera abaana okuyiiya. (Laba ekitundu “Okusomera Bayibuli mu Kkuumiro ly’Ebisolo!” mu Awake! eya Maaki 8, 1996, olupapula 16-19.)

• Musome ekitundu mu Omunaala gw’Omukuumi ekirina omutwe ogugamba nti “Yigiriza Abaana Bo.”