Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Osobola Okuvumbula ‘Okumanya Okukwata ku Katonda’

Osobola Okuvumbula ‘Okumanya Okukwata ku Katonda’

Semberera Katonda

Osobola Okuvumbula ‘Okumanya Okukwata ku Katonda’

YAKUWA KATONDA atuteereddewo eky’obugagga eky’omuwendo, era ayagala tukizuule. Eky’obugagga kino kitusobozesa okufuna emirembe, obumativu, n’essanyu, ebintu ssente eziri mu nsi yonna bye zitasobola kugula. Eky’obugagga kino kye kiruwa? Ebigambo bya Kabaka Sulemaani ebiri mu Engero 2:1-6 biddamu ekibuuzo ekyo.

Sulemaani alaga nti eky’obugagga ekyo kwe ‘kumanya okukwata ku Katonda,’ ng’okumanya kuno ge mazima agakwata ku Katonda n’ebigendererwa bye ebiri mu Bayibuli. (Olunyiriri 5) Waliwo ebintu eby’enjawulo ebiri mu ky’obugagga kino.

Enjigiriza ez’amazima. Bayibuli eddamu ebibuuzo nga bino: Erinnya lya Katonda lye liruwa? (Zabbuli 83:18) Kiki ekitutuukako bwe tufa? (Zabbuli 146:3, 4) Lwaki tuli wano ku nsi? (Olubereberye 1:26-28; Zabbuli 115:16) Si kya muganyulo nnyo okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ng’ebyo ebikulu ennyo?

Amagezi amalungi. Bayibuli etubuulira engeri esingayo obulungi ey’okutambuzaamu obulamu bwaffe. Kiki ekiyinza okusobozesa obufumbo bwammwe okuwangaala? (Abeefeso 5:28, 29, 33) Oyinza otya okuyamba abaana bo okukula nga ba buvunaanyizibwa? (Ekyamateeka 6:5-7; Abeefeso 6:4) Oyinza otya okufuna essanyu mu bulamu? (Matayo 5:3; Lukka 11:28) Ate era kirowoozeeko, si kya muganyulo okufuna amagezi egeesigika ku nsonga ng’ezo?

Okutegeera Katonda ky’ali n’engeri ze. Bayibuli y’ensibuko esinga obukulu ey’obubaka obwesigika obukwata ku Katonda. Katonda muntu wa ngeri ki? (Yokaana 1:18; 4:24) Atufaako? (1 Peetero 5:6, 7) Ezimu ku ngeri ze enkulu ze ziruwa? (Okuva 34:6, 7; 1 Yokaana 4:8) Olowooza waliwo ekintu kyonna ekiyinza okugeraageranyizibwa ku kumanya okutuufu okukwata ku Mutonzi waffe?

Mu butuufu, ‘okumanya okukwata ku Katonda’ kya bugagga. Oyinza otya okukivumbula? Ekiyinza okukuyamba kisangibwa mu Engero esuula 2, olunyiriri 4 Sulemaani w’ageraageranyiza okumanya kuno ku ‘by’obugagga ebyakwekebwa.’ Lowooza ku kino: Eky’obugagga ekyakwekebwa tekiyinza kweggya gye kiri ne kyeteeka mu mikono gy’omuntu nga takinoonyezza. Tulina okufuba ennyo okusobola okukivumbula. Bwe tutyo bwe tusaanidde okukola okusobola okuvumbula okumanya okukwata ku Katonda. Eky’obugagga kino kikwekeddwa mu Bayibuli. Okusobola okukivumbula, twetaaga okufuba.

Sulemaani annyonnyola kye twetaaga okukola okusobola okuvumbula ‘okumanya okukwata ku Katonda.’ Ebigambo “bw’onokkirizanga ebigambo byange” ne “n’ossangayo omutima gwo” biraga nti twetaaga okuba n’omutima omuwulize. (Olunyiriri 1, 2) Ebigambo “bw’onookaabiranga,” “bw’onooganoonyanga,” ne “n’ogakenneenyanga” biraga nti twetaaga okufuba ennyo. (Olunyiriri 3, 4) N’olwekyo, okusobola okuvumbula eky’obugagga ekyo, twetaaga okunyiikira okusoma Bayibuli, nga tukikola mu bwesimbu.​—Lukka 8:15.

Bwe tufuba okukola ekyo, Yakuwa ajja kutuyamba okuvumbula eky’obugagga ekyo. Olunyiriri 6 lugamba nti, “Mukama awa amagezi.” Tetusobola kutegeera mu bujjuvu amazima agali mu Bayibuli okuggyako nga Katonda y’atuyambye. (Yokaana 6:44; Ebikolwa 16:14) Bw’onoonoonyereza mu Kigambo kya Katonda, osobola okuba omukakafu nti ojja kuvumbula ‘okumanya okukwata ku Katonda,’ nga kino kye ky’obugagga ekijja okukuganyula mu bulamu bwo okusinga ekintu ekirala kyonna.​—Engero 2:10-21. *

[Obugambo obuli wansi]

^ Okwetooloola ensi yonna, Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza ku bwereere abantu abaagala okutegeera Bayibuli. Osobola okutuukirira abo abali mu kitundu kyo oba okubawandiikira ng’okozesa emu ku ndagiriro eziri ku lupapula 4.