Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwe Tusaanidde Okusigala nga Tutunula

Lwe Tusaanidde Okusigala nga Tutunula

Yigiriza Abaana Bo

Lwe Tusaanidde Okusigala nga Tutunula

NAAWE oyinza okuba ng’okikkiriza nti kikulu nnyo okusigala ng’otunula ng’oli ku ssomero. Bangi beebaka nga bali mu kibiina, naye okusobola okuyiga, olina okusigala ng’otunula. Ekiseera ekirala mwe weetaagira okusigala ng’otunula ky’ekyo ng’oyigirizibwa ebikwata ku Katonda ne Bayibuli. Oboolyawo naawe ogendako mu nkuŋŋaana gye bayigiririza Bayibuli.

Olowooza kiki ky’oyinza okukola okusobola okusigala ng’otunula? * Ekimu ku byo kwe kwebaka nga bukyali. Oboolyawo okwebakamu ko mu ttuntu nakyo kiyinza okukuyamba. Ka tulabe kye tuyinza okuyigira ku ekyo ekyatuuka ku muvubuka eyakwatibwa otulo mu ttumbi ng’omutume Pawulo ayigiriza ebikwata ku Katonda. Bikkula Bayibuli yo mu Ebikolwa essuula 20, olunyiriri 7 okutuuka 12, olabe ekyaliwo.

Pawulo yali akyalidde ekibiina ekiri ku mwalo gw’e Tulowa. Bayibuli egamba nti Pawulo ‘yali agenda enkeera’ era nga wa kukozesa lyato. N’olwekyo, ‘yayogera gye bali okutuusiza ddala ekiro mu ttumbi.’ Bayibuli eyongera n’egamba nti: “Pawulo bwe yali ayogera, omuvubuka ayitibwa Yutuko eyali atudde mu ddirisa n’akwatibwa otulo.” Olowooza kiki ekyaddirira?

Yutuko yawanuka mu ddirisa erya “kkalina ey’okusatu n’agwa wansi.” Pawulo n’abo abaaliwo bayanguwa okukka wansi. Yutuko yali afudde! Oyinza okuteeberezaamu ennaku gye baalimu?— Bayibuli egamba nti Pawulo yatwala Yutuko n’amuwambaatira. Oluvannyuma lw’akaseera katono Pawulo yayogerera waggulu n’essanyu ng’agamba nti: ‘Mulekere awo okukaaba, omwana alamuse!’ Katonda yali azuukizza Yutuko.

Ekyo ekyatuuka ku Yutuko kituyigiriza ki ku Katonda?— Ekimu ku ebyo bye tuyiga kiri nti, Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu, asobola okuzuukiza abafu nga mw’otwalidde n’abaana abato. Yakuwa akutegeera bulungi era akwagala nnyo, mu butuufu akwagala nnyo n’okusinga bazadde bo bwe bakwagala. Yesu bwe yali ku nsi, yalaga ekyo Kitaawe kyali ng’awambaatira abaana abato era ng’abawa omukisa. Ate era yazuukiza n’abaana abato, nga mw’otwalidde n’omuwala ow’emyaka 12.

Okukimanya nti Kitaawo ow’omu ggulu akwagala kikuleetera kuwulira otya?— Tewali kubuusabuusa nti kituleetera naffe okumwagala n’okugondera by’atugamba. Omanyi engeri gye tuyinza okulagamu nti twagala Yakuwa?— Engeri emu gye tuyinza okukikolamu kwe kugamba nti tumwagala. Yesu yagamba nti: “Njagala Kitange.” Naye Yesu yakola ekisingawo ku kugamba obugambi nti ayagala Katonda. Yakiraga mu bikolwa.

Yesu yagondera Katonda. Yesu yagamba nti: “Bulijjo nkola ebintu ebimusanyusa.” Naffe okusobola okusanyusa Yakuwa n’Omwana we Yesu, tulina okufuba okusigala nga tutunula nga tuli ku ssomero ne mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo.

Soma mu Bayibuli yo

Ebikolwa 20:7-12

Lukka 8:49-56

Yokaana 8:29; 14:31

[Obugambo obuli wansi]

^ Bw’oba ng’osoma n’omwana, akasittale kakujjukiza nti olina okusiriikiriramu n’oleka omwana n’awa endowooza ye.