Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eby’Okwesanyusaamu by’Olondawo Bikuganyula?

Eby’Okwesanyusaamu by’Olondawo Bikuganyula?

Eby’Okwesanyusaamu by’Olondawo Bikuganyula?

“Mufubenga okumanya ekyo ekikkirizibwa Mukama waffe.”​—BEF. 5:10.

1, 2. (a) Ekigambo kya Katonda kiraga kitya nti Yakuwa ayagala tunyumirwe obulamu? (b) Okumanya nti ekiseera kye tumala nga twesanyusaamu ‘kirabo okuva eri Katonda’ kyanditukubirizza kukola ki?

 BAYIBULI ekiraga bulungi nti Yakuwa ayagala tube basanyufu era tunyumirwe obulamu. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 104:14, 15 wagamba nti Yakuwa atuwa ‘emmere okuva mu ttaka; n’omwenge ogusanyusa omutima gw’omuntu, n’amafuta aganyiriza amaaso gaffe, n’emmere etuwa amaanyi.’ Yakuwa y’akuza ebimera mwe tuggya emmere, amafuta, n’omwenge. Wadde ng’omwenge si gwe gubeesaawo obulamu bw’omuntu, ‘gusanyusa omutima.’ (Mub. 9:7; 10:19) Mu butuufu, Yakuwa ayagala tubeere basanyufu, emitima gyaffe gijjule “essanyu.”​—Bik. 14:16, 17.

2 N’olwekyo, tetusaanidde kulowooza nti kiba kikyamu okufunayo ekiseera ‘okwetegereza ebinyonyi eby’omu bbanga n’amalanga ag’oku ttale’ oba okwesanyusaamu mu ngeri emu oba endala. (Mat. 6:26, 28; Zab. 8:3, 4) Obulamu obulungi era obw’essanyu ‘kirabo okuva eri Katonda.’ (Mub. 3:12, 13) Ekirabo ekyo kizingiramu n’ekiseera kye tumala nga twesanyusaamu. N’olwekyo, tusaanidde okukozesa ekiseera ekyo mu ngeri esanyusa Katonda.

Ba Mwegendereza ng’Olonda eby’Okwesanyusaamu

3. Lwaki abantu balondawo eby’okwesanyusaamu eby’enjawulo?

3 Abo abalina endowooza ennuŋŋamu ku by’okwesanyusaamu bakimanyi nti waliwo engeri nnyingi ez’okwesanyusaamu, naye era bakimanyi nti balina okuba abeegendereza. Lwaki? Okusobola okufuna eky’okuddamu, ka tugeraageranye eby’okwesanyusaamu ku mmere. Abantu mu bitundu by’ensi eby’enjawulo bawoomerwa ebika by’emmere bya njawulo. Emmere esinga okuwoomera abantu mu kitundu ekimu eyinza obutawoomera abo ababeera mu kitundu ekirala. Mu ngeri y’emu, eby’okwesanyusaamu ebinyumira Abakristaayo mu kitundu ekimu biyinza obutanyumira abo ababeera mu kitundu ekirala. N’Abakristaayo ababeera mu kitundu ekimu bayinza okuba ng’eby’okwesanyusaamu ebibanyumira bya njawulo. Ng’ekyokulabirako, omu ayinza okuwulira ng’okusoma ebitabo kimuwummuza ebirowoozo, ate ng’omulala ye awulira nti kimukooya. Omulala ayinza okuba ng’anyumirwa nnyo okuvuga akagaali ate ng’omulala takanyumirwa. Ng’abantu bwe basobola okweroboza mu by’okulya, bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu.​—Bar. 14:2-4.

4. Lwaki tusaanidde okuba abeegendereza nga tulonda eby’okwesanyusaamu? Waayo ekyokulabirako.

4 Wadde nga tulina eddembe okweronderawo eby’okwesanyusaamu, tulina okuba abeegendereza. Ng’ekyokulabirako, ddamu olowooze ku mmere. Wadde nga tusobola okulya emmere ey’ebika eby’enjawulo, tetusobola kulya mmere eyonoonese. Okulya emmere ng’eyo kisobola okutulwaza. Mu ngeri y’emu, wadde nga tusobola okwesanyusaamu mu ngeri ez’enjawulo, tekiba kya magezi kulonda bya kwesanyusaamu ebiyinza okuteeka obulamu bwaffe mu kabi, ebirimu ebikolwa eby’obukambwe, oba ebirimu ebikolwa eby’obugwenyufu. Eby’okwesanyusaamu ng’ebyo bikontana n’emisingi gya Bayibuli. Bya kabi eri obulamu bwaffe era bisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. N’olwekyo, tusaanidde okukakasa nti eby’okwesanyusaamu bye tulondawo bituganyula era nti bisanyusa Yakuwa. (Bef. 5:10) Ekyo tuyinza kukikola tutya?

5. Tuyinza tutya okumanya obanga eby’okwesanyusaamu bye tulondawo bituukana n’emitindo gya Bayibuli?

5 Eby’okwesanyusaamu bwe biba eby’okutuganyula era bwe biba eby’okusanyusa Yakuwa, birina okuba nga bituukana n’emitindo gya Bayibuli. (Zab. 86:11) Okusobola okumanya obanga eby’okwesanyusaamu bye tulondawo birungi, tusaanidde okulowooza ku bintu bino ebisatu: Ebirimu, ebiseera ne baani. Ka twetegereze ebintu bino kimu ku kimu.

Bintu Ki Ebirimu?

6. Bya kwesanyusaamu bya ngeri ki bye tuteekwa okwewalira ddala, era lwaki?

6 Nga tetunnalonda bya kwesanyusaamu, kiba kya magezi okusooka okwebuuza, ‘Bintu ki ebiri mu by’okwesanyusaamu bye njagala okulonda?’ Tusaanidde okukijjukira nti eby’okwesanyusaamu bisobola okuteekebwa mu biti bibiri. Ekiti ekisooka kirimu eby’okwesanyusaamu bye tuteekwa okwewalira ddala. Ekiti eky’okubiri kirimu eby’okwesanyusaamu buli omu ku ffe by’ayinza okwesalirawo. Eby’okwesanyusaamu ebiri mu kiti ekisooka bye biruwa? Eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi mu nsi eno embi birimu ebintu ebikontana n’emisingi gya Bayibuli oba amateeka ga Katonda. (1 Yok. 5:19) Abakristaayo ab’amazima bateekwa okwewalira ddala eby’okwesanyusaamu ebyo. Muno mwe muli eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’okulumya abalala, eby’obusamize, ebikolwa eby’obukambwe, okulya ebisiyaga, ebifaananyi eby’obugwenyufu, n’ebintu ebirala ebibi. (1 Kol. 6:9, 10; soma Okubikkulirwa 21:8.) Ka tube nga tubeera wa, bwe twewalira ddala eby’okwesanyusaamu ng’ebyo, tuba tulaga Yakuwa nti ‘tukyawa ekibi.’​—Bar. 12:9; 1 Yok. 1:5, 6.

7, 8. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo obulungi nga tulonda eby’okwesanyusaamu? Waayo ekyokulabirako.

7 Ekiti eky’okubiri kirimu eby’okwesanyusaamu omuli ebintu ebitayogerwako butereevu mu Bayibuli. Naye emisingi gya Bayibuli gisobola okutuyamba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ebyo. N’olwekyo, bwe tuba tetunnalonda bya kwesanyusaamu ng’ebyo, tusaanidde okusooka okukakasa nti tebikontana na misingi gya Bayibuli. (Nge. 4:10, 11) Ekyo bwe tumala okukikola, tuba tulina okusalawo mu ngeri eneetusobozesa okusigala nga tulina omuntu ow’omunda omulungi. (Bag. 6:5; 1 Tim. 1:19) Tuyinza tutya okusalawo mu ngeri ey’amagezi? Lowooza ku kino: Bwe tuweebwa emmere gye tutalyangako, ekintu kye tusooka okubuuza bye bintu ebiri mu mmere eyo. Mu ngeri y’emu, bwe tuba tetunnalonda bya kwesanyusaamu, tusaanidde okusooka okumanya biki ebirimu, tulabe obanga tebikontana na misingi gya Bayibuli.​—Bef. 5:17.

8 Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba ng’oyagala nnyo emizannyo, era ekyo si kibi. Emizannyo mingi ginyuma era gisanyusa. Naye emizannyo egimu girimu okuvuganya kwa maanyi era giteeka obulamu bw’abantu mu kabi. Ate mu mizannyo emirala, abawagizi bakola effujjo nga bajaganya, era batuuka n’okulowooza nti eggwanga lyabwe lya waggulu ku mawanga amalala. Kiki ky’oyinza okukola singa emizannyo gy’onyumirwa gibaamu ebintu ng’ebyo? Okufumiitiriza ku ebyo ebiri mu mizannyo gy’onyumirwa kisobola okukuyamba okumanya obanga emizannyo egyo gituukana n’emitindo gya Yakuwa awamu n’obubaka obw’emirembe n’okwagala bwe tubuulira abalala. (Is. 61:1; Bag. 5:19-21) Bw’okiraba nti ebyo ebiri mu mizannyo egyo bituukana n’emitindo gya Yakuwa, okwesanyusaamu mu ngeri eyo kiyinza okuba eky’omuganyulo gy’oli era kiyinza okukuwummuza ebirowoozo.​—Bag. 5:22, 23; soma Abafiripi 4:8.

Ebiseera Byenkana Wa Bye Ŋŋenda Okumala?

9. Engeri gye tuddamu ekibuuzo, ‘Ebiseera byenkana wa bye ŋŋenda okumala nga nneesanyusaamu?’ eraga ki?

9 Ekibuuzo ekisoose kibadde kikwata ku bintu ebiri mu by’okwesanyusaamu bye tulonda. Engeri gye tuddamu ekibuuzo ekyo eraga ebyo bye twagala era ebitusanyusa. Kati ekibuuzo eky’okubiri kye tulina okwebuuza kiri nti, ‘Ebiseera byenkana wa bye ŋŋenda okumala nga nneesanyusaamu?’ Engeri gye tuddamu ekibuuzo kino esobola okulaga ebyo bye tutwala ng’ebikulu mu bulamu bwaffe. Kati olwo tuyinza tutya okumanya obanga eby’okwesanyusaamu tubitadde mu kifo ekituufu?

10, 11. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:33 biyinza bitya okutuyamba nga tusalawo ebiseera byenkana wa bye tuyinza okumala nga twesanyusaamu?

10 Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Mak. 12:30) N’olwekyo, tulina okwagala Yakuwa okusinga ekintu ekirala kyonna. Kino tukiraga nga tukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Musooke munoonyenga obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebintu ebirala byonna biribongerwako.” (Mat. 6:33) Ebigambo ebyo biyinza bitya okutuyamba okumanya ebiseera byenkana wa bye tuyinza okumala nga twesanyusaamu n’ekifo eby’okwesanyusaamu kye bisaanidde okuba nakyo mu bulamu byaffe?

11 Weetegereze nti Yesu yatugamba ‘okusooka okunoonyanga obwakabaka.’ Teyatugamba nti ‘tunoonye bwakabaka bwokka.’ Kya lwatu nti Yesu yali akimanyi nti ng’oggyeko okunoonya Obwakabaka, twetaaga n’okunoonya ebintu ebirala. Twetaaga aw’okusula, eby’okulya, eby’okwambala, obuyigirize obusookerwako, omulimu, okwesanyusaamu, n’ebirala bingi. Kyokka, mu bintu byonna bye tunoonya, okunoonya Obwakabaka kye kintu kye tulina okukulembeza mu bulamu bwaffe. (1 Kol. 7:29-31) Ebintu ebirala byonna, nga mw’otwalidde n’eby’okwesanyusaamu, bisaanidde kutuyamba kukulembeza Bwakabaka. Eby’okwesanyusaamu biba bya muganyulo gye tuli singa bituyamba okukulembeza Obwakabaka.

12. Omusingi oguli mu Lukka 14:28 guyinza gutya okutuyamba nga tulondawo eby’okwesanyusaamu?

12 N’olwekyo, nga tetunnasalawo ku bya kwesanyusaamu, kiba kya magezi okusooka okubalirira ebiseera bye tunaamalira ku by’okwesanyusaamu ebyo. (Luk. 14:28) Ng’ebintu ebigulibwa bwe byetaagisa ssente, n’eby’okwesanyusaamu byetaagisa ebiseera. Tulina okusalawo ebiseera byenkana wa bye tuyinza okumala nga twesanyusaamu. Tetusaanidde kumalira biseera bingi ku bya kwesanyusaamu ne kiba nti tetukyalina biseera bimala kukola ku bintu ebisinga obukulu, gamba ng’okwesomesa Bayibuli, okusinza ng’amaka, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okubuulira. (Mak. 8:36) Naye singa eby’okwesanyusaamu bye tulonda binaatuyamba okuddamu amaanyi tusobole okweyongera okuweereza Katonda, ebiseera bye tunaamala ku by’okwesanyusaamu ebyo tujja kuba tubikozesezza bulungi.

Baani Be Ŋŋenda Okuba Nabo?

13. Lwaki tulina okwegendereza nga tulonda abantu be twagala okuba nabo nga twesanyusaamu?

13 Ekibuuzo eky’okusatu ky’osaanidde okwebuuza kiri nti, ‘Baani be ŋŋenda okuba nabo nga nneesanyusaamu?’ Kikulu nnyo okwebuuza ekibuuzo ekyo. Lwaki? Kubanga abantu be tubeera nabo nga twesanyusaamu bayinza okutuyamba oba okutulemesa okusalawo obulungi. Nga bwe kitusanyusa okuliirako awamu emmere ne mikwano gyaffe, kitusanyusa nnyo okusanyukirako awamu ne mikwano gyaffe. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti bangi ku ffe, naddala abavubuka, tunyumirwa nnyo okusanyukirako awamu n’abantu abalala. Naye eby’okwesanyusaamu bwe biba eby’okutuganyula, twetaaga okusooka okumanya baani be tusaanidde okuba nabo nga twesanyusaamu ne baani be tusaanidde okwewala.​—2 Byom. 19:2; soma Engero 13:20; Yak. 4:4.

14, 15. (a) Yesu yateekawo kyakulabirako ki ekirungi bwe kituuka ku kulonda emikwano emirungi? (b) Bwe tuba tulonda emikwano, bibuuzo ki bye tusaanidde okusooka okwebuuza?

14 Okukoppa ekyokulabirako kya Yesu kijja kutuyamba okulonda emikwano emirungi. Okuva edda n’edda, Yesu abadde ayagala nnyo abantu. (Nge. 8:31) Bwe yali ku nsi, Yesu yayoleka okwagala eri abantu bonna. (Mat. 15:29-37) Naye Yesu yali amanyi enjawulo eri wakati w’okukolagana obulungi n’omuntu n’okumufuula mukwano gwo ow’oku lusegere. Wadde nga yali akolagana bulungi n’abantu bonna, bonna tebaali mikwano gye gya ku lusegere. Bwe yali ayogera n’abatume be abeesigwa 11, Yesu yagamba nti: “Bwe mukwata bye mbalagira, muba mikwano gyange.” (Yok. 15:14; era laba Yokaana 13:27, 30.) Abantu Yesu be yafuula mikwano gye beebo bokka abaamugoberera era abaali baaweereza Yakuwa.

15 N’olwekyo, bw’oba tonnafuula muntu yenna mukwano gwo ow’oku lusegere kiba kya magezi okulowooza ku bigambo bya Yesu ebyo. Kirungi okusooka okwebuuza: ‘Ddala omuntu ono akiraga mu bigambo ne mu bikolwa nti agondera Yakuwa ne Yesu? Agoberera emitindo gy’empisa egiri mu Bayibuli? Okumufuula mukwano gwange kinannyamba okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwange n’okusigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa?’ Bwe kiba nti ebibuuzo ebyo byonna osobola okubiddamu nti yee, olwo nno omuntu oyo oba osobola okumufuula mukwano gwo era n’okwesanyusaamu ng’oli naye.​—Soma Zabbuli 119:63; 2 Kol. 6:14; 2 Tim. 2:22.

Eby’Okwesanyusaamu Bye Tulonda Bituganyula?

16. Biki bye tusaanidde okulowoozaako nga tetunnalonda bya kwesanyusaamu?

16 Mu kitundu kino tulabye ebintu bisatu bye tusaanidde okulowoozaako nga tetunnalonda bya kwesanyusaamu​—ebirimu, ebiseera, ne baani. Eby’okwesanyusaamu bwe biba eby’okutuganyula, bisaanidde okuba nga bituukana n’emitindo gya Bayibuli mu bintu ebyo byonna ebisatu. Bwe kituuka ku ebyo ebirimu, tusaanidde okwebuuza: ‘Ebintu ebirimu bisanyusa Katonda, oba mulimu ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu?’ (Nge. 4:20-27) Bwe kituuka ku biseera, tusaanidde okwebuuza: ‘Biseera byenkana wa bye nnaamala nga nneesanyusaamu? Ddala kyetaagisa okumalira ebiseera ebyo ku kintu ekyo?’ (1 Tim. 4:8) Bwe kituuka ku baani, tusaanidde okwebuuza: ‘Baani be ŋŋenda okuba nabo nga nneesanyusaamu? Abantu abo mikwano mirungi oba mibi?’​—Mub. 9:18; 1 Kol. 15:33.

17, 18. (a) Tuyinza tutya okukakasa nti eby’okwesanyusaamu bye tulonda bituukana n’emitindo gya Bayibuli? (b) Kiki ky’omaliridde okukola bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu?

17 Eby’okwesanyusaamu bye tulonda bwe biba tebituukana na mitindo gya Bayibuli mu kimu ku bintu ebyo ebisatu bye tulabye, biba tebituganyula. Ku luuyi olulala, singa eby’okwesanyusaamu bye tulonda bituukana n’emitindo gya Bayibuli mu bintu ebyo byonna ebisatu, olwo nno biba bisobola okutuganyula n’okuweesa Yakuwa ekitiibwa.​—Zab. 119:33-35.

18 N’olwekyo, bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu, ka tufube okukola ekituufu, mu kiseera ekituufu, era nga tuli wamu n’abantu abatuufu. Yee, ka buli omu ku ffe abeere mumalirivu okukolera ku magezi ga Bayibuli gano: “Obanga mulya, oba munywa, oba mukola ekintu ekirala kyonna, mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.”​—1 Kol. 10:31.

Osobola Okunnyonnyola?

Bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu, oyinza otya okukolera ku musingi oguli mu . . .

Abafiripi 4:8?

Matayo 6:33?

Engero 13:20?

[Ebibuuzo]

[Ekipande ekiri ku lupapula 9]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

Ebirimu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Ebiseera

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Baani

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu bwe kituuka ku kulonda emikwano n’eby’okwesanyusaamu?