Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Kiki kye nsaanidde okukola singa wabaawo ekintu kye mba nsomyeko mu Bayibuli naye ne sikitegeera bulungi oba singa mba n’ekizibu nga nneetaaga okufuna amagezi nsobole okukyaŋŋanga?

Engero 2:1-5 watukubiriza okunoonya okumanya n’okutegeera ng’abanoonya “eby’obugagga ebyakwekebwa.” Kino kiraga nti tusaanidde okufuba ennyo okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye tuba twebuuza ebikwata ku Bayibuli n’okufuba okufuna amagezi ageetaagisa okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye tuba twolekagana nabyo. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

Ekitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, olupapula 33 okutuuka ku 38, kiraga “Engeri y’Okunoonyerezaamu” nga tukozesa ebitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45) Olupapula 36 lulaga engeri gye tuyinza okukozesaamu Watch Tower Publications Index, omuli olukalala lw’emitwe egitali gimu n’olukalala lw’ebyawandiikibwa. Singa wabaawo ekigambo oba ekyawandiikibwa kye tutategeera bulungi, tusobola okukozesa Index okumanya ekitundu oba ekitabo ekinnyonnyola obulungi ekigambo ekyo oba ekyawandiikibwa ekyo. Ba mugumiikiriza ng’onoonyereza. Kijjukire nti oba onoonya ‘bya bugagga ebyakwekebwa,’ era ekyo kyetaagisa ebiseera ebimala n’okufuba okw’amaanyi.

Kyo kituufu nti ensonga ezimu n’ebyawandiikibwa ebimu tebinnyonnyolwangako mu bitabo byaffe. Era ebitabo byaffe biyinza okuba nga byayogera ku kyawandiikibwa ky’onoonyerezaako naye nga tebiddiramu ddala kibuuzo kye weebuuza. Ate era waliwo ebyawandiikibwa ebitawa kalonda yenna akwata ku mbeera eyogerwako, ekintu ekiyinza okutuleetera okwebuuza ebibuuzo ebirala bingi. Bwe kityo, tetusobola kufuna kya kuddamu mu buli kibuuzo kye tuba twebuuza. Singa ekyo kibaawo, tusaanidde okwewala okuteebereza ku bintu ebitasobola kuddibwamu mu kiseera kino, kubanga ekyo kiyinza okutuleetera okwonoona ebiseera byaffe nga tukubaganya ebirowoozo ku ‘bibuuzo ebitasaana mu kifo ky’okuleeta ebintu ebiva eri Katonda ebinyweza okukkiriza.’ (1 Tim. 1:4; 2 Tim. 2:23; Tit. 3:9) Ab’oluganda abali ku ttabi n’abo abali ku kitebe ekikulu tebasobola kuddamu buli kibuuzo kye twebuuza bwe kiba nga tekinnyonnyolwangako mu bitabo byaffe. Naye tuli bakakafu nti ebyo Bayibuli by’etubuulirako bitumala okusobola okutambuza obulungi obulamu bwaffe. Era ebintu bye tutannaba kutegeera bulungi bituwa akakisa okwoleka okukkiriza kwaffe mu Oyo eyawandiisa Bayibuli.​—Laba akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa olupapula 185 okutuuka ku 187.

Ate kiri kitya singa wabaawo ekintu ekikulu ky’oba onoonyerezaako naye n’olemererwa okufuna eky’okuddamu? Totya kutuukirira omu ku bakkiriza banno akuze mu by’omwoyo akuyambe, naddala omukadde mu kibiina. Ab’oluganda ng’abo balina ebintu bingi bye bamanyi ebiri mu Byawandiikibwa era bamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa. Bw’oba weetaaga okuweebwa amagezi ku nsonga yonna, basobola okukuyamba okuva bwe kiri nti bakumanyi bulungi era bamanyi bulungi embeera yo. Ate era teweerabiranga kusaba Yakuwa omutegeeze byonna ebikweraliikiriza era omusabe akuluŋŋamye ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, “kubanga Mukama awa amagezi . . . n’okutegeera.”​—Nge. 2:6; Luk. 11:13.