Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kikulu Okufuna eky’Okuddamu?

Kikulu Okufuna eky’Okuddamu?

Kikulu Okufuna eky’Okuddamu?

“Nnali wa myaka kkumi we nnatandikira okucakala n’abalenzi. Mu kusooka, twakwatagananga emikono era twanywegeragananga. Kyokka, tewaayita bbanga ddene, ne tutandika okwetigatiga ebitundu eby’ekyama n’okwenyigira mu bikolwa ebirala ebireetera omuntu okwagala okwetaba. Bwe nnaweza emyaka 15, nnatandika okukola era abasajja be nnakolanga nabo baayagalanga nneetabe nabo. Nnali njagala okubalaga nti nange nsobola okukikola era nga njagala nkole ebyo bakozi bannange bye baakolanga. Nnayagala okusiimibwa mikwano gyange, era ekyo kyanviiramu okwenyigiranga mu bikolwa eby’okwetaba.”​—SARAH, * OW’OMU AUSTRALIA.

KYANDIKWEWUNYISIZZA okukimanya nti Sarah yakuzibwa mu maka agafaayo ku ddiini? Bazadde be baafuba okumuyigiriza emisingi egiri mu Bayibuli egy’empisa. Naye Sarah yasalawo kukwata kkubo ddala.

Bangi bayinza okukkiriziganya n’ekyo Sarah kye yasalawo okukola. Balowooza nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku by’okwetaba byava dda ku mulembe. Abalala balowooza nti si kikyamu okweyita munnaddiini kyokka ng’olina omuze ogw’okwenyigira mu bikolwa eby’okwetaba.

Ddala kikulu okumanya n’okugoberera ebyo Bayibuli by’eyigiriza ku by’okwetaba? Bayibuli ekiraga bulungi nti ‘yaluŋŋamizibwa Katonda, era nti egasa mu kuyigiriza.’ (2 Timoseewo 3:16) Bw’oba okikkiriza nti Katonda yatonda abantu era nti Bayibuli kye Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, kikulu nnyo omanye ky’eyogera ku nsonga eno.

Eky’ennaku, bangi batabuddwatabuddwa ku bikwata ku ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku by’okwetaba. Abakulembeze b’amadiini abagamba nti bawa Bayibuli ekitiibwa batumbula endowooza ezikontana ezikwata ku by’okwetaba. Mu butuufu, ensonga eno ereeseewo enjawukana mu makanisa mangi.

Mu kifo ky’okukkiririza mu ekyo abalala kye bagamba, lwaki towaayo ebiseera ebitonotono ne wekkenneenya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku by’okwetaba? Ekitundu ekiddako kiddamu ebibuuzo kkumi ebitera okubuuzibwa ebikwata ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku by’okwetaba. Mu kitundu ekyo ojja kusangamu eby’okuddamu eby’esigamiziddwa ku ekyo kye nnyini Bayibuli ky’eyigiriza. Ekitundu ekiri ku lupapula 8 kijja kwogera ku nsonga lwaki kikulu nnyo okufaayo ku ebyo bye tusalawo.

[Obugambo obuli wansi]

^ Erinnya likyusiddwa.