Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mukolere Wamu ng’Abafumbo Okufuuka Abantu ab’Eby’omwoyo

Mukolere Wamu ng’Abafumbo Okufuuka Abantu ab’Eby’omwoyo

Engeri Y’okufuna Essanyu Mu Maka

Mukolere Wamu ng’Abafumbo Okufuuka Abantu ab’Eby’omwoyo

Omwami ayitibwa Frederick * agamba nti: “Bwe twali twakafumbiriganwa, nnakubirizanga nnyo mukyala wange tusomere wamu Bayibuli. Nnali mumalirivu okulaba nti assaayo omwoyo nga tusoma. Naye mukyala wange Leanne yali alabika ng’atanyumirwa. Bwe nnamubuuzanga ebibuuzo nga tusoma, yaddangamu buzzi nti ye oba nedda. Muli nnali mpulira nti engeri gye yaddangamu yali tesaanidde kuba bw’etyo nga tusoma Bayibuli.”

Omukyala ayitibwa Leanne agamba nti: “Nnafumbirwa Frederick nga ndi wa myaka 18. Twasomeranga wamu Bayibuli obutayosa, naye buli lwe twabanga n’okusoma, nga Frederick akukozesa ng’akakisa okwogera ku nsobi zange zonna n’engeri gye nnabanga nneetaaga okulongoosaamu ng’omukyala. Kyammalangamu nnyo amaanyi era kyannakuwazanga nnyo!”

OLOWOOZA otya, obuzibu bwali buva ku nkolagana ya Frederick ne Leanne? Ebiruubirirwa byabwe byali birungi. Bombi baali baagala Katonda. Era bombi baali balaba obwetaavu obw’okusomera awamu Bayibuli. Naye ate ekintu kyennyini ekyandibagasse kye kyali kirabika ng’ekibaawula. Bayinza okuba nga baali basomera wamu Bayibuli, naye nga tebakolera wamu ng’abafumbo okufuuka abantu ab’eby’omwoyo.

Kitegeeza ki okubeera omuntu ow’eby’omwoyo oba okufaayo ku by’omwoyo? Lwaki abafumbo basaanidde okufuba okuba abantu ab’eby’omwoyo? Kusoomooza ki kwe bayinza okwolekagana nakwo, era bayinza kukuvvuunuka batya?

Kitegeeza Ki Okubeera Omuntu ow’Eby’Omwoyo oba Okufaayo ku by’Omwoyo?

Ebigambo ‘okufaayo ku by’omwoyo’ nga bwe bikozesebwa mu Bayibuli biraga endowooza omuntu gy’aba nayo oba engeri gye yeeyisaamu mu bulamu. (Yuda 18, 19) Ng’ekyokulabirako, Pawulo, omu ku bawandiisi ba Bayibuli alaga enjawulo eriwo wakati w’endowooza omuntu ow’eby’omwoyo gy’aba nayo n’eyo omuntu ow’omubiri gy’aba nayo. Pawulo alaga nti abo abalina endowooza ey’omubiri basinga kwefaako bokka. Bakola ekyo bo kye balowooza nti kye kituufu mu kifo ky’okugoberera emitindo gya Katonda.​—1 Abakkolinso 2:14; Abaggalatiya 5:19, 20.

Okwawukana ku abo, abantu abafaayo ku by’omwoyo batwala emitindo gya Katonda nga gya muwendo. Yakuwa Katonda bamutwala nga Mukwano gwabwe era bafuba okumukoppa. (Abeefeso 5:1) Bwe kityo, booleka okwagala, ekisa, n’obuwombeefu nga bakolagana n’abalala. (Okuva 34:6) Ate era bagondera Katonda ne bwe kiba nti tekibanguyira. (Zabbuli 15:1, 4) Omwami ayitibwa Darren abeera mu Canada era ng’amaze mu bufumbo emyaka 35 agamba nti: “Okusinziira ku ngeri gye nkitegeeramu, omuntu ow’eby’omwoyo bulijjo afaayo ku ngeri ebyo by’ayogera ne by’akola gye bikwata ku nkolagana ye ne Katonda.” Mukyala we, Jane agattako nti: “Nze ndowooza nti omukyala ow’eby’omwoyo y’oyo afuba buli lunaku okwoleka engeri eziri mu kibala eky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu.”​—Abaggalatiya 5:22, 23.

Kya lwatu, omuntu talina kusooka kuyingira bufumbo okusobola okufuuka ow’eby’omwoyo. Mu butuufu, Bayibuli eyigiriza nti buli muntu alina obuvunaanyizibwa obw’okuyiga ebikwata ku Katonda n’okumukoppa.​—Ebikolwa 17:26, 27.

Lwaki Abafumbo Basaanidde Okukolera Awamu Okufuuka Abantu ab’Eby’Omwoyo?

Kati olwo, lwaki abafumbo basaanidde okukolera awamu okufuuka abantu ab’eby’omwoyo? Lowooza ku kyokulabirako kino: Abalimi babiri balina ennimiro emu bombi kwe baagala okulima enva endiirwa. Omu asalawo okusimba ensigo, ate omulala alowooza nti ensigo zisaanidde okusimbibwa mu kiseera ekirala. Omu alina ekika ky’ekigimusa ky’ayagala okukozesa, naye omulala agaana era agamba nti ebirime tebyetaaga bigimusa. Omu afuba okulima buli lunaku. Omulala ye akola gwa kutuula butuuzi, mu kifo ky’okukolera awamu ne munne. Mu mbeera ng’eyo, ennimiro eyinza okubaza enva, naye teziba nnyingi nga bwe zandibadde singa abalimi bombi baali bakkiriziganyizza ku ky’okukola era ne bakolera wamu okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe.

Omwami n’omukyala balinga abalimi abo. Bwe kiba nti omu ku bo y’afuba okuba omuntu ow’eby’omwoyo, enkolagana yaabwe eyinza okulongookamu. (1 Peetero 3:1, 2) Naye ate, enkolagana yaabwe yandibadde nnungi okusingawo singa bombi bakkiriziganya ku ky’okugoberera emisingi gya Katonda era ne bafuba okuyambagana nga baweereza Katonda. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yagamba nti: “Babiri basinga omu.” Lwaki? ‘Kubanga baba n’empeera ennungi olw’okutegana kwabwe. Kubanga omu bw’agwa munne alimuyimusa.’​—Omubuulizi 4:9, 10.

Oboolyawo naawe oyagala nnyo okukolera awamu ne munno mu bufumbo mufuuke abantu ab’eby’omwoyo. Naye nga bwe kibeera ku kulima, okwagala obwagazi okulima ku bwakyo si kye kisobozesa omuntu okufuna emmere. Lowooza ku buzibu bwa mirundi ebiri bw’oyinza okwolekagana nabwo n’engeri gy’oyinza okubwaŋŋanga.

OBUZIBU 1: Kituzibuwalira okufuna ebiseera. Omukyala ayitibwa Sue nga yaakamala ekiseera kitono mu bufumbo agamba nti: “Omwami wange annona ku mulimu ku ssaawa emu ey’olweggulo. Bwe tutuuka eka, emirimu gyonna giba gitulindiridde. Muli tutandika okwebuuza kye tunaakola ne kye tunaaleka; tuba tukimanyi bulungi nti twetaaga okufissaawo akadde okusomera awamu ebikwata ku Katonda, naye nga tuwulira tuli bakoowu, nga twetaaga okuwummulako.”

Kye muyinza okukola: Mube beetegefu okukola enkyukakyuka eziba zeetaagisa okusinziira ku mbeera yammwe era mukolere wamu. Omukyala ayitibwa Sue agamba nti: “Nze n’omwami wange twasalawo tuzuukukenga nga bukyali okusomera awamu Bayibuli n’okugikubaganyaako ebirowoozo nga tetunnagenda kukola. Ate era annyambako ku mirimu egimu egy’awaka nsobole okufuna akadde ak’okubeerako awamu naye.” Miganyulo ki egiva mu kufuba ng’okwo? Ed bba wa Sue agamba nti: “Nkizudde nti nze ne Sue bwe tukubaganya ebirowoozo ku bintu eby’eby’omwoyo obutayosa, kitwanguyira okugonjoola ebizibu bye tufuna n’obuteeraliikirira nnyo.”

Ng’oggyeko okunyumyamu ng’abafumbo, kikulu nnyo okufissaawo akadde buli lunaku okusabirako awamu. Kino kiyinza kubayamba kitya? Omwami ayitibwa Ryan, eyaakamala emyaka 16 nga mufumbo agamba nti: “Ggye buvuddeko awo, enkolagana yange ne mukyala wange ebadde mbi nnyo. Naye twasalawo okussaawo ekiseera eky’okusabirako awamu buli kiro, okutegeeza Katonda ebitweraliikiriza. Muli mpulira ng’okusabirako awamu kyatuyamba okugonjoola ebizibu byaffe n’okuddamu okufuna essanyu mu bufumbo bwaffe.”

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Musseewo ekiseera kya ddakiika ntonotono ku nkomerero ya buli lunaku okwogera ku kintu kyonna ekibaddewo ekibakwatako ng’abafumbo, kye muyinza okwebaza Katonda. Ate era mwogere ku bizibu bye mwolekagana nabyo, naddala ebyo bye mwetaaga okusaba Katonda abayambe okwaŋŋanga. Weegendereze: Tokozesa kiseera kino ng’akakisa k’ofunye okwogera ku nsobi za munno mu bufumbo. Mu kifo ky’ekyo, bwe musabira awamu, yogera ku nsonga ezo zokka mwembi ze mwetaaga okukolako. Olunaku oluddirira, mufube okukolera ku ebyo bye mwayogeddeko mu kusaba kwammwe.

OBUZIBU 2: Tulina obusobozi bwa njawulo. Omwami ayitibwa Tony agamba nti: “Ssaamanyiira kutuula awo kusoma bitabo.” Mukyala we ayitibwa Natalie agamba nti: “Njagala nnyo okusoma, era njagala nnyo okwogera ku ebyo bye mba njize. Ebiseera ebimu mba ndowooza nti kino kireetera Tony okuntya bwe tuba tukubaganya ebirowoozo ku kitundu ekiri mu kitabo ekyesigamiziddwa ku Bayibuli.”

Kye muyinza okukola: Wagira munno, mu kifo ky’okuvuganya naye oba okumusalira omusango. Musiime olw’ebirungi by’akola era muzzeemu amaanyi. Tony agamba nti: “Engeri mukyala wange gy’aba yeesungamu okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli oluusi enneeraliikiriza, era mu biseera eby’emabega nnali ntya okukubaganya naye ebirowoozo ku bintu eby’eby’omwoyo. Wadde kiri kityo, Natalie ampagira. Kati tukubaganya ebirowoozo ku bintu eby’eby’omwoyo obutayosa era nkizudde nti tewali kintu kyonna kirina kunneeraliikiriza. Nnyumirwa nnyo okwogera naye ku bintu ng’ebyo. Kituyambye okwongera okuba abakkakkamu n’okuba mu mirembe ng’abafumbo.”

Abafumbo bangi bakizudde nti obufumbo bwabwe bulongoose bwe bataddewo ekiseera eky’enkalakkalira eky’okusomera awamu Bayibuli buli wiiki. Kyokka, weegendereze kino: Fuba okukolera ku kubuulirira kwonna kwe muba mufunye, so si kunoonya bunoonya ngeri munno gy’ayinza okukukolerako. (Abaggalatiya 6:4) Ensonga eziyinza okubaleetera obutakwatagana muzoogereko mu kiseera ekirala, so si mu kiseera kye musomeramu Bayibuli. Lwaki tekirina kuba bwe kityo?

Lowooza ku kino: Singa obadde olya emmere n’ab’omu maka go, wandikozesezza ekiseera ekyo okulongoosa ekiwundu kyo? Nedda, si bwe wandikoze, kubanga kino kyandireetedde buli omu okwetamwa emmere. Yesu yageraageranya okuyiga ebikwata ku Katonda n’okukola by’ayagala ku kulya emmere. (Matayo 4:4; Yokaana 4:34) Buli lwe muba musoma Bayibuli n’oyogera ku bintu ebiyinza okubaleetera obutakwatagana, oyinza okuleetera munno mu bufumbo okwetamwa okusomera awamu naawe Bayibuli oba okwogera ku bintu eby’eby’omwoyo. Kyo kituufu nti, mwetaaga okwogera ku bizibu byammwe. Naye mubyogereko mu kiseera kye mwassaawo nti lwe mulina okubyogerako.​—Engero 10:19; 15:23.

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Wandiika engeri bbiri oba ssatu munno mu bufumbo z’alina z’osinga okwagala. Bwe munaaba mukubaganya ebirowoozo ku bintu eby’eby’omwoyo ebikwatagana n’engeri ezo, tegeeza munno nti osiima nnyo engeri gy’ayolekamu engeri ezo.

Ky’Osiga ky’Okungula

Singa musiga oba mukolera wamu ng’abafumbo okufuuka abantu ab’eby’omwoyo, mujja kweyongera okufuna emirembe n’essanyu mu bufumbo bwammwe. Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti “ekintu kyonna omuntu ky’asiga era ky’alikungula.”​—Abaggalatiya 6:7.

Frederick ne Leanne, abaayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino, baategeera obutuufu bw’omusingi guno oguli mu Bayibuli. Kati bamaze emyaka 45 mu bufumbo era bakimanyi nti obugumiikiriza buvaamu emiganyulo. Frederick agamba nti, “nnateranga okunenya mukyala wange olw’obutaba na mpuliziganya nnungi. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera nnakizuula nti nange nnali nneetaaga okubaako kye nkolawo.” Leanne agamba nti: “Ekyatuyamba okuyita mu biseera ebyo ebizibu kwe kwagala buli omu ku ffe kw’alina eri Yakuwa Katonda. Tubadde tusomera wamu Bayibuli era nga tusabira wamu obutayosa okumala emyaka mingi. Buli lwe ndaba Frederick ng’afuba okulongoosa mu ngeri gy’ayolekamu engeri ez’Ekikristaayo, kindeetera okwongera okumwagala.”

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya gakyusiddwa.

WEEBUUZE . . .

▪ Ddi lwe twasembayo okusabirako awamu ng’abafumbo?

▪ Kiki kye nnyinza okukola ekiyinza okukubiriza munnange mu bufumbo okwogera ekimuli ku mutima awatali kutya buli lwe tuba tukubaganya ebirowoozo ku bintu eby’eby’omwoyo?