Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bataata Bayinza Batya Okusigaza Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Batabani Baabwe?

Bataata Bayinza Batya Okusigaza Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Batabani Baabwe?

Bataata Bayinza Batya Okusigaza Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Batabani Baabwe?

“TAATA, ebintu bino byonna wabimanya otya?” Mutabani wo yali akubuuzzizaako ekibuuzo ng’ekyo? Oboolyawo, ekyo kyakuleetera okwenyumiririza mu kuba taata omulungi. Naye mutabani wo bw’aba nga yakola ekisingawo ku ekyo​—nga yakolera ku kubuulirira kwe wamuwa era n’afuna emiganyulo​—tewali kubuusabuusa nti weeyongera okufuna essanyu. *​—Engero 23:15, 24.

Naye, mutabani wo akyakwenyumiririzaamu nga bwe kyali mu biseera eby’emabega? Oba kirabika nti buli lwe yeeyongera okukula, enkolagana yammwe egenda ekendeera? Oyinza otya okukuuma enkolagana yo n’omwana wo nga ya ku lusegere okuva mu buto bwe okutuusa lw’afuuka omusajja? Ka tusooke twetegereze obumu ku buzibu bataata bwe boolekagana nabwo.

Obuzibu obw’Emirundi Essatu Obutera Okubaawo

1. OBUTABA NA BISEERA: Mu nsi nnyingi, bataata bakola nnyo okusobola okulabirira ab’omu maka gaabwe. Ebiseera ebisinga obungi, kiba kibeetaagisa okubeera ku mirimu kumpi olunaku lwonna. Mu bitundu ebimu, bataata bamala ebiseera bitono ddala nga bali n’abaana baabwe. Ng’ekyokulabirako, okunoonyereza okwakolebwa mu bufalansa gye buvuddeko awo kwalaga nti okutwalira awamu bataata bamala eddakiika ezitawera 12 buli lunaku nga baliko wamu n’abaana baabwe.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Biseera byenkana wa by’omala ne mutabani wo? Mu bbanga lya wiiki emu oba bbiri, gezaako okuwandiika ebiseera by’omala ne mutabani wo buli lunaku. Kiyinza okukwewuunyisa okukizuula nti ebiseera by’omala naye bitono nnyo ddala.

2. OBUTAFUNA KYAKULABIRAKO KIRUNGI: Abasajja abamu tebaafuna biseera bimala kubeerako ne bakitaabwe. Omwami ayitibwa Jean-Marie abeera mu Bufalansa agamba nti: “Saafuna kiseera kimala kubeerako ne taata.” Ekyo Jean-Marie kimukosezza kitya? Agamba nti: “Kireeseewo obuzibu bwe nnali sisuubira. Ng’ekyokulabirako, kinzibuwalira okunyumyako ne batabani bange ku bintu ebizimba.” Ku luuyi olulala, abasajja abamu bamanyi bulungi bakitaabwe, naye tebalina nkolagana ya ku lusegere nabo. Omwami ayitibwa Philippe, ow’emyaka 43 agamba nti: “Kitange kyamubeereranga kizibu okundaga okwagala. N’ekivuddemu, nnina okufuba ennyo okwongera okulaga mutabani wange okwagala.”

EKY’OKULOWOOZAAKO: Naawe muli owulira nti enkolagana gy’olina ne kitaawo erina ky’ekola ku ngeri gy’oyisaamu mutabani wo? Naawe weesaanze nti ogoberera empisa za kitaawo ennungi oba embi? Ozigoberedde mu ngeri ki?

3. OBUTAFUNA MAGEZI MALUNGI: Mu buwangwa obumu obuvunaanyizibwa bwa taata obw’okukuza abaana tebutwalibwa ng’ekintu ekikulu. Omwami ayitibwa Luca eyakulira mu Bulaaya ow’Ebugwanjuba agamba nti: “Gye nnakulira, abantu baali bakitwala nti okulabirira abaana mulimu gwa bakyala.” Mu buwangwa obulala, bataata bakubirizibwa kukola gwa kukangavvula bukangavvuzi baana baabwe naye nga tebafuddeeyo ku birala. Ng’ekyokulabirako, omwami ayitibwa George, eyakulira mu nsi emu mu Afirika agamba nti: “Mu buwangwa bwaffe, bataata tebazannya n’abaana baabwe olw’okutya nti kino kiyinza okuleetera abaana baabwe obutabawa kitiibwa. Kino oluusi kyandeeteranga okuzibuwalirwa okusanyukirako awamu ne mutabani wange.”

EKY’OKULOWOOZAAKO: Mu kitundu gy’obeera, bataata basuubirwa kutuukiriza buvunaanyizibwa ki? Abantu bakitwala nti okukuza abaana mulimu gwa bakyala? Bataata bakubirizibwa okwoleka okwagala eri abaana baabwe, oba abantu abasinga obungi mu kitundu kyammwe bakitwala nti bataata tebasaanidde kukikola?

Bwe kiba nti oli taata ayolekagana n’obumu ku buzibu buno, kiki ky’oyinza okukola okubuvvuunuka? Lowooza ku magezi gano wammanga.

Tandikirawo nga Mutabani Wo Akyali Muto

Abaana abato baba baagala nnyo okukoppa bakitaabwe. N’olwekyo, nga mutabani wo akyali muto, kozesa akakisa ako. Kino oyinza kukikola otya? Era ddi lw’oyinza okufuna akadde okubeerako naye?

Buli lwe kiba kisoboka, baako emirimu gy’okolerako awamu ne mutabani wo buli lunaku. Okugeza, bw’oba ng’okola emirimu gy’awaka mugambe akuyambeko. Oyinza okumuwa akeeyo akatono oba akakumbi akatono. Tewali kubuusabuusa nti ajja kusanyuka nnyo okukolera awamu naawe gwe yeesiga! Kiyinza okukutwalira ekiseera ekiwanvuko okumaliriza omulimu ogwo; naye kijja kukuyamba okunyweza enkolagana yo ne mutabani wo, n’okumuyigiriza okukola emirimu. Edda ennyo, Bayibuli yakubirizanga bataata okukolerako awamu n’abaana baabwe ebintu ebitali bimu buli lunaku era n’okukozesa ekiseera ekyo okunyumyako nabo n’okubayigiriza. (Ekyamateeka 6:6-9) Ne leero amagezi ago gasobola okutuganyula.

Ng’oggyeko okukolerako awamu ne mutabani wo, funa akadde okuzannyako naye. Okuzannyako naye tekikoma bukomi ku kubasobozesa kusanyukirako wamu, naye era kiganyula omwana wo mu ngeri esingawo. Okunoonyereza okwakolebwa kulaga nti bataata bwe bazannya n’abaana baabwe abato, babayamba okufuuka abayiiya era abavumu.

Taata bw’azannyako ne mutabani we, kirina engeri endala enkulu ennyo gye kiganyulamu omwana we. Omunoonyereza ayitibwa Michel Fize, agamba nti: “Okuzannya n’omwana kimusobozesa okunyumya obulungi ne kitaawe.” Nga bazannya, taata asobola okulaga omwana we okwagala ng’ayitira mu bikolwa ne mu bigambo. Mu kukola bw’atyo, aba ayigiriza omwana we engeri y’okulagamu okwagala. Taata omu ayitibwa André abeera mu Bugirimaani agamba nti: “Mutabani wange bwe yali akyali muto, nnazannyanga naye. Namugwanga mu kafuba, era ekyo ky’amuyigiriza okundaga okwagala.”

Ekiseera eky’okwebaka nakyo kiyinza okusobozesa taata okwongera okunyweza enkolagana ye ne mutabani we. Buli lunaku, musomereyo olugero, era muwulirize ng’ayogera ku ebyo ebimusanyusizza n’ebimweraliikirizza ebibadde mu lunaku. Bw’okola bw’otyo, kijja kumwanguyira okwogeranga naawe ng’agenda akula.

Weeyongere Okukolera Awamu Naye Ebintu Ebibanyumira

Bataata bwe bagezaako okwogerako n’abaana baabwe, abaana abamu abatiini bayinza okulabika ng’abatayagala kwogera nabo. Mutabani wo bw’alabika ng’atayagala kuddamu bibuuzo byo, tokitwala nti tayagala kwogera naawe. Ayinza okutandika okwogera naawe singa okyusaamu mu ngeri gy’oyogeramu naye.

Taata omu ayitibwa Jacques abeera mu Bufalansa, oluusi yakisanganga nga kizibu okwogera ne mutabani we ayitibwa Jérôme. Naye, mu kifo ky’okumukaka okwogera, yakozesa engeri endala—yasambanga naye omupiira. Jacques agamba nti: “Buli lwe twamalanga okusamba omupiira, twatulaanga ku busubi ne tuwummulamu ko. Mu kaseera ako, mutabani wange yambuuliranga ekimuli ku mutima. Eky’okuba nti twalinga wamu, ndowooza kyamuleeteranga okuwulira nti afunye akadde okubeerako nange, era ekyo kyatusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere.”

Ate watya singa omwana wo aba tanyumirwa bya mizannyo? Omwami ayitibwa André asanyuka nnyo buli lw’ajjukira ebiseera lwe yabeerangako awamu ne mutabani we nga batunuulira emmunyeenye. André agamba nti: “Twateekanga entebe ebweru ekiro mu budde obw’empewo. Oluvannyuma twayambalanga engoye ezitusobozesa okubuguma, era twabanga n’ebikopo bya caayi mu ngalo. Twakozesanga ekiseera ekyo okutunuulira ebiri mu bwengula. Twayogeranga ku Oyo eyatonda emmunyeenye era twayogeranga ne ku bintu ebitukwatako. Twayogeranga kumpi ku buli kintu.​—Isaaya 40:25, 26.

Ate watya singa oba tonyumirwa ebimu ku bintu mutabani wo by’anyumirwa? Mu mbeera ng’eyo, kiyinza okukwetaagisa okwerekereza ebyo by’oyagala. (Abafiripi 2:4) Omwami ayitibwa Ian abeera mu South Africa agamba nti: “Nnanyumirwanga nnyo eby’emizannyo okusinga mutabani wange ayitibwa Vaughan. Ye yayagalanga nnyo ennyonyi ne kompyuta. N’olwekyo, nnatandika okwemanyiiza ebintu ebyo, nga mmutwala ku myoleso gy’ennyonyi era nga nzannya naye omuzannyo gw’okuvuga ennyonyi ku kompyuta. Olw’okuba twakoleranga wamu ebintu ebitunyumira, Vaughan yabanga asobola okunneeyabiza awatali kutya kwonna.”

Muyambe Okubeera Omuntu Eyeekakasa

“Laba, Taata, laba!” Mutabani wo omuto yali ayogeddeko ebigambo ng’ebyo ng’alina ekintu ky’ayize okukola? Bw’aba nga kati mutiini, akyajja gy’oli ng’ayagala omusiime olw’ekyo ky’akoze? Oboolyawo si bwe kiri. Naye yeetaaga okusiimibwa bw’aba ow’okukula nga muntu eyeekakasa.

Lowooza ku kyokulabirako Yakuwa Katonda kennyini kye yassaawo ng’akolagana n’omu ku baana be. Yesu bwe yali anaatera okutandika obuweereza bwe obw’enjawulo ku nsi, Katonda yakyoleka mu lujjudde nti amwagala nnyo ng’agamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira.” (Matayo 3:17; 5:48) Kyo kituufu nti olina obuvunaanyizibwa obw’okukangavvula n’okuyigiriza mutabani wo. (Abeefeso 6:4) Naye naawe ofuba okunoonya engeri y’okusiimamu mutabani wo ng’alina ebintu ebirungi by’ayogedde oba by’akoze?

Abasajja abamu bakisanga nga kizibu okusiima abaana baabwe n’okubalaga okwagala. Bayinza okuba nga baakulira mu maka ng’abazadde baabwe essira balissa ku nsobi mu kifo ky’ebintu ebirungi bye baabanga bakoze. Bwe kiba nti wakulira mu mbeera ng’eyo, kijja kukwetaagisa okufuba ennyo okuyamba mutabani wo okuba omuntu eyeekakasa. Ekyo oyinza kukikola otya? Omwami ayitibwa Luca eyayogeddwako waggulu, bulijjo akolera wamu ne mutabani we ow’emyaka 15 ayitibwa Manuel, nga bakola emirimu gy’awaka. Luca agamba nti: “Ebiseera ebimu, ŋŋamba Manuel n’atandika okukola omulimu ku lulwe era ne mugamba nti nja kumuyambako bw’anaaba anneetaaze. Emirundi egisinga obungi omulimu agumaliriza ku lulwe. Ekyo kimuleetera okuba omumativu n’okuba nga yeekakasa. Omulimu bw’agukola obulungi mmusiima. Bw’atakola nga bw’abadde asuubira, era mmutegeeza nti nsiima okufuba kwe.”

Ate era osobola okuyamba mutabani wo okuba omuntu eyeekakasa ng’omuyamba okutuuka ku biruubirirwa ebikulu mu bulamu. Ate watya singa mutabani wo tatuuka mangu ku biruubirirwa nga bw’obadde oyagala? Ate watya singa aba n’ebiruubirirwa ebitali bibi naye nga byawukana ku ebyo bye wandyagadde atuukeko? Bwe kiba bwe kityo, kiyinza okukwetaagisa okukyusaamu mu ebyo by’obadde omusuubiramu. Jacques eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Ngezaako okuyamba mutabani wange okweteerawo ebiruubirirwa ebyangu okutuukako. Naye era nkakasa nti bye biruubirirwa ye by’ayagala so si nze bye njagala. Ate era mba sirina kumupapya kutuuka ku biruubirirwa bye.” Wuliriza mutabani wo, musiime bwe wabaawo ebintu by’akoze obulungi, era muzzeemu amaanyi asobole okuvvuunuka obunafu bwe, ekyo kijja kumuyamba okutuuka ku biruubirirwa bye.

Kyo kituufu nti, oluusi kiyinza obutaba kyangu kukolagana na mutabani wo. Naye bw’ofuba, ayinza okwagala okusigala ng’alina enkolagana ey’oku lusegere naawe. Ye abaffe, waliwo omuntu yenna atayagala kusigala na nkolagana ya ku lusegere n’omuntu amuyamba?

[Obugambo obuli wansi]

^ Wadde ng’ekitundu kino kissa essira ku nkolagana ey’enjawulo ebaawo wakati wa bataata ne batabani baabwe, emisingi egikirimu gikwata ne ku nkolagana ebaawo wakati wa bataata ne bawala baabwe.