Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abagoberezi ba Yesu Bonna Bakristaayo ab’Amazima?

Abagoberezi ba Yesu Bonna Bakristaayo ab’Amazima?

Abagoberezi ba Yesu Bonna Bakristaayo ab’Amazima?

ABAGOBEREZI ba Yesu bali bameka mu nsi yonna? Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Atlas of Global Christianity, omwaka gwa 2010 we gwatuukira, mu nsi yonna waaliwo abagoberezi ba Yesu abasukka mu buwumbi 2. Kyokka era ekitabo ekyo kigamba nti abagoberezi ba Kristo abo bali mu ddiini ezisukka mu 41,000, era nga buli emu ku ddiini ezo erina enjigiriza zaayo n’amateeka gaayo. Ekyo kiviiriddeko abantu abamu okutabulwa n’okuwulira nga baweddemu amaanyi. Beebuuza nti, ‘Abo bonna abagamba nti bagoberezi ba Kristo ddala bagoberezi ba Kristo ab’amazima?’

Lowooza ku kyokulabirako kino. Omuntu bw’aba agenda kuyingira mu nsi endala, aba talina kukoma ku kutegeeza butegeeza abo abakola ku nsalo ekyo ky’ali, wabula aba alina okubawa obukakafu obulaga ekyo ky’ali, oboolyawo ng’abalaga ebiwandiiko ebimwogerako. Mu ngeri y’emu, omugoberezi wa Kristo oba Omukristaayo ow’amazima talina ku kukoma kugamba nti mugoberezi wa Kristo. Alina okwoleka obukakafu obulaga nti ddala Mukristaayo.

Ekigambo “Omukristaayo” oba “Abakristaayo” kyatandika okukozesebwa oluvannyuma lw’omwaka gwa 44 E.E. Omu ku bawandiisi ba Bayibuli ayitibwa Lukka yagamba nti: “Mu Antiyokiya abayigirizwa gye baasookera okuyitibwa Abakristaayo, erinnya eryava eri Katonda.” (Ebikolwa 11:26) Weetegereze nti Abakristaayo abo baali bayitibwa abayigirizwa ba Kristo. Kiki ekifuula omuntu okuba omuyigirizwa wa Yesu Kristo? Enkuluze eyitibwa The New International Dictionary of New Testament Theology egamba nti: “Omuntu okuba omugoberezi wa Kristo aba alina okuba ng’akoppa Yesu mu mbeera zonna ez’obulamu bwe, ekiseera kyonna ky’amala nga mulamu.” N’olwekyo Omukristaayo ow’amazima aba alina okuba ng’agoberera Yesu mu bujjuvu.

Abakristaayo ab’amazima weebali leero? Kiki Yesu kye yagamba ekyandibadde kyawulawo abagoberezi be ab’amazima? Tukukubiriza weekenneenye engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo. Mu bitundu ebiddako, tugenda kulabayo ebintu bitaano ku ebyo Yesu bye yayigiriza ebisobola okutuyamba okumanya abagoberezi be ab’amazima. Tugenda kulaba n’engeri Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka gye baakolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza. Ate era tugenda kulaba baani leero abakolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza.